LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Jjanwali lup. 20-25
  • Oyinza Otya Okukiraga nti Osiima Ekinunulo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Oyinza Otya Okukiraga nti Osiima Ekinunulo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ABAYIZI BA BAYIBULI
  • ABAKRISTAAYO ABABATIZE
  • ABO ABAWABYE OKUVA KU KISIBO
  • KIKI KY’ONOOKOLA?
  • Engeri Gye Tuganyulwa mu Kwagala kwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Kiki Kye Tuyigira ku Kinunulo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Ensonga Lwaki Twetaaga Ekinunulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Weetegekedde Olunaku Olusingayo Obukulu mu Mwaka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Jjanwali lup. 20-25

MAAKI 23-29, 2026

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

Oyinza Otya Okukiraga Nti Osiima Ekinunulo?

“Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza.”—2 KOL. 5:14.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba bye tusobola okukola okulaga nti tusiima ekinunulo.

1-2. Okufumiitiriza ku kinunulo kisaanidde kutuleetera kukola ki, era lwaki? (2 Abakkolinso 5:​14, 15) (Laba n’ekifaananyi.)

BWE WABAAWO omuntu akuyambye n’akuggya mu bifunfugu by’ekizimbe ekigudde, owulira nga wandyagadde okubaako ky’okolawo okulaga nti osiima ekyo ky’akukoledde. Ne bwe kiba nti mubadde bangi abawonyezeddwa okuva mu kizimbe ekyo, ng’omuntu kinnoomu owulira nga wandyagadde okubaako ky’okolawo okulaga nti osiima.

2 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, tetusobola kwenunula okuva mu kibi n’okufa ebyaleetebwa ekibi kye twasikira. Wadde kiri kityo, ssaddaaka Yesu gye yawaayo (1) etusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe, (2) etuwa essuubi ery’okufuuka abantu abatuukiridde, ne (3) etuyamba okutabagana ne Katonda. Olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo, tulina essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna mu nsi empya. Mazima ddala, ssaddaaka ya Yesu eraga nti Yesu ayagala nnyo abantu era bw’atyo bw’abadde ne bwe yali akyali mu ggulu nga tannajja ku nsi. (Nge. 8:​30, 31) Omutume Pawulo yagamba nti, “okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza.” (Soma 2 Abakkolinso 5:​14, 15.) Ekyo kitegeeza nti tusaanidde okufumiitiriza ku kwagala Yesu kwe yatulaga era ne tubaako kye tukolawo okulaga nti tusiima ekyo kye yatukolera.

Omusajja eyalagiddwa mu kitundu ekivuddeko ng’ali mu bifunfugu by’ekizimbe ekigudde, ng’omu ku badduukiridde amusikayo.

Ng’omuntu anunuddwa okuva mu kizimbe ekigudde bw’akiraga nti asiima, naffe tusaanidde okukiraga nti tusiima Yakuwa ne Yesu olw’okutununula okuva mu kibi n’okufa (Laba akatundu 1-2)


3. Lwaki engeri gy’olagamu nti osiima ekinunulo eyinza okwawukana ku y’abalala?

3 Ng’omuntu kinnoomu, oyinza otya okukiraga nti osiima ekinunulo? Engeri gy’onookiragamu eyinza okwawukana ku y’abalala. Lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi nga waliwo abantu basatu abaagala okugenda mu kifo kye kimu naye nga bali mu bitundu bya njawulo. Wadde nga bonna baba bagenda mu kifo kye kimu, buli omu ajja kukozesa ekkubo lya njawulo. Mu ngeri y’emu, wadde nga ffenna tusiima ekinunulo, engeri gye tukiragamu nti tusiima eyinza okwawukana ku y’abalala, okusinziira ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo. N’olwekyo ekitundu kino kigenda kwogera ku biti by’abantu bino bisatu: (1) Abayizi ba Bayibuli, (2) Abakristaayo ababatize, ne (3) abo abawabye ne bava mu kisibo.

ABAYIZI BA BAYIBULI

4. Kiki ekiraga nti Yakuwa afaayo ku bayizi ba Bayibuli?

4 Bw’oba oli muyizi wa Bayibuli, lowooza ku kino: Okuba nti wakkiriza okuyiga ebikwata ku Katonda kiraga nti oli omu ku bantu Yakuwa b’aleeta gy’ali babeere n’enkolagana ennungi naye. (Yok. 6:44; Bik. 13:48) “Yakuwa y’akebera emitima.” Kino kitegeeza nti alaba okufuba kwonna kw’oteekamu okuyiga ebimukwatako, era asanyuka nnyo bw’okulaakulana n’okola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okutuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. (Nge. 17:3; 27:11) Ssaddaaka ya Yesu ekusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Bar. 5:​10, 11) Ekyo tokyerabiranga.

5. Abayizi ba Bayibuli bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Abafiripi 3:16?

5 Bw’oba okyali muyizi wa Bayibuli, oyinza otya okukiraga nti osiima ekinunulo? Emu ku ngeri gy’oyinza okukikolamu kwe kukolera ku kubuulirira Pawulo kwe yawa Abakristaayo b’omu Firipi. Yagamba nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.” (Baf. 3:16) Enkyusa ya Bayibuli endala evvuunula bw’eti olunyiriri olwo: “Tweyongere okutambulira mu kkubo lye tulimu.” N’olwekyo tokkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kukulemesa kweyongera kutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu.—Mat. 7:14; Luk. 9:62.

6. Kiki abayizi ba Bayibuli kye basobola okukola bwe kiba nga kibazibuwalira okukola enkyukakyuka? (Ekyamateeka 30:​11-14) (Laba n’ekifaananyi.)

6 Watya singa mu ebyo by’oyiga mubaamu ekintu ky’otategeera bulungi? Noonyereza ku nsonga eyo era osabe Yakuwa akuyambe okugitegeera obulungi. (Zab. 86:11) Bw’oba ng’okyazibuwaliddwa okugitegeera oyinza okugira ng’ogireka, naye tosaanidde kulekera awo kuyiga Bayibuli. Ate kiri kitya bw’oba ng’ozibuwaliddwa okulekayo omuze ogumu Bayibuli gw’evumirira? Kijjukire nti Yakuwa akimanyi nti totuukiridde era tasobola kukugamba kukola kintu ky’otasobola. N’olwekyo, osobola okukolera ku mitindo gye. (Soma Ekyamateeka 30:​11-14.) Yakuwa asuubiza okukuyamba. (Is. 41:​10, 13; 1 Kol. 10:13) Toggwaamu maanyi. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku bunafu bw’olina, fumiitiriza ku bintu Yakuwa by’akuwadde nga mwe muli n’ekinunulo. Bw’oneeyongera okwagala Yakuwa ojja kukiraba nti “ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yok. 5:3.a

Omusajja ng’asoma essomo erya 40 mu kitabo “Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!​” Ku mmeeza ye kuliko paketi ya ssigala n’akabakuli akalimu obutundutundu bwa ssigala.

Yakuwa tatugamba kukola kintu kye tutasobola. N’olwekyo ajja kutuyamba okukolera ku mitindo gye (Laba akatundu 6)


7. Kiki abaana abakulidde mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa kye basobola okufumiitirizaako?

7 Ate kiri kitya eri mmwe abaana abakulidde mu mazima? Nammwe muli bayizi ba Bayibuli. Mu butuufu, mu bayizi ba Bayibuli bazadde bammwe be balina, mmwe abasinga obukulu. Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8; 1 Byom. 28:9) Bw’obaako ky’okolawo okusemberera Yakuwa, naye akusemberera. Yakuwa ayagala okulaakulanye enkolagana ey’okulusegere naye nga ggwe omuntu kinnoomu, so si olw’okuba nti okulidde mu mazima. Kiki ekikusobozesa okuba n’enkolagana eyiyo ku bubwo ne Yakuwa? Kye kinunulo; era ekirabo ekyo kitwale nga kya muwendo nnyo. (Bar. 5:​1, 2) Nga weeteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogw’omwaka guno, fumiitiriza ku ngeri ssaddaaka ya Yesu gy’ekuganyulamu kinnoomu. Era ekyo ka kikukubirize okufuba okutuuka ku biruubirirwa eby’eby’omwoyo bye weeteereddewo, olage nti osiima ekinunulo Yakuwa kye yakuweerayo.b

ABAKRISTAAYO ABABATIZE

8. Abakristaayo ababatize bakiraga batya nti basiima ekinunulo?

8 Bw’oba oli Mukristaayo mubatize, waliwo ebintu by’okoze ebiraga nti osiima ekinunulo. Ng’ekyokulabirako, olina enkyukakyuka ze wakola okusobola okutambulira ku mitindo gya Yakuwa n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Wagondera ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira abalala amawulire amalungi. Weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa. Kyandiba nti oyigganyizibwa olw’okuba onyweredde ku kusinza okw’amazima? (2 Tim. 3:12) Bwe weeyongera okugumiikiriza era n’osigala ng’oli mwesigwa kiraga nti osiima ekinunulo Yakuwa kye yawaayo.—Beb. 12:​2, 3.

9. Kiki Abakristaayo ababatize kye basaanidde okwegendereza?

9 Ng’Abakristaayo ababatize, waliwo ekintu kye tulina okwegendereza. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okulekera awo okusiima ekinunulo nga bwe twakolanga edda. Ekyo kiyinza kubaawo kitya? Lowooza ku Bakristaayo b’omu Efeso abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Baali boolese obugumiikiriza era Yesu yabasiima. Wadde kiri kityo, yabagamba nti: “Waleka okwagala kwe walina mu kusooka.” (Kub. 2:​3, 4) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti mpolampola Omukristaayo ayinza okutandika okuweereza Yakuwa naye nga by’akola tebiviira ddala ku mutima. Omuntu ng’oyo ayinza okuba ng’asaba, ng’agenda mu nkuŋŋaana, nga yeenyigira mu kubuulira, naye ng’ebintu ebyo abikola kutuusa luwalo. Omuntu ng’oyo okwagala kw’alina eri Yakuwa kuba kutandise okuddirira. Kiki ky’oyinza okukola bw’okiraba nti okwagala kw’olina eri Yakuwa tekukyali kwa maanyi nga bwe kwali mu kusooka?

10. Oyinza otya okukolera ku kubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Timoseewo? (1 Timoseewo 4:​13, 15)

10 Omutume Pawulo bwe yali abuulirira Timoseewo ku bye yali akola mu buweereza bwe eri Yakuwa, yamugamba nti, “bifumiitirizengako” era “byemalireko.” (Soma 1 Timoseewo 4:​13, 15.) Naawe osobola okulowooza ku bintu by’oyinza okukola osobole okusigala ng’oli ‘munyiikivu’ mu buweereza bwo eri Yakuwa. (Bar. 12:11) Ng’ekyokulabirako, oboolyawo osobola okwongera ku biseera by’omala nga weeteekerateekera enkuŋŋaana, kikusobozese okussaayo obulungi omwoyo nga zigenda mu maaso. Oba oluusi mu budde bwo obw’okwesomesa oyinza okufunayo ekiseera n’oba wekka, osobole okufumiitiriza kikuyambe okuganyulwa mu ebyo bye weesomesa. Nga bwe tuseesa mu muliro gweyongere okwaka, bwe tukola ebintu ebyo kijja kutuyamba okweyongera okusiima ebyo Yakuwa by’atukolera nga mwe muli n’ekinunulo. Ate era, kozesa wiiki ezibulayo ng’omukolo gw’Ekijjukizo tegunnatuuka, okufumiitiriza ku mikisa emingi Yakuwa gy’atuwadde ng’abaweereza be. Awatali kubuusabuusa ekyo kijja kukuyamba okweyongera okusiima ekinunulo, nga kye kintu Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa ebibi byaffe tusobole okweyongera okuba n’enkolagana ennungi naye.

11-12. Emirundi egimu bw’owulira nti tokyali munyiikivu nga bwe wabeeranga, ekyo kiba kitegeeza nti tokyalina mwoyo mutukuvu? Nnyonnyola. (Laba n’ekifaananyi.)

11 Ebiseera ebimu bw’oba owulira nti tokyali munyiikivu mu buweereza bwo eri Yakuwa nga bwe wandyagadde okuba, toggwaamu maanyi era tokitwala nti tokyalina mwoyo gwa Katonda. Fumiitiriza ku ekyo omutume Pawulo kye yawandiikira Abakristaayo b’omu Kkolinso ng’ayogera ku buweereza bwe. Yagamba nti: “Ne bwe sikikola kyeyagalire, nnina obuwanika obwankwasibwa.” (1 Kol. 9:17) Kiki kye yali ategeeza?

12 Pawulo naye oluusi yawuliranga nga tayagala kubuulira. Kyokka yali mumalirivu okweyongera okubuulira wadde ng’oluusi yabanga awulira nti tayagala. Naawe osobola okumukoppa. Ba mumalirivu okukola ekintu ekituufu wadde ng’oluusi oyinza okuwulira nti toyagala kukikola. Saba Yakuwa ‘akwagazise okukola.’ (Baf. 2:13) Weeyongere okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Beera mukakafu nti oluvannyuma lw’ekiseera ebyo by’okola bijja kukuyamba okukyusa endowooza yo weeyongere okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

Mwannyinaffe omunakuwavu asindika omwana we mu kagaali ng’abuulira ne mwannyinaffe omulala era mwannyinaffe oyo amukutteko.

Weeyongere okwenyigira mu bintu eby’omwoyo ne bw’oba ng’oluusi owulira nti toyagala (Laba akatundu 11-12)


13. Tuyinza tutya okwekebera okulaba obanga ‘tuli mu kukkiriza’?

13 Buli luvannyuma lwa kiseera tusaanidde okwekebera nga tukolera ku bigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 13:5 awagamba nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” Tusobola okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nkulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwange?’ (Mat. 6:33) ‘Eby’okwesanyusaamu bye nnondawo biraga nti nkyawa ekibi?’ (Zab. 97:10) ‘Nfuba okuleetawo obumu n’emirembe nga nkolagana ne bakkiriza bannange?’ (Bef. 4:​2, 3) Nga tweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo, ekiseera we tusinga okufumiitiriza ennyo ku kinunulo, tuba n’akakisa okwekebera okulaba obanga tutambula lwa Kristo so si ku lwaffe.c

ABO ABAWABYE OKUVA KU KISIBO

14. Kiki ekiyinza okuviirako Abakristaayo abamu okweyawula ku kibiina?

14 Abamu ku bakkiriza bannaffe beeyawudde okuva ku kibiina okumala emyezi mingi oba emyaka mingi. Lwaki? Eri abamu, ekyo kiva ku ‘kweraliikirira eby’obulamu.’ (Luk. 21:34) Abalala beesittala olw’ekyo mukkiriza munnaabwe ky’aba ayogedde oba ky’aba akoze. (Yak. 3:2) Ate abalala baakola ebibi eby’amaanyi naye ne batasaba bakadde kubayamba. K’ebe nsonga ki eyakuleetera okwesanga mu mbeera eyo, kiki ky’osobola okukola n’oddamu okuweereza Yakuwa ng’oli wamu ne bakkiriza banno? Okufumiitiriza ku kinunulo kiyinza kukuleetera kukola ki?

15. Yakuwa akiraga atya nti afaayo ku ndiga ze eziba ziwabye ne ziva ku kisibo? (Ezeekyeri 34:​11, 12, 16)

15 Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu abo ababa beeyawudde ku kibiina. Abantu ng’abo Yakuwa asigala abaagala. Abanoonya, n’abaliisa era n’abayamba okukomawo gy’ali. (Soma Ezeekyeri 34:​11, 12, 16.) Kyandiba nti naawe Yakuwa akunoonya okomewo gy’ali? Awatali kubuusabuusa! Eky’okuba nti osomye ekitundu kino kiraga nti okyagala Yakuwa. Bwe wali tonnayiga bikwata ku Yakuwa, Yakuwa yakebera omutima gwo era n’akusembeza gy’ali. Kyandiba nti ne mu kiseera kino akusika okomewo mu kibiina?

16. Kiki ekisobola okuyamba abo ababa beeyawudde ku kibiina okudda eri Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Lowooza ku bigambo bino ebizzaamu amaanyi ebiri mu brocuwa, Komawo eri Yakuwa: “Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali. Ajja kukuyamba okuvvuunuka ebikweraliikiriza, [okusonyiwa abo abaakunyiiza] n’okufuna emirembe mu mutima olw’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Oluvannyuma ojja kuwulira ng’oyagala nnyo okuweereza Yakuwa ng’oli wamu ne bakkiriza banno.” Ate era kijjukire nti abakadde baagala okukuyamba. Balinga ‘ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga, ng’ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi.’ (Is. 32:2) N’olwekyo weebuuze nti, “Biki bye nsobola okukola kati ‘okutereeza ensonga’ ne Yakuwa?” (Is. 1:18; 1 Peet. 2:25) Ng’ekyokulabirako, osobola okujja mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka? Osobola okwogerako n’omu ku bakadde n’omutegeeza nti weetaaga obuyambi osobole okukomawo eri Yakuwa? Ekimu ku bintu abakadde bye bayinza okukola okukuyamba kwe kukola enteekateeka ne wabaawo ayiga naawe Bayibuli okumala ekiseera. Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwonna kw’oteekamu okukiraga nti osiima ekinunulo.

Omusajja akutte Bayibuli mu ngalo ayimiridde okumpi n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Atunuulidde baganda baffe ne bannyinaffe abeebuuzaako nga bazze mu nkuŋŋaana.

Weebuuze, “Biki bye nsobola okukola kati, ‘okutereeza ensonga’ ne Yakuwa” (Laba akatundu 16)


KIKI KY’ONOOKOLA?

17-18. Omwaka guno tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga tweteekerateekera Ekijjukizo?

17 Yesu yagamba nti ekinunulo kyaweebwayo “buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Ekinunulo Yakuwa ky’asinziirako okutununula okuva mu kibi n’okufa. N’olwekyo tusaanidde okukitwala nga kya muwendo. (Bar. 3:​23, 24; 2 Kol. 6:1) Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa okufumiitiriza ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga era ekyo kitukubiriza okubaako kye tukolawo okulaga nti tusiima.

18 Oyinza otya okukiraga nti osiima ekinunulo? By’onookola biyinza okwawukana ku by’abalala. Naye ba mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa emikisa okufuba kwonna kw’oteekamu okweyunga ku baweereza be obukadde n’obukadde, abalamu ku lw’oyo eyabafiirira so si ku lwabwe.—2 Kol. 5:15.

TUYINZA TUTYA OKUKIRAGA NTI TUSIIMA EKINUNULO BWE TUBA NGA:

  • Tuli bayizi ba Bayibuli

  • Tuli Bakristaayo ababatize

  • Nga tweyawula ku kibiina

OLUYIMBA 14 Okutendereza Kabaka w’Ensi Omuggya

a Okusobola okukolera ku ebyo by’oyiga, kozesa ebyo ebiri mu kitundu “Eky’okukolako,” ekisangibwa ku nkomerero ya buli ssomo mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

b Okumanya ebimu ku ebyo ebisobola okukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo, laba ekitundu, “Abaana—‘Mweyongere Okukolerera Obulokozi Bwammwe’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 2017.

c Okulaba ebimu ku ebyo by’osobola okukola okulaga nti osiima, laba ekitundu, “What Motivates You to Serve God?” mu Watchtower ya Jjuuni 15, 1995.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza