LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/13 lup. 4
  • Kaweefube Avaamu Ebirungi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kaweefube Avaamu Ebirungi
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Laba Ebirala
  • Bayite Babeewo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Kaweefube ow’Ensi Yonna ow’Okulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Goberera Kristo”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 6/13 lup. 4

Kaweefube Avaamu Ebirungi

Ng’ebula wiiki ssatu olukuŋŋaana lwa disitulikiti lutuuke, ebibiina bijja kwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olwo. Waliwo ensonga lwaki tuba ne kaweefube ono buli mwaka. Abo be tuba tuyise bwe bajja ku lukuŋŋaana bakwatibwako nnyo olw’emboozi eziweebwa, engeri ebitongole by’olukuŋŋaana olwo gye biba bitegekeddwamu n’eky’okuba nti bonna ababikolamu bannakyewa, olw’empisa zaffe ennungi, n’obumu. (Zab. 110:3; 133:1; Is. 65:13, 14) Kaweefube waffe avaamu ebirungi ne bwe kiba nti abo be tuba tuyise balina okutindigga olugendo okusobola okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.

Ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka 2011 luwedde, ettabi erimu lyafuna ebbaluwa okuva eri omukyala eyasanga akapapula mu mulyango gwe akamuyita mu lukuŋŋaana. Yeekwekanga ng’Abajulirwa ba Yakuwa bagenze mu maka ge. Yawandiika nti: “Nnalina amaka agalabika obulungi, omwami omulungi, era nga ndowooza nti nnina buli kimu ekyandindeetedde essanyu. Naye saali musanyufu, era n’obulamu bwange tebwalina kigendererwa. Bwe kityo, nnavuga emmotoka mayiro eziwerera ddala 200 nsobole okubaawo ku Lwomukaaga.” Yanyumirwa nnyo olukuŋŋaana n’akubira bba essimu okumutegeeza nti yali agenda kusigala asobole okubaawo ne ku Ssande. Omukyala oyo yagamba nti, “Nnawuliriza bulungi emboozi zonna, nnanyumyako n’Abajulirwa ba Yakuwa bangi, era nnali saagala lukuŋŋaana olwo luggwe.” Bwe yaddayo eka, yatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma lw’emyezi ena yafuuka omubuulizi atali mubatize. Yawunzika agamba nti, “Ndi musanyufu nnyo olw’okuba nnasanga akapapula ako mu mulyango gwange kubanga kati obulamu bwange bulina ekigendererwa!”

Abamu ku abo be tunaawa obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana bajja kujja. N’olwekyo weenyigire mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Obupapula obunaaba busigaddewo, genda nabwo mu kitundu awanaabeera olukuŋŋaana obukozese okuwa obujulirwa embagirawo.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Tunaagaba Tutya Obupapula Obuyita Abantu?

Okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, tusaanidde okuba mu bufunze. Tuyinza okugamba nti: “Nkulamusizza ssebo [oba nnyabo]. Tuli mu kaweefube akolebwa okwetooloola ensi yonna ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene. Kano ke kako. Bw’onookasoma ojja kumanya ebisingawo.” Yogera n’ebbugumu. Bwe muba mubugaba ku wiikendi, muyinza okugabirako magazini.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza