EBYAFAAYO
Okuyigira ku Bantu Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi Kinviiriddemu Emikisa
BWE nnali omuto, nnali nkaluubirirwa okubuulira. Bwe nnakula, nnafuna obuvunaanyizibwa bwe nnali ndowooza nti sisobola kubutuukiriza. Ka mbabuulire ku bantu abannyamba okuggwaamu okutya ne nsobola okufuna emikisa mingi mu myaka 58 gye mmaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
Nnazaalibwa mu kibuga Quebec, eky’omu Canada mwe boogera Olufalansa. Bazadde bange, Louis ne Zélia, bandaga okwagala. Taata wange yali wa bigambo bitono era yali ayagala nnyo okusoma ebitabo. Nnali nnyumirwa nnyo okuwandiika era nnali nsuubira okuba munnamawulire nga nkuze.
Bwe nnali wa myaka nga 12, Rodolphe Soucy, eyakolanga ne taata, awamu ne mukwano gwe baatukyalira awaka. Baali Bajulirwa ba Yakuwa. Nnali simanyi bingi ku Bajulirwa ba Yakuwa, era nnali saagala kumanya bibakwatako. Naye nnayagala nnyo engeri gye baddamu obulungi ebibuuzo byaffe nga bakozesa Bayibuli. Bazadde bange nabo baakwatibwako nnyo era ffenna ne tukkiriza okuyigirizibwa Bayibuli.
Mu kiseera ekyo, nnali nsomera mu ssomero ly’Abakatuliki. Olumu n’olumu nnabuulirangako bayizi bannange ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli. Ekyo abasomesa, abaali abasosodooti, baakimanyaako. Mu kifo ky’okukozesa Ebyawandiikibwa okulaga nti ebyo bye nnali mbuulira byali bikyamu, omu ku bo yannangira mu maaso g’abaana nti ndi kyewaggula! Wadde ng’ekyo kyannuma nnyo, kyavaamu ebirungi kubanga kyannyamba okukiraba nti ebyo ebikwata ku ddiini bye baali bayigiriza ku ssomero byali tebikwatagana na Bayibuli. Nnakiraba nti nnalina okukyusa essomero. Bazadde bange banzikiriza okugenda mu ssomero eddala.
NTANDIKA OKWAGALA OKUBUULIRA
Nneeyongera okuyiga Bayibuli, naye nnalwawo okukulaakulana kubanga nnali ntya okubuulira nnyumba ku nnyumba. Eddiini y’Ekikatuliki yalina obuyinza bungi mu Quebec era yayigganya nnyo omulimu gw’okubuulira. Maurice Duplessis, eyali akulembera essaza lya Quebec, yali akwatagana nnyo n’Ekkereziya. Duplessis yawagiranga ebibinja by’abantu abaalumbanga Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kiseera ekyo, kyali kyetaagisa obuvumu bwa maanyi okubuulira.
Ow’oluganda John Rae, eyali mu ssomero lya Gireyaadi ery’omwenda, yannyamba okuggwaamu okutya. John yalina obumanyirivu bungi, yali mukkakkamu, yali mwetoowaze, era ng’atuukirikika. Teyateranga kumpabula butereevu, naye nnayigira bingi ku kyokulabirako ekirungi kye yanteerawo. Olw’okuba John yali tamanyi bulungi Lufalansa, nnateranga okugenda naye okubuulira ne mmuyambako mu lulimi olwo. Okukoleranga awamu ne John kyannyamba okusalawo okufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nga Maayi 26, 1951, nga wayise emyaka nga kkumi bukya ntandika okuyiga n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnabatizibwa.
Ekyokulabirako ekirungi ekya John Rae (A) kyannyamba (B) okulekera awo okutya okubuulira nnyumba ku nnyumba
Ekibiina kyaffe eky’omu Quebec kyalimu abantu batono era abasinga obungi baali bapayoniya. Ekyokulabirako ekirungi kye bassaawo kyannyamba okufuuka payoniya. Mu kiseera ekyo, twabuuliranga nnyumba ku nnyumba nga tukozesa Bayibuli yokka. Olw’okuba tetwabanga na bitabo, twalina okuyiga okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa. N’olwekyo, nnafuba nnyo okukwata ebyawandiikibwa bye nnandikozesezza okunnyonnyola amazima. Naye era bangi baagananga okusoma mu nzivuunula ya Bayibuli yonna eyabanga tekkiriziddwa Kkereziya.
Mu 1952, nnawasa Simone Patry, eyali aweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Twasenguka ne tugenda e Montreal, era mu bbanga lya mwaka gumu twazaala muwala waffe, Lise. Wadde nga bwe twali tunaatera okufumbiriganwa nnalekera awo okuweereza nga payoniya, nze ne Simone twagezaako obuteetuumako bintu tusobole okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina ng’amaka.
Waayita emyaka kkumi ne nziramu okulowooza ku ky’okuddamu okuweereza nga payoniya. Mu 1962, bwe nnali ŋŋenze mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka ery’abakadde eryali ku Beseri y’omu Canada, nnasula n’ow’oluganda Camille Ouellette. Okuba nti Camille yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira ate nga yalina abaana, kyankwatako nnyo. Mu kiseera ekyo, tekyali kya bulijjo mu Quebec omuzadde okuweereza nga payoniya ng’ate akyalina abaana abato; naye ekyo kye kyali ekiruubirirwa kya Camille. Mu kiseera kye nnamala naye, yankubiriza okulowooza ku mbeera yange. Waayita emyezi mitono ne nkiraba nti nnali nsobola okuddamu okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Abamu baalowooza nti kye nnali nsazeewo tekyali kya magezi, naye nnatandika okuweereza nga payoniya nga ndi mukakafu nti Yakuwa yandiwadde omukisa okufuba kwange.
NZIRAYO MU KIBUGA QUEBEC NGA PAYONIYA OW’ENJAWULO
Mu 1964, nze ne Simone twalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu kibuga ky’ewaffe eky’e Quebec, era twaweererezaayo okumala emyaka egiwera. Mu kiseera ekyo waali wakyaliwo okuyigganyizibwa naye nga tekukyali kwa maanyi.
Lumu ku Lwomukaaga mu ttuntu, nga ndi mu kabuga Sainte-Marie, akali okumpi n’ekibuga Quebec, ab’obuyinza bankwata. Omusirikale yantwala ku poliisi ne banteeka ku kkomera olw’okuba nnali mbuulira nnyumba ku nnyumba nga sirina pamiti. Oluvannyuma nnatwalibwa mu maaso g’omulamuzi eyali ayitibwa Baillargeon, bangi gwe baali batya. Omulamuzi oyo yambuuza eyali agenda okuba looya wange. Bwe nnamugamba nti ye Glen How,a looya Omujulirwa wa Yakuwa eyali amanyiddwa ennyo, yaŋŋamba ng’atidde nti: “Nedda! Lwaki oyo?” Glen How yali amanyiddwa nnyo mu kuwolereza Abajulirwa ba Yakuwa era ng’awangula. Waayita akaseera katono ne baŋŋamba nti baali banzigyeeko emisango.
Okuyigganyizibwa okwali mu Quebec kwakifuula kizibu gye tuli okufuna ekifo ekirungi eky’okufuniramu enkuŋŋaana. Twali tukuŋŋaanira mu ggalagi etaalimu bibugumya. Okusobola okubuguma mu kiseera ky’obutiti, ab’oluganda baakozesanga akuuma akabugumya. Twakeetooloolanga ng’enkuŋŋaana tezinnatandika ne tunyumya ku bintu ebizzaamu amaanyi.
Kisanyusa nnyo okulaba engeri omulimu gw’okubuulira gye gukulaakulanyeemu. Mu myaka gya 1960, waaliwo ebibiina bitono nnyo mu kibuga ky’e Quebec, mu kitundu ky’e Côte-Nord, ne mu kitundu ky’e Gaspé. Leero waliwo ebibiina bingi mu bitundu ebyo era ab’oluganda bakuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka ebirungi.
TUSABIBWA OKUKYALIRA EBIBIINA
Mu 1977, nnagenda mu lukuŋŋaana lw’abalabirizi abakyalira ebibiina mu Toronto, Canada
Mu 1970, nze ne Simone twasabibwa okutandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Ate mu 1973, nnalondebwa okuba omulabirizi wa disitulikiti. Mu myaka egyo, nnina bingi bye nnayigira ku w’oluganda Laurier Saumurb ne David Splane,c bombi abaali bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Buli luvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, nze ne David twawaŋŋananga amagezi ku ngeri y’okulongoosa mu ngeri gye twali tuyigirizaamu. Nzijukira lumu David yaŋŋamba nti: “Léonce, emboozi yo ennyumidde. Ebadde nnungi, naye omwo nze nnandiggyemu emboozi ssatu!” Nnateranga okwogera ku bintu bingi nnyo mu mboozi zange. Nnali nnina okuyiga okunnyonnyola ebintu nga nkozesa ebigambo bitono.
Nnaweereza mu bibuga eby’enjawulo mu buvanjuba bwa Canada
Abalabirizi ba disitulikiti baalina obuvunaanyizibwa obw’okuzzaamu amaanyi abalabirizi abakyalira ebibiina. Naye ababuulizi bangi mu Quebec baali bammanyi bulungi. Emirundi mingi baayagalanga okubuulira nange mu wiiki mwe twabanga tukyalidde ebibiina. Wadde nga nnanyumirwanga nnyo okubuulira nabo, abalabirizi abakyalira ebibiina nnali sibawa biseera bimala. Lumu omulabirizi omu akyalira ebibiina yampabula mu ngeri ey’okwagala, n’aŋŋamba nti: “Kirungi nti ab’oluganda obawa ebiseera, naye teweerabira nti wiiki eno wazze kukyalira nze. Nange nneetaaga okuzzibwamu amaanyi!” Okuwabula okwo kwannyamba obutagwa lubege.
Eky’ennaku, mu 1976 ekintu kye nnali sisuubira era ekinakuwaza ennyo kyabaawo. Mukyala wange omwagalwa, Simone, yalwala era n’afa. Yali mukyala mulungi nnyo kubanga yalina omwoyo ogw’okwefiiriza era ng’ayagala nnyo Yakuwa. Okunyiikirira omulimu gw’okubuulira kyannyamba okwaŋŋanga ekizibu ekyo, era nneebaza Yakuwa olw’okunnyamba ennyo mu kiseera ekyo ekitaali kyangu. Oluvannyuma, nnawasa Carolyn Elliott, mwannyinaffe omunyiikivu ayogera Olungereza eyali azze okuweereza awali obwetaavu obusingako mu Quebec. Carolyn atuukirikika era afaayo nnyo ku bantu, naddala abo abalina ensonyi oba abalina ekiwuubaalo. Yannyamba nnyo mu mulimu gw’okukyalira ebibiina.
OMWAKA GWE SIYINZA KWERABIRA
Mu Jjanwali 1978, nnasabibwa okuyigiriza mu ssomero lya bapayoniya eryasooka mu Quebec. Nnatya nnyo kubanga eby’okusomesebwa byali bipya gye ndi n’eri abayizi. Ekirungi, ekibiina kye nnasooka okusomesa kyalimu bapayoniya bangi abaalina obumanyirivu. Wadde nga nze nnali omusomesa waabwe, nnabayigirako bingi!
Omwaka gwa 1978 bwe gwali gunaatera okuggwaako, twafuna olukuŋŋaana olunene mu kisaawe ky’e Montreal. Lwe lukuŋŋaana olwali lukyasinzeeyo obunene mu Quebec, era lwaliko abantu abasukka mu 80,000. Nnasabibwa okukola mu kitongole ky’eby’amawulire. Nnayogera ne bannamawulire bangi era kyansanyusa nnyo okulaba nti baatuwandiikako ebintu ebirungi bingi. Okutwalira awamu, bannamawulire baamala essaawa ezisukka mu 20 nga batubuuza ebibuuzo ku ttivi oba ku leediyo era baatuwandiikako ebintu bingi. Ekyo kyawa obujulirwa bwa maanyi!
MPEEREZA MU KITUNDU EKIRALA
Mu 1996 nnafuna enkyukakyuka ey’amaanyi. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga mpeerereza mu Quebec gye boogera Olufalansa, nnasindikibwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti mu Toronto gye boogera Olungereza. Nnawulira nga sirina bisaanyizo era nneeraliikirira okuwa emboozi mu Lungereza lwe sitereeza. Nnasaba nnyo Yakuwa annyambe.
Nnatya nnyo nga ŋŋenda kutandika okuweereza mu Toronto, naye nnanyumirwa nnyo obuweereza bwange mu myaka ebiri gye nnamalayo. Carolyn yannyamba nnyo okuyiga Olungereza, era n’ab’oluganda nabo bannyamba nnyo era banzizangamu amaanyi. Mu kiseera kitono twali tufunye emikwano mingi.
Ng’oggyeeko emirimu egitali gimu gye nnakolanga okutegeka enkuŋŋaana ennene, emirundi mingi ku Lwokutaano olw’eggulo nnagendanga ne mbuulira nnyumba ku nnyumba. Abamu bayinza okuba nga beebuuzanga ensonga lwaki nnagendanga okubuulira ku Lwokutaano ate nga ku wiikendi nnabanga ŋŋenda kuba ku lukuŋŋaana olunene. Nnakiraba nti okunyumyako n’abantu mu buweereza, kyanzizangamu nnyo amaanyi. Ne leero, okubuulira kinzizaamu nnyo amaanyi.
Mu 1998, nze ne Carolyn twasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Montreal. Okumala emyaka mingi obuweereza bwange bwazingiramu okuteekateeka okubuulira okw’enjawulo mu bifo ebya lukale n’okukolera awamu n’emikutu gy’empuliziganya okutangaaza abantu ku kituufu ekikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nze ne Carolyn kati tunyumirwa okubuulira abagwira abajja mu Canada gye buvuddeko awo era abaagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli.
Nga ndi ne mukyala wange Carolyn
Bwe ndowooza ku myaka 68 gye nnaakamala nga mpeereza Yakuwa, mpulira essanyu lingi. Okuyiga okwagala okubuulira n’okuyamba abantu bangi okumanya amazima kindeetedde essanyu eritagambika. Muwala wange, Lise, n’omwami we bwe baamala okukuza abaana baabwe, baatandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Kindeetera essanyu lingi okulaba nga yeeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ate era nsiima nnyo bakkiriza bannange abanteerawo ekyokulabirako ekirungi era abampabulanga, ne kinnyamba okukulaakulana mu by’omwoyo ne nsobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina. Nkirabye nti okusobola okunywerera mu buweereza bwaffe tulina okusabanga Yakuwa okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. (Zab. 51:11) Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okumpa enkizo ey’okutendereza erinnya lye!—Zab. 54:6.
a Laba ebikwata ku W. Glen How mu Awake! eya Apuli 22, 2000 wansi w’omutwe “Olutalo Si Lwammwe, Lwa Katonda.”
b Laba ebikwata ku Laurier Saumur mu Watchtower eya Noovemba 15, 1976 wansi w’omutwe, “Nnazuula Ekintu eky’Omuwendo.”
c David Splane aweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa.