Okwejjukanya
Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika Jjuuni 29, 2015. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero lya buli wiiki.
Lwaki engeri Mikali gye yayogeramu ne Dawudi yali nkyamu, era kino abafumbo bakiyigirako ki? (2 Sam. 6:20-23) [May. 11, w11 10/1 lup. 11 kat. 9]
Nnabbi Nasani yeeyisa atya Yakuwa bwe yamunenya olw’okugamba Dawudi azimbire Yakuwa yeekaalu? (2 Sam. 7:2, 3) [May. 11, w12 2/15 lup. 24 kat. 6-7]
Lwaki Nasani yagerera Dawudi olugero oluli mu 2 Samwiri 12:1-7 mu kifo ky’okumubuulira butereevu nti yali akoze ensobi ey’amaanyi? Ekyo kiyinza kitya okutuyamba okubeera abayigiriza abalungi? [May. 18, w12 2/15 lup. 24 kat. 2-3]
Lwaki Abusaalomu yasobola okulimba Abaisiraeri, era leero tuyinza tutya okwewala abantu abalinga Abusaalomu? (2 Sam. 15:6) [May. 25, w12 7/15 lup. 13 kat. 7]
Dawudi bwe yali mu bwetaavu Yakuwa yamulabirira atya, era ekyo tukiyigirako ki? (2 Sam. 17:27-29) [Jun. 1, w08 9/15 lup. 5, 6 kat. 15-16]
Kiki kye tuyigira ku ngeri Dawudi gye yakolaganamu n’omusajja ayitibwa Ittayi eyali omugwira? (2 Sam. 18:2) [Jun. 1, w09 5/15 lup. 27 kat. 7]
Bannamukadde abali mu kibiina baganyulwa batya bwe basoma ebyo ebikwata ku Baluzirayi? (2 Sam. 19:33-35) [Jun. 8, w07-E 7/15 lup. 15 kat. 1-2]
Ebigambo bya Dawudi ebikwata ku kuba abeesigwa bizzaamu bitya abaweereza ba Katonda amaanyi? (2 Sam. 22:26, NW) [Jun. 15, w10-E 6/1 lup. 26 kat. 6-7]
Nasani yakiraga atya nti mwesigwa eri Katonda era tuyinza kumukoppa tutya? (1 Bassek. 1:11-14) [Jun. 22, w12 2/15 lup. 25 kat. 1, 4-5]
Ndowooza ki enkyamu omuntu z’ayinza okufuna ne zimuviirako okumenya amateeka ga Katonda, nga Sulemaani bwe yakola? (1 Bassek. 3:1) [Jun. 29, w11 12/15 lup. 10 kat. 12-14]