Photo by Stringer/Getty Images
BEERA BULINDAALA!
Olutalo Wakati wa Isirayiri ne Iran—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Abantu okwetooloola ensi beeraliikirivu olw’olutalo olugenda mu maaso wakati wa Amerika, Isirayiri ne Iran. Olutalo olwo lunaazingiramu n’ensi endala? Gavumenti zisobola okumalawo entalo ne zireetawo emirembe egya nnamaddala?
Abantu abasomye ku bunnabbi obuli mu Bayibuli beebuuza obanga olutalo olwo luyinza okuba entandiikwa y’olutalo Amagedoni olwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa.
Bayibuli ekyogerako ki?
Gavumenti zinaasobola okukomya olutalo oluli wakati wa Isirayiri ne Iran?
Bayibuli egamba nti: “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola.”—Zabbuli 146:3.
Tetumanyi obanga gavumenti zinaasobola okuleetawo emirembe mu kitundu ekyo. Kyokka, Bayibuli ekyoleka bulungi nti tewali mukulembeze, gavumenti, oba kibiina ky’abantu ekisobola okumalawo entalo n’okuleetawo emirembe egya nnamaddala. Katonda yekka y’asobola ‘okumalawo entalo mu nsi yonna.’—Zabbuli 46:9.
Okumanya ebisingawo, soma Omunaala gw’Omukuumi ogulina omutwe, “Ddala Entalo Ziriggwaawo?”
Olutalo oluli wakati wa Isirayiri ne Iran lutuukiriza obunnabbi?
Bayibuli egamba nti: “Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu. . . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.”—Matayo 24:6, 7.
Olutalo olwo bwe bumu ku bukakafu obulaga nti tuli mu kiseera ‘eky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno,’ Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (Matayo 24:3; 2 Timoseewo 3:1) Entalo eziriwo leero ziraga nti Katonda anaatera okumalawo entalo n’ebizibu ebirala ebinyigiriza abantu.
Okuyiga ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe, “What Is the Sign of ‘the Last Days,’ or ‘End Times’?”
Olutalo Amagedoni lunaatandikira mu nsi za Buwalabu?
Bayibuli egamba nti: “Ne bibakuŋŋaanya wamu mu kifo ekiyitibwa Amagedoni mu Lwebbulaniya.”—Okubikkulirwa 16:16.
Olutalo Amagedoni terujja kuba wakati wa gavumenti z’abantu, wabula lujja kuba wakati wa Katonda n’abafuzi bonna mu nsi.
Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe, “Olutalo Amagedoni kye Ki?”
Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu wadde nga waliwo ebitweraliikiriza?
Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”—Abafiripi 4:6.
Yakuwaa Katonda ayagala tumusabe. Olw’okuba atufaako, awulira essaala zaffe era atuyamba okugumira ebizibu ebitweraliikiriza. (1 Peetero 5:7) Ate era atuyamba okutegeera ensonga lwaki waliwo entalo, engeri gye zijja okuggwaawo, n’engeri gy’ajja okumalawo obulumi n’okubonaabona.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Okumanya ebisingawo ku ngeri Katonda gy’atuyambamu, soma ekitundu ekirina omutwe, “You Can Find Words of Comfort in the Bible.”
a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.