LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Febwali lup. 14-19
  • Fuba Okukola Enkyukakyuka Ezeetaagisa Obatizibwe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Fuba Okukola Enkyukakyuka Ezeetaagisa Obatizibwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ENSONGA LWAKI ABAMU BALONZALONZA
  • KIJJUKIRE NTI ENKOMERERO ERI KUMPI
  • EMIGANYULO GY’ONOOFUNA SINGA TOLONZALONZA
  • Okutegeera Amakulu g’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Otuuse Okwewaayo eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Weeyongere ‘Okugoberera’ Yesu Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Tolonzalonza Kubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Febwali lup. 14-19

APULI 20-26, 2026

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

Fuba Okukola Enkyukakyuka Ezeetaagisa Obatizibwe

“Kino kye kiseera eky’okukkiririzibwamu.”—2 KOL. 6:2.

EKIGENDERERWA

Kino kye kiseera okufuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era obatizibwe.

1. (a) Egimu ku miganyulo gye tufuna nga tubatiziddwa gye giruwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

WEEWAAYO eri Yakuwa era n’okiraga mu lujjudde ng’obatizibwa mu mazzi? Bwe kiba kityo, wasaba Katonda akuwe omuntu ow’omunda omulungi. (1 Peet. 3:21) Ate era, bwe wabatizibwa, wateerawo abato n’abapya abali mu kibiina kyammwe ekyokulabirako ekirungi. Ekyo kye wasalawo kyali kirungi nnyo! Naye kiri kitya bw’oba nga tonnabatizibwa? Tewali kubuusabuusa nti oyagala Yakuwa era oyagala okukola ebyo by’ayagala. Okimanyi nti okusobola okusonyiyibwa ebibi byo n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa olina okubatizibwa. (Bik. 2:​38-40) Kyokka wadde kiri kityo, oyinza okuba ng’okyalonzalonza okubatizibwa. Kiki ekisobola okukuyamba? Mu kitundu kino, tugenda kulaba (1) lwaki abamu balonzalonza okubatizibwa, (2) lwaki kirungi okukijjukira nti enkomerero enaatera okutuuka, ne (3) emiganyulo gy’onoofuna singa tolonzalonza kubaako ky’okolawo osobole okubatizibwa.

ENSONGA LWAKI ABAMU BALONZALONZA

2. Lwaki abamu balonzalonza okubatizibwa?

2 Abamu balonzalonza okubatizibwa olw’okutya. Ng’ekyokulabirako, wadde nga baba baagala okuweereza Yakuwa, baba batya nga balowooza nti tebasobola kukola by’ayagala. Bw’oba owulira bw’otyo, weekenneenye ennyiriri za Bayibuli ezisobola okukuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa tasuubira baweereza be kukola bintu mu ngeri etuukiridde era nti kimusanyusa nnyo bwe tukola kye tusobola okumuweereza. (Zab. 103:​13, 14; Bak. 3:23) Bw’oba otya nti ojja kuyigganyizibwa bw’onoobatizibwa, saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu era obe ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”—Zab. 118:6.

3. Kiki ekirala ekiyinza okuviirako abamu okulonzalonza okubatizibwa? (Laba n’ekifaananyi)

3 Abantu abamu abaagala Yakuwa balonzalonza okubatizibwa kubanga balowooza nti tebalina bingi bye bamanyi. Naye weetaaga kuba ng’omanyi bintu byenkana wa okusobola okubatizibwa? Lowooza ku kyokulabirako kino ekiri mu Bayibuli. Musisi ow’amaanyi bwe yayita mu kkomera omutume Pawulo ne Siira mwe baali basibiddwa, baabuulira omukuumi w’ekkomera n’ab’omu nnyumba ye. Omusajja oyo n’ab’omu maka ge kirabika baakitegeera nti ekyo ekyali kibaddewo kyali kyamagero. Ate era mu kiro ekyo, balina ebintu ebikulu bye baayiga ku Yakuwa ne Yesu. Ebyo bye baayiga mu kiro ekyo, byabasobozesa ‘okubatizibwa awatali kulwa.’ (Bik. 16:​25-33) Bw’oba ng’omanyi Yakuwa, ng’omwagala n’omutima gwo gwonna, ng’oyize enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, nga weenenyezza ebibi byo era ng’oli mumalirivu okweyongera okukolera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, otuuse okubatizibwa.—Mak. 12:30.

Pawulo ne Siira babuulira omukuumi w’ekkomera n’ab’omu nnyumba ye ekiro. Bataddeyo omwoyo nga bababuulira.

Pawulo ne Siira baabuulira omukuumi w’ekkomera n’ab’omu nnyumba ye, era ne “babatizibwa awatali kulwa” (Laba akatundu 3)


4. Nsonga ki endala eziviirako abamu okulonzalonza okubatizibwa? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Abamu abaagala okukola Katonda by’ayagala balonzalonza okubatizibwa nga balowooza nti kijja kubabeerera kizibu okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Kya lwatu, kiba kirungi okulowooza ku bizingirwamu nga tonnasalawo ku kintu kyonna. (Luk. 14:​27-30) Kyokka wadde kiri kityo, abamu essira balissa nnyo ku ebyo bye baba balina okwefiiriza okusobola okuweereza Katonda. Ekyo kye kyatuuka ku Candace. Bwe yali akyali muto, yayiga ebyo by’alina okukola okusobola okusanyusa Katonda, naye teyabikolerako. Oluvannyuma bwe yakula, yaddamu okuyigirizibwa Bayibuli. Agamba nti: “Nnali mmanyi ebyo bye nnalina okukola okusobola okusanyusa Yakuwa, naye nnali nkyanyumirwa ebyo bye nnali nkola nga nkyali mu nsi. Nnali nkimanyi nti kyandimbeeredde kizibu okulekayo ebintu bye nnali nkola.” Abalala batya bwe balowooza ku mitindo gy’empisa egya waggulu gye balina okugoberera oluvannyuma lw’okubatizibwa. Batya nti oluvannyuma lw’okubatizibwa bayinza okukola ekibi eky’amaanyi ne baggibwa mu kibiina. Bw’oba ng’olonzalonza okubatizibwa olw’okuba otya ekimu ku bintu ebyo, kiki ekisobola okukuyamba?

Mwannyinaffe ng’alina omukazi gw’ayigiriza Bayibuli. Mwannyinaffe bw’aba ayogera, omukazi oyo akuba akafaananyi nga ye ne mikwano gye bali mu bbaala banywa omwenge era nga bazina.

Abamu ku abo abaagala okusanyusa Katonda bassa nnyo ebirowoozo ku bintu bye bagenda okwefiiriza okusobola okuweereza Katonda (Laba akatundu 4)


5. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako ennyo bwe tuba nga tulonzalonza okubatizibwa? (Matayo 13:​44-46)

5 Bwe tuba twagala okugula ekintu, tetukoma ku kulowooza ku bbeeyi yaakyo yokka wabula tulowooza ne ku ngeri gye kinaatuganyulamu. Omugaso gw’ekintu ekyo bwe guba nga gwa maanyi nnyo okusinga ssente ze tugenda okukigula, emirundi mingi tukigulirawo. Mu ngeri y’emu, bw’oba olowooza ku ky’okubatizibwa, tosaanidde kukoma ku kulowooza ku bintu by’ogenda kwefiiriza oba ku nkyukakyuka z’ogenda kukola, naye era olina n’okulowooza ku miganyulo emingi gy’onoofuna olw’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yesu yakozesa ebyokulabirako bibiri okutuyamba okutegeera ensonga eno. (Soma Matayo 13:​44-46.) Mu buli kyakulabirako, ayogera ku musajja ataalonzalonza kutunda bintu bye asobole okugula ekintu eky’omuwendo ennyo. Okufaananako omusajja oyo, naawe ozudde ekintu eky’omuwendo ennyo, nga gano ge mazima agakwata ku Bwakabaka. N’olwekyo bw’oba ng’olonzalonza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa osobole okubatizibwa, lowooza ku byokulabirako ebyo Yesu bye yawa. Oyinza okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Ndi mukakafu nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka ga muwendo nnyo? Enkolagana yange ne Yakuwa, essuubi ly’ampadde, n’oluganda olw’ensi yonna, mbitwala nga bya muwendo?’ Okufumiitiriza ku bibuuzo ebyo kisobola okukuyamba okussa ebirowoozo byo ku mazima ag’omuwendo g’ofunye n’okufuba okuvvuunuka ebyo ebikulemesa okubatizibwa.

6. Kiki ekinaatuyamba okubeera n’omutima ogwagala okugondera Yakuwa?

6 Mu kyokulabirako eky’omusizi, Yesu yayogera ku mbeera z‘omutima ez’enjawulo, ezisobola okuviirako omuntu obutakulaakulana mu by’omwoyo. Kyokka era Yesu yalaga nti abamu bandiwulirizza “n’omutima omulungi ennyo ddala,” era ne bakolera ku ebyo bye bawulidde. (Luk. 8:​5-15) Bw’oba nga weeraliikiridde obanga onaasobola okukolera ku ebyo by’oyiga, toggwaamu maanyi. Yakuwa asobola okukuyamba “okufuna omutima omuggya,” ogunaakusobozesa okumugondera. Saba Yakuwa akuyambe okwagala amazima g’oyiga era ogakolereko.—Ezk. 18:31; 36:26.

7-8. Biki ebiremesa abavubuka abamu okubatizibwa? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Abavubuka abamu abaagala Yakuwa balemererwa okukulaakulana ne babatizibwa olw’okupikirizibwa abalala. Ng’ekyokulabirako, abasomesa abamu ku masomero bayinza okuleetera abayizi okukitwala nti omuntu alina eddembe okweyisa nga bw’ayagala, ne bwe kiba nti engeri gye yeeyisaamu ekontana n’emisingi gya Katonda. Naye endowooza ng’eyo eba nkyamu, era eyinza okuviirako omuntu okwenyigira mu bintu ebibi n’afuna ebizibu eby’amaanyi. (Zab. 1:​1, 2; Nge. 7:​1-5) Osobola okwewala okutwalirizibwa endowooza ng’ezo ng’okoppa omuwandiisi wa zabbuli eyagamba Yakuwa nti: “Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna, kubanga nfumiitiriza ku ebyo by’otujjukiza.”—Zab. 119:99.

8 Kyetegerezeddwa nti abazadde abamu Abajulirwa ba Yakuwa baviirako abaana baabwe okulonzalonza okubatizibwa. Ng’ekyokulabirako, abazadde abamu bafaayo nnyo ku buyigirize bwenkana wa abaana baabwe bwe balina okufuna oba ku mirimu ki gye banaakola. Ate era abazadde abamu balemererwa okukubiriza abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Bw’oba owulira nti waliwo bazadde bo kye basobola okwongera okukola okukuyamba okutuuka ku ddaala ly’okubatizibwa, yogerako nabo. K’obe ng’oli wa myaka emeka, osobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.—Nge. 20:11.

Omulenzi omutiini ayogera ne bazadde be era abajuliza ebyo ebiri mu ssomo 23 mu kitabo “Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!”

Yogerako ne bazadde bo ku kiruubirirwa kyo eky’okubatizibwa (Laba akatundu 8)


9. Nsonga ki endala eviirako abamu okulonzalonza okubatizibwa?

9 Abamu abatuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa bayinza okulwawo okubatizibwa, oboolyawo nga balina abantu abalala be balinda nabo batuukirize ebisaanyizo by’okubatizibwa. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba nga baagala okubatizibwa ku lunaku lwe lumu ne mikwano gyabwe oba ab’eŋŋanda zaabwe. Kya lwatu, omuntu asobola okubatizibwa ku lunaku lwe lumu ne mikwano gye. Naye ddala ekyo kyandikuleetedde okulonzalonza okubatizibwa? Kijjukire nti bw’osalawo okwewaayo eri Yakuwa, okikola ng’omuntu kinnoomu. Ebyo abalala bye bakola si by’osaanidde okusinziirako okusalawo obanga onaabatizibwa.—Bar. 14:12.

KIJJUKIRE NTI ENKOMERERO ERI KUMPI

10. Nsonga ki eyinza okuviirako abamu okulonzalonza okukulaakulana mu by’omwoyo?

10 Ng’oggyeeko ensonga ze tulabye waggulu, abamu bayinza okulonzalonza okukulaakulana mu by’omwoyo nga bagamba nti enkomerero ekyali. Naye endowooza ng’eyo eba ya magezi? Nedda. Yesu yalabula abayigirizwa be ng’abagamba nti: “Mubeere beetegefu, kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”—Luk. 12:40.

11. Okusinziira ku Zabbuli 119:​60, tutwala tutya amateeka ga Yakuwa bwe tweyongera okumumanya?

11 Okwagala kwe kusaanidde okutukubiriza okwewaayo eri Yakuwa. Gye tukoma okweyongera okumanya Katonda waffe ow’okwagala, gye tukoma okwagala amateeka ge era n’okukimanya nti agatuwa olw’okuba atwagala. (Soma Zabbuli 119:60.) Omuyigirizwa Yakobo yayogera ku kintu ekirala ekyandituleetedde okugondera amateeka ga Yakuwa awatali kulwa: Tewali n’omu ku ffe amanyi kinaabaawo nkya. N’olwekyo, tusaanidde okukola “ekituufu” buli lunaku, kwe kugamba, ekyo Yakuwa ky’ayagala.—Yak. 4:​13-17.

12. Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku bakozi abaatwalibwa okukola mu nnimiro y’emizabbibu?

12 Ate kiri kitya ku lugero Yesu lwe yagera olukwata ku bakozi abaatwalibwa okukola mu nnimiro y’emizabbibu? Yesu teyagamba nti abakozi abamu bandikoze essaawa emu naye ne bafuna omusaala gwe gumu n’abo abaakola olunaku lulamba? Ekyo kituufu. Naye weetegereze ensonga eyaviirako abakozi abaakola essaawa emu obutatandika mangu kukola. Baagamba nti: “Tewali yatututte kumukolera.” Abakozi abo tebaali banafu. Baali basobola okukola olunaku lwonna, naye tewaaliwo yali abatutte kumukolera. Bwe baaweebwa omulimu, baatandikirawo okukola. (Mat. 20:​1-16) Leero, Yesu atuyise okubeera abayigirizwa era twenyigire mu mulimu gw’okubuulira. Amangu ddala nga tutegedde ekyo Yesu ky’ayagala tukole, tetusaanidde kulonzalonza kukikola.

13. Kiki kye tusobola okuyigira ku mukazi wa Lutti?

13 Abamu balonzalonza okukola enkyukakyuka nga bagamba nti bajja kukola enkyukakyuka ezo ng’ebulayo ekiseera kitono enkomerero etuuke. Naye gy’okoma okulwawo okukola enkyukakyuka osobole okuweereza Katonda, gye kijja okukoma okukubeerera ekizibu okuzikola. Ekyo Yesu yali akimanyi era yalabula abayigirizwa be ng’abagamba nti: “Mujjukire mukazi wa Lutti.” (Luk. 17:​31-35) Omukazi oyo yali akimanyi nti mu kiseera kitono ddala Yakuwa yali agenda kuzikiriza Sodomu ne Ggomola; naye kirabika teyali mwetegefu kuleka bya bugagga bye. (Lub. 19:​23-26) Bye tusoma ku mukazi oyo era biraga nti, Yakuwa ataddewo ekiseera ekigere abantu okukola enkyukakyuka basobole okumuweereza. Ekiseera ekyo bwe kinaggwaako, akakisa ak’okukola enkyukakyuka tusobole okuwonawo kajja kuba tekakyaliwo.—Luk. 13:​24, 25.

14. Lwaki osaanidde okussaayo omwoyo ku ngeri obunnabbi bwa Bayibuli gye butuukiriramu?

14 Buli lunaku oluyita, ebintu ebiriwo mu nsi bituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Ka kibe nti ebintu ebyo ebituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli tebiri mu kitundu kyo, okubiraba nga bituukirira mu bitundu by’ensi ebirala bingi kyandikuleetedde okukola enkyukakyuka ezeetaagisa awatali kulwa osobole okubatizibwa. Lowooza ku ekyo omutume Peetero kye yagamba Abakristaayo abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Yabagamba babeere “bulindaala,” kubanga “enkomerero ya byonna esembedde.” (1 Peet. 4:7) Mu lunyiriri olwo kirabika “enkomerero” etegeeza okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu. Abo omutume Peetero be yawandiikira baali babeera wala nnyo n’ekibuga Yerusaalemi, n’olwekyo okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi tekwandibakosezza. (1 Peet. 1:1) Kyokka bwe bandirabye okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, bandyeyongedde okuba abakakafu nti n’ebintu ebirala Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira. Mu ngeri y’emu, kikulu nnyo okussaayo omwoyo ku ngeri obunnabbi bwa Bayibuli gye butuukirizibwamu leero. Bw’okiraba nti enkomerero eri kumpi, ekyo kijja kukubiriza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa osobole okubatizibwa.

15. Tukiraga tutya nti tweteekeddeteekedde olunaku lwa Yakuwa? (2 Peetero 3:​10-13)

15 Mu bbaluwa eyokubiri omutume Peetero gye yaluŋŋamizibwa okuwandiika, yannyonnyola engeri gye tuyinza okweteekerateekeramu olunaku lwa Yakuwa, kwe kugamba enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Eri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, olunaku olwo lwali lukyabulayo emyaka okutuuka. Wadde kyali kityo Peetero yabagamba okukuumira olunaku olwo “mu birowoozo byabwe.” (Soma 2 Peetero 3:​10-13) Tusobola okukuumira olunaku olwo mu birowoozo byaffe nga tubeera beetegefu era nga tulwesunga. Tukiraga nti twesunga olunaku olwo nga tuba ‘n’empisa entukuvu era nga tukola ebikolwa ebiraga nti twemalidde ku Katonda.’ Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu bw’akulaba ng’okola ‘ebikolwa ebiraga nti weemalidde ku Katonda’! Kimusanyusa nnyo bwe weewaayo gy’ali n’obatizibwa.

EMIGANYULO GY’ONOOFUNA SINGA TOLONZALONZA

16. Osaanidde kubatizibwa ddi? (2 Abakkolinso 6:​1, 2) (Laba n’ebifaananyi.)

16 Kino kye kiseera okukola enkyukakyuka obatizibwe. (Soma 2 Abakkolinso 6:​1, 2.) Omwesiyopiya omulaawe Firipo gwe yasisinkana yakiraba nti yalina okubatizibwa awatali kulwa. Bwe yamala okutegeera amawulire amalungi era n’alaba ekifo we yali asobola okubatirizibwa, teyaddaawo kugamba nti: ‘Ka ngira njiga ebisingawo ebikwata ku mawulire amalungi,’ oba nti ‘tujja kusanga ekidiba ky’amazzi ekirala.’ Mu kifo ky’ekyo yabuuza Firipo nti, “Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” (Bik. 8:​26, 27, 35-39) Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Omulaawe bwe yamala okubatizibwa, yagenda “nga musanyufu.”

Ebifaananyi: 1. Omwesiyopiya omulaawe ng’alinnya mu mazzi era Firipo agenda kumubatiza. 2. Omuyizi wa Bayibuli ne mwannyinaffe abaabadde mu kifaananyi ekivuddeko nga boogera n’abakadde babiri ku Kizimbe ky’Obwakabaka era basanyufu.

Bye tusoma ku Mwesiyopiya omulaawe bituyigiriza nti: Kino kye kiseera lwe tusaanidde okubatizibwa (Laba akatundu 16)a


17. Tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

17 Bw’oba olonzalonza okubatizibwa, beera mukakafu nti Yakuwa mwetegefu okukuyamba okubeera n’enkolagana ennungi naye. (Bar. 2:4) Asobola okukuyamba okuvvuunuka ebintu ebikutiisa, ebikweraliikiriza, oba okupikirizibwa kw’oyinza okufuna, ebiyinza okukulemesa okubatizibwa. Bw’onoobatizibwa, ojja kufuna omuntu ow’omunda omulungi, era ojja kukiraba nti “ebintu eby’emabega” si by’osaanidde okumalirako ebirowoozo byo. (Baf. 3:​8, 13) Kati ebirowoozo byo ojja kuba osobola okubimalira ku bintu “eby’omu maaso,” kwe kugamba, ku kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa bye yasuubiza abo abeewaayo gy’ali era ne babatizibwa.—Bik. 3:19.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki abamu balonzalonza okubatizibwa?

  • Lwaki si kya magezi okulwawo okubatizibwa?

  • Ddi omuntu lw’asaanidde okubatizibwa?

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

a EBIFAANANYI: Okufaananako Omwesiyopiya omulaawe eyagamba Firipo nti ayagala kubatizibwa, omuyizi wa Bayibuli atuukirira abakadde n’abategeeza nti ayagala kubatizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza