JJUUNI 8-14, 2026
OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
“Katonda ow’Amazima” Bulijjo Atuukiriza Ekigendererwa Kye
“Ai Yakuwa Katonda ow’amazima onnunudde.”—ZAB. 31:5, obugambo obuli wansi.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okuleeta ensi empya, era nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kukomya obulimba bwa Sitaani.
1. Okusinziira ku Zabbuli 31:2-5, lwaki tusobola okwesiga Yakuwa?
ENSI gye tulimu efugibwa Sitaani era ejjudde obulimba. Si kyangu kumanya ani gwe tuyinza okwesiga. Abasuubuzi tebayisa bulungi abo be bavuganya nabo mu bizineesi. Abo abakuba obulango balimbalimba abantu nga baagala okubaleetera okugula ebyo bye batunda. Ate era abantu abamu kibazibuwalira okwesiga ne mikwano gyabwe egy’oku lusegere. Kyokka kitusanyusa nnyo okukimanya nti bulijjo tusobola okwesiga Yakuwa, “Katonda ow’amazima.” (Soma Zabbuli 31:2-5, obugambo obuli wansi.) Yakuwa buli ky’ayogera kiba kya mazima era talimba. Tuli bakakafu nti buli ky’ayogera ajja kukituukiriza kubanga yeesigika.
2. Biki bye tugenda okuyiga mu kitundu kino?
2 Mu kitundu kino, tugenda kusooka tulabe ensonga lwaki tusobola okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Ate era tugenda kulaba engeri Katonda ow’amazima gy’ajja okuzikirizaamu ensi ya Sitaani, era n’ekyo ky’akola mu kiseera kino okutuukiriza ekigendererwa kye. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okubeera abavumu tweyongere okubuulira abalala amazima agakwata ku Yakuwa.
ENSONGA LWAKI TUSOBOLA OKWESIGA KATONDA OW’AMAZIMA
3. Lwaki tusobola okwesigira ddala Yakuwa?
3 Tusobola okwesiga Yakuwa kubanga ye Mutonzi. Ye yakola eggulu n’ensi era ye Nsibuko y’obulamu bwonna. (Lub. 1:1; Zab. 36:9; Kub. 4:11) Ate era y’Abeesaawo obulamu. Yatonda ensi ng’eriko byonna bye twetaaga okusobola okubeera abalamu. Y’alina obuyinza ku bwengula era ajja kweyongera okuba n’obuyinza ku bitonde byonna emirembe n’emirembe. Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi era ng’alina amagezi n’amaanyi mangi, tusobola okumwesiga nti ajja kutuwa obulagirizi mu bulamu bwaffe mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso.
4. Tumanyira ku ki nti Yakuwa atwagala nnyo?
4 Tusobola okwesiga Yakuwa kubanga atwagala nnyo. Yakuwa yatonda abantu ng’ayagala babeere balamu era banyumirwe obulamu nga ye. Bwe yali ayogera ku kigendererwa kye yalina ng’atonda abantu, Yakuwa yagamba nti: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, ng’alinga ffe.” (Lub. 1:26) Yatutonda nga tulina eddembe ery’okwesalirawo, era yatuwa ensi erabika obulungi. (Zab. 115:16) Yawa bazadde baffe abaasooka obuvunaanyizibwa obw’okufuula ensi olusuku olulabika obulungi ennyo. (Lub. 1:28; 2:15) Ate era yabawa ebintu ebirungi bingi ebyandibasobozesezza okuba abasanyufu n’okunyumirwa obulamu. Mazima ddala, ebyo byonna biraga nti “emirembe n’emirembe Yakuwa alaga okwagala kwe okutajjulukuka.”—Zab. 103:17.
5. (a) Kiki Yakuwa kye yakola Adamu ne Kaawa bwe baamujeemera? (b) Ebimu ku bisuubizo bya Katonda ebyatuukirira bye biruwa? (Laba akasanduuko “Bulijjo Yakuwa by’Asuubiza Bituukirira.”)
5 Tusobola okwesiga Yakuwa kubanga bulijjo atuukiriza by’asuubiza. Yakuwa ensi “teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.” (Is. 45:18, 19) Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Yakuwa baasalirwa ogw’okufa. Mu kiseera ekyo, ekigendererwa kya Katonda kyalabika ng’ekitajja kutuukirira. Naye Yakuwa atuukiriza byonna by’asuubiza. (Is. 46:10, 11) Ekigendererwa kye eky’okujjuza ensi abantu abatuukiridde tekyakyuka. Eyo y’ensonga lwaki Yakuwa yaleka Adamu ne Kaawa okuzaala abaana. Ate era yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka, okuwaayo ekinunulo, asobole okununula bazzukulu ba Adamu, era abasobozese okubeera n’essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna.—Yok. 3:16.
KATONDA OW’AMAZIMA ATUUKIRIZA EKIGENDERERWA KYE
6. Kiki Yakuwa kye yayogera oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema?
6 Oyo eyaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda, Bayibuli emuyita “Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani.”a (Kub. 12:9; Lub. 3:4, 5; Yok. 8:44) Yakuwa yasalira Sitaani omusango era n’agamba nti mu biseera eby’omu maaso ajja kumuzikiriza. (Lub. 3:15) Naye ng’ekyo tekinnabaawo, abantu bangi bandigoberedde Sitaani era ne beeyisa nga ye. Kyokka, abantu abamu bandisigadde nga beesigwa eri Yakuwa.
7. Baani abagoberera Sitaani, era kiki ekijja okubatuukako?
7 Mu abo abagoberera Sitaani, mulimu bamalayika abaajeemera Yakuwa, era mulimu n’abantu abataagala kugondera Katonda. Olw’okuba bamalayika abo n’abantu abo baziyiza ekigendererwa kya Katonda, bafuuka zzadde lya Sitaani. Naye mu kiseera kya Katonda ekituufu, Sitaani n’abo abamugoberera bajja kuzikirizibwa.—Dan. 2:44; Bar. 16:20.
8. Kiki Yesu kye yakola mu 1914? (Laba n’ebifaananyi.)
8 Bukakafu ki obulaga nti ekyo Yakuwa kye yasuubiza eky’okuzikiriza Sitaani n’abo abamugoberera kijja kutuukirira? Mu 1914, mu ggulu waaliyo olutalo, era Yesu yalwanyisa Sitaani ne badayimooni be n’abawangula era n’abasuula wano ku nsi. (Kub. 12:7-9) Wadde ng’olutalo olwo lwali mu ggulu, abantu abali ku nsi bakyakosebwa ebyo ebyava mu lutalo olwo. Bayibuli egamba nti: “Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Kub. 12:12) Okuva mu 1914, Sitaani abadde n’ekigendererwa eky’okuleetera abantu bangi nga bwe kisoboka okudda ku ludda lwe. N’ekivuddemu, ebizibu mu nsi byeyongedde obungi. Kyokka mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja ‘kumaliriza okuwangula kwe,’ era Sitaani n’abo bonna abamuwagira bajja kuzikirizibwa. (Kub. 6:2) Mu kiseera ekyo Yesu ajja kugulumiza erinnya lya Yakuwa era teririddamu kwogerwako bya bulimba. (Zab. 45:4-6) Buli omu ajja kukimanya nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima!—Ezk. 38:23.
World War I: U.S. National Archives photo; bomb: USAF photo; pandemic: blvdone/stock.adobe.com; riot: inhauscreative/E+ via Getty Images
Okuva mu 1914, embeera y’ensi yeeyongedde okuba embi (Laba akatundu 8)
KATONDA OW’AMAZIMA AKUŊŊAANYA BONNA ABAAGALA AMAZIMA
9. Baani Yakuwa b’akuŋŋaanya leero?
9 Mu kiseera kino, Yakuwa akuŋŋaanya “ebintu byonna mu Kristo, ebintu eby’omu ggulu n’eby’oku nsi.” (Bef. 1:10) “Ebintu eby’omu ggulu” be Bakristaayo abaafukibwako amafuta Yakuwa be yalonda okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Ebintu ‘eby’oku nsi’ be bantu abagenda okubeera ku nsi efuuliddwa olusuku lwa Katonda emirembe gyonna. Abaweereza ba Yakuwa abo babuulira n’obunyiikivu era bayamba abantu okumanya amazima agakwata ku Yakuwa n’okukiraga nti Sitaani mubi era mulimba.
10. Yakuwa ayamba atya abantu okuyiga amazima? (Okubikkulirwa 14:6, 7)
10 Yakuwa akuŋŋaanya abo bonna abaagala amazima ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira ogukyasinzeeyo mu byafaayo by’abantu. (Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.) Wadde nga Yakuwa akozesa abantu okubuulira abalala amawulire amalungi, bamalayika nabo beenyigidde mu mulimu ogwo ogw’okukuŋŋaanya abantu ab’emitima emirungi okubaleeta mu kibiina Ekikristaayo. Okumala ebyasa bingi, Omulyolyomi akozesezza Babulooni ekinene, kwe kugamba, amadiini gonna ag’obulimba, okuyigiriza ebintu eby’obulimba ku Yakuwa. Omulimu gw’okubuulira gwe tukola gwanika eby’obulimba ebyogerwa ku Yakuwa. (Kub. 18:2, 4) Mu kiseera ekitali kya wala, amadiini gonna ag’obulimba gajja kuzikirizibwa, era abo abaagala Katonda ow’amazima bajja kumuwa ekitiibwa ekimugwanira.—Kub. 17:16.
11. Abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu tubamanyira ku ki?
11 Abo abaagala amazima bava mu mbeera za njawulo, obuwangwa bwa njawulo, ne mu mawanga ga njawulo. (Kub. 7:9, 10) Bwe baawulira “amawulire amalungi,” baakiraba nti bazudde amazima, era baasanyuka nnyo okweyunga ku bantu ba Yakuwa. (Mak. 13:10) Ekiseera bwe kigenze kiyitawo, kyeyolese lwatu nti waliwo enjawulo wakati w’abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu, n’abo abatamusinza. Nnabbi Malaki yagamba nti: “Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” (Mal. 3:18) Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’engeri gye beeyisaamu, abaweereza ba Yakuwa bakiraga nti basinza Katonda ow’amazima.
12. Omulimu gw’okubuulira guyamba gutya mu kutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa?
12 Bwe tubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka,’ tuba tugondera ekiragiro kya Yesu ate nga mu kiseera kye kimu tutuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli. (Mat. 24:14; 28:18-20) Olw’okuba tukola omulimu guno, abantu okwetooloola ensi bafuuse abagoberezi ba Kristo, era balina essuubi ery’okusinza Katonda ow’amazima emirembe gyonna. Mazima ddala Yakuwa atuwadde enkizo ey’amaanyi, okukolera awamu naye okutuukiriza ekigendererwa kye!
BEERA MUKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUTUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE
13. Okusingira ddala baani Sitaani b’ayagala okuyigganya, era lwaki?
13 Sitaani Omulyolyomi alina obusungu bungi nnyo kubanga akimanyi nti “alina akaseera katono,” era anaatera okuzikirizibwa awamu n’ensi ye. (Kub. 12:12, 13) Okusingira ddala, ayagala okuyigganya abo Yakuwa b’alonze okufugira awamu ne Yesu, “abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.” (Kub. 12:17; 14:12) Ate era buli awagira abaafukibwako amafuta n’omulimu gwe bakola, Sitaani ayagala okumuyigganya.
14. Kiki ekinaabaawo Sitaani bw’anaalumba abantu ba Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi ddiba.)
14 Oluvannyuma lw’okuzikiriza Babulooni ekinene, Sitaani n’abo abamuwagira bajja kulumba abantu ba Yakuwa. Bwe banaalumba abantu ba Yakuwa, kijja kuviirako olutalo Amagedoni okutandika. (Kub. 16:13, 14, 16) Yesu n’eggye ery’omu ggulu bajja kununula abantu ba Yakuwa era bazikiririze ddala ensi ya Sitaani. (Kub. 19:19-21) Abantu abalimba n’ababi bajja kuba tebakyaliwo. (Kub. 21:8) Katonda ow’amazima era ow’obutuukirivu ajja kugulumizibwa.
Yesu n’eggye lye ery’omu ggulu nga bazikiriza abalabe ba Katonda ku lutalo Amagedoni (Laba akatundu 14)
15. Lwaki tetutya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso? (Isaaya 65:16, 17) (Laba n’ekifaananyi.)
15 Leero bantu bangi mu nsi beeyawuddeyawuddemu okusinga bwe kyali kibadde. Naye olw’obuyambi bwa Yakuwa, abaweereza be basobodde okusigala nga bali bumu. Yakuwa akyeyongera okukuŋŋaanya abo bonna abaagala amazima n’abaleeta mu kibiina kye. Tewali ayinza kulemesa Yakuwa kuwa bantu be mukisa n’okuwagira omulimu gwe bakola. (Soma Isaaya 65:16, 17.) Tuli bakakafu nti ebyo byonna Yakuwa by’asuubiza bijja kutuukirira. Mu Abaruumi 8:38, 39 omutume Pawulo yagamba nti: “Ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi, oba bugulumivu, oba buziba, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”
Mu nsi empya, ebizibu bye tulina mu kiseera kino tetulibijjukira (Laba akatundu 15)
16. Lwaki weesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna?
16 Tulina ensonga nnyingi ezituleetera okwesiga Yakuwa, Katonda ow’amazima. Ye Mutonzi. Atwagala nnyo. Ate era, ab’ekibiina ekinene beeyongera obungi kubanga abantu ab’omu mawanga gonna batweyungako mu kusinza Yakuwa. (Is. 60:22; Zek. 8:23) Tukimanyi nti bulijjo Yakuwa atuukiriza by’asuubiza era nti mu kiseera ekitali kya wala agenda kuzikiriza ensi ya Sitaani ejjudde obulimba. Tukkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi bino, bwe yasaba nti: “Yakuwa Katonda atenderezebwe, . . . oyo yekka akola ebintu eby’ekitalo. Erinnya lye ery’ekitiibwa ka litenderezebwenga emirembe n’emirembe, era ekitiibwa kye ka kijjule ensi yonna.”—Zab. 72:18, 19.
OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa
a Erinnya lya malayika oyo omubi era eyajeema teryogerwa. Bayibuli bw’eba emwogerako ekozesa ebigambo nga “Omulyolyomi” [Awaayiriza abalala] ne “Sitaani” [Omuziyiza].