Obunnabbi bwa Koseya Butuyamba Okutambula ne Katonda
“Balitambula okugoberera Mukama.”—KOSEYA 11:10.
1. Bintu ki ebyogerwako mu kitabo kya Koseya ebirimu amakulu ameekusifu?
ONYUMIRWA okusoma ku bintu ebyaliwo ddala era nga birimu amakulu ameekusifu? Ekitabo kya Koseya kirina ekintu kye kyogerako ekyaliwo ddala era ng’ekintu ekyo kirimu amakulu ameekusifu.a Kyogera ku ebyo ebyaliwo mu maka ga Koseya nnabbi wa Katonda ebyalina akakwate n’enkolagana eyaliwo wakati wa Yakuwa n’Abaisiraeri olw’endagaano y’Amateeka ga Musa gye yali akoze nabo.
2. Biki by’oyinza okwogera ku Koseya?
2 Koseya essuula 1 etubuulira ebikwata ku Koseya. Kirabika Koseya yali abeera mu kitundu ekyabeerangamu ebika bya Isiraeri ekkumi (ebika ebyo era byayitibwanga Efulayimu kubanga kye kika ekyali kisinga obunene). Koseya yaweereza nga nnabbi mu biseera bya bakabaka omusanvu abaasembayo okufuga Isiraeri. Abamu ku bakabaka abo ye Uzziya, Yosamu, Akazi ne Keezeekiya eyali afuga Yuda. (Koseya 1:1) N’olwekyo Koseya ateekwa okuba yamala emyaka nga 59 ng’akola nga nnabbi. Wadde ekitabo ekiyitibwa erinnya lye kyamalirizibwa mu 745 B.C.E., kikyali kya mugaso nnyo ne mu kiseera kyaffe. Kino kiri kityo kubanga mu kiseera kino abantu bukadde na bukadde bakoledde ku ekyo kye yayogerako bwe yagamba nti: “Balitambula okugoberera Mukama.”—Koseya 11:10.
Amakulu g’Ebyo Ebiri mu Bunnabbi
3, 4. Mu bufunze, nnyonnyola ebiri mu Koseya essuula 1 okutuuka ku 5.
3 Bwe tuneekenneenya ebiri mu Koseya essuula 1 okutuuka ku 5, tujja kuba bamalirivu okweyongera okutambula ne Katonda n’okukola by’ayagala. Wadde ng’Abaisiraeri abaali mu bwakabaka bw’ebika ekkumi baali bakoze obwenzi obw’eby’omwoyo, Katonda yali mwetegefu kubasonyiwa nga beenenyezza. Kino kyeyolekera bulungi mu ebyo ebyaliwo wakati wa Koseya ne mukyala we Gomeri. Gomeri bwe yamala okuzaalira Koseya omwana asooka, yazaalayo n’abalala babiri ab’obwenzi. Wadde kyali kityo, Koseya yamuddiramu era n’amukomyawo mu maka ge. Mu ngeri y’emu, ne Yakuwa yaddamu okukolagana ne Isiraeri bwe yeenenya.—Koseya 1:1–3:5.
4 Yakuwa yasalira Isiraeri omusango kubanga tebaayogeranga mazima, tebaalina kisa era tebaafangayo kumanya bimukwatako. Yali agenda kubonereza Isiraeri lwa bwenzi era abonereze n’obwakabaka bwa Yuda lwa bujeemu. Kyokka, abantu ba Katonda abo bwe babanga ‘babonaabona,’ baanoonyanga Yakuwa.—Koseya 4:1–5:15.
Engeri Ebintu Gye Byatandikamu
5, 6. (a) Obwenzi bwali bucaase kwenkana wa mu Isiraeri? (b) Lwaki okulabula okwabaweebwa naffe kutukwatako?
5 Katonda yagamba Koseya nti: “Genda owase omukazi ow’obwenzi n’abaana ab’obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obungi, ng’eva ku Mukama.” (Koseya 1:2) Obwenzi bwali bucaase kwenkana wa mu Isiraeri? Tugambibwa nti: “Omwoyo ogw’obwenzi gubakyamizza [abantu abali mu bwakabaka obw’ebika ekkumi], era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe. . . . Abawala bammwe kyebava beefuula abenzi, n’abagole bammwe benda. . . . [Abasajja bafuuse benzi era bawaayo ssaddaaka n’abakazi abenzi].”—Koseya 4:12-14.
6 Isiraeri yali eyitirizza okukola obwenzi obw’eby’omwoyo n’obw’eby’omubiri. N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yali agenda ‘kubabonereza.’ (Koseya 1:4; 4:9) Naffe tusaanidde okukolera ku kulabula okwabaweebwa kubanga ne mu kiseera kyaffe Yakuwa ajja kubonereza abenzi n’abo abali mu ddiini ez’obulimba. Abo abatambula ne Katonda bo bamuweereza mu ngeri gy’asiima era bakimanyi ‘abenzi tebalina busika mu bakabaka bwa Kristo ne Katonda.’—Abaefeso 5:5; Yakobo 1:27.
7. Obufumbo bwa Koseya ne Gomeri bwali bukiikirira ki?
7 Koseya we yawasiza Gomeri, kirabika Gomeri yali akyali mbeerera, era we ‘yamuzaalira omwana ow’obulenzi’ yali akyali mwesigwa. (Koseya 1:3) Mu ngeri y’emu, ne Yakuwa bwe yanunula Abaisiraeri mu buddu e Misiri mu 1513 B.C.E., yakola nabo endagaano, n’aba ng’abawasizza. Mu ndagaano eyo, Isiraeri yasuubiza okuba omwesigwa eri Yakuwa, eyali afuuse ‘bba.’ (Isaaya 54:5) Yee, obufumbo bwa Koseya ne Gomeri bukiikirira enkolagana eyaliwo wakati wa Katonda ne Isiraeri. Baali ng’omwami n’omukyala. Naye, ekiseera kyatuuka ebintu ne bikyuka.
8. Obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi bwatandikawo butya, era kiki ky’oyinza okwogera ku kusinza kwabwe?
8 Muka Koseya yaddamu ‘n’afuna olubuto olulala n’azaala omwana ow’obuwala.’ Kyokka, omwana oyo n’omulala gwe yazzaako yabazaala mu bwenzi. (Koseya 1:6, 8) Bwe kiba nti Gomeri akiikirira Isiraeri, oyinza okwebuuza nti, ‘Isiraeri yafuuka atya omwenzi?’ Mu 997 B.C.E., Isiraeri yeekutulamu ebitundu bibiri. Ebika ekkumi byekutula ku kika kya Yuda ne Benyamini ebyali ebukiika kkono, ne bikola obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Abo abaali mu bwakabaka obwo baatandika okusinza ennyana. Okusinza kuno kwatandikibwawo abantu baleme kugendanga mu Yerusaalemi kusinza Yakuwa. Ate era okusinza Baali n’ebikolwa eby’obugwenyufu byasimba amakanda mu Isiraeri.
9. Nga bwe kyalagulwa mu Koseya 1:6 kiki ekyatuuka ku Isiraeri?
9 Gomeri bwe yazaala omwana ow’obwenzi, Katonda yagamba Koseya nti: “Mutuume erinnya lye Lolukama: kubanga sikyakwatirwa kisa ennyumba ya Isiraeri, [era siribasonyiwa].” (Koseya 1:6) Mu 740 B.C.E.Yakuwa ‘teyasonyiwa’ Isiraeri bwe yaleka Abasuuli okubatwala mu buwambe. Kyokka, abo abaali mu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri bo yabalaga ekisa ng’abawonyaawo awatali busaale, kitala, ntalo, mbalaasi wadde abeebagazi b’embalaasi. (Koseya 1:7) Kino kyaliwo mu 732 B.C.E. malayika omu bwe yatta abaserikale Abasuuli 185,000 abaali bazingizza Yerusaalemi ekibuga kya Yuda ekikulu mu kiro kimu bwe kiti.—2 Bassekabaka 19:35.
Omusango Yakuwa gwe Yali Avunaana Isiraeri
10. Obwenzi bwa Gomeri bwali bukiikirira ki?
10 Gomeri yaleka Koseya n’agenda ew’omusajja omulala, bw’atyo n’afuuka ‘omukazi omwenzi.’ Kino kyali kiraga engeri obwakabaka bwa Isiraeri gye bwatandikamu okukolagana n’amawanga agaali gasinza ebifaananyi era ne butandika okugeesigamako okubawa obuyambi. Yakuwa bwe yakoleranga abantu abo ebirungi, mu kifo ky’okumwebaza beebazanga bakatonda baabwe era ne bamenya endagaano gye yali akoze nabo, eyalinga endagaano y’obufumbo, nga basinza bakatonda ab’obulimba. N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yali mutuufu okusalira omusango eggwanga eryo olw’obwenzi bw’eby’omwoyo!—Koseya 1:2; 2:2, 12, 13.
11. Kiki ekyatuuka ku ndagaano y’Amateeka Yakuwa bwe yaleka Isiraeri ne Yuda okutwalibwa mu buwambe?
11 Kiki ekyatuuka ku Isiraeri olw’okwewaggula ku Yakuwa eyalinga Omwami we? Katonda yabaleka ne batwalibwa “mu ddungu” lya Babulooni, eggwanga eryawamba Bwasuuli gye baali bawaŋŋangusiddwa mu 740 B.C.E. (Koseya 2:14) Kyokka, Yakuwa bwe yaleka obwakabaka obwo obw’ebika 10 okusaanawo, teyamenyawo ndagaano gye yali akoze n’ebika bya Isiraeri 12. Ate era ne bwe yaleka Ababulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., era ne batwala abatuuze b’omu Yuda mu buwambe teyamenyawo ndagaano y’Amateeka ga Musa eyo gye yali akoze n’ebika 12. Endagaano eyo yamenyebwawo mu 33 C.E. Abayudaaya bwe baagaana Yesu Kristo ne bamutta.—Abakkolosaayi 2:14.
Yakuwa Abuulirira Isiraeri
12, 13. Ebigambo ebiri mu Koseya 2:6-8 birina makulu ki era byatuukirizibwa bitya ku Isiraeri?
12 Katonda yabuulirira Isiraeri ‘okulekera awo obwenzi,’ naye Isiraeri teyagoberera kubuulirira okwo. (Koseya 2:2, 5) N’olwekyo Yakuwa yabagamba nti: “Kale, laba, ndizisa ekkubo lyo n’amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze. Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n’alyoka ayogera nti naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo n[n]abanga bulungi okusinga kaakano. Kubanga teyamanya nga nze n[n]amuwanga eŋŋaano n’omwenge n’amafuta, ne mmwogerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali.”—Koseya 2:6-8.
13 Wadde Isiraeri yasaba obuyambi okuva mu mawanga ge yali ‘eganzizza,’ tewali na limu lyagiddukirira. Gaali tegasobola kubayamba kubanga baali ng’abeetooloddwa olukomera olw’amaanyi ng’amawanga ago tegalina ngeri gye gabatuukako kubayamba. Kino kyaliwo mu 740 B.C.E., amagye ga Bwasuli bwe gaamala emyaka esatu nga gabazingizza, ne gawamba ekibuga ekikulu Samaliya, bwe kityo obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi ne busaanawo. Batono nnyo ku Baisiraeri abo abaatwalibwa mu buwambe abaajjukira nti bajjajjaabwe baali mu mbeera nnungi bwe baali basinza Yakuwa. Abo abaakikola baagana okusinza Baali era ne bazzaawo enkolagana yaabwe ne Yakuwa.
Ebirala Ebyaliwo
14. Lwaki Koseya yaddamu okwagala Gomeri?
14 Okusobola okulaba akakwate akaliwo wakati w’ebyo ebyaliwo mu maka ga Koseya n’enkolagana eyaliwo wakati wa Yakuwa ne Isiraeri, weetegereze ebigambo bino: “Mukama n’aŋŋamba nti genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano [gwo] era omwenzi.” (Koseya 3:1) Koseya yakkiriza ekyamugambibwa n’aggya Gomeri ew’omusajja gwe yali aganzizza. Yamukomyawo mu maka ge era n’amugamba nti: “Olibeerera awo ku lwange ennaku nnyingi; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja yenna.” (Koseya 3:2, 3) Okuva olwo Gomeri teyaddamu kwenda era Koseya yaddamu okumutwala nga mukazi we. Kino kikwatagana kitya n’enkolagana eyaliwo wakati wa Katonda ne Isiraeri awamu ne Yuda?
15, 16. (a) Kiki abantu ba Katonda kye baalina okukola okusobola okulagibwa ekisa? (b) Koseya 2:18 lutuukiriziddwa lutya?
15 Isiraeri ne Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Katonda yabatumira bannabbi be ne ‘bababuulira ebigambo ebisanyusa.’ Katonda okusobola okubalaga ekisa, baalina okwenenya ne bakomawo eri Omwami waabwe nga Gomeri bwe yaddayo eri bba. Bwe beenenya, Yakuwa yabaggya mu ‘ddungu’ lya Babulooni n’abakomyawo mu Yuda ne Yerusaalemi. (Koseya 2:14, 15) Kino yakikola mu 537 B.C.E.
16 Katonda yali abagambye nti: “Ndibalagaanira endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga n’ebintu eby’ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n’ekitala n’olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe.” (Koseya 2:18) Kino Katonda yakituukiriza bwe yakuuma Abayudaaya nga baddayo ku butaka ensolo enkambwe ne zitabakolako kabi. Obunnabbi buno era bwatuukirizibwa mu 1919 C.E., Isiraeri ow’omwoyo abaali bakyali ku nsi bwe baasumulurwa okuva mu “Babulooni ekinene,” oba eddiini ez’obulimba. Okuva olwo, bo awamu ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi balina obukuumi obw’ebyomwoyo era beeyagalira mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Abakristaayo bano ab’amazima baali tebakyeyisa nga nsolo.—Okubikkulirwa 14:8; Isaaya 11:6-9; Abaggalatiya 6:16.
Baako ky’Oyigamu
17-19. (a) Ngeri ki eya Katonda gye tukubirizibwa okukoppa? (b) Olw’okuba Yakuwa alina ekisa, ekyo kyanditukubiriza kukola ki?
17 Olw’okuba Katonda wa kisa, naffe tusaanidde okuba n’ekisa. Eky’okuyiga kino kisangibwa mu ssuula ezisooka ez’ekitabo kya Koseya. (Koseya 1:6, 7; 2:23) Olugero olumu olwaluŋŋamizibwa lugamba nti: “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Engero 28:13) N’olwekyo okusinziira ku bigambo ebyo Katonda yali mwetegefu okusaasira Abaisiraeri abeenenya. Ate era omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ssadaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.” Ebigambo ebyo bizaamu nnyo amaanyi kubanga biraga nti singa omuntu aba alina ensobi gy’akoze ne yeenenya, Katonda amusonyiwa.—Zabbuli 51:17.
18 Obunnabbi bwa Koseya bukyoleka bulungi nti, Katonda gwe tusinza alina ekisa. Wadde abamu bayinza okuwaba ne bava mu makubo ge ag’obutuukirivu, bwe beenenya abasonyiwa. Yasonyiwa Abaisiraeri be yali akoze nabo endagaano. Wadde Abaisiraeri abo baajeemera Yakuwa era ‘ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri, yabalaga ekisa ng’ajjukira nti baali mibiri bubiri.’ (Zabbuli 78:38-41) Olw’okuba Yakuwa Katonda alina ekisa, ekyo kyanditukubiriza okwongera okutambula naye.
19 Wadde ng’Abaisiraeri abaali mu bwakabaka bw’ebika ekkumi baali bayitirizza okwenyigira mu bikolwa ebikyamu ng’okutta, okubba, n’obwenzi, Yakuwa ‘yababuulira ebigambo ebisanyusa.’ (Koseya 2:14; 4:2) Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yalagamu abantu be ekisa kituleetera okweyongera okumwagala. Weebuuze: ‘Nyinza ntya okukoppa Yakuwa ne ndaga abalala ekisa? Singa Mukristaayo munnange aba anyiizizza n’ansaba mmusonyiwe, nkola nga Katonda ne mmusonyiwa?’—Zabbuli 86:5.
20. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti ebisuubizo bya Katonda byesigika.
20 Ebyo Katonda by’asuubiza biba byesigika. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “Ndimuwa . . . ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw’okusuubira.” (Koseya 2:15) Isiraeri eyali nga mukyala wa Yakuwa yali mukakafu nti ajja kuzzibwayo ku butaka awaali “ekiwonvu kya Akoli.” Obunnabbi buno bwatuukirizibwa mu 537 B.C.E. era ekyo kyakakasa nti ebyo byonna Yakuwa by’atusuubizza mu kiseera kino bijja kutuukirizibwa.
21. Kakwate ki akaliwo wakati w’okumanya Katonda n’okutambula naye?
21 Okusobola okwongera okutambula ne Katonda, twetaaga okuyiga ebimukwatako era n’okubikolerako. Mu Isiraeri temwalimu kukwata ku Yakuwa. (Koseya 4:1, 6) Wadde kyali kityo, waliwo abamu abakkiriza obulagirizi obuva eri Katonda ne babukolerako, era ne bafuna emikisa. Koseya yali omu ku bo. Abalala abaanoonya obulagirizi obuva eri Katonda ne bafuna emikisa, beebo 7,000 abaaliwo mu kiseera kya Eriya abataasinza Baali. (1 Bassekabaka 19:18; Abaruumi 11:1-4) N’olwekyo bwe twettanira obulagirizi obuva eri Katonda kijja kutuyamba okwongera okutambula naye.—Zabbuli 119:66; Isaaya 30:20, 21.
22. Twanditutte tutya obwewagguzi?
22 Yakuwa ayagala abakadde beewale obwakyewaggula. Koseya 5:1 lugamba: “Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era n’ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli.” Abakulembeze abaafuuka bakyewaggula be baasendasenda Abaisiraeri okusinza bakatonda ab’obulimba. Okusinza okwo kwabeeranga ku lusozi Taboli n’e Mizupa. N’olwekyo Abakulembeze abo be baasuula Abaisiraeri mu kyambika.
23. Oganyuddwa otya mu kwekenneenya Koseya essuula 1 okutuuka ku 5?
23 Okusinziira ku ebyo bye tuyize mu bunnabbi bwa Koseya tulabye nti Yakuwa Katonda wa kisa, ebisuubizo bye byesigika era nti awa omukisa abo abakolera ku bulagirizi bwe era ne beewala obwewagguzi. Okufaananako Abaisiraeri abeenenya, ka tunoonye Yakuwa era tufubenga okumusanyusa. (Koseya 5:15) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kufuna ebirungi, essanyu awamu n’emirembe ebifunibwa abo abatambula ne Katonda.—Zabbuli 100:2; Abafiripi 4:6, 7.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu Abaggalatiya 4:21-26 nawo woogera ku kintu ekyaliwo ddala era nga kirimu amakulu ameekusifu. Okusobola okumanya amakulu gaakyo soma ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 693-4. Ekitabo ekyo kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Obufumbo bwa Koseya ne Gomeri bwali bukiikirira ki?
• Lwaki Yakuwa yabonereza Isiraeri?
• Biki by’oyize mu Koseya essuula 1 okutuuka ku 5?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Muka Koseya akiikirira ani?