LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/15 lup. 4
  • Bayite Babeewo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayite Babeewo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Laba Ebirala
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Kaweefube Avaamu Ebirungi
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Okugaba Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo Kutandika nga Apuli 2
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 6/15 lup. 4

Bayite Babeewo

1. Kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene anaatandika ddi?

1 Bw’okozesa ebiseera bingi ne ssente nnyingi okuteekerateekera ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo ekijjulo, tewali kubuusabuusa nti oba munyiikivu ng’obayita okubaawo. Mu ngeri y’emu, bingi ebikoleddwa mu kuteekateeka ekijjulo eky’eby’omwoyo kye tujja okufuna ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu. Ng’ebula wiiki ssatu olukuŋŋaana olwo lutuuke, Yakuwa atuwadde enkizo ey’okuyita abalala babeewo. Biki ebinaatuyamba okuba abanyiikivu nga tugaba obupapula obuyita abantu?

2. Biki ebinaatuyamba okwenyigira mu kaweefube oyo n’obunyiikivu?

2 Okusobola okwenyigira mu kaweefube n’obunyiikivu, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri ffe kennyini gye tuganyulwa mu ebyo Yakuwa by’atuyigiriza mu nkuŋŋaana ennene. (Is. 65:13, 14) Ate era tusaanidde okukijjukira nti kaweefube gwe tukola buli mwaka avaamu ebirungi. (Laba akasanduuko “Kaweefube Waffe Avaamu Ebirungi.”) Abamu ku abo be tujja okuyita bajja kujja ku lukuŋŋaana ate abalala tebajja kujja. Ka babe bameka abanajja, okwenyigira mu kaweefube oyo n’obunyiikivu kijja kuleetera Yakuwa ettendo era kirage nti mugabi.​—Zab. 145:3, 7; Kub. 22:17.

3. Obupapula obuyita abantu bunaagabibwa butya?

3 Abakadde mu buli kibiina basaanidde okusalawo engeri obupapula buno gye bunaagabibwamu, era obanga bunaalekebwa awaka awanaaba watasangiddwa bantu oba bunaagabibwa mu nkola ey’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu kitundu kyabwe. Ku wiikendi, bwe muba mugaba obupapula obwo musaanidde okugabirako magazini bwe kiba kituukirawo. Kaweefube oyo bw’anaaba awedde, tujja kuba basanyufu nnyo olw’okumwenyigiramu n’obunyiikivu, n’okukimanya nti abantu bangi baatwegattako ku kijjulo eky’eby’omwoyo Yakuwa kye yatutegekera.

Onooyogera Ki?

Bw’omala okulamusa omuntu, oyinza okumugamba nti: “Tuli mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olukulu ennyo, era kano ke kako. Ennaku z’omwezi, essaawa, n’ekifo biri ku kapapula ako.”

Kaweefube Waffe Avaamu Ebirungi

  • Emyaka egiwerako emabega mwannyinaffe omu bwe yali agaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana, yali yeebuuza obanga okufuba kwe kwandivuddemu akalungi konna. Yali yeebuuza nti, ‘Ddala abantu be tuyita ku lukuŋŋaana banajja?’ Ku lukuŋŋaana olwo ku Lwomukaaga ku makya, waliwo omusajja eyatuula okumpi ne mwannyinaffe. Mwannyinaffe bwe yamweyanjulira, yakizuula nti omusajja oyo yali azze olw’okuba yafuna akapapula akayita abantu. Yabuuza ebibuuzo bingi era byonna mwannyinaffe yabiddamu. Omusajja oyo yagamba nti programu yali nnungi nnyo era nti yakwatibwako nnyo olw’ennyambala n’enneeyisa y’abo abaaliwo ku lukuŋŋaana. Ate era ku lunaku olwo lwennyini, mwannyinaffe oyo yanyumyako n’omwami awamu ne mukyala we abaali batudde okumpi naye. Nabo baali bafunye akapapula akayita abantu era baalinya bbaasi ne bajja ku lukuŋŋaana olwo. Baasanyuka nnyo olw’ebyo bye baali bayize era ne bateekateeka okubaawo ne ku Ssande. Mwannyinaffe oyo yakiraba nti kikulu nnyo okwenyigira mu kaweefube waffe abaawo buli mwaka.

  • Gye buvuddeko, ow’oluganda omu ne mukyala we nga bombi bapayoniya aba bulijjo beeyanjulira omwami ne mukyala we abaali bazze ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu. Baabagamba ogwo gwe gwali omulundi ogusoose okubaawo ku lukuŋŋaana olunene. Bapayoniya baababuuza nti, “Ani eyabayita ku lukuŋŋaana luno?” Baabaddamu nti, “Lumu bwe twaddayo eka, twasanga akapapula akayita abantu wansi w’oluggi lwaffe.” Baasoma ebyali ku kapapula ako era ne bajjuzaamu n’akakonge akaaliko. Abamu ku abo abaali bazze ku lukuŋŋaana olwo baawa omwami oyo ne mukyala we eky’emisana. Baasanyuka nnyo olw’ebyo bye baali bayize mu lukuŋŋaana olwo ne bateekateeka n’okubaawo ku lunaku olwaddako. Enteekateeka zaakolebwa okubakyalira okusobola okubayamba okuyiga ebisingawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza