Onootambula ne Katonda?
‘Beera muwombeefu ng’otambula ne Katonda wo.’—MIKKA 6:8.
1, 2. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ageraageranyizibwa ku muzadde ayigiriza omwana we okutambula?
OMWANA eyeetengeredde akunukkiriza emikono gya muzadde we, era asimbula ebigere bye ebisooka. Wadde nga kino abamu bayinza obutakitwala ng’ekikulu, kiwa maama ne taata essuubi nti omwana waabwe ajja kutambula. Abazadde bano bombi baba beesunga ekiseera lwe balitandika okutambulako n’omwana waabwe. Baba basuubira okumuwa obulagirizi, okukola ku byetaago bye, n’okufaayo ku nneewulira ze.
2 Mu ngeri y’emu, ne Yakuwa Katonda ayigiriza abaana be ab’oku nsi okutambula. Lumu bwe yali ayogera ku Baisiraeri oba Efulayimu yagamba nti: “N[n]ayigiriza Efulayimu okutambula; n[n]abawambatira mu mikono gyange . . . N[n]abawalula n’emigwa egy’omuntu, n’ebisiba eby’okwagala.” (Koseya 11:3, 4) Wano Yakuwa yeeyogerako ng’omuzadde omwagazi ayigiriza omwana we okutambula, oboolyawo ng’amukutte ne ku mukono aleme kugwa. Yakuwa, Omuzadde asingayo obulungi ayagala nnyo okutuyigiriza okutambula. Ate era asanyuka bwe tweyongera okutambula naye. Ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, tusobola okutambula ne Katonda! (Mikka 6:8) Naye, kitegeeza ki okutambula ne Katonda? Lwaki twetaaga okutambula naye? Tusobola tutya okutambula ne Katonda? Era miganyulo ki egiri mu kutambula ne Katonda? Ka twetegereze ebibuuzo bino kimu ku kimu.
Kitegeeza Ki Okutambula ne Katonda?
3, 4. (a) Lwaki kyewunyisa okugamba nti abantu basobola okutambula ne Katonda? (b) Kitegeeza ki okutambula ne Katonda?
3 Kya lwatu, ffe abantu abalina omubiri n’omusaayi tetusobola kutambula na Yakuwa omuntu ow’omwoyo nga bwe tutambula ne bantu banaffe. (Okuva 33:20; Yokaana 4:24) N’olwekyo, Baibuli bw’egamba nti abantu batambula ne Katonda, eba ekozesa olulimi lwa kabonero. Ekozesa ekigambo abantu aba buli kika n’eggwanga kye basobola okutegeera era ekibadde kikozesebwa ebbanga lyonna. Waliwo omuntu yenna atakitegeera bwe twogera ku muntu okutambula ne munne? Omuntu bw’atambula n’omulala kiba kiraga nti ba mukwano, si bwe kiri? N’olwekyo, kino kitulaga bulungi kye kitegeeza okutambula ne Katonda. Kati ka tweyongere okwetegereza amakulu gaakyo.
4 Lowooza ku basajja abeesigwa nga Enoka ne Nuuwa. Lwaki boogerwako ng’abaatambula ne Katonda? (Olubereberye 5:24; 6:9) Mu Baibuli, ekigambo “okutambula” kitera okutegeeza okweyisa mu ngeri emu. Enoka ne Nuuwa baasalawo okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa Katonda. Okwawukana ku bantu abaaliwo mu kiseera kyabwe, Enoka ne Nuuwa baagobereranga obulagirizi bwa Yakuwa. Baamwesiganga. Kino kitegeeza nti Yakuwa ye yabasalirangawo buli kimu? N’akatono. Yakuwa awadde abantu eddembe ly’okwesalirawo, era ayagala tulikozese ‘n’amagezi.’ (Abaruumi 12:1) N’olwekyo, bwe tuba tulina bye tusalawo, kiba kirungi ne tuteesigama ku magezi gaffe, wabula ne tuleka Yakuwa atuwe obulagirizi. (Engero 3:5, 6; Isaaya 55:8, 9) Mu ngeri eyo, tuba tutambula ne Yakuwa.
5. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yayogera ku kugatta omukono ogumu ku bulamu bwaffe?
5 Emirundi mingi Baibuli egeraageranya obulamu bw’omuntu ku lugendo. Ebiseera ebimu ebintu bino ebigeraageranya butereevu, ate oluusi n’ekozesa ebigambo ebirala. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerako ku bukulu bwe n’akaseera akamu [ekivvuunulwa obutereevu, “n’omukono ogumu”]?” (Matayo 6:27) Lwaki Yesu yakozesa ebigambo “n’omukono ogumu,” ebikozesebwa mu kupima obuwanvu bw’ekintu, ng’ate obukulu bw’omuntu bubalirirwa mu biseera?a Wano Yesu yali ageraageranya obulamu ku lugendo. Yali ategeeza nti, ne bwe weeraliikirira otya, tosobola kwongera ku kiseera ky’oyinza kuwangaala. Kati olwo, kino kitegeeza nti tewali kye tuyinza kukola okusobola okwongera ku bulamu bwaffe? N’akatono! Kino kitutuusa ku kibuuzo eky’okubiri ekigamba nti, Lwaki twetaaga okutambula ne Katonda?
Lwaki Twetaaga Okutambula ne Katonda?
6, 7. Kiki abantu abatatuukiridde kye beetaaga, era lwaki kirungi okwesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi obwo?
6 Ensonga emu lwaki twetaaga okutambula ne Katonda eyogerwako mu Yeremiya 10:23 awagamba nti: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” N’olwekyo, ffe abantu tetusobola kuluŋŋamya bigere byaffe, era tetusaanidde kukikola. Twetaaga okuweebwa obulagirizi. Abo abasalawo okutambulira mu kkubo eryabwe ku bwabwe ne beesamba obulagirizi bwa Katonda, bakola ensobi y’emu nga Adamu ne Kaawa gye baakola. Abantu ababiri abo abaasooka beesalirawo kirungi n’ekibi. (Olubereberye 3:1-6) Mazima ddala ‘tekiri mu ffe’ okuluŋŋamya ebigere byaffe.
7 Olowooza teweetaaga okuweebwa bulagirizi mu bulamu? Buli lunaku twolekagana n’eby’okusalawo. Ebimu ku by’okusalawo bino biba bikulu nnyo ne kiba nti kyonna kye tusalawo kiyinza okukwata ku biseera byaffe eby’omu maaso awamu n’eby’abaagalwa baffe. Kirowoozeeko nga waliwo omuntu akusinga obukulu omwetegefu okukuyamba okusalawo mu ngeri entuufu! Kya nnaku nnyo nti abantu abasinga tebaagala buyambi ng’obwo. Baagala kusalawo nga basinziira ku ndowooza zaabwe. Babuusa amaaso ebigambo ebiri mu Engero 28:26 ebigamba nti: “Eyeesiga omutima gwe ye musirusiru: naye atambula n’amagezi ye aliwonyezebwa.” Yakuwa tayagala tugwe mu bizibu olw’okwesiga omutima gwaffe omulimba. (Yeremiya 17:9) Ayagala tutambule n’amagezi era tugoberere obulagirizi bwe. Ekyo bwe tukikola, tujja kuba n’obulamu obulungi, obumatiza era obw’ekigendererwa.
8. Kiki ekituuka ku bantu olw’ekibi n’obutali butuukirivu bye baasikira, naye Yakuwa atwagaliza ki?
8 Ensonga endala lwaki twetaaga okutambula ne Katonda eri nti, twagala okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka, Baibuli erina ekintu ekinakuwaza ky’etubuulira. Eraga nti olw’okuba fenna tetutuukiridde, tugenda mu kifo kimu. Nga lunnyonnyola ebyo ebitutuukako nga tukaddiye, Omubuulizi 12:5 lugamba: “Omuntu agenda mu nnyumba ye ey’olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo.” ‘Ennyumba ey’olubeerera’ eyogerwako wano y’eruwa? Ge magombe, gye tugenda olw’ekibi n’obutali butuukirivu bye twasikira. (Abaruumi 6:23) Kyokka, Yakuwa tayagala tubeere mu bulamu nga buno obujjudde ebizibu okuva lwe tuzaalibwa okutuuka lwe tufa. (Yobu 14:1) Ekintu kyokka ekiyinza okutuyamba okufuna obulamu obutaggwaawo kwe kutambula ne Katonda. Ekyo si kye wandyagadde? Bwe kiba bwe kityo, weetaaga okutambula ne Kitaffe oyo.
Tusobola Tutya Okutambula ne Katonda?
9. Lwaki ebiseera ebimu Yakuwa yeekwekanga abantu be, naye bigambo ki ebizzaamu amaanyi ebiri mu Isaaya 30:20?
9 Ekibuuzo kyaffe eky’okusatu kye tugenda okwetegereza kyetaaga okulowoozebwako ennyo. Kigamba, Tusobola tutya okutambula ne Katonda? Eky’okuddamu kisangibwa mu Isaaya 30:20, 21 awagamba nti: “[Omuyigiriza wo Omukulu, olimulaba, talikwekweka, NW] n’amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.” Mu bigambo bya Yakuwa bino ebizzaamu amaanyi, olunyiriri olwa 20 luteekwa okuba nga lwajjukiza abantu be nti, bwe baamujeemera yali ng’abeekwese. (Isaaya 1:15; 59:2) Kyokka, wano Yakuwa tayogerwako ng’akyekwese, wabula ayogerwako ng’ayimiridde mu maaso g’abantu be abeesigwa basobole okumulaba. Kino kituleetera okulowooza ku musomesa ayimiridde mu maaso g’abayizi ng’abalaga eky’okukola.
10. Mu ngeri ki gye tuwuliramu ‘eddoboozi ly’Omuyigiriza waffe erituvaako emabega’?
10 Olunyiriri olwa 21 lulina ekintu ekirala kye lwogera ku Yakuwa. Lumwogerako ng’avaako ennyuma, ng’alagirira abantu be ekkubo lye balina okutambuliramu. Abeekeneenya ba Baibuli bagamba nti ebigambo ebyo biyinza okukozesebwa ku musumba agoberera endiga ze ng’azivaako ennyuma, ng’aziraga ekkubo ery’okutambuliramu era ng’azitangira okukwata ekkubo ekyamu. Kati olwo, ebigambo bino birina makulu ki gye tuli? Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda, tuba tusoma ebigambo ebyawandiikibwa emyaka mingi emabega. Mu ngeri eyo biba ng’ebituvaako ennyuma. Wadde byawandiikibwa dda nnyo, bikyali bya makulu ne mu kiseera kino. Obulagirizi obuli mu Baibuli butuyamba nga tulina bye tusalawo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo, era butuyamba okweteekerateekera ebiseera byaffe eby’omu maaso. (Zabbuli 119:105) Bwe tugoberera obulagirizi obwo, tuba ng’abalese Yakuwa okutuwa obulagirizi. Mu ngeri eyo tuba tutambula ne Katonda.
11. Okusinziira ku Yeremiya 6:16, kiki Yakuwa kye yakubiriza abantu be okukola era baayanukula batya?
11 Tugoberera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda? Bulijjo, kiba kirungi okulowooza ku kibuuzo ekyo n’okwekebera mu bwesimbu. Weetegereze olunyiriri oluyinza okutuyamba mu kino. Lugamba: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag’edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale muliraba emmeeme zammwe ekiwummulo.” (Yeremiya 6:16) Ebigambo bino biyinza okutuleetera okulowooza ku muntu atuuse mu masaŋŋanzira n’abuuza ekkubo erimutuusa gy’agenda. Mu ngeri ey’eby’omwoyo, Abaisiraeri abaali bajeemedde Yakuwa kyali kibeetaagisa okukola ekintu kye kimu. Baalina okunoonyereza basobole okuzuula “amakubo ag’edda.” “Oluguudo olulungi” lwe baali bavuddeko, lye kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu. Eky’ennaku, Abaisiraeri baasuula muguluka okubuulirira okwo Yakuwa kwe yali abawadde. Olunyiriri lwe lumu lweyongera ne lugamba nti: “Naye era ne boogera nti Tetuutambulire omwo.” Okwawukana ku Baisiraeri abo, abantu ba Katonda ab’omu kiseera kino bo bagoberedde okubuulirira okwo.
12, 13. (a) Mu ngeri ki abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta gye bagoberedde okubuulirira okuli mu Yeremiya 6:16? (b) Kiki kye tusaanidde okukola okukakasa nti tutambulira mu kkubo ery’obulamu?
12 Okuviira ddala ku nkomerero y’ekyasa ekya 19, abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta bagoberedde okubuulirira okuli mu Yeremiya 6:16. Ng’ekibiina, bawomye omutwe mu kuddamu okutambulira mu ‘makubo ag’edda.’ Obutafaananako Kristendomu, bagoberedde ‘ebigambo eby’obulamu’ Yesu Kristo bye yayigiriza, era abagoberezi be abeesigwa bye babadde bagoberera okuviira ddala mu kyasa ekyasooka C.E. (2 Timoseewo 1:13) N’okutuusa leero, abaafukibwako amafuta bayambagana era bayamba bannaabwe ‘ab’endiga endala’ okutambulira mu kkubo ery’obulamu Kristendomu ly’esudde omuguluka.—Yokaana 10:16.
13 Ekibiina ky’omuddu omwesigwa kiyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okuzuula “amakubo ag’edda” n’okutambula ne Katonda, nga kibawa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. (Matayo 24:45-47) Oli omu ku bantu abo? Bwe kiba bwe kityo, kiki ekiyinza okukuyamba okunywerera mu kkubo eryo? Kiba kirungi okwekebera buli luvannyuma lwa kiseera okukakasa nti okyatambulira mu kkubo ery’obulamu. Singa onyiikirira okusoma Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako era n’obeerangawo mu nkuŋŋaana eziteekebwateekebwa abaafukibwako amafuta, kiba kiraga nti otendekebwa okutambula ne Katonda. Singa oteeka mu nkola okubuulirira okukuweebwa, mazima ddala oba otambula ne Katonda, ng’ogoberera “amakubo ag’edda.”
Tambula ng’Olinga ‘Alaba Oyo Atalabika’
14. Bye tusalawo biyinza bitya okwoleka nti Yakuwa tumutwala nga wa ddala?
14 Okusobola okutambula ne Yakuwa, ateekwa okuba nga wa ddala gye tuli. Jjukira nti, Yakuwa yakakasa Abaisiraeri abeesigwa nti yali tabeekwese. Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa yeeyoleka eri abantu be ng’Omuyigiriza Omukulu. Olina okukkiriza okw’amaanyi ne kiba nti Yakuwa omutwala nga wa ddala, ng’alinga ayimiridde mu maaso go okukuyigiriza? Bwe tuba ab’okutambula ne Katonda tusaanidde okuba n’okukkiriza ng’okwo. Olw’okukkiriza, Musa “yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Abaebbulaniya 11:27) Singa Yakuwa tumutwala nga wa ddala, buli lwe tunaabanga n’eky’okusalawo tujja kusooka kulowooza ku ngeri gy’atunuuliramu ensonga. Ng’ekyokulabirako, tetujja kukwekerera nsobi zaffe nga tulowooza nti kasita abakadde mu kibiina oba ab’omu maka gaffe tebatulabye. Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba okutambula ne Katonda ne bwe kiba nti tewali atulaba. Okufaananako Kabaka Dawudi eyaliwo edda, naffe tugamba nti: “Naatambuliranga mu nnyumba yange n’omutima ogutuukiridde.”—Zabbuli 101:2.
15. Ebituuka ku Bakristaayo bannaffe biyinza bitya okutuyamba okuwulira nga Yakuwa nga wa ddala gye tuli?
15 Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde, nti tuli nfuufu, era nti ebiseera ebimu kituzibuwalira okukkiriza bye tutasobola kulaba. (Zabbuli 103:14) N’olwekyo, akola kyonna ky’asobola okutuyamba okuvvuunuka obunafu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, akuŋŋaanyizza “abantu abayitibwa erinnya lye” okuva mu mawanga gonna. (Ebikolwa 15:14) Bwe tumuweerereza awamu, tuzziŋŋanamu amaanyi. Bwe tuwulira ku ngeri Yakuwa gyayambyemu mukkiriza munnaffe okuvvuunuka obunafu obutali bumu oba okuyita mu kizibu ekimu, kyongera okutulaga nti Katonda wa ddala gye tuli.—1 Peetero 5:9.
16. Mu ngeri ki okuyiga ebikwata ku Yesu gye kisobola okutuyamba okutambula ne Katonda?
16 N’okusinga byonna, Yakuwa atuwadde Omwana we atuteerewo ekyokulabirako. Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” (Yokaana 14:6) Okusoma ebikwata ku bulamu bwa Yesu obw’oku nsi ye ngeri esingirayo ddala obulungi eyinza okutuyamba okulaba nga Yakuwa wa ddala gye tuli. Byonna Yesu bye yayogera ne bye yakola byalaga bulungi engeri za Kitaawe ow’omu ggulu. (Yokaana 14:9) N’olwekyo bwe tuba tulina bye tusalawo, kitwetaagisa okulowooza ku ngeri Yesu gye yandikuttemu ensonga. Bwe tukola bwe tutyo tuba tutambulira mu bigere bya Kristo. (1 Peetero 2:21) Mu ngeri eyo, tuba tutambula ne Katonda.
Miganyulo Ki Egivaamu?
17. Bwe tutambulira mu makubo ga Yakuwa, “kiwummulo” kya ngeri ki kye tufuna?
17 Okutambula ne Yakuwa Katonda kivaamu emiganyulo mingi. Jjukira ekyo Yakuwa kye yagamba abantu be ekyandivuddemu bwe banditambulidde mu ‘luguudo olulungi.’ Yabagamba: “Mutambulire omwo kale muliraba emmeeme zammwe ekiwummulo.” (Yeremiya 6:16) Ekigambo ekikozeseddwa wano ekyavvuunulwa “ekiwummulo” kirina makulu ki? Kitegeeza kuba mu bulamu bwa masanyu? N’akatono. Yakuwa atuwa ekintu ekisingayo obulungi, ekintu abantu abasingayo obugagga mu nsi kye batalina. Okufuna ekiwummulo kitegeeza okufuna emirembe, essanyu n’okuba abamativu mu by’omwoyo. Bw’ofuna emirembe ng’egyo kiba kitegeeza nti ekkubo ly’otambuliramu lye lisingayo obulungi. Emirembe ng’egyo ensi tegirina!
18. Kiki Yakuwa ky’akwagaliza, era wandibadde na kiruubirirwa ki?
18 Kya lwatu, okuba omulamu ku bwakyo nkizo ya maanyi. Ne bwe tubeerawo akaseera akatono, kisinga obutaba na bulamu. Kyokka, tekyali kigendererwa kya Yakuwa tubeerewo akaseera katono, tukaddiwe era oluvannyuma tufe. Yakuwa atwagaliza ekisingayo obulungi. Ayagala tutambule naye emirembe gyonna! Kino kyeyolekera bulungi mu Mikka 4:5 awagamba nti: “Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.” Oyagala okutambula ne Yakuwa emirembe gyonna? Oyagala okubeera mu bulamu bw’ayita ‘obulamu obwa nnamaddala’? (1 Timoseewo 6:19) Bwe kiba bwe kityo, kifuule kiruubirirwa kyo okutambula ne Yakuwa okuva leero okutuusa emirembe gyonna!
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kifo ky’okukozesa ekigambo “omukono” mu lunyiriri luno, enkyusa za Baibuli ezimu zikozesa ebigambo “akaseera akamu,” (The Emphatic Diaglott) oba “eddakiika emu” (A Translation in the Language of the People, eyavvuunulwa Charles B. Williams). Kyokka, ekigambo ekyakozesebwa mu biwandiiko ebyasooka kitegeeza omukono gumu, nga zino ze inci nga 18.
Wandizzeemu Otya?
• Kitegeeza ki okutambula ne Katonda?
• Lwaki weetaaga okutambula ne Katonda?
• Kiki ekinaakuyamba okutambula ne Katonda?
• Abo abatambula ne Katonda bafuna miganyulo ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Bwe tusoma Baibuli, tuba tuwulira eddoboozi lya Yakuwa erituvaako ennyuma nga ligamba nti, “Lino lye kkubo”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Bwe tugenda mu nkuŋŋaana, tuliisibwa emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu