LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maayi lup. 20-25
  • Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Ofuna Obuyigirize Obusingako

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Ofuna Obuyigirize Obusingako
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • BEERA N’ENTEEKATEEKA ENNUNGI EY’EBY’OMWOYO
  • ‘KUUMA OBUSOBOZI BWO OBW’OKULOWOOZA OBULUNGI’
  • KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO
  • WEEYONGERE ‘OKUTAMBULA N’AB’AMAGEZI’
  • WEETEEKETEEKE BULUNGI
  • Kozesa Amagezi ng’Osalawo Obanga Onoofuna Obuyigirize Obusingako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Weeyongere ‘Okugoberera’ Yesu Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maayi lup. 20-25

JJULAAYI 27–AGUSITO 2, 2026

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Ofuna Obuyigirize Obusingako

“Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.”—BAF. 3:16.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli ena egisobola okukuyamba okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo bw’oba osazeewo okufuna obuyigirize obusingako.

1-2. (a) Bw’osalawo okufuna obuyigirize obusingako, kiki ky’osaanidde okweyongera okukola? (b) Kitegeeza ki ‘okweyongera okutambula obulungi mu kkubo lye limu’? (Abafiripi 3:16)

ABAMU ku baweereza ba Yakuwa basazeewo okufuna obuyigirize obusukka ku bwa siniya. Bayinza okuba bawulira nti obuyigirize obwo bujja kubasobozesa okufuna omulimu ogunaabayamba okweyimirizaawo nga baweereza Yakuwa. Bw’oba osazeewo okufuna obuyigirize obusingako, oyinza otya okukakasa nti osigala ng’olina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? (Yak. 4:8a) Tewali kubuusabuusa nti emyaka gy’omaze ng’osoma oteekwa okuba ng’ofunye ebintu bingi ebigezesezza okukkiriza kwo. Naye kati kijja kukwetaagisa ‘okweyongera okutambula obulungi mu kkubo lye limu,’ kwe kugamba, okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa nga bw’obaddenga okola.—Soma Abafiripi 3:16.

2 Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okutambula obulungi mu kkubo lye limu” kyateranga okukozesebwa mu by’amagye okwogera ku ngeri entegeke obulungi abasirikale gye baakumbangamu. Bw’osalawo okufuna obuyigirize obusingako, beera mumalirivu okuba ng’abasirikale abo “abakumba nga bagenda mu maaso,” kwe kugamba, weeyongere okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu oleme okuddirira oba okunafuwa mu by’omwoyo. Ekitundu kino kigenda kwogera ku misingi gya Bayibuli ena egisobola okukuyamba. Emisingi gino si mipya gy’oli. Wali ogikoleddeko, ojja kwetaaga okugikolerako ng’ofuna obuyigirize obusingako, era ne bw’onooba ng’omaze okusoma.

BEERA N’ENTEEKATEEKA ENNUNGI EY’EBY’OMWOYO

3. Bw’oba ofuna obuyigirize obusingako, kusoomooza ki kw’oyinza okufuna?

3 Ekiyinza okukifuula ekizibu. Mu kiseera ng’ofuna obuyigirize obusingako, oyinza okuba n’eby’okukola bingi ne kiba nti bitaataaganya enteekateeka yo eya buli lunaku. Olw’okuba oba oyagala okukola obulungi, oyinza okutandika okukulembeza emisomo gyo mu kifo ky’okukulembeza ebintu by’olina okukola ng’oweereza Yakuwa. Oyinza n’okutandika okulagajjalira okubeerangawo mu nkuŋŋaana, okwenyigira mu kubuulira, okwesomesa Bayibuli, n’okusaba.—Kub. 2:4.

4. Kiki ekisobola okukuyamba okubeera “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe”? (1 Abakkolinso 15:58)

4 Soma 1 Abakkolinso 15:58. Eggaali okusobola okutambula ng’egenda mu maaso olina okweyongera okugisotta. Mu ngeri y’emu, okusobola okukuuma enkolagana yo ne Yakuwa nga nnywevu olina okweyongera okubeera omunyiikivu mu kumuweereza. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza okubeera “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” Kino tekitegeeza nti ofunayo obudde obutonotono ne weenyigirako mu bintu eby’omwoyo. Wabula ebintu eby’omwoyo by’oba olina okukulembeza mu bulamu bwo. Kijjukire nti okuweereza Yakuwa kye kintu ky’olina okukulembeza mu bulamu, so si kufuna buyigirize obusingako. (Mat. 22:37) Mwannyinaffe omuvubuka ayitibwa Samantha agamba nti: “Nnasalawo nti singa obuyigirize bwe ŋŋenda okufuna bunnemesa okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, nja kulekera awo okusoma.”

5. Biki by’osobola okukola okusigala ng’oli munyiikivu mu buweereza bwo eri Yakuwa?

5 By’osobola okukola nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Kakasa nti ojja kufuba okukulembeza okuweereza Yakuwa. Weebuuze, ‘Nteekateeka ki gye nkoze enansobozesa okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, n’okwesomesa?’ (Yos. 1:8; Mat. 28:19, 20; Beb. 10:25) Ate era weebuuze: Bwe nnali nkyasoma, biki ebyannyamba okusigala nga nkulembeza ebintu eby’omwoyo? Bwe kiba nti waliwo we wali weetaaga okulongoosaamu, biki by’osobola okukola okutereezaamu kati? Bw’oba ofuna obuyigirize obusingako beera mumalirivu okusigala ng’oli munyiikivu mu buweereza bwo eri Yakuwa. Kirungi emisomo gyo okugiwa obudde obumala, naye togikkiriza kukuleetera kuddirira mu by’omwoyo.a—Mat. 6:24.

6. Bw’oba weekebera, bibuuzo ki by’oyinza okwebuuza? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Bw’oba ng’ofuna obuyigirize obusingako, bulijjo weekeberenga. Era ekyo oyinza okukikola buli mwezi. Weebuuze: Nkyakulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwange? Ntera okwosa enkuŋŋaana oba ntuuka kikeerezi? Bwe mba mu nkuŋŋaana mba ndowooza ku bya misomo gyange? Kati enkuŋŋaana nzifunira ku zoom kwokka mu kifo ky’okubeerawo mu buntu? Ate era osobola okwebuuza; Sikyalina budde bumala okusaba n’okwesomesa Bayibuli? Kyandiba nti okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kati nkikola kutuusa luwalo? Bw’okiraba nti otandise okuddirira baako ky’okolawo mu bwangu. Tokkiriza misomo gyo kukulemesa kukulembeza ebyo Katonda by’ayagala.

Ow’oluganda abikkula ebyawandiikibwa nga yeekenneenya ekitundu mu “Omunaala gw’Omukuumi.”

Tokkiriza misomo gyo kukulemesa kukulembeza kuweereza Yakuwa mu bulamu bwo (Laba akatundu 6)


‘KUUMA OBUSOBOZI BWO OBW’OKULOWOOZA OBULUNGI’

7. Kiki ekisobola okutuuka ku ndowooza yo ng’ofuna obuyigirize obusingako?

7 Ekiyinza okukifuula ekizibu. Okusinziira ku kkoosi gy’oba osomye, emisomo gyo giyinza okukuleetera okuyigirizibwa “obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu,” era nga bino biyinza okuzingiramu enjigiriza egamba nti Katonda taliiyo oba nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajja bifuukafuuka. (Bak. 2:8) Ate era oyinza okuyigirizibwa nti okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu olina kwesigama ku busobozi bwo. Ow’oluganda omu omuvubuka agamba nti: “Ng’oggyeeko okutendekebwa okufuna obukugu mu ebyo bye twalina okukola, era twayigirizibwa n’endowooza z’abantu era ng’emirundi mingi endowooza ezo zikontana n’endowooza ya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, twayigirizibwa nti okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, tulina kwesiga busobozi bwaffe. Endowooza eyo ereetera abantu okulowooza nti tebeetaaga Katonda okusobola okutuuka ku buwanguzi. Ekyo kyakifuula kizibu gye ndi okwesiga Yakuwa.”

8. Lwaki kikulu ‘okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza obulungi’? (Engero 5:1, 2)

8 Soma Engero 5:1, 2. Bayibuli ekukubiriza ‘okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza obulungi.’ Okukuuma ekintu kitegeeza nti ekintu ekyo kiri mu kabi era nti waliwo ayagala okukikutwalako. Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku busobozi bwo obw’okulowooza. (1 Peet. 5:8) Sitaani n’abantu ababi abali mu nsi ye bagezaako okwonoona endowooza yo. Endowooza abantu mu nsi gye balina esobola okukosa ebyo bye tukkiririzaamu bwe kituuka ku mpisa, ku ngeri obulamu gye bwatandikamu, ne ku kuba nti Katonda gy’ali. Abasomesa bo bayinza okukuleetera okulowooza nti endowooza gye balina ku bintu ebyo n’ebirala “y’esingayo” okuba ey’amagezi. Kyokka Bayibuli eraga nti endowooza ng’ezo “busirusiru eri Katonda.”—1 Kol. 3:18-20.

9. Kiki ky’osobola okukola okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza?

9 By’osobola okukola nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Okusobola okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza, beera mukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza ge mazima nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Weebuuze ebibuuzo bino: ‘Lwaki nzikiririza mu Katonda? Nkakasiza ku ki nti Bayibuli Kigambo kya Katonda? Nkakasiza ku ki nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gisingira wala emitindo gy’ensi?’ Ate era ojja kuganyulwa nnyo bw’onoolowooza ku ebyo bye wayitamu ng’okyasoma. Weebuuze: Abalala bwe baali batumbula enjigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka, nnatandika okubuusabuusa obanga Katonda gy’ali era nti ye yatonda ebintu byonna? Nnawuliranga nga mpikirizibwa okukola ebintu ebibi bayizi bannange bye baakolanga? Bwe kiba nti ozzeemu yee mu kimu ku bibuuzo ebyo, biki by’osobola okukola mu kiseera kino okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza ge mazima, era nti biriwo ku lwa bulungi bwaffe? Kola kyonna ky’osobola okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza ng’ofuna obuyigirize obusingako.—2 Tim. 2:16-18.b

10. Oyinza otya okweyongera okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza?

10 Ng’ofuna obuyigirize obusingako bulijjo weekeberenga. Weebuuze: ‘Ntwaliriziddwa enneeyisa y’abantu abatakola Katonda by’ayagala? Kinnyanguyira okutegeera nti ebyo ebiyigirizibwa bufirosoofo bw’abantu, so si mazima? Ndi mukakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe busobola okumalawo ebizibu by’abantu?’ Okusobola okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza, weeyongere okwesomesa Bayibuli. Okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebyo byonna Bayibuli by’eyigiriza ge mazima.—1 Tim. 4:15.

KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO

11. Bw’oba ofuna obuyigirize obusingako, lwaki kiyinza okukubeerera ekizibu okukozesa obulungi ebiseera byo?

11 Ekiyinza okukifuula ekizibu. Obuyigirize obusingako buyinza okukuleetera okuba n’eby’okukola bingi, naddala bw’oba ng’onootera okukola ebibuuzo oba ng’olina ebiseera bitono okumaliriza ekintu ekikuweereddwa okukolako. Bw’otakozesa bulungi biseera byo, oyinza okuba nga buli kiseera oli mweraliikirivu era ng’emirundi egisinga oba okooye. N’olwekyo, kikulu nnyo okufunayo obudde okufaayo ku bulamu bwo.

12. Oyinza otya ‘okukozesa obulungi ebiseera byo’? (Abeefeso 5:15, 16)

12 Soma Abeefeso 5:15, 16. Kiyinza okukubeerera ekizibu ‘okukozesa bulungi ebiseera byo.’ Weetaaga obutagwa lubege. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’olina okufaayo ku misomo gyo, weetaaga okufunayo obudde okubeerako wamu ne bakkiriza banno n’ab’omu maka go. (Zab. 133:1; Nge. 18:1) N’ekisinga obukulu, olina okufuna obudde okwenyigira mu bintu ebikuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Mat. 6:33) Era oyinza okuba ng’olina omulimu gw’okola, era nga waliwo by’olina okukola okuyambako ab’ewaka. Ate era olina okufaayo ku bulamu bwo, ng’owummula ekimala era ng’okola dduyiro. (Mub. 4:6; 1 Tim. 4:8) Ebintu ebyo byonna bikwetaagisa okukozesa obulungi ebiseera byo.

13. Kiki ekisobola okukuyamba okukozesa obulungi ebiseera byo?

13 By’osobola okukola nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Bayibuli egamba nti okweteekateeka obulungi kuvaamu ebirungi. (Nge. 21:5) N’olwekyo, beera n’enteekateeka ennungi gy’ogoberera ng’okola ebintu nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Osobola okulowooza ku myaka gye wamala ng’osoma era ne weebuuza nti: Nnasobolanga okufuna ebiseera okukola ebintu byonna ebikulu? Bw’okiraba nti waliwo we wali weetaaga okukyusaamu, nkyukakyuka ki z’osobola okukola mu kiseera kino? Kakasa nti obudde bwo ggwe obufuga, mu kifo kya bwo okukufuga.c

14. Bibuuzo ki ebiyinza okukuyamba okwekebera?

14 Ng’ofuna obuyigirize obusingako, bulijjo weekebere. Weebuuze: ‘Enteekateeka yange ensobozesa okuwummula ekimala n’okukola dduyiro? Nkyafuna obudde okubeerako awamu ne bakkiriza bannange? Ebyo bye mba mpeereddwa okukola ku ssomero mbikolera mu budde? Bwe kiba nti nedda, ekyo kiva ku kuba nti nnina eby’okukola bingi oba lwa kuba nti ndwawo okutandika okukola ebintu ebimu? Mikwano gyange n’ab’omu maka gange bakiraba nti nneetaaga okubaako enkyukakyuka ze nkola?’ Bw’okiraba nti weetaaga okukola enkyukakyuka mu nteekateeka yo oba okweyongera okunywerera ku nteekateeka yo, ekyo kikoleko mu bwangu. Osobola n’okwogerako n’abalala abakola ebintu mu budde.—Nge. 11:14.

WEEYONGERE ‘OKUTAMBULA N’AB’AMAGEZI’

15. Ng’ofuna obuyigirize obusingako, kusoomooza ki kw’oyinza okufuna?

15 Ekiyinza okukifuula ekizibu. Ng’ofuna obuyigirize obusingako, bayizi banno bayinza okwagala obeegattako mu bintu ebimu bye bakola, era naawe oyinza okwagala okusikirizibwa. Ekyo kiri bwe kityo, kubanga waliwo by’ofaanaganya nabo okuva bwe kiri nti omala ebiseera ebiwerako ng’osoma nabo. Oyinza n’okutandika okuwulira nti olina bingi by’ofaanaganya ne bayizi banno, n’okusinga ebyo by’ofaanaganya ne bakkiriza banno. Kyokka, kikulu okuba omwegendereza. Wadde nga mulina bingi bye mukolera awamu nga musoma, kijjukire nti bayinza okuba nga tebassa kitiibwa mu mitindo gya Katonda. N’olwekyo, gy’okoma okumala ebiseera ebingi nabo, gye kikoma okuba ekyangu okufuna endowooza ng’eyaabwe. (1 Kol. 15:33) Ekyo kye kyatuuka ku w’oluganda Michael, eyamala emyaka ena ng’atendekebwa mu bya masannyalaze. Agamba nti: “Nnamalanga essaawa ezisukka mu 40 buli wiiki ne bakozi bannange. Baali bawuliriza ennyimba embi, baalina endowooza enkyamu ku bakazi, era baali bakozesa olulimi olubi. Ebintu ebyo byatandika okwonoona endowooza yange.”

16. Kitegeeza ki ‘okutambula n’ab’amagezi’? (Engero 13:20)

16 Soma Engero 13:20. Bayibuli etulabula ku kabi akali mu kubeera n’emikwano emibi. Ku luuyi olulala, “omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.” Eky’okuyiga kye kino: Tutera okukoppa engeri z’abantu be tumala nabo ebiseera, ka zibe nnungi oba mbi. N’olwekyo, kola omukwano n’abantu abaagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala era abakwagaliza okubeera omusanyufu.—Zab. 101:6, 7; 119:63.

17. Biki by’osobola okukola okwewala emikwano emibi?

17 By’osobola okukola nga tonnatandika kufuna buyigirize obusingako. Ssaawo ekkomo ku budde bw’onoomala ne bayizi banno, ne ku bintu bye munaakolera awamu. Ow’oluganda Trenton agamba nti: “Bayizi bannange mbayisa mu ngeri ey’ekisa, naye simala budde bungi nabo oluvannyuma lw’okusoma. Mbatwala nga bayizi bannange, so si nga mikwano gyange egy’oku lusegere.” Biki by’onookola okukakasa nti tomala budde buteetaagisa ne bayizi banno? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo weebuuze: Bwe nnali nkyasoma, nnamalanga budde bwenkana wa ne bayizi bannange? Bw’okiraba nti waliwo we wali weetaaga okukyusaamu, beera mwetegefu okukola ekyukakyuka eyo kati. Beera mumalirivu okweyongera ‘okutambula n’ab’amagezi,’ era weewale okukolagana ekiteetaagisa n’abo abataweereza Yakuwa.d

18. Bibuuzo ki ebiyinza okukuyamba okwekebera? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Buli luvannyuma lwa kiseera weekebere. Weebuuze: ‘Bayizi bannange bafuuse mikwano gyange egy’oku lusegere? Ntandise okwogera, okulowooza, n’okweyisa nga bo? Yakuwa akkiriziganya n’engeri gye nkolaganamu ne bayizi bannange?’ (Zab. 1:1) Bw’okiraba nti otandise okuddirira, baako ky’okolawo mu bwangu. Kakasa nti mikwano gyo egy’oku lusegere beebo abaagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala. Ate era, tolonzalonza kubuulira bayizi banno ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Olw’okuba omala ebiseera bingi nabo era nga bakumanyi, kiba kyangu okubabuulira ku ebyo ebikwata ku Yakuwa.

Mwannyinaffe ng’alaga muyizi munne gw’asoma naye eby’okusiba enviira tulakiti “Ddala amadiini gonna gasiimibwa Katonda?”.

Tolonzalonza kubuulira bayizi banno (Laba akatundu 18)e


WEETEEKETEEKE BULUNGI

19. Oyinza otya okweteekateeka okuvvuunuka ebintu ebiyinza okukusoomooza mu by’omwoyo ng’ofuna obuyigirize obusingako? Waayo ekyokulabirako.

19 Lowooza ku kyokulabirako kino: Omuntu agenda okutambula olugendo oluwanvu, ayoleka amagezi nga yeeteekateeka bulungi. Wadde nga tasobola kumanya bizibu byonna by’ayinza kusanga ku lugendo lwe, aba yeeteeseteese bulungi, ng’ayambadde engoye ezituukirawo, era aba n’ekiruubirirwa, nga kwe kutuuka mu kifo gy’agenda. Naawe bw’oba ogenda okufuna obuyigirize obusingako, kirungi okukoppa omuntu ng’oyo ayoleka amagezi. Nyweza okukkiriza kwo, yambala “eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda,” era ekiruubirirwa kyo ekikulu kisaanidde kuba kuweesa Yakuwa kitiibwa mu byonna by’okola, so si kwenoonyeza ekyo ensi ky’eyita “obuwanguzi.”—Bef. 6:11-13; 1 Kol. 9:26, 27; 10:31.

20. Oyinza otya ‘okwekeberanga olabe obanga oli mu kukkiriza’?

20 Ffenna ng’abaweereza ba Yakuwa Bayibuli etukubiriza nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” (2 Kol. 13:5) Ekyo osobola okukikola ne bw’oba ofuna obuyigirize obusingako. Bulijjo weekeberenga ng’okozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu kino. Ofuba okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo? Okuuma endowooza yo n’etayonoonebwa magezi ga nsi? Okozesa bulungi ebiseera byo? Ofuba okukola omukwano ne bakkiriza banno, era ne weewala emikwano egisobola okukwonoona? Ebyo bye bibuuzo by’olina okwebuuza k’obe ng’oli ku ssomero, ku mulimu, oba awantu awalala wonna. Beera mumalirivu okusigala ng’olina okukkiriza okunywevu k’obeere mu mbeera ki. Beera mukakafu nti bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kuwa okufuba kwo emikisa.—Nge. 3:5, 6.

NGA TONNAFUNA BUYIGIRIZE OBUSINGAKO, OYINZA OTYA OKUBA OMUMALIRIVU . . .

  • okusigala ng’olina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo?

  • ‘okukuuma obusobozi bwo obw’okulowooza obulungi’?

  • okukozesa obulungi ebiseera byo n’okwewala emikwano emibi?

OLUYIMBA 87 Jjangu Ozzibwemu Amaanyi

a Okumanya ebirala ebisobola okukuyamba okusigala ng’oli munyiikivu ng’oweereza Yakuwa, laba ekitundu ku jw.org ekirina omutwe “Abavubuka Babuuza . . . Kiki Kye Nsaanidde Okukola Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?—Ekitundu 1: Nnyiikirira Ebintu eby’Omwoyo

b Okulaba ebyo ebisobola okukuyamba okukuuma endowooza yo, laba ekitundu “Tobuzaabuzibwa ‘Magezi ga Nsi Eno’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2019.

c Okumanya ebyo ebinaakuyamba okukozesa obulungi ebiseera byo, laba ekitundu ku jw.org ekirina omutwe “Abavubuka Babuuza . . . Nnyinza Ntya Okukozesa Obulungi Ebiseera Byange?”

d Okumanya ebisobola okukuyamba okusalawo obulungi ng’olonda emikwano, laba essomo 48, “Weegendereze ng’Olonda Emikwano,” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

e EBIFAANANYI: Mwannyinaffe asoma eby’okusiba enviiri, mu ngeri ey’amagezi abuulira muyizi munne.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza