BEERA BULINDAALA!
Kitegeeza Ki Okuba Omukristaayo?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
Leero bantu bangi mu nsi bagamba nti Bakristaayo. Kyokka bayisa bubi bannaabwe. Abamu beefaako bokka, abalala si beesigwa ate abalala si ba kisa. Ate era abalala si beesigwa eri bannaabwe mu bufumbo. Engeri gye beeyisaamu ereetera abantu abamu okwebuuza nti: ‘Ddala kitegeeza ki okuba Omukristaayo?’
Kye kitegeeza okuba Omukristaayo
Kyangu omuntu okugamba nti Mukristaayo. Naye ekyo tekimala. Waliwo ebizingirwa mu kuba Omukristaayo. Okusinziira ku Bayibuli, Omukristaayo ye muyigirizwa wa Yesu Kristo. (Ebikolwa 11:26) Yesu yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala.” (Yokaana 8:31) Kya lwatu tewali asobola kugondera Yesu mu ngeri etuukiridde. Kyokka Omukristaayo afuba okukolera ku njigiriza za Yesu, era ekyo kyeyolekera mu ebyo by’akola buli lunaku n’ebyo by’asalawo. Weetegereze ebyokulabirako bino.
Abakristaayo balaga abalala okwagala
Yesu kye yagamba: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.”—Yokaana 13:34, 35.
Yesu kye yakola: Yesu yalaga abantu bonna okwagala ka babe nga bali mu mbeera ki. Yawonya abalwadde, yaliisa abaali balumwa enjala era yawaayo obulamu bwe lw’abantu bonna.—Matayo 14:14-21; 20:28.
Ekyo Abakristaayo kye bakola: Abakristaayo balaga abalala okwagala nga babaako bye babakolera, nga tebabasosola era nga babasonyiwa. Bayamba abo ababa mu bwetaavu, era baba beetegefu okubaako bye beefiiriza ku lw’abalala.—1 Yokaana 3:16.
Abakristaayo baba beesigwa
Yesu kye yagamba: ‘Nze mazima.’—Yokaana 14:6.
Yesu kye yakola: Yesu yayogeranga amazima era yakolanga ebintu ebituufu. Teyasendesenda balala basobole okukola ye by’ayagala oba okubaleetera okukkiriza ebintu ebitaali bituufu. Yali amanyiddwa nti mwesigwa, ekyo ne bwe kyamuviirangako okufuna ebizibu.—Matayo 22:16; 26:63-67.
Ekyo Abakristaayo kye bakola: Abakristaayo tebalimba. Basasula emisolo, tebabba, bakola emirimu gy’abakama baabwe n’obunyiikivu era tebakolera bintu birala mu biseera bye baba balina okukoleramu emirimu gya bakama baabwe. (Abaruumi 13:5-7; Abeefeso 4:28) Tebalimbalimba balala kubaako bye beefunira, tebabba bibuuzo, tebalimba nga basaba emirimu oba nga bajjuzaamu ffoomu endala yonna.—Abebbulaniya 13:18.
Abakristaayo booleka ekisa
Yesu kye yagamba: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.”—Matayo 11:28-30.
Yesu kye yakola: Yesu yali atuukirikika era yaleeteranga abantu okuwulira obulungi nga bali naye. Yasembezanga abaana, yabudaabudanga abo abaabanga n’ebizibu, era yawanga abalala ekitiibwa.—Makko 10:13-15; Lukka 9:11.
Ekyo Abakristaayo kye bakola: Abakristaayo boogera ne bannaabwe mu ngeri ey’ekisa, era tebakozesa bigambo ebivuma. (Abeefeso 4:29, 31, 32) Bafaayo ku balala era banoonya engeri yonna gye basobola okubayambamu.—Abaggalatiya 6:10.
Abakristaayo baba beesigwa eri bannaabwe mu bufumbo
Yesu kye yagamba: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”—Makko 10:9.
Yesu kye yakola: Wadde nga Yesu teyali mufumbo, yakubiriza abo abali mu bufumbo buli omu okuba omwesigwa eri munne. (Matayo 19:9) Yabagamba okwewala ebintu ebiyinza okuleetera obufumbo bwabwe okusasika.—Matayo 5:28.
Ekyo Abakristaayo kye bakola: Abakristaayo beewala okukola ebintu ebiweebuula bannaabwe mu bufumbo. (Abebbulaniya 13:4) Abafumbo balagaŋŋana okwagala era bawaŋŋana ekitiibwa.—Abeefeso 5:28, 33.