LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mrt ekitundu 134
  • Okweyisa mu Ngeri ey’Obukambwe Tekisobola Kumalawo Bizibu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okweyisa mu Ngeri ey’Obukambwe Tekisobola Kumalawo Bizibu
  • Ensonga Endala
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kiki Yesu kye yagamba
  • Kiki Yesu kye Yakola era kiki ky’agenda okukola
  • Wajja Kubaawo Emirembe mu Nsi Yonna
    Ensonga Endala
  • Mweyongere Okukola Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Ensonga Endala
mrt ekitundu 134
Yesu ng’ayigiriza ekibiina ky’abantu omuli abasajja, abakazi, n’abaana.

YIGIRA KU YESU

Okweyisa mu Ngeri ey’Obukambwe Tekisobola Kumalawo Bizibu

Abantu bangi balowooza nti okweyisa mu ngeri ey’obukambwe kisobola okumalawo ebizibu. Kyokka endowooza eyo ekontana n’ebyo Yesu Kristo bye yayigiriza era n’engeri gye yeeyisaamu. Lowooza ku ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola.

Kiki Yesu kye yagamba

Yesu bwe yali ayigiriza ku lusozi, yagamba nti okunyiiga oba okweyisa mu ngeri ey’obukambwe, si ye ngeri entuufu ey’okugonjoolamu obutakkaanya. Lowooza ku ebyo bye yayogera ebiri wammanga.

  • “Kale, ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.” (Matayo 7:12; Lukka 6:31) Etteeka eryo litukubiriza okuyisa abalala nga naffe bwe twandyagadde batuyise. Okuva bwekiri nti tewali ayagala kuyisibwa mu ngeri ya bukambwe, tusaanidde okufuba okuwa abalala ekitiibwa, n’okubayisa mu ngeri ey’ekisa wadde nga tufunye obutakkaanya nabo.

  • “Buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.” (Matayo 5:38, 39; Lukka 6:29) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali tategeeza nti tusaanidde okuleka abalala batuyise ngeri embi. Mu kifo ky’ekyo, yali atereeza ndowooza nkyamu oboolyawo abamu ku bakulembeze b’eddiini gye baagambanga nti yali ekkirizibwa. Yali agamba bagoberezi nti tebasaanidde kwesasuza, wabula basaanidde okuba abakkakkamu ng’omuntu abakoze ekintu ekibi.a

  • “Mweyongere okwagala abalabe bammwe.” (Matayo 5:43, 44; Lukka 6:27) Yesu yayigiriza nti tusaanidde okulaga ekisa abo abatatwagala oba abo abatuyisa obubi. Wadde kiri kityo, yali tategeeza nti tusaanidde okuwagira enneeyisa yaabwe embi.b Bwe tulaga abo abatatwagala ekisa, kiyinza okukkakkanya obusungu bwe baba nabwo era ne batuyisa mu ngeri ey’ekisa.

Kiki Yesu kye Yakola era kiki ky’agenda okukola

Yesu yayigiriza nti okweyisa mu ngeri ey’obukambwe tekisobola kumalawo bizibu era ekyo yakyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu. Yesu bwe yakwatibwa, omu ku bagoberezi be yeeyisa mu ngeri ey’obukambwe ng’amulwanirira. Kyokka Yesu yagamba nti: “Zzaayo ekitala kyo mu kifo kyakyo kubanga abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.” (Matayo 26:52) Yesu yalaga abalabe be okwagala. Bwe baamuyisa obubi, yabasonyiwa era yabasabira!—Lukka 23:33, 34; 1 Peetero 2:23.

Bayibuli egamba nti mu kiseera ekitali kya wala, Yesu, Omukulu ow’Emirembe, ajja kumalawo ebikolwa eby’obukambwe byonna. (Isaaya 9:6, 7) Okumanya ebisingawo ku kisuubizo ekyo, soma ekitundu “Engeri Entalo gye Zijja Okumalibwawo.”

a Okumanya ebisingawo, soma ekitundu “Ebigambo “Eriiso olw’Eriiso” Birina Makulu Ki?”

b Okumanya ebisingawo, soma ekitundu “What Does It Mean to ‘Love Your Enemies’?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza