Enteekateeka eya Wiiki Etandika Jjuuni 29
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 29
Oluyimba 9 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 26 ¶18-23, akas. ku lup. 269 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Bassekabaka 3-6 (Ddak. 8)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Jjukira ennaku ez’edda.”—Ma. 32:7.
Ddak. 10: Kiba Kiseera kya Ssanyu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2012, olupapula 31-32, akatundu 15-19. Leetera abawuliriza okwesunga ebyo ebinaaba mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olunaatera okubaawo. Kubiriza bonna okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu programu y’olukuŋŋaana olwo eri ku mukutu jw.org.
Ddak. 10: Eby’Okugaba mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo. Yogera ku ebyo ebiri mu bitabo ebinaagabibwa, era olage ekyokulabirako ng’omubuulizi ayambako omubuulizi omupya okuteekateeka ennyanjula.
Ddak. 10: Ganyulwa mu Katabo Yearbook aka 2015. Kukubaganya birowoozo. Yogera ebimu ku ebyo ebiri mu bbaluwa eyawandiikibwa Akakiiko Akafuzi eri ku lupapula 4-7. Saba abawuliriza boogere ku bintu ebyewuunyisa ebiri mu lipoota y’ensi yonna. Kubiriza bonna okusoma akatabo Yearbook bakamaleko.
Oluyimba 108 n’Okusaba