APULI 13-19 2026
OLUYIMBA 52 Okwewaayo okw’Ekikristaayo
Okutegeera Amakulu g’Okubatizibwa
“Mufuule abantu . . . abayigirizwa, nga mubabatiza.”—MAT. 28:19.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba okubatizibwa kye kitegeeza, ensonga lwaki kikulu, n’ebirala ebizingirwamu.
1. Kiki ekiraga nti okubatizibwa y’emu ku njigiriza za Bayibuli enkulu ennyo?
KITUSANYUSA nnyo abapya bwe babatizibwa ne bafuuka abagoberezi ba Kristo! Abakristaayo abaasookera ddala abaaliwo mu kyasa ekyasooka, nabo baasanyuka nnyo bwe baalaba abantu bangi nga babatizibwa ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Ku lukuŋŋaana olwo omutume Peetero yawa okwogera era n’annyonnyola obukulu bw’okubatizibwa. (Bik. 2:38, 40, 41) Oluvannyuma omutume Pawulo bwe yali annyonnyola “enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo” yagamba nti enjigiriza ezo zizingiramu “okuyigiriza okukwata ku kubatiza.” (Beb. 6:1, 2) N’olwekyo wadde ng’okubatizibwa erabika ng’enjigiriza ennyangu, y’emu ku njigiriza ezisinga obukulu ze twetaaga okutegeera obulungi. Lwaki?
2. Lwaki kikulu okutegeera obulungi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kubatizibwa?
2 Omuntu bw’aba ayagala okuzimba ennyumba eŋŋumu, asaanidde okugizimba ku musingi omunywevu. Mu ngeri y’emu bwe tutegeera obulungi obukulu bw’okubatizibwa, kisobola okutuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Ffenna twetaaga okutegeera obukulu bw’okubatizibwa ka kibe nti twabatizibwa dda oba nga tuluubirira okutuuka ku ddaala eryo. N’olwekyo mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino: Okubatizibwa kitegeeza ki? Biki ebizingirwa mu kubatizibwa? Lwaki tubatizibwa mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu?
OKUBATIZIBWA KYE KUTEGEEZA
3. Okubatizibwa kulaga ki?
3 Bw’obatizibwa okiraga mu lujjudde nti okkirizza amazima agakwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, weenenyezza ebibi byo, okoze enkyukakyuka mu bulamu bwo osobole okuweereza Yakuwa, okitegedde nti Katonda akozesa Yesu okutulokola, era nti wasaba Katonda n’omutegeeza nti oyagala okukola by’ayagala ng’oli wamu n’ekibiina kye. Bw’omala okukola ekisuubizo ekyo, kwe kugamba, ne weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, otandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.
4. Okunnyikibwa mu mazzi kitegeeza ki? (Laba n’ekifaananyi.)
4 Omuntu bw’abatizibwa annyikibwa mu mazzi ate oluvannyuma n’aggibwamu.a Ekyo ebiseera ebimu tuyinza okukigeraageranya ku kufa; omuntu aba ng’aziikiddwa ate oluvannyuma n’azuukizibwa. (Geraageranya Abakkolosaayi 2:12.) Bw’obatizibwa kiraga nti okoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bw’onnyikibwa mu mazzi kiraga nti olekedde awo okutambuza obulamu bwo nga bw’obadde obutambuza. Bw’ova mu mazzi ago kiraga nti kati otandise obulamu obupya era nti ogenda kukulembezanga okukola Katonda by’ayagala.
Bw’obatizibwa olekera awo okweyisa mu ngeri gye wali weeyisaamu, n’otandika obulamu obupya nga weemalidde ku kukulembeza ebyo Katonda by’ayagala (Laba akatundu 4)
5. Ebyo by’okola nga weeteekerateekera okubatizibwa biyinza bitya okugeraageranyizibwa ku mulimu gw’okuzimba eryato Nuuwa gwe yakola? (1 Peetero 3:18-21)
5 Soma 1 Peetero 3:18-21. Tusobola okugeraageranya ebyo by’okola okusobola okubatizibwa ku mulimu Nuuwa gwe yakola okuzimba eryato. Bw’oba waakatandika okuyiga ebikwata ku Yakuwa, oyinza okuwulira nti ebyo by’olina okukola okusobola okubatizibwa bingi nnyo era bizibu, nga Nuuwa bw’ayinza okuba nga yazibuwalirwa okuzimba eryato. Naye weetaaga okukola ebintu ebyo byonna? Yee. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ddamu olowooze ku Nuuwa. Katonda kennyini ye yakuba pulaani y’eryato, era Nuuwa yalina okugoberera obulungi pulaani eyo okusobola okuzimba eryato eryandiwonyezzaawo abantu ng’Amataba gazze. Nuuwa yasobola okuzimba eryato kubanga yalina okukkiriza okunywevu, yali agondera Yakuwa, era ne Yakuwa yamuyamba. Okufaananako Nuuwa, naawe osobola okukola ‘byonna nga Katonda bw’akulagira.’—Lub. 6:22.
6. Omutume Peetero yali ategeeza ki bwe yagamba nti okubatizibwa ‘kutulokola’?
6 Mu lunyiriri 21, omutume Peetero yagamba nti okubatizibwa ‘kutulokola.’ Kya lwatu, ekikolwa eky’okunnyikibwa mu mazzi ku bwakyo tekitulokola, era ku bwakyo tekiggyaawo bibi. Omusaayi gwa Yesu gwokka gwe gutunaazaako ebibi. (1 Yok. 1:7) Wadde kiri kityo, okubatizibwa kukulu nnyo bwe kiba nti twagala okukola ebyo Katonda by’ayagala. Ate era bwe tubatizibwa tuba ‘tusaba Katonda tusobole okuba n’omuntu ow’omunda omulungi.’ Ekyo Yakuwa kimusanyusa nnyo era ajja kuddamu okusaba okwo. Mu ngeri eyo okubatizibwa kuba kutulokola, kwe kugamba, kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.
EBIZINGIRWA MU KUBATIZIBWA KW’EKIKRISTAAYO
7. Okubatizibwa kusaanidde kukolebwa kutya?
7 Ng’oggyeeko okuba nti abo ababatizibwa bateekwa okunnyikibwa mu mazzi, Bayibuli tetubuulira kalonda yenna akwata ku kubatizibwa. Wadde kiri kityo, Ebyawandiikibwa bisobola okutuyamba okumanya ekyo ekirina okukolebwa nga waliwo omuntu abatizibwa. Ng’ekyokulabirako, emisingi gya Bayibuli gisobola okuyamba abo abagenda okubatizibwa okumanya engeri gye basaanidde okwambalamu, era n’okuyamba abo abalaba ababatizibwa okumanya engeri gye basaanidde okweyisaamu. (1 Kol. 14:40; 1 Tim. 2:9) Mu kiseera kino, enkizo ey’okubatiza etera okuweebwa ow’oluganda aweereza ng’omukadde mu kibiina, era tetusaanidde kutendereza wa luganda oyo olw’enkizo eyo gy’aba alina. (1 Kol. 1:14, 15) Okubatizibwa kuba kukkirizibwa, ka kibe nti abo ababaddewo ng’abajulizi bangi oba batono.—Bik. 8:36.
8. Bibuuzo ki ebibuuzibwa abo abagenda okubatizibwa, era lwaki? (Ebikolwa 2:38-42) (Laba n’ekifaananyi.)
8 Bayibuli egamba nti tulina ‘okwatula mu lujjudde okufuna obulokozi,’ kwe kugamba, ne tukyoleka mu lujjudde nti tulina okukkiriza. (Bar. 10:9, 10; laba study note ku “okulangirira mu lujjudde.”) Twatula mu lujjudde okufuna obulokozi si nga tubuulira abantu abalala kyokka, naye okusingira ddala ku lunaku lwe tubatizibwa! Olw’ensonga eyo, abo abagenda okubatizibwa babuuzibwa ebibuuzo bino bibiri. Ekisooka: “Weenenyezza ebibi byo, ne weewaayo eri Yakuwa, era okkiriza nti atununula okuyitira mu Yesu Kristo?” Ekibuuzo ekyo kituyamba okulowooza ku ebyo omuntu by’akoze okusobola okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Peetero yayogera ekintu ekifaananako bwe kityo ku lunaku lwa Pentekooti, bwe yagamba ekibiina ky’abantu okwenenya era babatizibwe. Ekyokubiri: “Okitegeera nti bw’obatizibwa ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye?” Ekibuuzo ekyo kitujjukiza nti tunywerera ku kwewaayo kwaffe nga tukolera ku bulagirizi obutuweebwa okuyitira mu kibiina kya Yakuwa, era nga tuweerereza wamu ne bakkiriza bannaffe ng’abayigirizwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe baakola. (Soma Ebikolwa 2:38-42.) Abo abaddamu nti yee mu bibuuzo ebyo ebibiri, baba batuukirizza ebisaanyizo by’okubatizibwa.
Okubatizibwa kuzingiramu ‘okwatula mu lujjudde okufuna obulokozi’ (Laba akatundu 8)d
9. Bintu ki buli omu by’alina okukola okusiimibwa Katonda?
9 Oyinza okuba nga ne bwe wali tonnayiga mazima wali teweenyigira mu bibi bya maanyi. Oba oyinza okuba nga wakuzibwa abazadde Abakristaayo abaakuyamba okwagala Yakuwa. Bwe kiba kityo, ddala oba weetaaga okwenenya n’okubatizibwa osobole okusiimibwa Katonda? Yee. Ka tube nga twakulira mu mbeera ki, tusaanidde okukijjukira nti ffenna twasikira ekibi ekitulemesa okubeera mikwano gya Katonda. (Zab. 51:5) Naye bwe tweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, tusalawo okukulembeza ebyo by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebyo bye twagala. Twenenya ebibi byaffe ne tulekayo okukola ebintu Katonda by’atayagala, bwe tutyo ne tutandika okweyisa mu ngeri esanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. Oluvannyuma lw’okukola bwe tutyo, tuba tusobola okubatizibwa.—Bik. 3:19.
10. Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba nga wali wabatizibwa mu ddiini endala?
10 Ne bwe kiba nti mu ddiini gye walimu wali wabatizibwa, weetaaga okuddamu okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Lwaki? Kubanga mu kiseera ekyo, wali tomanyi bulungi mazima agakwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu. Ate ne bwe kiba nti wali weewaayo eri Katonda okuyitira mu kusaba, okwewaayo okwo kwali tekwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu okukwata ku ebyo by’ayagala. Omutume Pawulo bwe yali mu Efeso n’asisinkana abasajja abaali baabatizibwa, naye nga tebamanyi njigiriza za Kikristaayo yakola enteekateeka abasajja abo baddemu babatizibwe.b (Bik. 19:1-5) Mu ngeri y’emu, ne leero okubatizibwa okukkirizibwa kwekwo kwokka okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu okw’ebyo Katonda by’ayagala.
“MU LINNYA LYA KITAFFE, N’ERY’OMWANA, N’ERY’OMWOYO OMUTUKUVU”
11. Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu”? (Matayo 28:18-20)
11 Yesu yalagira abayigirizwa be okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu.” (Soma Matayo 28:18-20.) Kiki kye yali ategeeza? Mu Bayibuli ekigambo “erinnya” emirundi mingi kikozesebwa okutegeeza ekyo omuntu ky’ali. Ate era kisobola okukozesebwa okutegeeza ekifo omuntu ky’alina oba obuyinza bw’alina. N’olwekyo bwe tukola ekintu “mu linnya” ly’omuntu oba ekintu, tuba tukkiriza nti ekintu ekyo oba omuntu oyo atulinako obuyinza. (Geraageranya Matayo 10:41; laba study note ku “olw’okuba nnabbi.”) Lowooza ku ebyo by’osobola okukola okulaga nti okkiriza ekifo Kitaffe n’Omwana kye balina n’obuyinza bwe batulinako, awamu n’obulagirizi omwoyo gwa Katonda omutukuvu bwe gutuwa.
12. Kitegeeza ki okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe? (Okubikkulirwa 4:11) (Laba .)
12 Okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe. Kino kitegeeza nti tuli bakakafu nti Yakuwa ye Kitaffe ow’omu ggulu, era ye Nsibuko y’Obulamu bwaffe. Ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna era Omutonzi w’ebintu byonna. (Soma Okubikkulirwa 4:11.) Tuli bakakafu nti awulira okusaba kwaffe, era tukozesa erinnya lye bwe tuba tumusaba oba nga tubuulira abalala ebimukwatako. (Zab. 65:2) Kyokka waliwo ekirala ekizingirwa mu kubatizibwa mu linnya lya Kitaffe. Abo abaali bawuliriza Peetero ku lunaku lwa Pentekooti baali bamanyi erinnya lya Yakuwa, naye baalina okukimanya nti Yakuwa atuwa obulamu obutaggwaawo okuyitira mu Yesu Kristo.—Bar. 5:8.
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, weeyongere okumanya ekifo Yakuwa (Laba 12)
13. Kitegeeza ki okubatizibwa mu linnya ly’Omwana? (Laba .)
13 Okubatizibwa mu linnya ly’Omwana. Kino kitegeeza nti tuli bakakafu nti Yesu ye Mwana wa Katonda. Yesu lye “kkubo,” kwe kugamba, y’oyo mwe tuyitira okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yok. 14:6) Yesu era ye Mununuzi waffe, oyo eyatufiirira tusobole okufuna obulamu. Eyo ye nsonga lwaki twagala okumukoppa obulamu bwaffe bwonna, si ku olwo lwokka lwe tubatizibwa. (1 Yok. 2:6) N’olwekyo okufaananako Yesu, tubuulira n’obunyiikivu era tetukkiriza kintu kyonna kutulemesa. (Luk. 4:43) Ate era tuba beetegefu okugumira okuyigganyizibwa kwe tuyinza okufuna olw’okuweereza Katonda n’obwesigwa. (2 Tim. 3:12) Yesu gwe ‘mutwe gw’ekibiina,’ era tumussaamu ekitiibwa. N’olwekyo, tugondera abo b’ataddewo okutwala obukulembeze mu kibiina n’okutulabirira mu by’omwoyo.—Bef. 4:8, 11, 12; 5:23.
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, weeyongere okumanya ekifo n’obuyinza Omwana by’alina (Laba akatundu 13)
14. (a) Kitegeeza ki okubatizibwa mu linnya lw’omwoyo omutukuvu? (Laba .) (b) Abaafukibwako amafuta babatizibwa mu ngeri ki endala? (Laba akasanduuko “Engeri Endala Abaafukibwako Amafuta Gye Babatizibwamu.”)
14 Okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu. Tukkiriza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku mwoyo omutukuvu. Omwoyo omutukuvu si muntu. Ate era omwoyo omutukuvu si kitundu kya busatu, ng’abakkiririza mu njigiriza eyo bwe bagamba. Naye maanyi Katonda g’akozesa okukola ebyo by’ayagala. Tukimanyi nti Yakuwa yakozesa omwoyo omutukuvu okuyamba bannabbi okumanya ebyo bye baalina okwogera, era n’okuyamba abo abaawaandiika Bayibuli okumanya ebyo Katonda bye yali ayagala. (2 Peet. 1:20, 21) Ate era twewala okukola ebibi eby’amaanyi, kubanga enneeyisa ng’eyo esobola okutulemesa okubeera n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, era esobola n’okulemesa ekibiina okubeera n’omwoyo ogwo.—Bef. 4:30.
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, weeyongere okumanya ebyo omwoyo omutukuvu bye gukola (Laba akatundu 14)
15. Kiki ky’omaliridde okukola?
15 Bw’oba oli Mukristaayo mubatize beera mumalirivu okweyongera okutegeera byonna ebizingirwa mu ‘kuyigiriza okukwata ku kubatiza,’c era n’okunywerera ku kisuubizo kye wakola bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa. Naye kiri kitya bw’oba nga tonnabatizibwa? Kyandiba nti waliwo ekikuleetera okulonzalonza okubatizibwa? Ekitundu ekiddako kijja kukuyamba okumanya ebyo by’osobola okukola okutuuka ku ddaala eryo.
OLUYIMBA 161 Okukola by’Oyagala Kindeetera Essanyu
a Ekigambo ky’Oluyonaani ba’pti-sma, ekivvuunulwa “okubatiza,” kitegeeza “okunnyikibwa.” N’olwekyo okubatizibwa kitegeeza okunnyika omuntu mu mazzi, so si okugamumansirako obumansizi ng’amadiini agamu bwe gayigiriza.
b Abasajja b’omu Efeso abo baali baabatizibwa mu kubatizibwa “kwa Yokaana.” (Bik. 19:3) Yokaana Omubatiza yakubiriza Abayudaaya okwenenya ebibi bye baali bakoze olw’okumenya Amateeka ga Musa, era abo abeenenya Yokaana yababatiza. (Mak. 1:4, 5) Naye Amateeka ga Musa bwe gaalekera awo okukola, okubatiza kwa Yokaana kwali tekukyakkirizibwa. Okuva mu kiseera ekyo, waliwo “okubatizibwa kumu” kwokka Katonda kw’asiima era nga kwe kutusobozesa okulokolebwa.—Bef. 4:5.
c Laba ku jw.org ne JW Library® ekitundu “Okubatizibwa Kye Ki?” mu kitundu “Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu.”
d EKIFAANANYI: Abagenda okubatizibwa nga bali ku lukuŋŋaana olunene, bayimiridde okwatula mu lujjudde okukkiriza kwabwe.