Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Lutukubiriza Okutambula ne Katonda
Ng’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Tambula ne Katonda” lwalaga bulungi nnyo obulagirizi bwa Yakuwa nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu,” (Is. 30:21) Okussa mu nkola bye twayigirizibwa kijja kutuyamba ‘okwegendereza engeri gye tutambulamu.’ (Bef. 5:15) Okufumiitiriza ku bye twayiga kijja kutuyamba ‘okweyongera okutambulira mu mazima.’—3 Yok. 3.
Kozesa ebibuuzo bino wammanga awamu n’ensonga ze wawandiika mu lukuŋŋaana olwo nga weeteekerateekera okwenyigira mu kwejjukanya okw’ebyo ebyali mu programu y’olukuŋŋaana lw’omwaka guno. Okwejjukanya kuno kujja kubaawo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eya Okitobba 18.
[Ebibuuzo]
1. Enoka yasobola atya okutambula ne Katonda wadde nga yali mu biseera ebizibu? (Beb. 11:1, 5, 6; Yuda 14, 15; “Tambula ne Katonda mu Biseera Ebizibu”)
2. Mu mbeera ki ez’obulamu mwe tuyinza okweyambisa omusingi oguli mu Lukka 16:10? (“Oli ‘Mwesigwa mu Kintu Ekitono Ennyo’?”)
3. (a) Waayo eby’okuyiga bina ebiri mu Koseya essuula 6 okutuuka ku 9 ebinaatuyamba okutambula ne Katonda. (Kos. 6:6, 7; 7:14; 8:7) (b) Nsonga ki endala eziri mu Koseya essuula 10 okutuuka ku 14 ezituyamba okutambula ne Katonda? (Emboozi Ezikwatagana: “Obunnabbi bwa Koseya Butuyamba Okutambula ne Katonda”)
4. Bintu ki abaami n’abakyala Abakristaayo bye bayinza okukola okusobola okukuuma obufumbo bwabwe nga bunywevu? (Nge. 12:4; Bef. 5:29; “Toyawulanga ‘Katonda Kye Yagatta Awamu’”)
5. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe? (Mub. 5:1; Is. 66:23; “Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe”)
6. (a) Bintu ki ebisatu ebikulu ebikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira bye tusaanidde okwekenneenya okusobola okukakasa nti tugwenyigiramu mu bujjuvu? (Is. 52:7; Zek. 8:23; Mak. 6:34) (b) Bintu ki ebiri mu katabo Good News for People of All Nations by’osanze nga bya muganyulo? (“Amawulire Amalungi eri Abantu mu Mawanga Gonna”; “Nga Tuyamba Abo Aboogera Olulimi Olulala”)
7. Tuyinza tutya okuyamba ababuulizi abapya okubuulira n’obuvumu obubaka bw’Obwakabaka? (Balam. 7:17; “Nga Tuyamba Abalala Bangi Okutwegattako mu Buweereza”)
8. Tuyinza tutya okukiraga nti tuli bakakafu nti ‘olunaku olukulu olwa Yakuwa luli kumpi’? (Zef. 1:14; “Tutambula lwa Kukkiriza so si lwa Kulaba”)
9. (a) Okwesittaza oba okwesittazibwa kya kabi kwenkana wa? (Mak. 9:42-48) (b) Tuyinza tutya okwewala okwesittazibwa? (Zab. 119:165) (c) Tuyinza tutya okwewala okwesittaza abalala? (1 Kol. 10:24; “Weewale ‘Ekintu Kyonna Ekyesittaza’”)
10. Tuyinza tutya obutagwa lubege nga tunoonya ow’okufumbiriganwa naye, obulamu obulungi, era nga tukola ku nsonga za bizineesi? (Zab. 26:4; Mat. 6:25; 1 Tim. 6:9; “Mubeere n’Endowooza Ennuŋŋamu”)
11. (a) Kiki ekyali ekikulu ku mikolo Yesu gye yayanirizibwanga? (Luk. 10:42; 24:32) (b) Tuyinza tutya okwesanyusaamu mu ngeri eneetuzimba era eneezimba n’abalala? (1 Kol. 10:31-33; “Okwesanyusaamu Okuzimba”)
12. Okusinziira ku Zabbuli eya 23, mikisa ki gye tufuna ng’endiga za Yakuwa, era buvunaanyizibwa ki bwe tulina? (1 Kol. 10:21; “Yakuwa ye Musumba Waffe”)
13. Abakristaayo bayinza batya okugoberera okubuulirira okwaluŋŋamizibwa okukwata ku ‘kugula ebiseera’? (Bef. 5:16; “Okwegulira Ebiseera”)
14. (a) ‘Ekiseera eky’okusaliramu omusango’ ekyogerwako mu Okubikkulirwa 14:7 kizingiramu ki? (b) Tukiraga tutya nti tweyawulidde ddala ku Babulooni Ekinene? (“‘Beera Bulindaala’—Ekiseera eky’Okusaliramu Omusango Kituuse”) (c) Nsonga ki ezikunyumidde mu brocuwa Beera Bulindaala!?
15. Menya ebintu bisatu ebituyamba ‘obutava mu kkubo eggolokofu.’ (2 Peet. 2:15; “Weegendereze Oleme ‘Kuva mu Kkubo Ggolokofu’”)
16. Abavubuka bayinza batya okwewala ‘ekkubo ery’ababi’? (Nge. 4:14; “Abavubuka—Mutambulire mu Kkubo ery’Obutuukirivu”)
17. (a) Pawulo yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi eky’obugumiikiriza? (Bik. 14:19, 20; 16:25-33) (b) Lwaki tetwanditidde abo abaziyiza okusinza okw’amazima? (Omuzannyo n’Emboozi “Buulira Wonna Amawulire Amalungi Wadde nga Waliwo Okuziyizibwa”)
18. Mikisa ki abo abatambula ne Katonda gye bafuna? (“Okutambulira mu Kkubo lya Katonda Kireeta Emikisa Kati n’Emirembe Gyonna”)
Ka tubeere bamalirivu okugoberera ‘ekigambo ekituvaako ennyuma’ tusobole okutambula ne Kitaffe ow’omu ggulu emirembe gyonna.—Is. 30:21; Yok. 3:36.