APULI 6-12, 2026
OLUYIMBA 82 “Ekitangaala Kyammwe Kyakirenga Abantu”
Engeri Gye Tuyinza Okuyambamu Ab’Eŋŋanda Zaffe Abatali Bakkiriza
“Ka tuleme kulekera awo kukola birungi.”—BAG. 6:9.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebisobola okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza era n’engeri gye tusobola okubayambamu mu by’omwoyo, bwe kiba kisoboka.
1-2. Bwe tutandika okuyiga amazima, biki ebiyinza okutuviirako obutaba na nkolagana nnungi n’ab’eŋŋanda zaffe?
YESU yagamba omusajja eyali ayagala okufuuka omugoberezi we nti: “Genda eka mu b’eŋŋanda zo obabuulire byonna Yakuwa by’akukoledde n’ekisa ky’akulaze.” (Mak. 5:19) Yesu yayogera bw’atyo kubanga yali akimanyi nti kya mu butonde omuntu okwagala okubuulirako ab’eŋŋanda ze ebintu ebirungi by’aba afunye.
2 Wawulira otya bwe watandika okuyiga amazima agali mu Bayibuli? Oboolyawo wasanyuka nnyo era n’owulira ng’oyagala okubuulira ab’eŋŋanda zo ku ebyo bye wali oyiga. Kyokka bayinza okuba nga tebaasanyuka bwe wababuulira ku bintu ebyo. Oba oyinza okuba ng’engeri gye wababuuliramu yaleetawo obutakkaanya wakati wo nabo. Ekyo bwe kiba kyali kikutuuseeko, biki by’osobola okukola n’osigala ng’olina oba n’ozzaawo enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zo, kyokka mu kiseera kye kimu n’osigala ng’onyweredde ku mitindo gya Yakuwa?
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu kino tugenda kulaba: (1) engeri okwoleka ekisa gye kisobola okutuyamba okufaayo ku b’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza,a ne bwe baba nga tebafaayo ku bubaka bwe tubabuulira; (2) tugenda kulaba ekyo kye tusobola okukola ab’eŋŋanda zaffe bwe boogera oba ne bakola ebintu ebitulumya; (3) tugenda kulaba nti bwe tutaggwaamu ssuubi era ne tuba bagumiikiriza kiyinza okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okutandika okuweereza Yakuwa mu biseera eby’omu maaso; ne (4) tugenda kulaba ebyo bye tusobola okukola okulaga ab’eŋŋanda zaffe nti tubaagala.
OKUBA OMUSAASIZI KIJJA KUKULEETERA OKUBAYAMBA
4. Yesu yayisa atya abantu abaali batafaayo ku bubaka bwe yali abuulira?
4 Wadde ng’abantu bangi tebaafaangayo ku bubaka bwe, Yesu teyakoowanga kubayamba. Yesu yeegeraageranya ku mukozi eyali akola mu nnimiro y’emizabibbu eyalimu omutiini ogwali gutabala naye n’atakoowa kugulabirira, ng’alina essuubi nti gujja kubala. (Luk. 13:6-9) Yesu we yaweera ekyokulabirako ekyo, yali amaze emyaka egisukka mu esatu ng’ayamba Bayudaaya banne okuba n’okukkiriza okunywevu. Lwaki teyakoowa kubayamba? Kubanga yali asaasira nnyo abantu era ng’ategeera embeera yaabwe. Ekyo kyamuleetera okubagumiikiriza.
5. Lwaki Yesu yali ayagala nnyo okuyamba Bayudaaya banne?
5 Yesu yasaasira Bayudaaya banne kubanga abakulembeze b’eddiini baali tebabayambye kuba na kukkiriza kunywevu. Yesu yakiraba nti abantu abo baali “ng’endiga ezitalina musumba.” (Mak. 6:34) Yesu bwe yali anaatera okufa yakaabira ekibuga Yerusaalemi kubanga yali akimanyi nti abantu baamu abasinga bandifudde olw’obutaba na kukkiriza. (Luk. 19:41-44) Okufaananako Yesu, naffe bwe tusaasira ab’eŋŋanda zaffe, kijja kutuleetera okubabuulira.
6. Lwaki tusaanidde okuba abagumiikiriza eri ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza? (Abaggalatiya 6:9)
6 Soma Abaggalatiya 6:9. Ab’eŋŋanda zaffe ne bwe baba nga tebannatandika kwagala ebyo bye tukkiririzaamu, tusaanidde okubagumiikiriza era ne tutakoowa “kukola birungi.” Kijjukire nti kitwala ekiseera omuntu okulekayo enjigiriza ezaasimba amakanda n’atandika okukkiririza mu Yakuwa. Kyandiba nti naawe wali ng’abantu abo, kwe kugamba, nga ‘tolina ssuubi era nga tolina Katonda mu nsi’? (Bef. 2:12) Bwe kiba kityo, waliwo omuntu eyakuyamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa era yakugumiikiriza. Okufumiitiriza ku ekyo, tekyandikuleetedde okuba omugumiikiriza eri ab’eŋŋanda zo era n’ofuba okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa bwe kiba kisoboka?
AB’EŊŊANDA ZO BWE BOOGERA OBA NE BAKOLA EBINTU EBIKULUMYA
7. Nsonga ki eziyinza okuba nga ze zaaviirako baganda ba Yesu obutamukkiririzaamu?
7 Baganda ba Yesu kirabika baamanya ebimu ku byamagero bye yakola ng’ali e Ggaliraaya. (Luk. 4:14, 22-24) Kyokka mu kusooka tebaamukkiririzaamu. (Yok. 7:5) Lwaki? Bayibuli tetubuulira. Naye eyogera ku bintu nga bibiri ebyalemesa abamu ku Bayudaaya okufuuka abagoberezi ba Yesu. Abamu baali batya nti bwe bandikkiririzza mu Yesu, abantu b’omu kitundu kyabwe bandibayigganyizza. (Yok. 9:18-22) Abalala baali balabye Yesu okuviira ddala mu buto, n’olwekyo baali tebasobola kukikkiriza nti Mwana wa Katonda. (Mak. 6:1-4) Baganda ba Yesu nabo bayinza okuba nga baatwalirizibwa endowooza ezo. Kyandiba nti ne leero ebintu ng’ebyo biviirako ab’eŋŋanda zaffe obutayagala kuyiga mazima?
8. Kiki ekiyinza okuleetera ab’eŋŋanda zaffe okutuyisa mu ngeri etali ya kisa?
8 Lowooza ku nsonga eziyinza okuba nga ze ziviirako ab’eŋŋanda zo okukuyisa nga bwe bakuyisa. Baganda ba Yesu bayinza okuba nga be bamu ku abo abaamugamba nti: “Atabuse omutwe.” (Mak. 3:21) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyabaleetera okwogera ku Yesu ekintu bwe kityo? Bayibuli eraga nti mu kiseera ekyo Yesu yali yeemalidde ku kubuulira abantu amawulire amalungi n’okuwonya abalwadde baabwe, ne kiba nti teyafuna na budde kulya mmere. (Mak. 3:20) Kirabika ab’eŋŋanda ze baalowooza nti Yesu ayitirizza okwemalira ku kubuulira. Naffe ab’eŋŋanda zaffe bayinza okulowooza nti tuyitiriza okwemalira ku ddiini yaffe. Bwe kiba nti bwe batyo bwe balowooza, tusaanidde okukiraga mu bikolwa byaffe nti tetuli bakakanyavu era nti tufaayo ne ku bintu ebirala ebikulu.
9. Biki ebiyinza okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okukyusa endowooza gye balina ku Bajulirwa ba Yakuwa? (1 Peetero 3:1, 2) (Laba n’ebifaananyi.)
9 Kirage okuyitira mu nneeyisa yo nti oli wa kisa era nti toli mukakanyavu. Bwe twogera mu ngeri ey’ekisa era ne tukola ebintu ebirungi, kisobola okuleetera ab’eŋŋanda zaffe okukyusa endowooza gye batulinako. (Soma 1 Peetero 3:1, 2.) Omwami atali mukkiriza ayinza okuwulira ekiwuubaalo n’okuwulira nti tafiibwako mukyala we bw’agenda mu nkuŋŋaana oba n’agenda mu kubuulira. Olw’okuba aba tayagala mwami we kuwulira bw’atyo, mwannyinaffe ayinza okukyusa mu nteekateeka ye ey’okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, asobole okufuna obudde obuwerako okubeera n’omwami we. Ng’ekyokulabirako, ayinza okusalawo okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ku lunaku omwami we lw’aba nga tali waka oba ng’alina eby’okukola bingi. Omukyala Omukristaayo bw’ataba mukakanyavu era n’aba mwetegefu okukyusakyusaamu, ekyo kiyinza okuyamba omwami we okukyusa endowooza gy’alina ku Bajulirwa ba Yakuwa.
Ebigambo eby’ekisa n’ebikolwa ebirungi bisobola okukyusa endowooza ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza gye balina ku Bajulirwa ba Yakuwa (Laba akatundu 9)g
10. Bwe twogerwako ebintu ebitali bituufu tuyinza tutya okukoppa Yesu?
10 Ab’eŋŋanda zo bwe bakuvumirira tokitwala nti buli kiseera olina okubaako ky’obaddamu. Yesu bwe baamuwaayiriza nti wa mululu era nti anywa nnyo omwenge, teyanyiiga era teyeewolereza. Mu kifo ky’ekyo, yali ayagala abantu batunuulire engeri gye yali yeeyisaamu beesalirewo oba ng’ebyo bye baali bamwogerako bituufu oba nedda. (Mat. 11:19) Ate era yakiraga okuyitira mu ebyo bye yali akola nti yali teyeemalidde ku bya ddiini ng’abantu bwe baali balowooza, naye nti yali afaayo ne ku bintu ebirala ebikulu era yali musanyufu. (Geraageranya Yokaana 2:2, 6-10.) Mu ngeri y’emu, naawe tokitwala nti buli kiseera olina okubaako ky’oddamu abantu bwe bakwogerako ebintu eby’obulimba. Mu kifo ky’ekyo, okuyitira mu ebyo by’okola, yamba ab’eŋŋanda zo okukiraba nti toli mukakanyavu era nti oli musanyufu. Ekyo kiyinza okuyamba ab’eŋŋanda zo okukitegeera nti ebintu ebimu abantu bye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa biba bya bulimba.
TOGGWAAMU SSUUBI ERA SIGALA NG’OLI MUGUMIIKIRIZA
11. Yesu yayisanga atya baganda be?
11 Ebitabo by’Enjiri biraga nti Yesu yasigala mugumiikiriza ng’akolagana ne baganda be. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali akola ekyamagero ekyasooka e Kaana, baganda be baaliyo. (Yok. 2:11, 12) Nga bwe kyayogeddwako waggulu, baganda ba Yesu tebaamukkiririzaamu. Wadde kyali kityo, Yesu teyalekera awo kukolagana nabo. Oluvannyuma lw’emyaka ng’esatu bukya Yesu akola ekyamagero ekyasooka e Kaana, Bayibuli eraga nti yali akyayogera ne baganda be mu ngeri ey’ekisa.—Yok. 7:5-8.
12. Kiki ekiyinza okutuyamba obutaggwaamu ssuubi nti ekiseera kiyinza okutuuka abamu ku b’eŋŋanda zaffe ne batandika okuweereza Yakuwa?
12 Bye tweyongedde okutegeera ku busaasizi bwa Yakuwa bisobola okutuyamba okuba n’essuubi nti ekiseera kiyinza okutuuka abamu ku b’eŋŋanda zaffe ne basalawo okuweereza Yakuwa. Amadiini ag’obulimba bwe ganaazikirizibwa, ab’eŋŋanda zaffe bayinza okujjukira nti ekyo twali tukibabuuliddeko.b (Kub. 17:16) Bayinza n’okusalawo okutweyungako mu kusinza okulongoofu ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise. Naye ne mu kiseera kino, ab’eŋŋanda zaffe bwe baba n’ebizibu, twagala okukola kyonna kye tusobola okubayamba. Bwe bakiraba nti tubaagala nnyo era nti tubayisa mu ngeri ey’ekisa, bayinza okwagala okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli.
KIRAGE NTI OBAAGALA NNYO
13. Wadde nga tuba n’eby’okukola bingi mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, kiki kye tusaanidde okwewala?
13 Wadde nga tulina eby’okukola bingi mu kuweereza Yakuwa, tetwagala ba ŋŋanda zaffe kukitwala nti tetulina budde bwabwe era nti tetukyabaagala. (Mat. 7:12) Tuyinza tutya okukiraga nti tubafaako? Lowooza ku bintu nga bino.
14-15. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza? Waayo ekyokulabirako.
14 Wuliziganya nabo era baako by’okola okulaga nti obaagala. Tukiraga nti twagala ab’eŋŋanda zaffe nga tuwuliziganya nabo obutayosa bamanye bwe tuli. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubaweereza obubaka ku ssimu, era tuyinza n’okubaweereza ebifaananyi bye twekubizza nga tugenze okuwummulako, okulambula, oba nga tusanyukirako wamu ne mikwano gyaffe. Tuyinza okubawa obulabo n’okubawandiikira ebbaluwa erimu ebigambo eby’ekisa. Ekyo kijja kubalaga nti tubafaako, kibaleetere okuwulira obulungi, era kinyweze enkolagana yaffe nabo. Bwe tukola ebintu ng’ebyo kibayamba okukiraba nti tubaagala nnyo.
15 Lowooza ku mwannyinaffe Anna, abeera mu Armenia. Emirundi mingi ab’eŋŋanda ze babeera wamu naddala mu biseera eby’okukuza amazaalibwa oba ennaku endala enkulu. Anna bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, ab’eŋŋanda ze baatandika okweraliikirira nti eddiini gy’ayingiddemu eyinza okumuleetera obutaddamu kukolagana bulungi nabo. Ate era baali beeraliikirivu nti k’afuuse Omujulirwa wa Yakuwa obulamu bwe bugenda kuzibuwala. Embeera eyo Anna yagikwata atya? Agamba nti: “Bwe nkyalira ab’eŋŋanda zange mbabuulira ku ebyo ebinkwatako ne ku ngeri gye ntambuzaamu obulamu. Ate era ntera okubayita okunkyalirako, era mbalaga mikwano gyange. N’ekivuddemu, ab’eŋŋanda zange bangi bamanyi bantu ba ngeri ki be mbeera nabo era babaagala.” Agattako nti: “Ab’eŋŋanda zange bangi baŋŋambye nti ndi musanyufu, era sikyabeeraliikiriza.”
16. Yesu yakiraga atya nti yali afaayo ku muganda we Yakobo? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
16 Kirage nti oyagala okumanya ebibakwatako. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabikira muganda we Yakobo bw’atyo n’akiraga nti yali amufaako. (1 Kol. 15:7) Yakobo ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yakitegeera nti Yesu yali akyamufaako. Kirabika ensisinkano eyo ye yaviirako Yakobo okukkiriza nti Yesu ye Masiya. Oluvannyuma lwa Yesu okumukyalira, kirabika Yakobo yayamba ab’eŋŋanda ze abalala okukitegeera nti Yesu ye Masiya.c—Bik. 1:14.
17. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Abaruumi 12:15? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Soma Abaruumi 12:15. Bwe tukiraga nti tufaayo ku b’eŋŋanda zaffe mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu, kisobola okubayamba okukyusa endowooza gye batulinako.d Ng’ekyokulabirako, omu ku b’eŋŋanda zaffe bw’azaala omwana, tusobola okukiraga nti tumusanyukiddeko era tuyinza n’okumuwaayo ekirabo. Ate era, omu ku b’eŋŋanda zaffe bw’afiirwa, tusobola okwogera naye mu ngeri emubudaabuda, ne tubaako bye tukola okumuyamba, oba ne tumusindikira obubaka obumuzzaamu amaanyi. Kya lwatu, bulijjo tulina okuba nga tubakubirako ku ssimu, tubaweereza obubaka, era nga tubakyalirako naddala bwe baba balina ebizibu.
Bw’olaga ab’eŋŋanda zo nti obafaako naddala nga boolekagana n’ebizibu, kiyinza okubaleetera okukyusa endowooza gye bakulinako awamu n’ebyo by’okkiririzaamu (Laba akatundu 17)h
18. Tuyinza tutya okukoppa omuyigirizwa Andereya?
18 Ab’eŋŋanda zo banjule eri bakkiriza banno. Omuyigirizwa Andereya bwe yategeera nti Yesu ye Masiya, yagenda n’ategeeza muganda we Peetero era n’amutwala n’amwanjula eri Yesu. (Yok. 1:40-42) Naffe tusobola okukola ekintu kye kimu. Ng’ekyokulabirako, oluusi tuyinza okuyita omu ku b’eŋŋanda zaffe mu nkuŋŋaana oba ne tumwaniriza okubaawo ku kijjulo nga tuli wamu ne mikwano gyaffe. Bw’anaasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa abalala, kiyinza okumwanguyira okukiraba nti abantu ba Yakuwa bantu ba bulijjo era nti bantu ba kisa.
19. Tusaanidde kuyisa tutya ab’eŋŋanda zaffe, ka kibe nti tebategeera bulungi ebyo bye tukkiririzaamu? (1 Peetero 3:15)
19 Soma 1 Peetero 3:15. Ab’eŋŋanda zaffe bayinza obutategeera bulungi nsonga lwaki tugaana okwenyigira mu bintu ebimu, naye bulijjo bajja kujjukiranga ebintu ebirungi bye tubakolera era nti tubassaamu ekitiibwa. Ate era wadde nga tetusobola kubeera nabo ku mikolo oba ennaku ezimu ezikuzibwa, kiyinza okubasanyusa singa tufunayo ekiseera ekirala mu mwaka ne tubeerako nabo. Ng’ekyokulabirako, wadde nga tetuyinza kubeeyungako mu kukuza emikolo egimu n’okwenyigira mu bulombolombo obumu obukontana n’Ebyawandiikibwa, tusobola okubakyalirako, okuliirako awamu nabo, era n’okubawa ebirabo.
TOKOOWA KUYAMBA BA ŊŊANDA ZO
20. Lwaki ekyokulabirako kya Yakobo kituzzaamu amaanyi?
20 Yakobo yafiirwa enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi ng’ali wamu ne Yesu, naye oluvannyuma yafuuka omuyigirizwa wa Yesu. (Bag. 1:18, 19; 2:9) Wadde nga Yakobo teyali omu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka, yayiga ebintu bingi Yesu bye yayigiriza ng’akyali ku nsi. Ng’ekyokulabirako, Yakobo yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebbaluwa erimu ebimu ku ebyo Yesu bye yayogerako mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi.e
21. Lwaki tetusaanidde kulekera awo kuyamba ba ŋŋanda zaffe abatali bakkiriza?
21 Ne bwe tuba nga tukoze kyonna kye tusobola okuyisa ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza mu ngeri ey’ekisa n’okubalaga nti tubafaako, bayinza okusigala nga batuyisa mu ngeri etali ya kisa era nga tebaagala kuyiga bikwata ku Yakuwa. Lwaki tetusaanidde kulekera awo kubayamba? Kubanga bwe tweyongera okubalaga ekisa, tuba tukoppa Katonda waffe omusaasizi n’Omwana we Yesu. (Luk. 6:33, 36) Oluvannyuma lw’ekiseera, enneeyisa yaffe ennungi eyinza okubaleetera okukyusa endowooza gye batulinako. Ate era bayinza okusigala nga bajjukira ebintu bingi bye twababuulira ebikwata ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye. Bwe tutakoowa kubayamba, abamu ku b’eŋŋanda zaffe bayinza okusalawo okuweereza Yakuwa era ekyo kijja kutuleetera essanyu lingi nnyo!
OLUYIMBA 60 Tutaase Obulamu Bwabwe
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu Bayibuli ekigambo “atali mukkiriza” emirundi egimu kiba tekitegeeza muntu atalina ddiini oba atakkiririza mu Katonda. (1 Kol. 7:12; laba study note ku “omukyala atali mukkiriza.”) Mu kitundu kino, ekigambo ekyo kitegeeza omuntu atasinza Katonda ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe basinza.
b Laba ekitundu “Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2024, lup. 11, kat. 11-13.
c Bayibuli eyogera ku baganda ba Yesu babiri, Yakobo ne Yuda, abaafuuka Abakristaayo oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukizibwa.
d Laba akasanduuko “Onoogenda ku Mbaga oba ku Mukolo gw’Okuziika?”
f Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2002, ne Watchtower eya Noovemba 15, 2007.
g EBIFAANANYI: Mwannyinaffe bw’aba tannagenda kubuulira, ateekerateekera omwami we eky’okulya.
h EBIFAANANYI: Mwannyinaffe oyo y’omu akyaliddeko nnyazaala we atali Mujulirwa wa Yakuwa.