AGUSITO 3-9, 2026
OLUYIMBA 113 Emirembe Gye Tulina
Ssa Ekitiibwa mu Ebyo Abalala Bye Basalawo
“Temumusalira musango olw’endowooza ze ez’enjawulo.”—BAR. 14:1.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri gye tusaanide okuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa, ne bwe kiba nti ebyo bye basazeewo byawukana ku ebyo ffe bye twagala.
1-2. Lwaki ebyo bye tusalawo emirundi egimu byawukana ku by’Abakristaayo abalala?
WALI owuliddeko nti abalala bakusalidde omusango olw’ekyo kye wali osazeewo? Wali osaliddeko mukkiriza munno omusango olw’ebyo bye yali asazeewo? Oboolyawo bangi ku ffe tuyinza okuddamu nti yee, mu bibuuzo ebyo byombi.
2 Tekisaanidde kutwewuunyisa nti ebiseera ebimu ebyo bye tusalawo byawukana ku bya bakkiriza bannaffe abalala abeesigwa. Lwaki? Kubanga buli muntu wa njawulo era ffenna tulowooza mu ngeri ya njawulo. Engeri gye tulowoozaamu eyinza okusinziira ku buwangwa bwaffe, amaka mwe twakulira, n’ebyo bye tuyiseemu mu bulamu. Naye tetusaanidde kukkiriza ndowooza zaffe ez’enjawulo okumalawo emirembe n’obumu mu kibiina.—Bef. 4:3.
3. Kiki ky’oyinza okwagala okukola bw’oba nga tokkiriziganya n’ekyo mukkiriza munno ky’asazeewo?
3 Mukristaayo munnaffe bw’asalawo ekintu kye tutakkiriziganya nakyo, tuyinza okuwulira nti twetaaga okwogerako naye akyuse endowooza ye, era tuyinza n’okwagala okugamba abalala nti tulowooza nti ekyo ky’asazeewo kikyamu. Oboolyawo ekyo tukikola olw’okuba tumulumirirwa. Twagala bakkiriza bannaffe era tubaagaliza ekisingayo obulungi. (Nge. 17:17) N’olwekyo tetwagala kubalaba nga basalawo ebintu bye bajja okwejjusa oba ebiyinza okwonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa.
4-5. Kiki kye tusaanidde okukola singa mukkiriza munnaffe asalawo okukola ekintu ekyawukana ku ekyo ffe kye twandikoze?
4 Twandyogeddeko n’ow’oluganda, bwe tuba nga tuwulira nti ekintu ky’asazeewo kikyamu? Ekyo kisinziira ku nsonga eziwerako. Ng’ekyokulabirako, singa tukimanyaako nti ekyo ow’oluganda ky’ayagala okusalawo kimenya erimu ku mateeka ga Katonda, olw’okuba tumwagala tusaanidde okwogerako naye, ne tugezaako okumuyamba okutereeza endowooza ye. (Nge. 27:5, 6) Kyokka kiki kye tusaanidde okukola singa ekyo ow’oluganda ky’aba asazeewo kyawukana bwawukanyi ku ekyo ffe kye tulowooza, naye nga tekimenya mateeka ga Katonda? Tusaanidde okukolera ku kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, ne twewala ‘okumusalira omusango olw’endowooza ze ez’enjawulo.’—Bar. 14:1.
5 Wadde kiri kityo, kiyinza okutuzibuwalira okussa ekitiibwa mu ekyo ky’aba asazeewo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki kiyinza okutuzibuwalira okussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo, n’engeri gye tusobola okukikolamu. Naye ka tusooke twetegereze ezimu ku mbeera eziyinza okutuviirako okusalira bakkiriza bannaffe omusango.
ENSONGA LWAKI TUYINZA OKWAGALA OKUSALIRA ABALALA OMUSANGO
6-7. Mbeera ki eziyinza okutuleetera okulowooza nti abalala basazeewo bubi?
6 Nga bwe kyogeddwako waggulu, tuyinza okukalambira ku nsonga ezimu olw’engeri gye twakuzibwamu, oba olw’ebyo bye tuyiseemu mu bulamu. Tuyinza n’okutandika okulowooza nti abalala balina okuba n’endowooza ng’eyaffe. Kyokka ekyo si kituufu. Lowooza ku mbeera zino. Embeera 1: Ow’oluganda omu nga tannayiga mazima, yakula ne taata we omutamiivu. Lumu bwe baba ku kabaga n’Abakristaayo abalala, abalaba nga banywa ku mwenge. Ekyo kimunakuwaza nnyo era n’abagamba nti kye bakola kikyamu. Embeera 2: Mwannyinaffe omu yalwalako obulwadde obw’amaanyi naye n’awona. Oluvannyuma akitegeerako nti waliwo mwannyinaffe omulala alina obulwadde bwe bumu. Mwannyinaffe oyo eyalwalako obulwadde obwo n’awona ayinza okwagala okuyamba mwannyinaffe ono. N’olwekyo amukubiriza okukozesa obujjanjabi bwe bumu nga ye bwe yakozesa, oboolyawo ng’alya oba ng’alekera awo okulya ebika by’emmere ebimu, oba ng’akozesa eddagala ly’obutonde. Embeera 3: Ow’oluganda nga tannayiga mazima yali mu ddiini ey’obulimba. Akyayira ddala ekintu kyonna ekirina akakwate n’eddiini eyo. Bw’akitegeera nti mukkiriza munne yagenze ku mukolo gw’okuziika mu kkanisa, kimwesittaza.a
7 Embeera 4: Ow’oluganda omu mu kiseera we yakulira, abantu abasinga baali bakitwala nti si kirungi omusajja okukuza ebirevu, oba omukazi okwambala empale (ng’ezo ezambalwa abantu abakola mu ofiisi), ng’agenda mu nkuŋŋaana ennene oba entono, oba okwenyigira mu kubuulira. Wadde ng’ow’oluganda oyo amanyi enkyukakyuka ezikoleddwa ekibiina kyaffe gye buvuddeko, asigala akitwala nti kikyamu era agamba n’abalala nti omusajja Omukristaayo talina kukuza birevu era nti omukazi Omukristaayo alina kwambala kiteeteeyi kyokka ng’agenda mu nkuŋŋaana okubuulira. Embeera 5: Omukadde omu alina ow’oluganda gw’amanyi eyaluubirira obuyigirize obusingako, era oluvannyuma n’ava mu mazima. Kati waliwo ow’oluganda omuto mu kibiina kye asazeewo okufuna obuyigirize obusingako. Omukadde oyo kimweraliikiriza era afuba nnyo okuleetera ow’oluganda oyo omuvubuka ne bazadde be okukyusa endowooza yaabwe.
8. (a) Kiki ekiyinza okuviirako omuzadde okutandika okuvumirira abazadde abalala? (b) Bwe tuba n’endowooza enkyamu ku bakkiriza bannaffe, kikosa kitya ekibiina?
8 Lowooza ku mbeera 6 era ng’eno ekwata ku bazadde. Ng’omuzadde, ofuba nnyo okukuliza abaana bo “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4) Naye oyinza okukitwala nti abazadde abalala Abakristaayo bawa abaana baabwe eddembe erisusse. Ng’ekyokulabirako, bakkiriza abaana baabwe okukomawo awaka ng’obudde bugenze, okuzannya emizannyo gy’oku kompyuta egitaliimu bikolwa bya bukambwe, era babakkiriza okubeera n’amasimu wadde nga bakyali bato. N’olw’ensonga ezo, abaana bo bayinza okuwulira nti obakugira nnyo. Bayinza okutandika okukubuuza nti “Lwaki totuyisa nga bazadde ba mikwano gyaffe bwe babayisa?” Embeera ng’eyo eyinza okukuviirako okutandika okuvumirira abazadde abalala. Ekituufu kiri nti mukkiriza munnaffe bw’asalawo ekintu ekyawukana ku ekyo ffe kye tulowooza tusobola okufuna obutakkaanya. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okutandika okuvumirira engeri gy’akozesaamu ssente, mirundi emeka gy’agenda okuwummulako mu kifo ekirala, oba bya kwesanyusaamu ki by’alondawo. Naye enneewulira zaffe tezisaanidde kuba nkulu nnyo ne tutuuka n’okulowooleza bakkiriza bannaffe ebintu ebibi, era ng’ekyo kisobola okumalawo obumu mu kibiina.
9. Bwe kituuka ku ebyo abalala bye basalawo, kiki kye tusaanidde okujjukira? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Wadde ng’ebyo Omukristaayo omu by’asalawo bisobola okwawukana ku by’Omukristaayo omulala, ekyo ku bwakyo tekitegeeza nti omu mukyamu, ate omulala mutuufu. (Bar. 14:5) Wadde nga Bayibuli ekubiriza Abakristaayo “okulowooza obumu” bwe kituuka ku mitindo gya Katonda, tekitegeeza nti bajja kusalangawo mu ngeri y’emu ku nsonga buli omu gy’alina okwesalirawo kinnoomu. (2 Kol. 13:11) Ekyo tusobola okukigeraageranya ku ebyo bye tusalawo nga twagala okutambula okugenda mu kifo ekimu. Ebiseera ebisinga, wabaawo amakubo agatali gamu ffenna ge tusobola okuyitamu ne tutuuka mu kifo ekyo. Okusinziira ku mbeera yaffe, tulonda ekkubo erisinga okutwanguyira. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo basobola okusalawo mu ngeri ey’enjawulo ku bintu buli muntu kinnoomu by’alina okwesalirawo, naye ekiruubirirwa kyaffe kisigala kye kimu: Twagala okusanyusa Yakuwa. N’olwekyo, tetusalira balala musango bwe kituuka ku nsonga buli muntu z’alina okwesalirawo.—Mat. 7:1; 1 Bas. 4:11.
Abo abaagala okugenda ku lugendo basobola okukozesa amakubo ag’enjawulo okutuuka gye balaga; mu ngeri y’emu, bwe kituuka ku bintu buli Mukristaayo by’alina okwesalirawo kinnoomu, abaweereza ba Yakuwa basobola okusalawo mu ngeri ez’enjawulo (Laba akatundu 9)
ENSONGA LWAKI TUSAANIDDE OKUSSA EKITIIBWA MU EBYO ABALALA BYE BASALAWO
10. Okusinziira ku Yakobo 4:12, kiki kye tutalina buyinza kukola era lwaki?
10 Bayibuli etuwa ensonga eziwerako lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye basalawo. Lowooza ku zimu ku zo. Tetulina buyinza kusalira balala musango bwe kituuka ku nsonga buli omu kinnoomu z’alina okwesalirawo. (Soma Yakobo 4:12.) Yakuwa ye Muwi w’Amateeka omutuukirivu era Omulamuzi. Ye yekka alina obuyinza okututeerawo emitindo kwe tulina okutambulira awamu n’amateeka. N’olwekyo baganda baffe ne bannyinaffe bavunaanyizibwa eri Yakuwa, so si eri ffe. (Bar. 14:10) Tetulina buyinza kusalira balala musango oba okuvumirira bye baba basazeewo nga tusinziira ku mitindo egyaffe ku bwaffe, oba endowooza zaffe.b
11. Tuyinza tutya okuleetawo obumu mu kibiina? (Laba n’ekifaananyi.)
11 Yakuwa ayagala abaweereza be babeere bumu, so si nti babeere nga bafaanagana. Mu butuufu, Katonda ayagala ebitonde bye okuba eby’enjawulo! Ekyo tukiraba bwe twetegereza ebintu bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, ebikoola bibiri ne bwe biba nga biva ku muti gumu, tebisobola kuba nga bifaananira ddala. Ate lowooza ku bantu. Ku bantu abasukka mu buwumbi munaana abali ku nsi, tekuli bantu babiri nga bafaananira ddala, ka kibe mu ndabika oba mu ngeri zaabwe. Yakuwa yatutonda ng’ayagala tube ba njawulo. N’olwekyo mu kifo ky’okufuna enjawukana olw’okuba tuli ba njawulo, tusaanidde okuleetawo emirembe. Kye tusinga okufaako, kwe kuba nti mu kibiina mulimu obumu okusinga okufa ku ndowooza zaffe n’ebyo bye twagala.—Bar. 14:19.
Yakuwa yatutonda nga tuli ba njawulo, naye ayagala tubeere bumu (Laba akatundu 11)
ENGERI GYE TUSOBOLA OKUSSA EKITIIBWA MU NDOWOOZA Z’ABALALA
12-13. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba nga tulowooza nti omuntu akutte “ekkubo ekkyamu”? (Abaggalatiya 6:1; laba n’akasanduuko “Bwe Mutakkaanya.”)
12 Abalala bwe beesalirawo ku nsonga ezibakwatako kinnoomu. Weebuuze, ‘Omuntu ono akutte ekkubo ekkyamu, oba ky’asazeewo kyawukana bwawukanyi ku ndowooza yange?’ Bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu, kwe kugamba, ng’agenda kumenya erimu ku mateeka ga Katonda, weebuuze, ‘Nnina ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa ebyetaagisa okumutereeza, oba waliwo omuntu omulala asobola okumutereeza okusinga nze?’ Bw’oba ng’olina ebisaanyizo okumuyamba, yogera naye mu ngeri ey’obukakkamu. (Soma Abaggalatiya 6:1.) Oluusi oyinza okukiraba nti omuntu talina kikyamu ky’akola wabula asazeewo busazi mu ngeri eyawukana ku yiyo. Bwe kiba bwe kityo, tomubuusabuusa era toyogera bubi ku ekyo ky’aba asazeewo. Ssa ekitiibwa mu ddembe lye ery’okwesalirawo era tomusalira musango.—Bar. 14:2-4.
13 Lowooza ku kyokulabirako kino: Singa ogenda mu wooteeri ne mukwano gwo, wandimuwalirizza okusaba ekika ky’emmere kye kimu ky’osabye? Nedda. Ossa ekitiibwa mu ddembe lye ng’omuleka okwesalirawo mmere ki gy’ayagala okulya. Ne bwe kiba nti emmere gy’asabye okulya ggwe togyagala, eyo si nsonga kubanga si ggwe aba agenda okugirya. Naawe tewandyagadde mukwano gwo akusabire mmere gy’ogenda okulya ng’asinziira ku ekyo ye ky’ayagala. Mu kifo ky’ekyo, wandyagadde akuleke weesalirewo. Mu ngeri y’emu, tusobola okukiraga nti tuwa abalala ekitiibwa nga tubaleka okwesalirawo era nga tetubakakaatikako ndowooza zaffe.
14. Oyinza otya okutumbula obumu bw’oba ng’olina by’osalawo? (1 Abakkolinso 8:12, 13)
14 Bw’oba olina okwesalirawo ku nsonga ezikukwatako kinnoomu. Osobola okutumbula obumu singa okola kyonna ky’osobola okwewala okulumya oba okwesittaza abalala. (Soma 1 Abakkolinso 8:12, 13.) Emirundi egimu oyinza okuba ng’okimanyi bulungi nti ekyo ky’oyagala okusalawo ‘kikkirizibwa.’ Naye bwe kiba nga kirumya abalala oba nga kibeesittaza, ddala kiba ‘kigasa’?c (1 Kol. 10:23, 24) Mu mbeera ng’ezo, mu kifo ky’okukalambira ku ekyo ky’oyagala, kirungi okulowooza ne ku ngeri abalala gye banaawuliramu. (Bar. 15:1) Naye tetwakamala okukiraba nti ffenna tulina okussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye basalawo ku nsonga ezibakwatako kinnoomu? Ekyo kituufu. Abalala basaanidde okussa ekitiibwa mu ebyo bye tuba tusazeewo nga naffe bwe tussa ekitiibwa mu bye baba basazeewo. Naye era tusaanidde okujjukira okubuulirira okuli mu Abaruumi 12:18, awagamba nti: “Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.” N’olwekyo tukola kyonna kye tusobola okukuuma emirembe n’abalala nga twewala okumala gakola ebintu ebiyinza okubalumya oba okubeesittaza.
15. Abakadde bayinza batya okuleetawo obumu mu kibiina? (1 Abakkolinso 4:6)
15 Abakadde musse ekitiibwa mu ebyo abalala bye basalawo. Abakadde batumbula obumu mu kibiina nga tebateekawo mateeka gaabwe ku bwabwe ku bintu buli Mukristaayo kinnoomu by’alina okwesalirawo, era nga ‘tebasukka bintu ebyawandiikibwa’ mu Bayibuli. (Soma 1 Abakkolinso 4:6.) Tebasaanidde kwogera bintu ebitakwatagana n’ebyo ebiri mu bitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Ate era Mukristaayo munnaabwe bw’abasaba okumuyamba, bwe baba bamuwabula, bafuba nnyo obuteesigama ku bumanyirivu bwabwe bwokka. Mu kifo ky’ekyo, bamuwabula nga bakozesa Bayibuli.—Is. 48:17, 18.
16. Omukadde ayinza atya okukiraga nti assa ekitiibwa mu ebyo ebiba bisaliddwawo akakiiko k’abakadde?
16 Ate era omukadde asaanidde okukiraga nti assa ekitiibwa mu ekyo ekiba kisaliddwawo abakadde bonna. Akakiiko k’abakadde bwe kasaba omwoyo omutukuvu, ne keekenneenya ensonga, era ne kakolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa, oluvannyuma bwe kasalawo buli mukadde aba alina okuwagira ekyo ekiba kisaliddwawo ne bwe kiba nti ekiteeso kye tekyasembeddwa. (Bef. 5:17) Ate era, abakadde basaanidde okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli ne mu bitabo byaffe, so si kugezaako kukozesa bulagirizi obwo kuwagira ndowooza yaabwe. Ng’ekyokulabirako, tekiba kirungi omukadde okujuliza sentensi emu okuva mu bitabo byaffe n’agikozesa okuwagira endowooza ye.
17. Kiki ekivaamu bwe tussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo?
17 Nga bwe tulabye, tuli ba njawulo. Buli omu alina endowooza ez’enjawulo era ayagala ebintu bya njawulo. Okuba nti tuli ba njawulo, kintu kirungi! Okuba nti twava mu mbeera za njawulo era nti tulina engeri za njawulo, kifuula ekibiina okuba ekifo ekirungi eky’okubeeramu. N’olwekyo, mu kifo ky’okukkiriza eky’okuba nti tuli ba njawulo okuleetawo enjawukana mu ffe, tufuba okuleetawo emirembe. Tufuba nnyo obutalumya balala oba obutabeesittaza. Bwe kituuka ku bintu buli muntu by’alina okwesalirawo kinnoomu, tussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kuwa okufuba kwaffe emikisa, era ekibiina kijja kubaamu essanyu n’obumu.—Zab. 133:1; Mat. 5:9.
OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa
a Omukristaayo bw’aba nga tannasalawo obanga anaagenda ku mukolo ogw’okuziika oba embaga oguli mu ssinzizo ery’eddiini endala, alina ensonga nnyingi z’alina okusooka okulowoozaako. Laba ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2002.
b Ebiseera ebimu, abakadde baba balina okukola ku nsonga z’abo abamenye amateeka ga Katonda. Kyokka wadde kiri kityo, abakadde basaanidde okukijjukira nti Yakuwa aba abakozesa okulamula ku lulwe, era nti balamula okusinziira ku mitindo gye egy’obutuukirivu so si egyabwe.—Geraageranya 2 Ebyomumirembe 19:6.
c Okusobola okulaba ebyokulabirako, laba ekitabo, Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! essomo 35, akatundu 5.