JJUUNI 15-21, 2026
OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!
Bw’Ofuna Ebizibu, Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
“Ne bwe mba mu nnaku oba mu buzibu, nsigala njagala nnyo ebiragiro byo.”—ZAB. 119:143.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tufunye ebizibu gye kisobola okutuyamba obutaggweebwako ssanyu lyaffe n’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.
1-2. Kiki kye tusobola okukola obutaggweebwako ssanyu bwe tuba twolekagana n’ebizibu? (Laba n’ekifaananyi.)
OYISIBWA mu ngeri etali ya bwenkanya? Ab’eŋŋanda zo bakuyigganya olw’okuba oweereza Yakuwa? Olina obulwadde obukuluma oba oyolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde? Oba oyolekagana n’ekizibu ekirala eky’amaanyi, gamba ng’okufiirwako omuntu wo? Okufaananako abaweereza ba Yakuwa bangi, naawe obulamu bwo buyinza okuba nga bujjudde “ebizibu n’ennaku.”—Zab. 90:10.
2 Okusobola okusigala nga tuli basanyufu nga twolekagana n’ebizibu, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu ebyo. Lwaki ekyo kikulu? Lowooza ku kyokulabirako kino: Ebizibu by’oyolekagana nabyo mu bulamu tusobola okubigeraageranya ku bintu eby’obulabe by’oyinza okusanga mu kkubo ng’ovuga emmotoka. Okusinziira ku ekyo ky’oba osanze mu kkubo, kiyinza okukwetaagisa okuweta ku kkono oba ku ddyo, okukendeeza ku sipiidi, oba okuyimiriramu okumala akaseera. Kyokka okusobola okusalawo obulungi eky’okukola, olina okuba ng’olaba bulungi ekiri mu kkubo. Naye tosobola kulaba bulungi ebyo ebiri mu kkubo singa endabirwamu yo eba ejjudde enfuufu era ng’eddugala nnyo. Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’obutaggweebwako ssanyu lyaffe nga twolekagana n’ebizibu, embeera tusaanidde okugitunuulira nga Yakuwa bw’agitunuulira. Mu kitundu kino tugenda kulaba (1) endowooza gye tusaanidde okuba nayo nga twolekagana n’ebizibu, (2) engeri okuba n’endowooza enkyamu nga twolekagana n’ebizibu gye kisobola okutukosa, ne (3) bye tusobola okukola okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu bwe tuba twolekagana n’ebizibu.
Tusaanidde okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye tufuna tusobole okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era nga tuli basanyufu (Laba akatundu 2)
ENDOWOOZA GYE TUSAANIDDE OKUBA NAYO NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU
3. Lwaki tetusobola kwewalira ddala bizibu mu nteekateeka eno?
3 Tetusobola kwewalira ddala bizibu mu nteekateeka ya Sitaani eno. Ffenna tufuna ebizibu olw’okuba tuli mu nsi efugibwa Sitaani, era olw’okuba ffenna tetutuukiridde. Ate era, ng’enkomerero y’enteekateeka eno egenda esembera, tujja kweyongera okufuna ebizibu, ka bibe ebyo bye tufuna olw’obutyabaga bw’omu butonde, obutyabaga obuva ku ebyo abantu bye bakola, oba ebiva ku bantu abakola ebintu ebibi. (Mat. 24:8; 2 Tim. 3:13) Singa Yakuwa aggyawo ebizibu byonna bye tufuna mu kiseera kino, aba ng’ayambako Sitaani okufuga ensi. Nga tukyali mu nteekateeka ya Sitaani, tusuubira okufuna ebizibu.—Mub. 9:12.
4. Ensonga endala lwaki tubonaabona y’eruwa?
4 Tufuna ebizibu olw’okuba tuli bagoberezi ba Kristo. Emirundi mingi Yesu yagamba abayigirizwa be nti olw’okuba bamugoberera bajja kuyigganyizibwa. (Mat. 24:9; Yok. 16:2) Ekyo bwe tukimanya tekitutiisa wabula kituyamba okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. (1 Bas. 3:3, 4) Okukkiriza okw’amaanyi kutusobozesa okugumira ebizibu bye tufuna era kutuyamba okusigala ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Ate era bwe tugumira ebizibu, tukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa era nti Sitaani mulimba. Sitaani aleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa ng’agamba nti abantu baweereza Yakuwa olw’okuba baagala okubaako kye beefunira. N’olwekyo Sitaani ayigganya nnyo abaweereza ba Yakuwa ng’alowooza nti bajja kulemererwa okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. (Yob. 1:9-11) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tukiraga nti tumwagala nnyo era ekyo kimusanyusa.—Nge. 27:11.
5. Ebigambo ebiri mu Omubuulizi 7:13, 14, bituyigiriza ki? (Laba n’ebifaananyi.)
5 Yakuwa aleka ebintu ebibi okubaawo. Yakuwa takola bintu bibi era tatugezesa na bintu bibi. (Yak. 1:13) Kyokka wadde kiri kityo, Kabaka Sulemaani yagamba nti ‘olunaku olw’ebizibu’ kye kimu ku “ebyo Katonda ow’amazima bye yakola.” (Soma Omubuulizi 7:13, 14.) Sulemaani yali tategeeza nti Yakuwa y’aleeta ebintu ebibi, wabula yali ategeeza nti ebintu ebibi bwe bibaawo Yakuwa aba abirese bibeewo. Kati olwo kiki kye tuyigira ku bigambo bya Sulemaani ebyo? Ekisooka, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu era ne tukijjukira nti tuli mu nsi ya Sitaani; ekyo kitegeeza nti tujja kubanga n’ennaku ennungi n’ennaku embi. Bwe tuba n’olunaku olulungi, tusaanidde okusiima Katonda olw’obulungi bwe, ng’olunaku olwo tulutwala ng’ekirabo okuva gy’ali. Ekyokubiri, Sulemaani atujjukiza nti tetusobola ‘kutegeera bintu binaatutuukako,’ obanga olunaku lunaatutambulira bulungi, obanga lunabaamu ebizibu. Abantu abatuukirivu n’abatali batuukirivu bonna bafuna ebizibu ebitasuubirwa.
Tusaanidde okukijjukira nti nga tukyali mu nsi ya Sitaani, tujja kubeera n’ennaku ennungi naye era tujja kubeera n’ennaku embi (Laba akatundu 5)
6. Lwaki oluusi Yakuwa ayinza okutuleka okufuna ebizibu? (Abebbulaniya 12:7, 11)
6 Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye twolekagana nabyo, tukiraba nti Yakuwa aba atuyigiriza nti bulijjo tetusaanidde kwesigama ku busobozi bwaffe, wabula nti tusaanidde okumwesiga. Yakuwa alaba ebyo ebitutuukako. Awulira bubi bw’alaba nga tubonaabona era bulijjo aba mwetegefu okutuyamba. Yakuwa ne bw’atuleka okuyita “mu kiwonvu ekikutte enzikiza,” yeeyongera okutuwa obulagirizi, atukakasa nti atwagala, era atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumiikiriza. (Zab. 23:4) Ate era ebizibu bisobola okutuyamba okumanya obunafu bwaffe we buli era ne tusaba Yakuwa atuyambe tusobole okulongoosaamu. (Soma Abebbulaniya 12:7, 11.) Ng’ekyokulabirako, Yobu bwe yafuna ebizibu, yalina okukulaakulanya obwetoowaze. Yakuwa si ye yaleetera Yobu ebizibu bye yafuna; kyokka yabireka okumutuukako era ekyo kyayamba Yobu okubaako ebintu ebikulu by’ayiga. (Yob. 42:1-6) Ka kibe ki ekitutuukako, tukimanyi nti kyonna Yakuwa ky’aleka okututuukako tekiyinza kututuusaako kabi ka lubeerera. Bwe tusigala nga tuli beesigwa, ne tugumira ebizibu bye tufuna, “tuwangula.”—Bar. 8:35-39.
7. Kiki ekisobola okukuyamba okusigala ng’oli musanyufu ne bw’oba ng’oyigganyizibwa olw’okuweereza Yakuwa?
7 Tusobola okuba abasanyufu nga tuyigganyizibwa. Bw’oba oyigganyizibwa olw’okukkiriza kwo, tokitwala nti Yakuwa takyakusiima. Osaanidde okukijjukira nti okuyigganyizibwa olw’okukkiriza kwo kiraga nti osiimibwa Katonda. (Mat. 5:10-12) Okufaananako abatume, naawe bw’onooba n’endowooza ennuŋŋamu, ojja kusigala ng’oli musanyufu ng’oyigganyizibwa olw’okuba omugoberezi wa Kristo. (Bik. 5:40-42) Ate era bw’osigala ng’oli mwesigwa, oyinza okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa okuyiga amazima, ne ‘bagulumiza Katonda.’ (1 Peet. 2:12) Okufaananako Yusufu, naawe osobola okusigala ng’oli musanyufu wadde ng’olina ebizibu.—Lub. 39:3, 23.
8. Nsonga ki endala etuleetera okugumiikiriza nga tufunye ebizibu?
8 Ebizibu bye tulina bijja kuggwaawo. Ebyo bye tusoma ku Yobu biraga nti ne bwe tuba n’ebizibu bingi, ekiseera kituuka ne biggwaawo. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti, “Yakuwa yawa Yobu emikisa mu kiseera ky’obulamu bwe ekyasembayo okusinga ekyasooka.” (Yob. 42:12) Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi nnyo mu nsi empya. Obulamu bwe tulimu mu kiseera kino obuyinza okuba nga bujjudde ebizibu, bumpi nnyo bw’obugeraageranya ku bulamu obutaggwaawo bwe tugenda okufuna mu nsi empya. Ekyo tekyandikubiriza buli omu ku ffe okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero?—Mat. 24:13.
ENGERI ENDOWOOZA ENKYAMU GY’ESOBOLA OKUTUKOSAAMU
9. Ndowooza ki gye tusaanidde okwewala, era lwaki?
9 Ka tube nga twolekagana na bizibu bya maanyi kwenkana wa, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu ebyo kubanga ekyo kijja kutuyamba okwewala okusajjula embeera. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okutandika okulowooza nti Yakuwa y’atuleetedde ebizibu bye tufunye. Okumala ekiseera, Yobu yali alowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu bye yali afunye, era endowooza eyo embi gye yalina yamuleetera okugezaako “okulaga nti ye mutuufu [okusinga] Katonda.” (Yob. 32:2) Nawomi naye mu kusooka yali alowooza nti Katonda ye yali amuleetedde ebizibu bye yali afunye. (Luus. 1:13, 20, 21) Singa Yobu ne Nawomi beeyongera okuba n’endowooza eyo embi, kyandibaleetedde okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. (Nge. 19:3) Kyokka Yakuwa yabayamba okutegeera nti si ye yali abaleetedde ebizibu ebyo, era yabawa emikisa olw’obwesigwa bwe baayoleka.
10. Bwe tuba n’ebizibu, kiki kye tuyinza okutandika okulowooza?
10 Ne bwe tuba nga tuli bakakafu nti Yakuwa si y’aleese ebizibu bye tufuna, tuyinza okutandika okwebuuza obanga ddala akyatufaako. Endowooza ng’eyo enkyamu esobola okutuleetera okuggwaamu amaanyi. (Nge. 24:10) Kabaka Dawudi ne nnabbi Kaabakuuku baafuna ebizibu eby’amaanyi era ebiseera ebimu beebuuzanga obanga Yakuwa yali awulira okuwanjaga kwabwe. (Zab. 10:1; Kaab. 1:2) Kyokka tebaalekera awo kusaba Yakuwa. Yakuwa yaddamu essaala z’abasajja abo era ne yeeyongera okubayamba. Naawe Yakuwa ajja kweyongera okukuyamba.—Zab. 10:17.
