LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maaki lup. 8-13
  • Weesige Omufuzi w’Obutonde Bwonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weesige Omufuzi w’Obutonde Bwonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • SITAANI AJJA MU MAASO GA YAKUWA NE BAMALAYIKA
  • YAKUWA ASOBOLA OKUSSAAWO EKKOMO
  • YAKUWA AKOMYA OKUBONAABONA KWA YOBU
  • YAKUWA AYAGALA ABAWEEREZA BE ABEESIGWA
  • WEYONGERE OKWESIGIRA DDALA YAKUWA
  • Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okutuyamba nga Tulina Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Oyinza Otya Okufuuka Mukwano gwa Katonda?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maaki lup. 8-13

MAAYI 11-17, 2026

OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe

Weesige Omufuzi w’Obutonde Bwonna

“Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”—ZAB. 83:18.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna n’okuba abakakafu nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu mu kiseera kino, ne mu biseera eby’omu maaso.

1. Bizibu ki eby’amaanyi Yobu bye yafuna?

YOBU, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi, yafuna ebizibu bingi eby’omuddiriŋŋanwa. Abaana be baafa, yafuna obulwadde obw’amaanyi, era eby’obugagga bye byasaanawo. Okugatta ku ekyo, abantu bangi baalekera awo okumussaamu ekitiibwa. Kyokka n’abo abaali beeyita mikwano gye, bingi ku bye baayogera byali bimalamu bumazi maanyi. Ne mukyala we kennyini yasoberwa n’atuuka n’okumugamba nti: “Weegaane Katonda ofe!” (Yob. 2:9; 15:​4, 5; 19:​1-3) Ebizibu ebyo eby’omuddiriŋŋanwa byali bisobola okuleetera Yobu okulekera awo okwesiga Katonda n’okutandika okubuusabuusa obanga Yakuwa asobola okukuuma abo abamwagala era abamuweereza.

2-3. Bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi kiki kye tuyinza okutandika okulowooza, era biki bye tugenda okuyiga mu kitabo kya Yobu?

2 Oluusi naffe tufuna ebizibu ebiyinza okutuleetera okubuusabuusa obanga Yakuwa asobola okutuyamba. Ebiseera bye tulimu “bizibu nnyo.” (2 Tim. 3:1) Bwe tufuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa tuyinza okuwulira nga tuzitoowereddwa era nga tetukyasobola kugumiikiriza. Abamu bwe bafuna ebizibu ng’ebyo bayinza n’okutandika okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa abafaako.

3 Bw’oba wali weewuliddeko bw’otyo, toggwaamu maanyi. Yobu yakitegeera nti Yakuwa tasobola kwabulira abo abamuweereza n’obwesigwa. Okufaananako Yobu, naffe tusobola okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu tasobola kutwabulira. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bibiri bye tuyiga mu kitabo kya Yobu ebituyamba okuba abakakafu nti Yakuwa tasobola kutwabulira: Ekisooka, Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Ekyokubiri, alina amaanyi okutuukiriza ekigendererwa kye era n’okukuuma abaweereza be ne batatuukibwako kabi ka lubeerera mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.

SITAANI AJJA MU MAASO GA YAKUWA NE BAMALAYIKA

4. Baani abaali mu lukuŋŋaana olwali mu ggulu olwogerwako mu kitabo kya Yobu?

4 Lumu “abaana ba Katonda ow’amazima” baakuŋŋaana mu maaso ga Yakuwa mu ggulu. Bayibuli egamba nti: “Sitaani naye n’agendera mu bo.” (Yob. 1:6) Guno gwe mulundi Bayibuli lw’esooka okwogera ku mulabe wa Yakuwa oyo akyasinze ng’ekozesa erinnya “Sitaani.” Ayitibwa bw’atyo kubanga aziyiza Yakuwa. Mu kiseera ekyo, Sitaani yali takyali omu ku baana ba Katonda abeesigwa. Yali afuuse mulabe wa Yakuwa n’abo abali mu maka ge, nga muno mulimu bamalayika mu ggulu n’abantu ku nsi. Yakuwa yakiraga nti Sitaani yali takyali omu ku b’omu maka ge, bwe yayogera ebigambo ebiri mu Olubereberye 3:15. Bwe kityo, Sitaani yali takyali kitundu kya ‘mukazi,’ kwe kugamba, amaka ga Yakuwa agalimu ebitonde eby’omwoyo era agandivuddemu ‘ezzadde.’

5. Biki bye tuyigira ku ebyo ebyayogerwa mu lukuŋŋaana olwaliwo mu ggulu?

5 Ebyo ebyaliwo mu ggulu Yakuwa yabiwandiisa mu Bayibuli. Sitaani bye yayogera biraga nti mubi nnyo era nti awaayiriza abo abaweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Yob. 1:9; geraageranya Okubikkulirwa 12:10.) Okuba nti Yakuwa yawandiisa mu Bayibuli ebyo ebyaliwo mu ggulu, kitukakasa nti akozesa obuyinza bwe mu ngeri etuukiridde era ey’obwenkanya. Ate era kituyamba okukitegeera nti olw’okuba ye Muyinza w’Ebintu Byonna, asobola okussa ekkomo ku ebyo abalala bye bakola.

YAKUWA ASOBOLA OKUSSAAWO EKKOMO

6. Yakuwa yakiraga atya nti y’alina obuyinza obusingiridde? (Yobu 1:​7, 8)

6 Soma Yobu 1:​7, 8. Mu lukuŋŋaana olwo, Yakuwa yakiraga nti alina obuyinza obusingiridde. Yabuuza Sitaani nti: “Olowoozezza ku muweereza wange Yobu?” Yakuwa yali akimanyi bulungi nti Sitaani yali ayagala kulumba Yobu. Kati ka tulabe engeri Yakuwa gye yandikozesezaamu amaanyi ge okuyamba Yobu.

7. Okusinziira ku Yobu 1:​10, 11, Sitaani yagamba nti nsonga ki ereetera abantu okuweereza Yakuwa?

7 Soma Yobu 1:​10, 11. Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna era akozesa amaanyi ge n’obuyinza bwe mu ngeri gy’alaba nti y’egwanira. (Yer. 32:17; Dan. 4:35) Kyokka wadde kiri kityo, Sitaani yagamba nti Yakuwa takozesa buyinza bwe mu ngeri ya bwenkanya. Mu kwogera bw’atyo Sitaani yali ng’agamba nti Katonda agulirira abantu, gamba nga Yobu, okumuweereza. Ate era Sitaani yagamba nti abo abaweereza Yakuwa tebakikola okuviira ddala ku mutima, wabula nti bamuweereza olw’okuba Yakuwa alina by’abawa. Kiki Yakuwa kye yakolawo?

8-9. Kkomo ki Yakuwa lye yateerawo Sitaani, era lwaki? (Yobu 1:12) (Laba n’ekifaananyi.)

8 Soma Yobu 1:12. Yakuwa yaleka Sitaani okugezesa Yobu naye yamuteerawo ekkomo. Yakuwa yagamba Sitaani nti: “[Yobu] tomukwatako!” Bamalayika bonna abaaliwo baawulira nga Yakuwa awa Sitaani ekiragiro ekyo. Sitaani yali talina kintu kyonna ky’asobola kukola kutuusa bulabe ku Yobu, kubanga Yakuwa yali amutaddeko ekkomo. Ne leero bwe kityo bwe kiri. Yakuwa atadde ekkomo ku bintu ebibi Sitaani by’ayinza okututuusaako. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yakozesa obuyinza bwe n’amaanyi ge okukuuma Yobu n’okukiraga nti Katonda mwenkanya era wa kwagala.

9 Olukwe Sitaani lwe yasooka okukola lwagwa butaka. Yobu yasigala mwesigwa eri Kitaawe ow’omu ggulu. (Yob. 1:22) Kyokka Sitaani yali agenda kweyongera okugezesa Yobu.

Sitaani ng’ali mu ggulu ayogera ne Yakuwa nga tamussaamu kitiibwa mu maaso ga bamalayika.

Yakuwa yaleka Sitaani okukakasa obanga ddala bye yali ayogera byali bituufu (Laba akatundu 8-9)


10. Lwaki Yakuwa yaleka Sitaani okuddamu okugezesa Yobu? (Yobu 2:​2-6)

10 Soma Yobu 2:​2-6. Ku mulundi guno, Sitaani yayagala okukola Yobu ekintu ekibi ennyo okumuleetera okulekera awo okuweereza Katonda. Sitaani yagamba nti Yobu yandyegaanye Katonda okusobola okuwonyaawo obulamu bwe. Okulaga nti Sitaani mulimba, Yakuwa yamuleka okuleetera Yobu obulwadde obw’amaanyi ennyo. Naye ne ku luno Yakuwa yateerawo Sitaani ekkomo ng’amugamba nti: “Tomutta!” Sitaani ne bwe yandibadde ayagala nnyo, yali tasobola kusukka kkomo eryo Yakuwa lye yali ataddewo. Ne ku luno Yakuwa yakiraga nti ye Muyinza w’Ebintu Byonna, ng’assa ekkomo ku bintu ebibi Sitaani bye yali asobola okutuusa ku Yobu.

YAKUWA AKOMYA OKUBONAABONA KWA YOBU

11. Mikisa ki Yakuwa gye yawa Yobu oluvannyuma lw’okukomya okubonaabona kwe? (Yobu 42:​10-13)

11 Soma Yobu 42:​10-13. Yobu teyekkiriranya era yasigala mwesigwa eri Yakuwa, era Yakuwa teyaddamu kukkiriza Sitaani kumulumba. Yakuwa yabaako ky’akolawo okukomya okubonaabona kw’omuweereza we oyo ow’omuwendo. Ne ku mulundi guno kyeyoleka kaati nti Sitaani teyalina maanyi kulemesa ekyo Yakuwa kye yali asazeewo. Sitaani teyaddamu kukkirizibwa kulumba Yobu butereevu.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okununula abo abamwesiga.

12 Mu nnaku zino ez’enkomerero, Yakuwa akozesezza amaanyi ge okuyamba abaweereza be bangi. Ng’ekyokulabirako, mu 1945 amagye g’Abanazi gaawaliriza Abajulirwa ba Yakuwa 230 okutindigga olugendo oluwanvu ennyo. Wadde ng’olugendo olwo lwali lwa bulabe, tewali n’omu ku bo yafa. Mu kiwandiiko abaweereza ba Yakuwa abo kye bawandiika nga boogera ku mbeera embi gye baali bayiseemu, baalaga ekyo kye baali bamaliridde okukola. Baagamba nti: “Tuyise mu kugezesebwa okw’amaanyi era tulinga abava mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja kyokka tetuwunya wadde omukka. . . . Wadde nga tuyise mu mbeera enzibu, Yakuwa atuwadde amaanyi mangi.” Baagattako nti: “Kati nga bwe tuvudde mu kinnya ky’empologoma . . . ekintu kye tuyaayaanira okukola kiri kimu . . . kwe kuweereza Yakuwa emirembe gyonna era eyo y’empeera esingayo gye tuyinza okufuna.”—Geraageranya Danyeri 3:27; 6:22.

13. Bwe tuba twolekagana n’ebizibu, tusaanidde kuba bakakafu ku ki? (Laba n’ebifaananyi.)

13 Ebiseera ebimu naffe tuyinza okwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi era ne tuwulira ng’abasuuliddwa mu kinnya ky’empologoma. (1 Peet. 5:​8-10) Oluusi tuyinza okuggwaamu ennyo amaanyi olw’ebizibu bye tuba twolekagana nabyo era ne twebuuza obanga ekiseera kirituuka ebizibu ebyo ne biggwaawo. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo, okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yobu kisobola okutuyamba. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kukozesa amaanyi ge okukomya okubonaabona kwaffe, ka kibe nti anaakikola mu kiseera kino oba mu nsi empya. Yakuwa yateekawo dda ekiseera lw’ajja okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani eno embi era ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, tejja kweyongera kubeerawo!

Ebifaananyi: Abaweereza ba Yakuwa ababonaabona mu ngeri ez’enjawulo. 1. Ow’oluganda omuto ng’abudaabuda ow’oluganda akaddiye akungubaga nga bali ku ntaana. 2. Abazadde bali ne kawala kaabwe akalwadde mu ddwaliro. 3. Ow’oluganda omusibe ng’akozesa ekitiiyo okusima; waali waliwo ebbugumu lingi era waliwo omusirikale akutte emmundu amukuuma.

Yakuwa ajja kumalawo okubonaabona abaweereza be abeesigwa kwe bayitamu (Laba akatundu 13)


YAKUWA AYAGALA ABAWEEREZA BE ABEESIGWA

14-15. Kiki Yakuwa ky’ayagala okukolera abo abamuweereza n’obwesigwa? (Yobu 14:15) (Laba ku ddiba.)

14 Soma Yobu 14:15. Kitaffe ow’omu ggulu ayagala nnyo abo abamuweereza n’obwesigwa. Abatwala nga ba muwendo nnyo gy’ali ne kiba nti bwe bafa aba yeesunga ekiseera lw’ajja okubazuukiza. Bw’anaabazuukiza, wajja kubaawo essanyu lingi.—Is. 65:17.

15 Wadde nga Yobu yeeyongera okubeera mu nsi efugibwa Sitaani, Bayibuli eraga nti Yakuwa yamuwonya obulwadde, era n’amukolera ebirungi bingi okusinga ku ebyo bye yali amukoledde nga tannagezesebwa. Naye mu nsi empya, Yakuwa ajja kuwa Yobu emikisa mingi n’okusinga ku egyo gye yali amuwadde. Yakuwa ayagala abo bonna abamuweereza n’obwesigwa banyumirwe obulamu era babeere basanyufu. Mu butuufu, Yakuwa ajja kuwa abo bonna abakiraga nti beesigwa gy’ali enkizo ey’okunyumirwa obulamu mu nsi empya nga bafuuse abantu abatuukiridde. (Kub. 21:​3, 4) Ekyo Yakuwa ky’ayagala okukolera abaweereza be abeesigwa, era tewali ayinza kumulemesa kukikola kubanga ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Okukimanya nti Yakuwa ajja kutuyamba kitubudaabuda nnyo nga twolekagana n’ebizibu!

Yobu mulamu bulungi, ayambadde bulungi, era ye ne mukyala we mikwano gyabwe babakyalidde.

Oluvannyuma lwa Yobu okubonaabona, ye ne mukyala we Yakuwa yabawa emikisa mingi (Laba akatundu 14-15)


16. Nsonga ki endala etuleetera okwesiga Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna?

16 Wadde nga Yobu yawangaala emyaka mingi, yamala n’afa. Naye Yakuwa ajja kumuzuukiza kubanga ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna era ye Muyinza w’Ebintu Byonna. (Ma. 32:39) Yakuwa yateekawo ekiseera lw’anaazuukiza abo bonna b’ayagala, era tewali asobola kumulemesa kubazuukiza.—Bar. 8:​38, 39.

WEYONGERE OKWESIGIRA DDALA YAKUWA

17. Kiki ekiraga nti Sitaani alemereddwa okusaanyaawo abantu ba Yakuwa?

17 Bye tusoma mu kitabo kya Yobu bitulaga nti kikulu okwesigira ddala Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo kubanga Yakuwa takkiriza Sitaani kusaanyaawo bantu ba Katonda! Leero waliwo abantu ng’obukadde mwenda abaweereza Yakuwa n’obwesigwa era abakiraze nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Emirundi mingi tukirabye nti abo bonna abagezzezaako okulwanyisa abantu ba Yakuwa tebasobodde kutuuka ku buwanguzi. (Is. 54:17) Wadde ng’abantu ba Katonda bayinza okulabika ng’abatalina bukuumi, gavumenti ez’amaanyi n’abakulembeze b’amadiini, tebasobodde kubasanyaawo. Tewali kisobola kutulemesa kubuulira mazima agakwata ku Yakuwa n’okukiraga nti Sitaani mulimba era mussi. Ka kube kufa tekusobola kutulemesa kubanga Yakuwa ajja kuzuukiza abaweereza be abafa nga beesigwa.—Kos. 13:14.

18. Lwaki tetusaanidde kutya ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

18 Okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu kitabo kya Yobu kituyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe, n’okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba mu biseera eby’omu maaso era nti tetusaanidde kutya. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Sitaani n’eggye lye bajja kulaba ng’abantu ba Katonda balinga abatalina bukuumi era bajja kubalumba. Naye nga bwe kyali mu kiseera kya Yobu, ne mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kukozesa amaanyi ge era tajja kukkiriza Sitaani kubaleetako kabi ka lubeerera. Ekiseera kinaatera okutuuka Yakuwa amalewo okubonaabona kwonna Sitaani kw’aleetedde abantu. Omulyolyomi ne badayimooni be bajja kusibibwa mu bunnya okumala emyaka 1,000. (Luk. 8:31; Kub. 20:​1-3) Oluvannyuma, Sitaani n’abo bonna abamuwagira bajja kuzikirizibwa. (Kub. 20:10) Nga Yakuwa bwe yagamba, omutwe gwa Sitaani gujja kubetentebwa. Ajja kuzikirizibwa era taliddamu kubaawo.—Lub. 3:15; Bar. 16:20.

19. Mikisa ki egirindiridde abo abeesiga Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

19 Abo abasinza mu ngeri entuufu beesunga ensi empya eneetera okutuuka kubanga tujja kuba tutuukiridde era nga tuli basanyufu. Obulamu bujja kuba bulungi nnyo n’okusinga bwe tuyinza okuteebereza. Yakuwa atusuubiza nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” (Kub. 21:5) Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Bitegeeza nti kyaddaaki Sitaani ne badayimooni be bajja kuba tebakyasobola kutuusa bulabe ku bantu wadde okubaleetera okukola ebintu ebibi. Mu kiseera ekyo tujja kufuna obuweerero! Olw’okuba wajja kuba tewakyaliwo bizibu mu nsi, tojja kubulwa tulo olw’okweraliikirira. Abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja kulaba abantu nga bawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. Okugatta ku ekyo, abantu baffe abaafa bajja kutandika okuzuukizibwa. Tujja kubeera mu bulamu obulungi Yakuwa bwe yali atwagaliza okuva ku ntandikwa!

Ab’oluganda ne bannyinaffe abalagiddwa mu bifaananyi ebivuddeko nga banyumirwa obulamu mu nsi empya. Ow’oluganda eyali akaddiye azze buto era atambulako n’omu ku b’eŋŋanda ze. Abazadde nga batambulako ne muwala waabwe, era kati mulamu bulungi. Ow’oluganda eyali yasibibwa ng’atudde wansi w’omuti asoma Bayibuli era okumpi naye waliwo akaana k’empologoma.

Abo abaaweereza Yakuwa n’obwesigwa era ne bagumira ebizibu, Yakuwa ajja kubawa emikisa mingi (Laba akatundu 19)


20. Omaliridde kukola ki?

20 Mu nnaku zino ez’enkomerero, tuyinza okweyongera okufuna ebizibu, era kitwetaagisa okuba abavumu okusigala nga tuli beesigwa. N’olwekyo ka bulijjo twagalenga nnyo Kitaffe ow’omu ggulu, era tukole kyonna kye tusobola okulaga nti ebyo Sitaani by’ayogera ku Yakuwa bya bulimba. Tuli bakakafu nti bwe tunaasigala nga tuli beesigwa eri Omufuzi w’Obutonde Bwonna, tujja kubeera n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi kubanga ayagala okuwa empeera abo bonna abamuweereza n’obwesigwa!

BYE TUSOMA KU YOBU BIRAGA BITYA NTI . . .

  • Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna?

  • Yakuwa ayagala okuwa empeera abo bonna abamuweereza n’obwesigwa?

  • osobola okwesigira ddala Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna?

OLUYIMBA 153 Mpa Obuvumu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza