JJUUNI 29–JJULAAYI 5, 2026
OLUYIMBA 131 “Katonda ky’Agasse Awamu”
Munno mu Bufumbo Mutwale nga Mukwano Gwo
“Wabaawo ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda.”—NGE. 18:24.
EKIGENDERERWA
Obufumbo obw’essanyu bubaamu omwami n’omukyala nga ba mukwano, era nga baagala Yakuwa.
1. Lwaki ab’emikwano abalungi kirabo okuva eri Yakuwa?
AB’EMIKWANO abalungi baba kirabo okuva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Baba baagala Katonda era nga naffe batwagala. Basanyukira wamu naffe bwe tuba mu ssanyu, batubudaabuda bwe tuba n’ebizibu, era batuwabula bwe kiba kyetaagisa. Batunywererako era beesigika. Ab’emikwano ng’abo ‘basanyusa omutima’!—Nge. 27:9.
2. Lwaki kikulu abafumbo okweyongera okunyweza omukwano gwabwe? (Matayo 19:6)
2 Kikulu nnyo omwami n’omukyala okubeera ab’emikwano. Omukwano gwabwe basaanidde okugutwala nga gwa muwendo nnyo, ne kiba nti bombi balina okubaako bye bakola okweyongera okugunyweza. Bwe balagajjalira omukwano gwabwe bayinza okutandika okuwulira ekiwuubaalo, obutaba basanyufu, n’okunyiiganyiiga. Naye bwe baabaako bye bakola okunyweza enkolagana yaabwe, baba n’omukwano ogw’oku lusegere. (Soma Matayo 19:6.) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebyo abafumbo bye basobola okukola okunyweza omukwano gwabwe. Naye ka tusooke tulabe ebyo ebisobola okuyamba Abakristaayo abali obwannamunigina okulonda omuntu ow’okufumbiriganwa naye, anaafuuka mukwano gwabwe ow’oku lusegere obulamu bwabwe bwonna.
LONDA OMUNTU ANAABEERA MUKWANO GWO OBULAMU BWO BWONNA
3-4. Kiki ekisobola okuyamba Omukristaayo okufuna omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye? (Engero 18:22)
3 Bwe tuba tetunnasalawo ku nsonga yonna enkulu, kiba kirungi okusooka okulowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu, ka bibe birungi oba bibi. Ebintu ebikulu bye tusalawo biyinza okukwata ku bulamu bwaffe okumala ekiseera kiwanvu. N’olwekyo, kikulu okufumiitiriza ennyo nga tetunnaba kusalawo.
4 Bwe tuba tulonda omuntu gwe twagala abeere mukwano gwaffe obulamu bwaffe bwonna, kwe kugamba oyo gwe twagala okufumbiriganwa naye, tuba tusalawo ekimu ku bintu ebikyasinzeeyo obukulu mu bulamu bwaffe. Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo, kiba kya magezi okumusaba atuwe obulagirizi nga tulonda oyo gwe twagala okufumbiriganwa naye. Ayagala omusajja afune omukyala omulungi, n’omukazi afune omwami omulungi. Bulijjo Yakuwa amanyi kye twetaaga, era atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi. (Soma Engero 18:22; Is. 48:17, 18) Emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda gisobola okuyamba Omukristaayo okufuna omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye.
5. Bw’oba onoonya ow’okufumbiriganwa naye, lwaki kikulu okulonda Omukristaayo omubatize?
5 Bwe tubatizibwa, tufuuka mikwano gya Katonda. (Zab. 25:14) Bw’oba onoonya ow’okufumbiriganwa naye, osaanidde okumunoonya mu abo abaagala Yakuwa. (1 Kol. 7:39) Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti osiima emitindo gya Yakuwa, era munno mu bufumbo ojja kumutwala ng’ekirabo okuva eri Yakuwa. (Nge. 19:14) Ate era ojja kwewala ebizibu ebiva mu kufumbiriganwa n’omuntu atayagala Yakuwa. (2 Kol. 6:14) Tekiba kya magezi kwogerezeganya na muntu atali mukkiriza, oboolyawo nga weekwasa nti mu kibiina temuli muntu akusaanira. Ate era tosaanidde kwekwasa busongasonga kwogerezeganya na muntu atali mukkiriza, ng’olowooza nti ekiseera kijja kutuuka ayige amazima.
6-7. Bibuuzo ki by’osaanidde okwebuuza ng’olowooza ku muntu gwe wandyagadde okufumbiriganwa naye?
6 Kya lwatu, si buli Mukristaayo nti aba muntu mutuufu ow’okufumbiriganwa naye. N’olwekyo, bw’oba olina omuntu gw’oyagala okufumbiriganwa naye,a kyandibadde kirungi ne weebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ayisa atya ab’eŋŋanda ze? Afaayo ku balala, era abassaamu ekitiibwa? Mikwano gye be baani? Yeeyisa atya ng’afunye obutakkaanya n’abalala? Akalambira ku ekyo ky’ayagala, oba akkiriza ekyo abalala kye bagamba kasita waba nga tewali musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa? Ssente z’akulembeza mu bulamu bwe?’
7 Ate era osobola okwebuuza: ‘Oyo gwe njagala okufumbiriganwa naye ayagala nnyo Yakuwa? Ayambala “omuntu omuggya”? Anannyamba okweyongera okuweereza Yakuwa mu bujjuvu? Tulina ebiruubirirwa bye bimu eby’eby’omwoyo? Omuntu oyo anaafuuka mukwano gwange ow’oku lusegere?’ (Bak. 3:9, 10) Bw’oba mwannyinaffe, ow’oluganda gw’oyogerezeganya naye anaabeera wa mukwano mulungi era omutwe gw’amaka omulungi? (1 Kol. 11:3) Bw’oba wa luganda, mwannyinaffe gw’oyogereza anaakussaamu ekitiibwa ng’omutwe gw’amaka wadde nga totuukiridde? Kitwala ekiseera okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. N’olwekyo, kozesa ekiseera eky’okwogerezeganya okutegeera obulungi munno.
8-9. Kiki ekiyinza okuyamba abo aboogerezeganya okusalawo obulungi? (Laba n’ekifaananyi.)
8 Bw’onoofuba okutegeera obulungi oyo gw’oyogerezeganya naye kijja kukuyamba okusalawo obulungi. Gezaako okumanya ekyo abalala kye balowooza ku muntu oyo. Osobola okubuuza ebintu ebitali bimu ebikwata ku ngeri omuntu oyo gye yeeyisaamu. Ng’ekyokulabirako, amanyiddwa ng’omuntu omwetoowaze, ow’ekisa, era atali mukakanyavu? Mwannyinaffe Sarah, abeera mu French Guiana, eyafumbirwa ow’oluganda Daniel agamba nti: “Nnasobola okumanya ebikwata ku Daniel nga mbaako bye mbuuza ow’oluganda gwe yali asula naye ku kizimbe kye kimu era gwe yali aweereza naye nga payoniya, nga mbuuza omukadde mu kibiina kye, mikwano gye, n’abamu ku bannyinaffe mu kibiina kye.” Mu ngeri ey’ekisa, osobola okubuuza oyo gw’oyogerezeganya naye obanga waliwo ekintu ekyamutuukako oba ky’ayolekagana nakyo mu kiseera kino kye wandyetaaze okumanya. Ekyo kiri bwe kityo kubanga ebintu ebimu oba emize egimu, gisobola okuvaako ebizibu eby’amaanyi oluvannyuma lw’okufumbiriganwa.
9 Bw’oba olina ekintu ky’obuusabuusa oba nga waliwo ekintu abo b’oyogeddeko nabo kye bakugambye, tokibuusa maaso. Bw’onookola bw’otyo, kijja kukwanguyira okusalawo obanga onoofumbiriganwa n’omuntu oyo oba nedda.b Kati ka tulabe ebyo abafumbo bye basobola okukola okweyongera okunyweza omukwano gwabwe.
Bwe muba mwogerezeganya, fuba nnyo okutegeera ekyo munno ky’ali (Laba akatundu 8-9)
MUKOLE EBINTU EBINAABAYAMBA OKUBA N’OMUKWANO OGW’OKU LUSEGERE
10. Lwaki kikulu omwami n’omukyala okufunayo akadde ne babeerako wamu?
10 Omwami n’omukyala basobola okunyweza omukwano gwabwe n’obufumbo bwabwe nga bafunayo akadde okubeerako awamu, wadde nga balina eby’okukola bingi. Bwe bakola bwe batyo, kibawa akakisa okwogera ku ebyo ebibaddewo mu lunaku, buli omu okubuulira munne ekyo ky’alowooza n’engeri gye yeewuliramu, okulagaŋŋana okwagala, n’okubaako ebintu ebibanyumira bye bakolerako awamu.
11. Kiki ekiyinza okukosa omukwano ogubaawo wakati w’omwami n’omukyala?
11 Omwami n’omukyala bwe baba nga ba mukwano, bulijjo baba baagala okubeera bonna era beewala ekintu kyonna ekiyinza okubaawula okumala ebbanga eddene. Kya lwatu, si buli kiseera nti bajja kubeera bonna. Kyokka obutabeera bonna okumala ebbanga eddene, kisobola okuba eky’obulabe. Ng’ekyokulabirako, abamu bakkirizza okukola emirimu mu nsi endala, ekyo ne kibaleetera okumala ekiseera kiwanvu nga tebali wamu n’ab’omu maka gaabwe. Wadde ng’ekyo kiyinza okubasobozesa okufuna ssente eziwerako, omuntu bw’amala ekiseera ekiwanvu nga tali wamu ne munne mu bufumbo kisobola okuvaamu ebizibu eby’amaanyi.
12-13. (a) Biki Abakristaayo abamu bye bakoze okufunayo akadde okubeerako awamu ne bannaabwe mu bufumbo? (Laba n’ekifanaanyi.) (b) Enkolagana yo ne munno mu bufumbo esaanidde kuba nkulu kwenkana wa? (Laba akasanduuko “Ekifo Munno mu Bufumbo ky’Alina mu Bulamu Bwo.”)
12 Weetegereze ebimu ku ebyo abafumbo bye bakoze ebibasobozesezza okufunayo akadde okubeerako awamu. Leah, abeera mu Guam, agamba nti: “Nze n’omwami wange tulina ebintu bingi bye tunyumirwa okukolerako awamu. Bwe tuyitibwa ku kabaga oba mu kifo ekimu ekisanyukirwamu, tetukkiriza kugenda nga tetuli ffembi.” Roxanne, abeera mu Amerika agamba nti: “Olw’okuba tulina eby’okukola bingi, tukirabye nti kikulu okuteekawo akadde ak’okubeerako awamu nga bwe tukola ne ku bintu ebirala ebikulu.” (Geraageranya Amosi 3:3.) Damien, abeera mu Bufalansa, agamba nti: “Nze ne mukyala wange tukirabye nti kikulu okumanya ebyo buli omu by’anyumirwa okukola, era ekiseera bwe kigenze kiyitawo ffembi tutandise okunyumirwa ebintu bye bimu.” (Mat. 7:12) Ate Katie, abeera mu Amerika agamba nti: “Ebiseera ebimu tusalawo obutabeera na masimu gaffe galeme okututaataaganya mu kaseera ke tumala nga tuli ffembi.”
13 N’ekisinga byonna, musseewo obudde okwenyigira mu bintu eby’omwoyo nga muli mwembi. Myriam, abeera mu Bufalansa, agamba nti: “Buli lunaku ku makya tusomera wamu Bayibuli era buli omu n’ayogera ku ekyo ky’ayize n’engeri gy’asobola okukikolerako. Nnyumirwa nnyo akaseera ako.” Myriam agattako nti: “Ate era nsanyuka nnyo bwe tusabirako awamu ne mpulira ebigambo omwami wange by’akozesa ebiraga nti ayagala nnyo Yakuwa.” Katie, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Ekiseera kye tusinga okunyumirwa ky’ekyo kye tumala nga tuli ffembi mu buweereza. Kizzaamu amaanyi okuwulira nga buli omu annyonnyola abalala ebikwata ku Yakuwa. Era buli lwe tubuulirirako awamu buli omu abaako ekipya ky’ayigira ku munne.”—Nge. 27:17.
Munyweze obufumbo bwammwe nga bulijjo mufuna ekiseera okubeerako awamu ng’ab’omukwano (Laba akatundu 12-13)
NYWERERA KU MUNNO MU BUFUMBO NGA MUFUNYE EBIZIBU
14-15. Lwaki abafumbo basaanidde okufuba okugonjoola ebizibu bye bayinza okufuna mu bufumbo bwabwe? Waayo ekyokulabirako.
14 Abafumbo bajja kufuna ebizibu mu bufumbo bwabwe kubanga tebatuukiridde. Ekyo Bayibuli ekyoleka kaati ng’egamba nti abafumbo “bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.” (1 Kol. 7:28) Bayibuli bw’eyogera bw’etyo “eba etegeeza ebizibu oba ebintu ebisoomooza, abafumbo bonna bye batera okufuna.” Abafumbo bwe bafuna ebizibu ng’ebyo, lwaki buli omu asaanidde okufuba okunywerera ku munne, kibasobozese okubigonjoola?
15 Lowooza ku kyokulabirako kino. Ekizimbe ekirabika obulungi oba ekintu ekirala eky’omuwendo bwe kyonoonebwa, bannyinikyo bakola kyonna kye basobola okukiddaabiriza. Bayinza okukozesa ssente nnyingi n’ebintu ebirala bingi okusobola okuddaabiriza ekizimbe ekyo oba ekintu ekyo, wadde ng’ekyo kiyinza okutwala emyaka mingi. Lwaki bakola bwe batyo? Kubanga ekizimbe ekyo oba ekintu ekyo, kya muwendo nnyo gye bali. Mu ngeri y’emu, obufumbo bwonna bwa muwendo. N’abafumbo abasingayo okuba abasanyufu basobola okufuna ebintu ebibasoomooza. Kyokka, ng’ekintu eky’omuwendo ekyonooneddwa bwe kisobola okuddaabirizibwa, n’obufumbo obulimu ebizibu busobola okutereera. Okutereeza obufumbo ng’obwo kisobola okutwala ekiseera era kiyinza okwetaagisa okufuba okw’amaanyi. Kyokka, Yakuwa kimusanyusa nnyo bw’alaba abafumbo nga bafuba okunyweza obufumbo bwabwe, era nga buli omu mwetegefu okunywerera ku munne. (Mal. 2:16) Bwe bakola bwe batyo, tebakoma ku kukiraga nti buli omu ayagala munne era nti amussaamu ekitiibwa, wabula era baba bakiraga nti ne Yakuwa bamwagala era bamussaamu ekitiibwa.
16. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 13:4-8a, kiki ekisobola okuyamba abafumbo abalina ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo bwabwe? (Laba ekifaananyi n’akasanduuko “Ebisobola Okubayamba Okunyweza Omukwano Gwammwe.”)
16 Bwe mufuna ebizibu mu bufumbo bwammwe, toyanguyiriza kulowooza ku kya kwawukana. (1 Kol. 7:10, 11) Mu kifo ky’ekyo weebuuze, ‘Waliwo kye nsobola okukola okweyongera okunyweza omukwano gwaffe?’ Wejjukanye ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kwagala, era weebuuze obanga osobola okubaako ky’okola okweyongera okwoleka engeri ezoogerwako mu 1 Abakkolinso 13:4-8a. (Soma.) Mu kifo ky’okulowooza ku kwawukana, kola kyonna ky’osobola okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne munno mu bufumbo. Essira lisse ku ebyo ggwe by’osobola okukola okuddamu okunyweza omukwano gwammwe. Saba Yakuwa akuyambe. Ate era osobola okufuna obuyambi obulala bwe weetaaga ng’osoma ebitabo ebikubibwa ekibiina, ng’olaba vidiyo, ng’oyogerako n’abakadde, oba Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo. Bw’oneesiga Yakuwa, nga gwe muyondo ogwokusatu era ogusinga obugumu mu ‘muguwa ogw’emiyondo esatu,’ obufumbo bwammwe tebujja kuba ‘bwangu bwa kukutula.’—Mub. 4:12.
Kola kyonna ky’osobola okunywerera ku munno mu bufumbo ne bwe muba nga mulina ebizibu (Laba akatundu 16)
17. Abafumbo n’abo abalowooza ku ky’okuyingira obufumbo bayinza batya okuba abasanyufu?
17 Yakuwa ayagala abaweereza be bonna babe basanyufu, nga mwe muli abafumbo n’abo abalowooza ku ky’okuyingira obufumbo. N’olwekyo, bw’oba ng’oli bwannamunigina era nga wandyagadde okuyingira obufumbo, beera mwegendereza ng’olonda omuntu anaabeera mukwano gwo obulamu bwo bwonna. Ate bw’oba mufumbo, munno mu bufumbo weeyongere okumutwala nga mukwano gwo era fuba okunyweza enkolagana gye mulina. Mugonjoole ebizibu bye muyinza okufuna mu bufumbo bwammwe, nga mukozesa ebyo Yakuwa by’atuwa. Bwe munaakola bwe mutyo, mujja ‘kunyumirwa obulamu’ n’abaagalwa bammwe!—Mub. 9:9.
OLUYIMBA 132 Tufuuse Muntu Omu
a Ebibuuzo bino bikwata ku basajja n’abakazi.
b Okumanya ebisingawo ku ngeri gye musobola okumanyaganamu obulungi, laba ekitundu “Okwogerezeganya Okuweesa Yakuwa Ekitiibwa” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2024, wansi w’omutwe “Mufube Okumanyagana.”