Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Okitobba 11
Oluyimba 87
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’ebirango ebirala okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Bonna bakubirize okukozesa ebibuuzo ebiri ku lupapula 1 okwejjukanya bye baawandiika basobole okweteekerateekera okukubaganya ebirowoozo ku programu y’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Tambula ne Katonda” mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bisobola okukola mu kitundu kyammwe), okulaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ssebutemba 15 ne Awake! aka Ssebutemba 22. Kubiriza ababuulizi okukozesa ebyawandiikibwa nga bagaba magazini ezo. Ebyokulabirako ebirala biyinza okukozesebwa.
Ddak. 15: Funa Essanyu Eriva mu Kuyamba Abalala. (Yok 4:34) Okubuuza ebibuuzo. Kisanyusa nnyo okulaba omuntu ng’abugaanye essanyu olw’okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (w94 3/1 lup. 29 but. 6-7) Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu oba bapayoniya abalina obumanyirivu mu kukozesa Baibuli mu buweereza bw’ennimiro ne mu kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Kiki kye bakola okusobola okuyamba abo abaagala okweyongera okuyigga ebisingawo? Mikisa ki gye bafunye mu kukola ekyo? Basabe babeeko bye boogera oba balage ebyokulabirako ku ebyo ebyaliwo ddala mu buweereza bw’ennimiro.
Ddak. 20: “Kaweefube ow’Okugaba Brocuwa Empya.”a Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Laga ebyokulabirako ng’okozesa ebirowoozo ebiweereddwa. Mu kimu ku byokulabirako, nnyinimu alaga nti tayagala nnyo bikwata ku Baibuli era aweebwa tulakiti mu kifo kya brocuwa.
Oluyimba 64 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Okitobba 18
Oluyimba 51
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Mu bufunze yogera ku nteekateeka ey’enjawulo ey’okugaba brocuwa empya.
Ddak. 40: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Lutukubiriza Okutambula ne Katonda.” Kya kukubirizibwa omukadde. Oluvannyuma lw’ennyanjula ey’eddakiika emu oba n’obutawera, tandika okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku programu y’olukuŋŋaana olunene ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa mu kitundu ekyo. Gabanyamu ebiseera mu ngeri eneebasobozesa okukubaganya ebirowoozo ku buli kibuuzo, ng’okkiriza eky’okuddamu kimu kyokka ku bibuuzo ebimu. Kiyinza obutasoboka kusoma byawandiikibwa byonna mu budde obuweereddwa; bino biweereddwa okubasobozesa okufuna amangu eby’okuddamu. Abawa eby’okuddamu essira basaanidde kulissa ku miganyulo egiva mu kussa mu nkola bye tuba tuyize.
Oluyimba 58 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Okitobba 25
Oluyimba 26
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Laga ekyokulabirako ekikwata ku gaba brocuwa empya ekituukiddewo obulungi mu kitundu kyammwe. Ebiseera bwe bikusobozesa saba abawuliriza boogere ku ebyo ebibaddewo mu kaweefube oyo.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Wa Obukakafu ku Kigambo kya Katonda. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ministry School empapula 256-7. Tusobola kukozesa tutya obukakafu obulala obutali mu Baibuli okuyamba abantu okutegeera nti by’eyogera byesigika? Saba abawuliriza boogere ku bibuuzo ebiddirira: Bintu ki ebiri mu butonde bye tusobola okwogerako okukakasa nti Omutonzi waali? (rs emp. 85-6) Tusobola kukozesa tutya ebyo ebyogerwa abeekenneenya Baibuli oba abakugu abalala okusobola okuyamba abantu okutegeera nti ddala Baibuli Kigambo kya Katonda? (rs emp. 62-4) Kyakulabirako ki kye tusobola okukozesa okuyamba abalala okutegeera ensonga lwaki Katonda akkiriza obubi okubaawo? (rs lup. 429) Bintu ki ebyaliwo oba ebyokulabirako by’okozesezza okuyamba abantu okutegeera nti kya magezi okugoberera okubuulirira kwa Baibuli?
Oluyimba 29 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 1
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza.
Ddak. 20: Engeri y’Okuyambamu Abo Aboogera Olulimi Olulala. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku nnyanjula y’akatabo Good News for People of All Nations. Yogera ku bintu ebiri mu katabo ako akappya. Yogera ku bintu bisatu bye tusobola okukola nga tuyamba abo aboogera olulimi lwe tutategeera. Yogera ne ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2003, olupapula 4. Bategeeze nti foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) erina okujjuzibwamu wadde ng’omuntu tasiimye obubaka bw’Obwakabaka. Lagayo ekyokulabirako ku ngeri y’okukozesaamu akatabo akappya.
Ddak. 15: Ebyokulabirako Okuva mu Kitundu Kyammwe. Yogera ku bintu ebirungi ebyaliwo mu kaweefube ow’okugaba brocuwa empya. Laga ebyokulabirako ebyoleka ebintu ebirungi ennyo ebyaliwo ddala. Yogera ku ebyo ebyatuukibwako, era weebaze bonna olw’okufuba kwabwe. Mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oluddako tujja kwekenneenya engeri y’okweyongera okukubaganya ebirowoozo n’abaagala okumanya ebisingawo nga tukozesa brocuwa empya.
Oluyimba 78 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.