LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Apuli lup. 20-25
  • Koppa “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Koppa “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • KYE KITEGEEZA OKUBUDAABUDA ABALALA
  • ENGERI GYE TUSOBOLA OKUBUDAABUDAMU ABALALA
  • BW’OBA NGA WEETAAGA OKUBUDAABUDIBWA
  • Enteekateeka ey’Okuzzaamu Ababeseri Amaanyi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Tetuli Ffekka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Apuli lup. 20-25

JJUUNI 22-28, 2026

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

Koppa “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”

‘Budaabuda abalala ng’oyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.’—2 KOL. 1:4.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri gye tusobola okubudaabudamu abalala nga tukoppa Yakuwa n’abaweereza be.

1. Lwaki tusaanidde okubudaabuda abalala?

FFENNA ‘tunakuwala olw’okugezesebwa okutali kumu.’ N’olwekyo emirundi egimu ffenna tuba twetaaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi. (1 Peet. 1:6) Nga naffe bwe tusanyuka ennyo abalala bwe batubudaabuda, tusaanidde okwanguwa okubudaabuda abo abalina ebizibu. (Mat. 7:12) Yakuwa “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” atulaga engeri gye tusaanidde “okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri.” Tusobola okumukoppa nga naffe tubudaabuda bannaffe. (2 Kol. 1:​3, 4; 1 Bas. 4:18) Ekyo tetukikola kutuusa butuusa mukolo, wabula tukikola olw’okuba twagala bakkiriza bannaffe. Mu kitundu kino tugenda kulaba (1) amakulu g’ekigambo okubudaabuda nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, (2) engeri gye tusobola okubudaabudamu abalala, ne (3) bye tusobola okukola okubudaabudibwa.

KYE KITEGEEZA OKUBUDAABUDA ABALALA

2. Mu Bayibuli, ekigambo “okubudaabuda” kirina makulu ki?

2 Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okubudaabuda” kisobola okuba n’amakulu ag’enjawulo okusinziira ku ngeri gye kiba kikozeseddwamu. Kisobola okutegeeza “okuzzaamu amaanyi,” “okubuulirira,” oba “okukubiriza.” (Bar. 12:8; laba study note ku “azzaamu abalala amaanyi.”) Bwe kiba kivvuunuddwa obutereevu, ekigambo ekyo kitegeeza “okuyita omuntu okuba ku lusegere lwo asobole okukuyamba.” N’olwekyo kituwa ekifaananyi eky’omuntu ayanguwa okugenda eri mukwano gwe abonaabona asobole okumuyamba. Ka kibe ki omuntu oyo ky’akola okuyamba mukwano gwe abonaabona, oyo gw’ayamba azzibwamu nnyo amaanyi.

3. Balunabba yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kubudaabuda abalala? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Lowooza ku kyokulabirako kino ekiri mu Bayibuli. Omukristaayo ayitibwa Yusufu yali azzaamu abalala amaanyi era ng’ababudaabuda, bwe kityo abatume ne bamutuuma Balunabba erinnya eritegeeza nti “oyo azzaamu abalala amaanyi.” (Bik. 4:36) Erinnya eryo lyali lituukirawo bulungi ne kiba nti mu Bayibuli teyaddamu kuyitibwa Yusufu wabula yayitibwanga Balunabba. Emirundi mingi Balunabba yatuukana n’amakulu g’erinnya lye kubanga yayambanga bakkiriza banne buli lwe baabanga beetaaga obuyambi. Ng’ekyokulabirako, Sawulo eyali yaakafuuka Omukristaayo bwe yagenda mu Yerusaalemi yayagala okusisinkana abayigirizwa. Kyokka abayigirizwa baali bamutya kubanga baali bakyamutwala ng’oyo ayigganya Abakristaayo. Naye Balunabba yeesiga Sawulo era yamutwala n’amwanjula eri abatume.—Bik. 9:​26-28.

Balunabba ng’aleese Pawulo okumwanjula eri abamu ku batume mu maka gaabwe. Abatume batunuulidde Pawulo mu ngeri eraga nti bamwekengera.

Balunabba yatuukana n’amakulu g’erinnya lye (Laba akatundu 3)


ENGERI GYE TUSOBOLA OKUBUDAABUDAMU ABALALA

4. Emu ku ngeri esingayo gye tusobola okubudaabudamu abalala y’eruwa? (Abaruumi 1:​11, 12)

4 Bwe kiba kisoboka bakyalireko. Yakuwa akozesa abaweereza be okubudaabuda abalala. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Eriya bwe yali nga yennyamidde, Yakuwa yatuma malayika okumuzzaamu amaanyi. (1 Bassek. 19:​4-7) Omutume Pawulo naye yakiraba nti kyali kikulu okukyalirako bakkiriza banne asobole okubazzaamu amaanyi. (Soma Abaruumi 1:​11, 12.) Bw’okyalira omuntu ng’oyagala okumuzzaamu amaanyi, mala ekiseera ekiwerako ng’onyumyako naye. (1 Kol. 16:7) Kyokka ne bwe kiba nti tosobola kukyalirako oyo eyeetaaga okubudaabudibwa, waliwo by’osobola okukola okumuzzaamu amaanyi, gamba ng’okumukubirako ku ssimu, okumuwandiikirayo akabaluwa, oba okumusindikira obubaka obuzzaamu amaanyi ku ssimu. Onokkiriza Yakuwa okukukozesa okubudaabuda abalala?

5. Kusoomooza ki kwe tusuubira okufuna?

5 Ng’ennaku ez’enkomerero zeeyongera okukaluba, tusuubira nti tujja kufuna okusoomooza nga tufuba okukyalira bakkiriza bannaffe okubazzaamu amaanyi. Pawulo bwe yali asibiddwa mu Rooma, Omukristaayo ayitibwa Onesifolo eyali ava mu Efeso yamunoonya wadde ng’ekyo kye yali akola kyali kisobola okumuviirako naye okusibibwa oba okuttibwa. (2 Tim. 1:​16-18) Abajulirwa ba Yakuwa mu Russia bakoze ekintu kye kimu okubudaabuda bakkiriza bannaabwe abayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baleetebwa mu kkooti, bakkiriza bannaabwe babeerayo mu kkooti nga bawozesebwa okusobola okubabudaabuda, wadde ng’ekyo kye bakola nabo bennyini kiyinza okubaviirako okusibibwa. Naawe osobola okukoppa ekyokulabirako kyabwe eky’obuvumu ng’osoma ku ngeri Katonda gye yayambamu abantu be mu biseera eby’edda, oba ku ngeri gy’ayambamu abantu be mu kiseera kino basobole okusigala nga basanyufu wadde nga bayigganyizibwa.

6. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa nga tubudaabuda abalala? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Wuliriza bulungi. Nnabbi Eriya bwe yali awulira nti obulamu bwe buli mu kabi, yabuulira Yakuwa ekimuli ku mutima. Katonda waffe ow’okwagala yawuliriza bulungi nga Eriya amubuulira ebyo ebyali bimweraliikiriza wadde nga yali abimanyi. Eriya ne bwe yayogera ebintu bye bimu enfunda n’enfunda, Yakuwa yamuwuliriza bulungi! (1 Bassek. 19:​9, 10, 14) Ate era Yakuwa yawuliriza bulungi nga nnabbi Kaabakuuku amubuulira ebyo ebyali bimweraliikiriza, wadde ng’engeri Kaabakuuku gye yayogeramu yali eyinza okulaga nti yali abuusabuusa amaanyi ga Katonda. (Kaab. 1:​2, 3) Ne leero, Yakuwa awuliriza bulungi nga tumusaba wadde ng’aba amanyi bye twetaaga. Naffe tusobola okukoppa Yakuwa nga tuwuliriza bulungi bakkiriza bannaffe bwe baba balina kye batugamba. Ekyo kitegeeza nti tusaanidde okwewala okubasala ekirimi oba okubanyiigira, ne bwe kiba nti bye boogera binyiiza oba nga boogera ebintu bye bimu enfunda n’enfunda.—Yak. 1:19; Mub. 7:9.

Mwannyinaffe awuliriza bulungi nga mwannyinaffe omwennyamivu alina by’amunnyonnyola.

Koppa Yakuwa ng’owuliriza bulungi bakkiriza banno bwe baba baliko kye bakugamba (Laba akatundu 6)


7. Tuyinza tutya okutegeera engeri y’okuyambamu oyo gwe tubudaabuda?

7 Fuba okumanya ky’osobola okukola okuyamba. Okwawukana ku Yakuwa, ffe tetusobola kumanya ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu. N’olwekyo okusobola okubudaabuda omuntu tulina okumuwuliriza obulungi tutegeere ekyo kye yeetaaga. Tokitwala nti omanyi bye yeetaaga olw’okuba omanyi bye wandyetaaze singa ggwe abadde mu mbeera eyo. Kijjukire nti buli muntu wa njawulo. N’olwekyo fuba okuwuliriza obulungi, era buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi osobole okumanya engeri gy’oyinza okumuyambamu.—Nge. 20:5.

8. Yesu yabudaabuda atya Maliza ne Maliyamu oluvannyuma lwa Laazaalo okufa? (Laba n’ebifaananyi.)

8 Lowooza ku ngeri Yesu gye yabudaabudamu Maliyamu ne Maliza oluvannyuma lw’okufiirwa mwannyinaabwe Laazaalo. Abakazi abo bombi baali bafiiriddwa mwannyinaabwe, naye Yesu yababudaabuda mu ngeri za njawulo. Maliza bwe yamala okwogera ne Yesu, Yesu yamubuulira amazima agakwata ku kuzuukira era n’amuyamba okunyweza okukkiriza kwe mu kuzuukira. Naye Maliyamu bwe yajja eri Yesu ng’akaaba, kirabika Yesu teyayogera ku bya kuzuukira. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yakaabira wamu ne Maliyamu era n’amubuuza wa gye baali batadde omulambo gwa Laazaalo. (Yok. 11:​20-35) Ekyo kituyigiriza ki? Tusaanidde okumanya ebyetaago bya buli muntu gwe tuba tubudaabuda, mu kifo ky’okulowooza nti abantu bonna tujja kubabudaabuda mu ngeri y’emu.

Ebifaananyi: Omukadde ng’akyaliddeko ab’oluganda babiri abaafiirwako bakyala baabwe. 1. Ow’oluganda akaaba era omukadde amukutte ku kibegaabega. 2. Omukadde asomera ow’oluganda gw’akyalidde ekyawandiikibwa; we bali waliwo ebifaananyi ebiri mu alubaamu.

Bw’oba obudaabuda abalala, fuba okutegeera ekyo kyennyini kye beetaaga (Laba akatundu 8)a


9. Tuyinza tutya okukozesa Bayibuli okubudaabuda abalala? (Abaruumi 15:​4, 5)

9 Kozesa Bayibuli. Bwe tubudaabuda abalala nga tukozesa ‘Ebyawandiikibwa’ kisobola okubayamba okunyweza essuubi lyabwe mu bisuubizo bya Yakuwa. (Soma Abaruumi 15:​4, 5.) Essuubi eryo libayamba okubudaabudibwa n’okuddamu amaanyi. (Is. 40:31) Oyinza otya okuzuula ebyawandiikibwa by’osobola okukozesa okuzzaamu abalala amaanyi? Abamu baba n’olukalala oluliko ebyawandiikibwa bye basobola okukozesa gamba ng’ebyo ebiri wansi w’omutwe “Okubudaabuda,” mu kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu. Saba Yakuwa akuyambe okukozesa Ekigambo kye mu ngeri esingayo obulungi osobole okuzzaamu abalala amaanyi. Omwoyo gwe omutukuvu gusobola okukuyamba okujjukira ebyawandiikibwa bye weetaaga okusobola okubudaabuda abalala.—Yok. 14:26.

10. Bwe tuba tuzzaamu omuntu amaanyi, lwaki tusaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa?

10 Yogera mu ngeri ey’ekisa. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okubudaabuda” era kisobola okutegeeza “okubuulirira” oba “okukubiriza.” Ebiseera ebimu oyinza okwetaaga okubuulirira oba okukubiriza omuntu gw’obudaabuda okukyusa endowooza ye. Bwe weesanga mu mbeera eyo, kakasa nti ebyo by’oyogera bizzaamu amaanyi oyo gw’obudaabuda mu kifo ky’okugamumalamu. (Nge. 12:18) Yakuwa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe yali ayogera ne Eriya eyali alowooza nti omulimu gwe nga nnabbi gwali teguvuddeemu birungi, era nti Abayisirayiri bonna baali balekedde awo okusinza Yakuwa. Mu ngeri ey’ekisa, Yakuwa yayamba Eriya okukyusa endowooza ye nga tamuleetedde kuwulira bubi. (1 Bassek. 19:​15-18) Naawe osobola okuyamba bakkiriza banno ng’olowooza ku ebyo by’oba ogenda okwogera, era n’oyogera nabo mu ngeri ey’ekisa. Bw’oba owa emboozi oba ng’oliko by’oddamu mu nkuŋŋaana, bulijjo yogera mu ngeri ey’ekisa osobole okuzzaamu bakkiriza banno amaanyi.

11. Emirundi mingi kiki abo ababonaabona kye baba beetaaga? (1 Yokaana 3:18)

11 Baako ky’okolawo okubayamba. Ng’oggyeeko ebigambo ebizzaamu amaanyi, oluusi tuyinza okwetaaga okubaako obuyambi bwe tuwa abo ababa bafunye ebizibu. (Soma 1 Yokaana 3:18.) Balunabba yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe yatunda ebimu ku bintu bye era ssente ezaavaamu n’aziwaayo zikozesebwe okuyamba bakkiriza banne abaali baakabatizibwa, era abaali mu bwetaavu. (Bik. 4:​36, 37) Bakkiriza bannaffe bangi leero bakoppa ekyokulabirako kye nga babaako kye bakola okuyamba abo abali mu bwetaavu. Mwannyinaffe Gabriela ow’omu Poland yanakuwala nnyo amataba bwe gaayonoona ennyumba ye. Agamba nti: “Nze ne bazadde bange be nnali mbeera nabo twatya nnyo era ne tweraliikirira. Nnali simanyi ngeri gye nnali ŋŋenda kuddaabirizaamu nnyumba yaffe. Naye ab’oluganda okuva mu bibiina ebyali biriranyeewo bajja ne baddaabiriza ennyumba yaffe mu lunaku lumu lwokka. Ekyo kye baakola kyayongera okunyweza okukkiriza kwange era ne nkiraba nti Yakuwa akozesa abantu be okubudaabuda abo ababonaabona.”

12. Bw’osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa wadde ng’olina ebizibu, kikwata kitya ku bakkiriza banno?

12 Sigala ng’oli mwesigwa wadde ng’olina ebizibu. Omutume Pawulo yagamba Abassessalonika nti yabudaabudibwa nnyo era n’azzibwamu amaanyi bwe yakimanya nti baali basigadde beesigwa wadde nga bayigganyizibwa. Yali akoze bingi okubayamba era kyamuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti baali bakyeyongera okuweereza Yakuwa. (1 Bas. 3:​5-8) Pawulo yali akimanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa ng’alina ebizibu, naye yandibadde asobola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi ne basigala nga beesigwa eri Yakuwa. (Bak. 2:​1, 2) Mu ngeri y’emu, bakkiriza bannaffe bwe balaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu okugumira ebizibu ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, kibazzaamu nnyo amaanyi.

13. Bwe kituuka ku kuzzaamu abalala amaanyi, kiki kye tusaanidde okujjukira?

13 Beera mugumiikiriza. Ab’oluganda ne bannyinaffe be tubudaabuda bayinza obutakwatibwako mangu nga bwe tuba tusuubira. Naye Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ Bayibuli bw’egamba nti “muzziŋŋanengamu amaanyi,” eba etegeeza nti ekyo tusaanidde okukikola enfunda n’enfunda. (1 Bas. 5:11) N’olwekyo, beera mugumiikiriza nga weeyongera okubudaabuda abo abeetaaga obuyambi. (1 Bas. 5:14) Naye ebiseera ebimu naffe tuba twetaaga okubudaabudibwa. Kiki kye tusobola okukola bwe twesanga mu mbeera eyo?

BW’OBA NGA WEETAAGA OKUBUDAABUDIBWA

14-15. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tulina ebizibu, oba nga tuli beeraliikirivu?

14 Saba Yakuwa. Bw’oba mweraliikirivu oba ng’olina ebizibu, saba Yakuwa akuyambe. (Zab. 94:19) Bw’oba omusaba, mutegeeze ekyo kyennyini ekikuli ku mutima. (Zab. 62:8) Kyo kituufu nti Yakuwa aba amanyi engeri gye weewuliramu ne bw’oba nga tonnamusaba. Naye bw’omweyabiza era n’omubuulira ekyo kyennyini ekikuli ku mutima, kiba kiraga nti omwesiga. Bulijjo Yakuwa abaako ky’akolawo okuyamba abo abakiraga nti bamwesiga. (Mak. 11:24) Abafiripi 4:​6, 7 watukubiriza nti: “Mutegeezenga Katonda bye mwetaaga . . . era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.”

15 Saba abalala okukuyamba. Yogerako n’Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo oba omukadde gwe weesiga, omubuulire engeri gye weewuliramu. Bakkiriza banno baagala okukuyamba, naye bayinza obutamanya ngeri gye weewuliramu oba ekyo kye basobola kukola okukuyamba, okuggyako ng’obagambye. (Nge. 14:10) Osobola okubasaba okukuwuliriza obulungi, okukusomerayo ekyawandiikibwa, oba okubaako ekitundu ekizzaamu amaanyi kye bakusindikira, ekiri mu bimu ku bitabo byaffe.

16. Kiki ekiyinza okubaawo nga bakkiriza banno bagezaako okukuzzaamu amaanyi, naye kiki ky’osaanidde okujjukira?

16 Beera muntu asonyiwa era toyanguwa kunyiiga. Oluusi bakkiriza banno bwe baba bakuzzaamu amaanyi bayinza okukola ensobi. Ng’ekyokulabirako, bayinza okwogera oba okukola ekintu ekiyinza okukuleetera okwongera okuwulira obubi mu kifo ky’okuzzibwamu amaanyi. Ekyo bwe kibaawo, tonyiiga mangu era bagumiikirize. (1 Kol. 13:​4, 7) Ate era jjukira ebigambo ebiri mu Yakobo 3:2 awagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba tasobya mu kigambo, aba yatuukirira.” N’olwekyo essira lisse ku kiruubirirwa ekirungi eky’okukuzzaamu amaanyi bakkiriza banno kye baba nakyo. Ate era teweerabira ekyo Bayibuli ky’egamba nti, “omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”—Mat. 26:41.

17. Tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki?

17 Ennaku ez’enkomerero zeeyongedde okukaluba era abalabe ba Katonda bajja kweyongera okutuyigganya. N’olwekyo, ffenna tujja kwetaaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi okusinga bwe kyali kibadde. Ka ffenna bulijjo tube bamalirivu buli omu okubudaabuda munne.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Mu Bayibuli, okubudaabuda abalala kitegeeza ki?

  • Tuyinza tutya okubudaabuda abalala?

  • Kiki kye tusobola okukola bwe tuba nga twetaaga okubudaabudibwa?

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

a EKIFAANANYI: Omukadde awuliriza bulungi ng’ow’oluganda eyali yaakafiirwa mukyala we aliko ky’amugamba. Oluvannyuma, omukadde oyo akyalira ow’oluganda omulala eyafiirwa mukyala we emyaka egiwerako emabega, era boogera ku birungi bye baali bamumanyiiko.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza