EBYAFAAYO
Yakuwa Antendese Okuviira Ddala mu Buto
NNATUNUULIRA akapapula ow’oluganda ke yali ampadde. Ku kapapula ako kwaliko ebigambo bino, “David Splane, Apuli 8, 1953: ‘Okulangirira enkomerero y’ensi.’” Nnamubuuza nti: “Kiki kino?” Ow’oluganda oyo yanziramu nti: “Ako ke kapapula akalaga omutwe gw’emboozi gy’ojja okuwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.”a Nnamuddamu nti, “Nze sisabangako kuwa mboozi mu ssomero!”
Nga sinneeyongerayo, ka nsooke ndubaviire ku ntono. Nnazaalibwa mu kiseera kya Ssematalo II mu kibuga Calgary, eky’omu Canada. Ng’emyaka gya 1940 giggwaako, payoniya omuto ayitibwa Donald Fraser yakonkona ku luggi lw’awaka okutubuulira, era maama yakkiriza okuyiga Bayibuli. Maama yayagala nnyo amazima, naye olw’okuba yali mulwadde yali tasobola kwenyigira mu bujjuvu mu ebyo ebyali bikolebwa mu kibiina. Wadde kyali kityo, mu 1950 yabatizibwa. Eky’ennaku, nga tewannayita na myaka ebiri, maama yafa. Taata wange teyali Mujulirwa wa Yakuwa mu kiseera ekyo, naye yakkiriza ow’oluganda y’aba awa emboozi ku mukolo ogw’okuziika.
Nga wayise ennaku ntono nga tumaze okuziika maama, waliwo mwannyinaffe omukulu mu myaka eyafukibwako amafuta eyali ayitibwa Alice, eyampita okubaawo mu nkuŋŋaana. Yali ammanyi kubanga nnateranga okugenda mu nkuŋŋaana ku wiikendi ne maama buli lwe yabanga asobodde okugenda. Nnasaba taata anzikirize okugenda. Yakkiriza, era yasalawo okugenda nange “omulundi gumu gwokka” asobole okwebaza ow’oluganda eyali awadde emboozi ku mukolo gw’okuziika maama. Ekiro ekyo waaliyo Essomero n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Taata yaganyulwa nnyo mu lukuŋŋaana olwo lwe yasooka okugendamu. Olw’okuba yali asomye ebikwata ku kwogera mu lujjudde, emboozi ezaaweebwa zaamukwatako nnyo. Taata yasalawo okugendanga mu lukuŋŋaana olwo buli wiiki. Mpolampola yatandika n’okugenda mu nkuŋŋaana endala.
Mu biseera ebyo, ow’oluganda eyali akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda yaggulangawo olukuŋŋaana ng’asoma amannya g’abo bonna abaabanga mu ssomero eryo, era buli omu yaddangamu nti, “Wendi.” Lumu nnasaba erinnya lyange lisomebwe ku lukuŋŋaana olwandizzeeko. Ow’oluganda yansiima, naye teyambuuza obanga nnali mmanyi byonna ebizingirwamu.
Nnali sikimanyi nti bw’osaba erinnya lyo lisomebwe, oba osaba kutandika kuwa mboozi mu nkuŋŋaana. Nze nnali njagala bwagazi linnya lyange lisomebwe! Wiiki eyaddako erinnya lyange lyasomebwa era nnaddamu nga ndi musanyufu nti, “Wendi.” Ng’olukuŋŋaana luwedde, ab’oluganda bansiima. Oluvannyuma lwa wiiki eziwerako, nnaweebwa akapapula akaali kalaga omutwe gw’emboozi gye nnali ŋŋenda okuwa, ke nnayogeddeko ku ntandikwa y’ekitundu kino.
Nnatya nnyo! Mu kiseera ekyo, abayizi mu ssomero baabaga balina okuteekateeka emboozi za ddakiika mukaaga, musanvu, oba munaana. Tewaaliwo kitundu kya kusoma busomi Bayibuli. Taata yannyamba okuteekateeka emboozi yange, era ne tugiyitamu emirundi 20 nga sinnagiwa. Oluvannyuma, ow’oluganda akubiriza essomero yampa amagezi agannyamba. Emyaka bwe gizze giyitawo, Yakuwa antendese okuyitira mu taata, bakkiriza bannange, n’ekibiina kye.
NNEEYONGERA OKUTENDEKEBWA
Bwe nnatandika okubuulira, mwanyinaffe Alice gwe nnayogeddeko, ye yantendeka. Mu biseera ebyo twakubirizibwanga okusomera omuntu ebyawandiikibwa bisatu oluvannyuma ne tumuwa ekitabo. Bwe twatuukanga ku nju y’omuntu nga nze nnina okwogera, Alice yeeyanjulanga, n’atandika okunyumya n’omuntu, oluvannyuma n’ansaba nsome ekyawandiikibwa ekisooka. Mpolampola nnayiga okuweyanjula n’okutandika okunyumya n’abantu. Taata bwe yamala okubatizibwa ng’omwaka gwa 1954 gunaatera okuggwaako, yeeyongera okuntendeka mu mulimu gw’okubuulira. Wadde nga yali muzadde ali yekka, yakola kyonna ky’asobola okunkuliza mu mazima. Ebintu eby’omwoyo yali abitwala nga bikulu nnyo. Nnabanga nkimanyi nti tulina okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna era n’okubuulira ku wiikendi.
Ku ssomero ssaali mugezi nnyo. Naye ebintu bye nnayiga mu myaka 12 gye nnamala nga ndi ku ssomero, binnyambye nnyo mu bulamu bwange. Ng’ekyokulabirako, nnayiga bingi ebikwata ku ssomo ly’okubala, ne ku mateeka agafuga olulimi Olungereza. Bye nnayiga nga nsoma Olungereza n’okuyiga okuwandiika ku bintu eby’enjawulo binnyambye nnyo mu buweereza bwe ndimu mu kiseera kino nga nkola mu Kitongole Ekiwandiisi.
Abantu batera okumbuuza lwaki nnyumirwa nnyo okuyimba. Bazadde bange bombi baali banyumirwa okuyimba. Bwe nnali wa myaka musanvu, taata yantwala okuyiga okukuba ennanga, naye omusomesa wange yali akitwala nti sirina busobozi. Bw’atyo yagamba taata ndekere awo okuyiga okukuba ennanga. Ntegeera ensonga lwaki omusomesa oyo yagamba bw’atyo. Mu kiseera ekyo, tewaali kinkubiriza kuyiga.
Oluvannyuma lw’emyezi mitono, taata yanfunira omusomesa omulala. Ku luno, nnayiga okukuba ennanga n’okuyimba, era byombi nnabikola bulungi. Bwe nnali nkyali muto nnalina eddoboozi eddungi, era nnawangula empaka z’okuyimba ez’enjawulo. Ekiruubirirwa kye nnalina nga nsoma eby’okuyimba kwe kufuna ddiguli nsobole okufuuka omusomesa w’eby’okuyimba, mbe nga nsobola okweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya. Naye bwe nnali nnaatera okufuna ddiguli, nnakiraba nti nneetaaga okumala ebiseera bingi nga nsoma eby’okuyimba era nga nneeteekerateekera ebibuuzo. Bwe ntyo nnalekera awo eby’okusoma, ne ntandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Ekyo kyaliwo mu 1963.
OKUWEEREZA NGA PAYONIYA KYANDEETERA ESSANYU
Bwe nnali nnaakaweereza nga payoniya owa bulijjo okumala omwaka gumu, nnasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu kabuga Kapuskasing, mu ssaza Ontario. Ow’Oluganda Daniel Skinner gwe bampa okuweereza naye nga payoniya yali mukulu nnyo okunsinga. Yanjigiriza ebintu bingi ku ngeri ekibiina gye kitegekeddwamu. Nga nnina emyaka 20 nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza, era nnalina bingi eby’okuyiga. Kinsanyusa nnyo okuba nti ne leero ekibiina kizzeemu okussa essira ku kutendeka ab’oluganda abakyali abato. Singa ab’oluganda abo bakolera ku kutendekebwa okubaweebwa, basobola okuba ab’omugaso ennyo eri Yakuwa wadde nga bakyali bato!
Tekyatubeerera kyangu kubeera mu kabuga Kapuskasing. Mu biseera eby’obutiti obudde bwabanga bunnyogovu nnyo. Nze ne Dan emirundi egisinga twatambuzanga bigere. Naye ekimu ku bintu ebyasinga okunsanyusa nga ndi mu buweereza obwo, kwe kusisinkana mwannyinaffe Linda Cole, oluvannyuma eyafuuka Linda Splane.
Linda yali mubuulizi munyiikivu era yalina ab’okuddira bangi. Yali mugabi, nga wa kisa, era ng’ayagala nnyo okubeera n’abantu. Maama we, Goldie, yali mwannyinaffe mwesigwa. Mu kusooka, taata we Allen, yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga Allen yali abaziyiza, Goldie bulijjo yatwalanga Linda ne bannyina, John ne Gordon, ku Kizimbe ky’Obwakabaka era n’abatendeka okubuulira. Goldie, Linda, John, ne Gordon bonna baaweerezaako nga bapayoniya. Nga wayiseewo emyaka mingi, Allen naye yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa era yakola nnyo okuwagira ekibiina.
Mu 1965, nnayitibwa mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka eryali ery’omwezi gumu ku Beseri y’omu Canada nsobole okweyongera okutendekebwa. Nga ndi mu ssomero eryo, nnasabibwa okujjuzaamu foomu okusabirwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Nnali sirowoozangako ku kya kufuuka muminsani, naye nnajjuzaamu foomu eyo. Nnayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi erya 42. Abasomesa baffe baateranga okutubuulira engeri gye twabanga tukolamu nga tuli mu ssomero. Ku mulundi gwe baasokera ddala okwogera nange, abasomesa bankubiriza okuyiga ebintu bingi nga bwe nsobola ku kibiina kya Yakuwa. Wadde nga mu kiseera ekyo nnalina emyaka nga 21, amagezi ago gaali malungi nnyo.
Erimu ku masomo ge twasoma mu Gireyaadi lyali litukubiriza okuyiga engeri gye tusaanidde okwogeramu ne bannamawulire, gamba ng’abo abakola ku leediyo, ku ttivi, oba abo abasaka ag’empapula. Nnanyumirwa nnyo ebyali mu ssomo eryo. Kyokka nnali sikimanyi nti ebyali mu ssomo eryo byandiŋŋanyudde nnyo mu biseera eby’omu maaso, nga bwe nja okubannnyonnyola.
NSINDIKIBWA E SENEGAL
Bwe twamala okutikkirwa, nze ne Michael Höhle, twasindikibwa okuweerereza mu Senegal, mu Afirika. Mu kiseera ekyo, mu nsi eyo waaliyo ababuulizi nga 100.
Bwe nnali nnaakamala mu buweereza obwo emyezi egiwerako, nnayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi olunaku lumu buli wiiki. “Ofiisi y’ettabi,” kyali kisenge kimu ekyali kisangibwa mu maka g’abaminsani. Wadde kyali kisenge kimu, ow’oluganda Emmanuel Paterakis, eyali omulabirizi w’ettabi, yaŋŋamba nti sisaanidde kukyerabira nti ofiisi y’ettabi eba ekiikirira ekibiina kya Yakuwa mu nsi mw’eba. Lumu, ow’Oluganda Paterakis yasalawo nti tuwandiikire abaminsani ebbaluwa ebazzaamu amaanyi. Mu kiseera ekyo, tekyabanga kyangu, era kyabanga kya bbeeyi okukola kopi z’ebbaluwa eziwera. N’olwekyo, twalina okuwandiika ebbaluwa emu emu nga tukozesa ekyuma ekiyitibwa typewriter. Ogwo gwali mulimu gwa maanyi okuva bwe kiri nti bwe wabanga okozesa ekyuma ekyo tewalinanga kukola nsobi, bwe wagikolanga wabanga tosobola kugisangula!
Ku olwo akawungeezi bwe nnali ssinnaddayo mu maka g’abaminsani gye nnali nsula, ow’Oluganda Paterakis yankwasa ebbaasa. Yaŋŋamba nti, “David, ekibiina kikuwandiikidde.” Bwe nnagibikkula, nnakiraba nti ebbaluwa eyalimu y’emu ku ezo ze nnali mpandiise! Ekyo kyanjigiriza okussa ekitiibwa mu kibiina kya Yakuwa, ka kibe nti ettabi lye mpeererezaamu ttono oba ddene.
Nga ndi ne baminsani bannange mu Senegal, mu 1967
Nnakola emikwano mingi n’ababuulizi mu kibiina, era nnabakyaliranga emirundi mingi buli Lwamukaaga akawungeezi. Ebiseera ebyo byabanga bya ssanyu nnyo, era nkyawuliziganya ne mikwano gyange abo n’okutuusa leero. Bwe nnali mu Senegal, nnayiga Olufalansa. Olulimi olwo lunnyambye nnyo nga nkyalira amatabi agatali gamu mu nsi.
Mu 1968, nze ne Linda twakkiriziganya nti tugenda kufumbiriganwa. Nnanoonya omulimu ogutali gwa kiseera kyonna ogwanditusobozesezza okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu Senegal. Naye abagaba emirimu baali basuubirwa kukozesa bannansi, so si bagwira. Bwe kityo, twasalawo okuddayo e Canada, ne tufumbiriganwa, era twalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu kabuga Edmundston, mu ssaza New Brunswick, akaali kaawula ensalo n’essaza Quebec.
Ku lunaku lwaffe olw’embaga, mu 1969
TUWEEREZA NGA BAPAYONIYA MU NEW BRUNSWICK NE QUEBEC
Mu kabuga ako temwalimu babuulizi, naye mwalimu abayizi ba Bayibuli abatonotono. Mu kabuga ako, eddiini y’Abakatuliki yalina obuyinza bungi nnyo era nga kumpi y’esalirawo abantu ku buli kimu. Kumpi buli nju yaliko akapande akaaliko ebigambo: “Abajulirwa ba Yakuwa tebakkirizibwa wano.” Mu kiseera ekyo, obupande obwo tetwabufangako nnyo nga bwe kiri leero. N’olwekyo, twabuuliranga ku buli nnyumba. Buli wiiki Abakatuliki baawandiisanga mu mawulire ebigambo bino: “Ka tuyigge Abajulirwa ba Yakuwa tubagobe mu kitundu kyaffe.” Mu kabuga ako mwalimu Abajulirwa ba Yakuwa bana, nze ne Linda, Victor ne Velda Norberg, era twabanga tumanyi baani be boogerako!
Siryerabira mulundi omulabirizi w’ekitundu lwe yasooka okutukyalira. Oluvannyuma lw’okumala naffe wiiki emu, yatugamba nti: “Oboolyawo ekintu kye mulina okukola kwe kuyamba abantu okukyusa endowooza gye balina ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Ekyo twakifuula kiruubirirwa kyaffe era kyavaamu ebirungi. Mpolampola, abantu baatandika okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa beetoowaze, era nti baawukanira ddala ku bakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki ab’amalala! Mu kibuga ekyo kati waliyo ababuulizi abatonotono.
Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu nga tuweerereza mu kitundu ekyo ekyali kyesudde, twasindikibwa mu kibuga Quebec okuweerereza mu kibiina ekyalimu ababuulizi abawerako. Twanyumirwa emyezi omukaaga gye twamalayo nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe abaatulaga okwagala. Oluvannyuma twaweebwa enkizo ey’okukyalira ebibiina.
Emyaka 14 egyaddako, twakyalira ebibiina mu bitundu ebitali bimu mu ssaza Quebec. Twanyumirwa nnyo ekiseera kye twamala nga tukyalira ebibiina! Omulimu gw’okubuulira mu Quebec gwali gutambula bulungi nnyo, era mu bibiina bye twakyaliranga twateranga okulaba amaka mangi ng’abagalimu bonna bafuba okukulaakulana okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa!
TUJJUKIRA BAKKIRIZA BANNAFFE ABEESIGWA
Kyatwanguyira okwagala bakkiriza bannaffe abaali babeera mu Quebec. Baali tebatya kwogera kibali ku mutima, nga basanyufu, era nga bakyamufu. Wadde kyali kityo, tekyabanguyiranga kukkiriza mazima, era baayigganyizibwanga nnyo ab’eŋŋanda zaabwe. Abamu ku bavubuka baatisibwatiisibwanga bazadde baabwe abatali Bajulirwa ba Yakuwa nga babagamba nti, “Lekera awo okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, oba si ekyo vva mu nju yange!” Ekirungi, bangi ku bavubuka abo baasigala beesigwa eri Yakuwa. Ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa!
Ate era siyinza butayogera ku bapayoniya aba bulijjo ne bapayoniya ab’enjawulo abeesigwa abaawerereza mu Quebec mu myaka egyo. Bangi ku bo baali bava mu bitundu bya Canada ebirala. Ng’oggyeeko okuyiga Olufalansa, baalina okuyiga obuwangwa bw’abantu b’omu kitundu ekyo n’engeri gye bakolamu ebintu, era nga byonna byali byesigamiziddwa ku ddiini y’Abakatuliki.
Bapayoniya ab’enjawulo baateranga okusindikibwa okuweereza mu bitundu ebyesudde awataabanga babuulizi. Naye olw’obusosoze obw’amaanyi, kyabanga kizibu okufuna aw’okubeera oba okufuna omulimu ogutakwetaagisa kukola kiseera kyonna. N’abo abaabanga bakafumbiriganwa, emirundi egimu baafunangayo emigogo gy’abafumbo emirala ebiri oba esatu basobole okuweza ssente ez’okusasula enju. Kyabanga kizibu okwesasulira enju nga bali bokka. Bapayoniya abo baali bakozi banyiikivu. Bwe baafunanga omuntu gwe bayigiriza Bayibuli, baakolanga kyonna kye basobola okumuyamba. Ababuulizi bwe beeyongera mu Quebec, bapayoniya abo baagenda okubuulira mu bitundu awaali obwetaavu.
Bwe twabanga tukyalidde ebibiina, buli Lwamukaaga ku makya twafubanga okubuulirako n’abavubuka. Ekyo kyatusobozesa okumanya okusoomooza kwe bafuna. Abamu ku bo kati baweerereza mu nsi endala ng’abaminsani, ate abalala batuukiriza obuvunaanyizibwa obulala obw’amaanyi.
Oluusi ebibiina ebimu byabanga tebisobola kutugulira mafuta na mmere. N’olwekyo ebiseera ebimu omwezi we gwaggweerangako twabanga tetulina ssente zimala. Ekyo bwe kyabangawo, twalinanga okwesiga Yakuwa kubanga ye yekka eyali ategeera embeera yaffe. Yakuwa yatuyambanga, era twasobolanga okutuuka mu kibiina ekiddako kye twabanga tugenda okukyalira.
WALIWO BINGI BYE NNAYIGIRA KU B’OLUGANDA ABEESIGWA
Nga bwe nnayogedde nnaganyulwa nnyo mu ssomo eryali likwata ku kwogera ne bannamawulire lye twasoma mu Gireyaadi. Mu biseera ebyo mu Quebec, twateranga okufuna akakisa okubuulira amawulire amalungi okuyitira ku leediyo, ku ttivi, ne mu mpapula z’amawulire. Emirundi mingi nnasabibwanga okukolera awamu n’ow’Oluganda Léonce Crépeault, naye eyali omulabirizi akyalira ebibiina era eyali amanyi okwogera obulungi ne bannamawulire. Bwe twabanga tulina omukugu mu by’amawulire gwe tugenda okusisinkana, ow’oluganda oyo teyamulaganga nti alina bingi by’amanyi ku by’amawulire. Mu kifo ky’ekyo yamugamba nti: “Ssebo, nze ne munnange tuli babuulizi ba njiri. Tetumanyi bingi bikwata ku mawulire. Naye tuweereddwa obuvunaanyizibwa okuyamba abantu okutegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa balina olukuŋŋaana olunene lwe bateekateeka. N’olwekyo, tujja kusiima obuyambi bwonna bw’onootuwa.” Olw’okuba yayogeranga mu ngeri ey’obwetoowaze, bannamawulire bangi baabanga beetegefu okutuyamba.
Oluvannyuma, ofiisi y’ettabi y’ansaba okukolera wamu n’ow’Oluganda Glen How, omu ku balooya b’ekibiina abaakolanga ku nsonga enzibu bannamawulire ze baabanga baagala okwogerako. Nnaganyulwa nnyo mu kutendekebwa kwe nnafuna mu Gireyaadi n’obumanyirivu bwe nnafuna nga nkolagana n’ow’Oluganda Crépeault. Kyokka, yali nkizo ya maanyi okukolera awamu n’ow’Oluganda How. Ow’Oluganda How yayolekanga obuvumu ng’akola ku nsonga z’amateeka ezikwata ku kibiina, naye okusingira ddala yali ayagala nnyo Yakuwa era ng’amwesiga.
Mu 1985, twasindikibwa okukyalira ebibiina ebyali mu kitundu taata wange gye yali abeera mu bugwanjuba bwa Canada, tusobole okumulabirira. Ekyennaku taata yafa oluvannyuma lw’emyezi esatu. Tweyongera okukyalira ebibiina okutuukira ddala mu 1989, lwe twayitibwa okuweerereza ku Beseri y’omu Amerika, era ekyo twali tetukisuubira. Bwe kityo twalekera awo okukyalira ebibiina oluvannyuma lw’emyaka 19 nga tukola omulimu ogwo. Mu myaka egyo, twasula mu maka g’ab’oluganda bangi era twalya ebijjulo bingi nnyo. Twebaza nnyo bakkiriza bannaffe abaatusembeza mu maka gaabwe era ne batufumbiranga!
TUWEEREREZA KU BESERI Y’OMU AMERIKA
Bwe twatuuka mu Brooklyn, nnasabibwa okuweerereza mu Kitongole ky’Obuweereza. Bulijjo nsiima okutendekebwa kwe nnafuna nga ndi mu kitongole ekyo. Ekimu ku bintu bye nnayiga kwe kusooka okumanya byonna ebiba bizingirwa mu nsonga mu kifo ky’okuteebereza obuteebereza. Oluvannyuma mu 1998, nnasabibwa okuweerereza mu Kitongole Ekiwandiisi, gye nkyayigira ebintu bingi n’okutuusa leero. Okumala emyaka mingi, nnafuna enkizo ey’okuyambako ow’Oluganda John Barr, eyali omukwanaganya w’Akakiiko Akawandiisi. Bulijjo nsiima nnyo okutendekebwa kwe nnafuna nga nkola naye. Ow’Oluganda oyo yalina engeri ennungi.
Nga tuli ne John ne Mildred Barr
Ngitwala nga nkizo ya maanyi okuweerereza awamu n’ab’oluganda ne bannyinaffe abeetoowaze abali mu Kitongole Ekiwandiisi. Buli lunaku basaba Yakuwa abayambe okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe era bakimanyi nti ebirungi byonna bye batuukako nga bakola omulimu ogwo, omwoyo gwa Yakuwa gwe gubasobozesa okubituukako, so si maanyi gaabwe.
Nga nkulembeddemu abayimbi ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwa 2009
Nga ngaba Bayibuli ku lukuŋŋaana olunene olubaako ab’oluganda abavudde mu nsi ez’enjawulo olwali mu Seoul, Korea, mu 2014
Ate era, nze ne Linda tufunye enkizo okukyalira bakkiriza bannaffe abeesigwa mu nsi 110. Tulabye engei ab’oluganda abaweereza ng’abaminsani, abali ku Bukiiko bw’Amatabi, n’abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, gye batulazeemu okwagala. Ate era tufunye enkizo okulaba ababuulizi abanyiikivu era abamalirivu okweyongera okukulembeza Obwakabaka, wadde nga mu bitundu byabwe waliyo entalo, okugootaana kw’eby’enfuna, n’okuyigganyizibwa. Yakuwa ateekwa okuba ng’abaagala nnyo!
Mu myaka gye tumaze nga tuli wamu, Linda annyambye nnyo nga nfuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange. Linda ayagala nnyo abantu era bulijjo anoonya engeri gy’ayinza okubayambamu. Ate era kimwanguyira okutandika emboozi n’abantu. Ayambye abantu bangi okuyiga amazima. Era ayambye n’abamu ku abo abaali baggwaamu amaanyi okuddamu okuweereza Yakuwa. Mazima ddala Linda Yakuwa yamumpa nga kirabo! Nga tugenda tukaddiwa, tusiima nnyo obuyambi baganda baffe ne bannyinaffe abato bwe batuwa mu ngeri ezitali zimu.—Mak. 10:29, 30.
Bwe nfumiitiriza ku myaka 80 egiyise, mpulira essanyu. Mu butuufu, nzikiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Ai Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange, n’okutuusa kati nkyalangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.” (Zab. 71:17) Ekyo njagala okweyongera okukikola ebbanga lyonna lye nnaamala nga nkyali mulamu.
a Leero okutendekebwa okwo kubaawo mu lukuŋŋaana lwa wakati mu wiiki.