Bayite Babeewo
1. Kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene anaatandika ddi?
1 Bw’okozesa ebiseera bingi ne ssente nnyingi okuteekerateekera ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo ekijjulo, tewali kubuusabuusa nti oba munyiikivu ng’obayita okubaawo. Mu ngeri y’emu, bingi ebikoleddwa mu kuteekateeka ekijjulo eky’eby’omwoyo kye tujja okufuna ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu. Ng’ebula wiiki ssatu olukuŋŋaana olwo lutuuke, Yakuwa atuwadde enkizo ey’okuyita abalala babeewo. Biki ebinaatuyamba okuba abanyiikivu nga tugaba obupapula obuyita abantu?
2. Biki ebinaatuyamba okwenyigira mu kaweefube oyo n’obunyiikivu?
2 Okusobola okwenyigira mu kaweefube n’obunyiikivu, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri ffe kennyini gye tuganyulwa mu ebyo Yakuwa by’atuyigiriza mu nkuŋŋaana ennene. (Is. 65:13, 14) Ate era tusaanidde okukijjukira nti kaweefube gwe tukola buli mwaka avaamu ebirungi. (Laba akasanduuko “Kaweefube Waffe Avaamu Ebirungi.”) Abamu ku abo be tujja okuyita bajja kujja ku lukuŋŋaana ate abalala tebajja kujja. Ka babe bameka abanajja, okwenyigira mu kaweefube oyo n’obunyiikivu kijja kuleetera Yakuwa ettendo era kirage nti mugabi.—Zab. 145:3, 7; Kub. 22:17.
3. Obupapula obuyita abantu bunaagabibwa butya?
3 Abakadde mu buli kibiina basaanidde okusalawo engeri obupapula buno gye bunaagabibwamu, era obanga bunaalekebwa awaka awanaaba watasangiddwa bantu oba bunaagabibwa mu nkola ey’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu kitundu kyabwe. Ku wiikendi, bwe muba mugaba obupapula obwo musaanidde okugabirako magazini bwe kiba kituukirawo. Kaweefube oyo bw’anaaba awedde, tujja kuba basanyufu nnyo olw’okumwenyigiramu n’obunyiikivu, n’okukimanya nti abantu bangi baatwegattako ku kijjulo eky’eby’omwoyo Yakuwa kye yatutegekera.