11. Kiki ekisobola okututuukako bwe tutaba na ndowooza nnuŋŋamu ku bizibu bye tufuna?
11 Bwe tutaba na ndowooza nnuŋŋamu ku bizibu bye tufuna, tuyinza okutandika okulowooza nti Yakuwa tasaanidde kuleka bizibu kututuukako. N’olwekyo tuyinza okwewuunya ennyo ekintu ekibi bwe kitutuukako. (1 Peet. 4:12) Abayigirizwa ba Yesu kyabazibuwalira okutegeera nti Yesu ajja kuyigganyizibwa era oluvannyuma attibwe. (Luk. 18:33, 34) Ng’ekyokulabirako, Peetero yali alowooza nti Katonda tayinza kuleka Yesu kubonaabona bw’atyo, wadde nga Yesu yali agambye abayigirizwa be enfunda n’enfunda nti yandibonyeebonye. Yesu yali akimanyi nti endowooza ng’eyo yali esobola okumulemesa okukola ebyo Yakuwa by’ayagala, bw’atyo yanenya Peetero. (Mak. 8:31-33) N’oluvannyuma lwa Yesu okufa, abayigirizwa be tebaategeererawo nsonga lwaki yali attiddwa. Wadde kyali kityo, Yesu yasigala abaagala era yeeyongera okubayamba. Oluvannyuma lw’okuzuukira, yabayamba okutegeera ensonga lwaki yalina okubonaabona, ‘ng’abannyonnyola Ebyawandiikibwa.’ (Luk. 24:25-27, 32, 44-48) Bwe baandifumiitirizza ku ebyo Yesu bye yayigiriza, kyandibayambye okweteekerateekera okuyigganyizibwa kwe baali bagenda okufuna. Naffe bwe tunaafumiitiriza ku ekyo Ebyawandiikibwa kye biyigiriza, kijja kutuyamba okweteekerateekera ebizibu bye tuyinza okufuna.
12. Tuyinza kuwulira tutya bwe tuba n’endowooza enkyamu ku mbeera gye tuba tulimu?
12 Bwe tuba n’endowooza enkyamu ku bizibu bye twolekagana nabyo, tuyinza okulowooza nti embeera yaffe mbi nnyo, kyokka ng’oluusi si bwe kiba. Mu lugero Yesu lwe yagera olukwata ku bakozi abaali bakola mu nnimiro y’emizabbibu, yalaga engeri ekyo gye kiyinza okubaawo. Abakozi abamu beemulugunya nga balowooza nti ssente ze baabawa si ze baali bateekeddwa okufuna. Naye mukama waabwe yagamba omu ku bo nti: “Sirina kikyamu kye nkukoze.” (Mat. 20:10-13) Abakozi abo beemulugunya si lwa kuba nti baali bayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, naye lwa kuba nti baasuubira ekyo kye baali batalina kusuubira. Ne leero, bakkiriza bannaffe abamu bawulira bwe batyo. Ng’ekyokulabirako, bwe batafuna nkizo emu gye baluubirira oba bwe balekera awo okuweereza mu buweereza obumu bwe babadde baagala, bayinza okuwulira nti si kya bwenkanya. Biki bye tusobola okukola okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga twesanze mu bizibu?
BYE TUSOBOLA OKUKOLA OKUSIGALA NGA TULINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU
13. Kiki ekiyinza okubaawo bwe tufuna ebizibu?
13 Osobola okuba ng’omanyi ekyo Ebyawandiikibwa kye biyigiriza ku bizibu bye tufuna. Oyinza n’okuba ng’obikozesezza okuyamba abalala okugumira ebizibu. Kyokka ggwe ng’omuntu kinnoomu singa ofuna ebizibu, kiyinza okukuzibuwalira okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okutandika okulowooza nti Yakuwa akubonereza oba nti tawulira kusaba kwo. Bwe weesanga mu mbeera eyo, kiki ekisobola okukuyamba okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu?
14. Bw’oba ng’olina ebizibu, kiki ky’osobola okusaba? (Abafiripi 4:13)
14 Saba Yakuwa akuyambe. Tegeeza Yakuwa ebizibu by’olina era omubuulire engeri gye weewuliramu. Bw’oba osaba Yakuwa, mubuulire engeri yennyini gye wandyagadde akuyambemu. Osobola okumusaba akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okufuna amaanyi n’amagezi bye weetaaga okugumiikiriza. Kyokka kijjukire nti emirundi egimu Yakuwa ayinza okuddamu essaala yo mu ngeri gy’otasuubira. (Bef. 3:20) Ate era, Yakuwa asobola okukozesa bamalayika ne bakkiriza banno okukuyamba. (Zab. 34:7) N’olwekyo kkiriza obuyambi bw’aba akuwadde k’abe ng’abukuwadde mu ngeri ki. Asobola okukuwa omwoyo omutukuvu mu bungi ne gukuyamba okugumira embeera yonna.—Soma Abafiripi 4:13.
15. Biki ebisobola okukuyamba okugumiikiriza ng’olina ebizibu? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Weeyongere okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Fuba okwenyigira mu bintu eby’omwoyo ne bwe kiba nti tokyasobola kukikola nga bwe wali nga tonnafuna bizibu. Weetaaga okuba n’endowooza ya Yakuwa naddala mu kiseera ng’oli mu “nnaku oba mu buzibu.” (Zab. 119:143) N’olwekyo bw’oba oyolekagana n’ebizibu, tolekera awo kusoma Bayibuli, kwesomesa, n’okufumiitiriza ku ebyo by’oyiga. Weenyigire mu mulimu gw’okubuulira ng’embeera yo bw’eba ekusobozesezza, era fuba okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu. Fuba okubeera ne bakkiriza banno, era weewale okubeeyawulako ne bw’oba owulira ng’oyagala kubeera wekka.—Nge. 18:1.
Kola kyonna ky’osobola okwenyigira mu bintu eby’omwoyo (Laba akatundu 15)
16. Bw’oba oyolekagana n’ebizibu, biki by’oyinza okutandika okubuusabuusa, era biki ebisobola okukuyamba okulekera awo okubuusabuusa? (2 Abakkolinso 10:4, 5)
16 Lekera awo okubuusabuusa. Bw’ofuna ebizibu kiyinza okukwetaagisa okusiguukulula endowooza ‘ezaasimba amakanda,’ nga muno muzingiramu engeri gye weerowoozaako, n’engeri gy’olowooza ku Yakuwa. (Soma 2 Abakkolinso 10:4, 5.) Osobola okwewala endowooza ng’ezo ng’okozesa “okumanya okukwata ku Katonda” okusangibwa mu Bayibuli ne mu bitabo ebikubibwa ekibiina kye. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’obuusabuusa obanga Yakuwa akyakusiima, soma ku ebyo ebikwata ku mutume Pawulo. Mu buweereza bwe, Pawulo yafuna ebizibu bingi; kyokka ebizibu ebyo byamuyamba okweyongera okuba omukakafu nti yali asiimibwa ng’omuweereza wa Kristo. (2 Kol. 11:23-27) Otera okubuusabuusa obanga Yakuwa yakusonyiwa ensobi ze wakola mu biseera eby’emabega? Bwe kiba bwe kityo, kola olukalala lw’ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa asonyiwa. (Is. 43:25) Somanga ebyawandiikibwa ebyo era obifumiitirizengako. (Zab. 119:97) Kyandiba nti ebizibu by’olina bikuleetedde okubuusabuusa ekisuubizo kya Katonda eky’okukuuma abaweereza be abeesigwa? Bwe kiba kityo, noonyereza ku nsonga lwaki Katonda aleka okubonaabona okubaawo, n’engeri gy’atukuumamu mu by’omwoyo ka tube nga twolekagana na bizibu ki. (Zab. 91:9-12) Ate era, soma ebikwata ku baganda baffe ne bannyinaffe abaasigala nga beesigwa eri Yakuwa era nga basanyufu wadde nga baalina ebizibu.a
17. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tufuna ebizibu?
17 Mu kiseera kino onyumirwa olunaku olulungi, kwe kugamba, tolina bizibu bya maanyi? Bwe kiba kityo, weebaze Yakuwa era kozesa akakisa ako okufumiitiriza ku bulungi bwe. (Mub. 7:14) Naye bw’ofuna ebizibu, sigala n’endowooza ennuŋŋamu era weeyongere okwesiga Yakuwa. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ‘ajja kukuteerawo obuddukiro osobole okugumiikiriza.’ (1 Kol. 10:13) Naye kiki kye tusaanidde okukola baganda baffe ne bannyinaffe bwe bafuna ebizibu? Eyo y’ensonga gye tujja okwogerako mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
a Ng’ekyokulabirako, mu kitundu “A Happy Family, Shattered and Rebuilt” ekiri ku jw.org, soma ku ngeri ow’oluganda David Maza n’ab’omu maka ge gye baasobola okuguma nga mutabani we afudde.