LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
Vaamu
Yingira
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Tukwanirizza.
Mu layibulale eno mulimu ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Leero

Lwakutaano, Okitobba 16

Temukkirizanga mitima gyammwe okutwalirizibwa ne mugoberera amakubo ge. Temuwabanga ne mutambulira mu mpenda ze.—Nge. 7:25.

Ebyo Sulemaani bye yawandiika biraga ekiyinza okutuuka ku muweereza wa Yakuwa yenna. Ayinza okukola ekibi eky’amaanyi naye oluvannyuma n’alowooza nti ebintu byabaddewo mangu mangu. Oba ayinza okugamba nti, “Kyaguddewo bugwi.” Kyokka bw’afumiitiriza, ayinza okukiraba nti waliwo ebintu ebitali bya magezi bye yasooka okukola ebyamuviiriddeko okukola ekibi. Ebintu ebyo biyinza okuba nga bizingiramu emikwano emibi, eby’okwesanyusaamu ebitasaana, oba okugenda mu bifo ebitali birungi, ka kibe mu buntu oba okuyitira ku Intaneeti. Oboolyawo ayinza n’okuba nga yali alekedde awo okusaba, okusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, oba okubuulira. Okufaananako omuvubuka ayogerwako mu Engero, ekibi ky’aba yakoze kiyinza okuba nga tekyaguddewo bugwi. Kiki kye tuyiga? Tetulina kukoma ku kwewala kukola kibi, wabula tulina n’okwewala ebintu ebiyinza okutuviirako okukola ekibi. Ensonga eyo Sulemaani yagyogerako.—Mat. 5:​29, 30. w24.07 16 ¶10-11

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026

Lwamukaaga, Okitobba 17

Obugagga buno tubulina mu bibya eby’ebbumba.—2 Kol. 4:7.

Bugagga ki obwo? Gwe mulimu gw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka oguwonyaawo obulamu bw’abantu. (2 Kol. 4:1) Ebibya eby’ebbumba kye ki? Bikiikirira abaweereza ba Katonda ababuulira abalala amawulire amalungi. Mu kiseera kya Pawulo, abasuubuzi baakozesanga ensumbi ez’ebbumba okutambulizaamu ebintu eby’omuwendo, gamba ng’emmere, omwenge, n’essente. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yatukwasa amawulire amalungi ag’omuwendo. Yakuwa atuyamba okufuna amaanyi ne tweyongera okubuulira. Oluusi tuyinza okutya abantu. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ekyo? Lowooza ku ssaala abatume gye baasaba bwe baalagirwa okulekera awo okubuulira. Mu kifo ky’okulekera awo okubuulira olw’okutya, baasaba Yakuwa abayambe okweyongera okwogera n’obuvumu. Essaala eyo Yakuwa yagiddamu mu bwangu. (Bik. 4:​18, 29, 31) Oluusi bwe tuwulira nga tutidde abantu, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe tweyongere okwagala abantu, tusobole okuggwaamu okutya. w24.04 16 ¶8-9

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026

Ssande, Okitobba 18

Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.—Mat. 6:9.

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okutukuza erinnya lye. Twagala okuggya ekivume Sitaani kye yaleeta ku linnya lya Yakuwa bwe yamwogerako eby’obulimba. (Lub. 3:​1-5; Yob. 2:4; Yok. 8:44) Twagala nnyo okubuulira abantu abeetegefu okuwuliriza amazima agakwata ku Katonda waffe. Twagala abantu bonna bamanye nti engeri ye esinga obukulu kwe kwagala, nti obufuzi bwe bwa butuukirivu era bwa bwenkanya, era nti Obwakabaka bwe bunaatera okumalawo okubonaabona buleetere abantu emirembe n’essanyu. (Zab. 37:​10, 11, 29; 1 Yok. 4:8) Bwe tubuulira abantu ebintu ebyo ebikwata ku Yakuwa, tuba tutukuza erinnya lye. Ate era tuba bamativu olw’okukimanya nti tutuukana n’erinnya lyaffe. w24.05 18 ¶12

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026
Tukwanirizza.
Mu layibulale eno mulimu ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza