MAAKI 16-22, 2026
OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo
Ensonga Lwaki Twetaaga Ekinunulo
“Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?”—BAR. 7:24.
EKIGENDERERWA
Engeri ssaddaaka ya Yesu gy’etusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe, engeri gy’ejja okutuyamba okufuuka abantu abatuukiridde, n’engeri gy’etusobozesa okutabagana ne Katonda.
1-2. Lwaki twetaaga okununulwa? (Abaruumi 7:22-24) (Laba n’ekifaananyi.)
KUBA akafaananyi ng’ekizimbe kigudde era nga waliwo omuntu awagamidde mu bifunfugu. Akyali mulamu naye tasobola kweggya mu bifunfugu ebyo. Ekintu kyokka ky’asobola okukola kwe kukangula ku ddoboozi ng’alaajana ng’asuubira nti oboolyawo wajja kubaawo omuntu amuyamba.
2 Buli omu ku ffe ali mu mbeera efaananako bw’etyo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Adamu bwe yajeemera Katonda yafuuka omwonoonyi. Oluvannyuma abaana be yazaala bonna baasikira ekibi. N’ekyavaamu abantu bonna baafuuka abatali batuukirivu, era ffenna twetaaga okununulwa okuva mu kibi ekyo. Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abaruumi yannyonnyola bulungi engeri ekibi kye twasikira gye kituleetera okuwuliramu. (Soma Abaruumi 7:22-24.) Pawulo yagamba nti: “Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa.” Pawulo yali awulira nti muddu wa kibi, era nti ekibi ekyo kyandimuviiriddeko okufa. (Bar. 6:23) Naffe tuli mu mbeera eyo y’emu era twetaaga okununulwa mu kibi n’okufa!
Okufaananako omusajja awagamidde mu bifunfugu era nga tasobola kweggyayo, naffe twasikira ekibi era tetusobola kwenunula (Laba akatundu 1-2)
3. Tuganyulwa tutya mu ssaddaaka ya Yesu?
3 Pawulo bwe yamala okwogera ku mbeera enzibu gye yalimu, yayogera ebigambo ebiwa essuubi. Bwe yamala okubuuza nti: “Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?” Yeddamu ng’agamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” (Bar. 7:25) Mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali ategeeza nti Yakuwa yatununula okuyitira mu kinunulo Yesu kye yawaayo.a Ssaddaaka eyo (1) etuyamba okusonyiyibwa ebibi byaffe, (2) etuwa essuubi nti tusobola okufuuka abantu abatuukiridde mu biseera eby’omu maaso, ne (3) etusobozesa okutabagana ne Katonda. Okwekenneenya ensonga ezo kigenda kutuyamba okweyongera okwagala Yakuwa, “Katonda awa essuubi.” (Bar. 15:13) Ate era tujja kweyongera okwagala Yesu, oyo Yakuwa gwe yakozesa ‘okutusumulula okuyitira mu kinunulo.’—Bak. 1:14.
EKINUNULO KITUSOBOZESA OKUSONYIYIBWA
4-5. Lwaki buli omu ku ffe yeetaaga ekinunulo? (Omubuulizi 7:20)
4 Twetaaga ekinunulo okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe. Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, tusobya mu bigambo ne mu bikolwa. (Soma Omubuulizi 7:20.) Kyokka ebibi ebimu bya maanyi okusinga ebirala. Ng’ekyokulabirako, mu Mateeka ga Musa omuntu bwe yayendanga oba n’atta omuntu omulala naye yalina okuttibwa. (Leev. 20:10; Kubal. 35:30, 31) Kya lwatu, ebibi ebimu tebiba bya maanyi nnyo; naye era bisigala bibi. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yagamba nti: “Nja kwegenderezanga nneme kwonoona na lulimi lwange.” (Zab. 39:1) Ekyo kiraga nti tusobola okwonoona okuyitira ne mu ebyo bye twogera.—Yak. 3:2.
5 Wali oyogeddeko ebigambo oluvannyuma n’obyejjusa? Oba olina ekintu kye wali okoze oluvannyuma n’okyejjusa? Tewali kubuusabuusa nti ekyo kyali kikutuuseeko. Bayibuli egamba nti: “Bwe tugamba nti, ‘Tetulina kibi,’ tuba twerimba era amazima tegaba mu ffe.”—1 Yok. 1:8.
6-7. Kiki Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa ebibi byaffe? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Ekinunulo Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa ebibi byaffe. (Bef. 1:7) Kyokka ekyo tekitegeeza nti bwe twonoona Yakuwa abuusa amaaso ensobi zaffe. Yakuwa akyayira ddala ekibi. (Is. 59:2) Olw’okuba mwenkanya yalina okubaako ne kyasinziirako okusobola okutusonyiwa ensobi zaffe.
7 Okusinziira ku Mateeka ga Musa, Abayisirayiri baalina okuwangayo ssaddaaka z’ensolo okusobola okutangirira ebibi byabwe. (Leev. 4:27-31; 17:11) Ssaddaaka ezo zaali zisonga ku ssaddaaka enkulu Yesu gye yandiwaddeyo eyandiviiriddemu olulyo lw’abantu emikisa. Ssaddaaka eyo yandisobozesezza Yakuwa okuba ne kyasinziirako okusonyiwa ebibi byaffe. Pawulo yali amanyi omuwendo gwa ssaddaaka ya Yesu, era ekyo tukirabira ku bigambo bye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso. Oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ebibi bye beenyigirangamu nga tebannafuuka Bakristaayo, yabagamba nti: “Kaakano munaaziddwa; mutukuziddwa; era muyitiddwa batuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era n’omwoyo gwa Katonda waffe.”—1 Kol. 6:9-11.
Ssaddaaka z’ensolo ezaaweebwangayo okutangirira ebibi zaali zisonga ku ssaddaaka ya Yesu n’emikisa gye yandireese (Laba akatundu 6-7)
8. Kiki ky’osobola okulowoozaako nga weeteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogw’omwaka guno?
8 Nga weeteekerateekera omukolo gw’ekijjukizo omwaka guno, funayo ekiseera ofumiitirize ku ngeri Yakuwa gy’akusonyiwamu. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo tosaanidde kulumizibwa mutima kisukkiridde olw’ebibi bye wakola mu biseera eby’emabega naye ne weenenya. Naye watya singa ekyo kikuzibuwalira okukkiriza? Oboolyawo muli ogamba nti, ‘Nkimanyi nti Yakuwa yansonyiwa ebibi byange, naye nze sisobola kwesonyiwa.’ Bwe kiba nti bw’otyo bw’owulira, jjukira ekintu kino ekikulu: Yakuwa y’asonyiwa era obuvunaanyizibwa obw’okulamula abuwadde Mwana we. Yakuwa talina muntu yenna, k’obe ggwe, gw’awadde buvunaanyizibwa obw’okusalawo ani alina okusonyiyibwa oba atalina kusonyiyibwa. Bayibuli egamba nti: “Bwe tuba nga tutambulira mu kitangaala nga [Yakuwa] bw’ali mu kitangaala, . . . omusaayi gw’Omwana we Yesu gutunaazaako ebibi byonna.” (1 Yok. 1:6, 7) Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo tusaanidde okukikkiririzaamu nga bwe tukkiririza mu njigiriza za Bayibuli endala. Ekinunulo Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa ebibi byaffe era Bayibuli egamba nti Yakuwa “mwetegefu okusonyiwa.”—Zab. 86:5.
EKINUNULO KIJJA KUTUSOBOZESA OKUFUUKA ABANTU ABATUUKIRIDDE
9. Mu Bayibuli ekigambo “ekibi” kitegeeza ki? (Zabbuli 51:5 n’obugambo obuli wansi)
9 Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” tekikoma ku kutegeeza ekibi omuntu ky’akola naye era kitegeeza obutali butuukirivu, bwe tuzaalibwa nabwo. (Soma Zabbuli 51:5 n’obugambo obuli wansi.) Ng’oggyeeko okuba nti obutali butuukirivu butuleetera okukola ebintu ebibi, era butuviirako okulwala, okukaddiwa, n’okufa. Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki n’abaana abawere, abatakolangako kibi nabo balwala era bafa. Ate era kituyamba okutegeera ensonga lwaki abantu ababi n’abalungi babonaabona era bafa. Ffenna tuli mu mbeera eno embi olw’ekibi kye twasikira ku Adamu.
10. Adamu ne Kaawa baawulira batya oluvannyuma lw’okwonoona?
10 Lowooza ku ngeri Adamu ne Kaawa gye baawuliramu nga boonoonye ne bafuuka abantu abatatuukiridde. Ekibi kyabaleetera okutandika okuwulira obubi. Amangu ddala nga Adamu ne Kaawa bajeemedde amateeka ga Katonda, baatandikirawo okwolekagana n’ebizibu ebyava mu kujeemera amateeka ago agaali ‘gawandiikiddwa mu mitima gyabwe.’ (Bar. 2:15) Baakiraba nti obulamu bwabwe bwali bukyuse, era nti ebintu biboonoonekedde. Baakitegeera nti bali bwereere, ne beebikkirira, era ne beekweka Omutonzi waabwe. (Lub. 3:7, 8) Adamu ne Kaawa baatandika okulumirizibwa omutima, okweraliikirira, okuwulira obulumi, okuwulira nti tebalina bukuumi, n’okuwulira obuswavu. Baali bagenda kuwulira bwe batyo obulamu bwabwe bwonna okutuusa lwe bandifudde.—Lub. 3:16-19.
11. Biki ebivudde mu kibi kye twasikira?
11 Ekibi kye twasikira kituleetera okuwulira nga Adamu ne Kaawa be baawulira, kwe kugamba, kituleetera okulumirizibwa omutima, okweraliikirira, okulwala, n’okufa. Abantu ne bwe bafuba okutereeza embeera, waliwo ebizibu bye batasobola kugonjoola. Lwaki? Bayibuli egamba nti ebitonde byonna “byalekebwa okufugibwa obutaliimu.” (Bar. 8:20) Embeera eyo etukosa kinnoomu n’abantu bonna okutwalira awamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo abantu bye bakoze okutaasa obutonde bw’ensi, okulwanyisa obumenyi bw’amateeka, okumalawo obwavu, n’entalo. Wadde nga waliwo ebitonotono bye batuuseeko, balemereddwa okumalirawo ddala ebizibu ebyo. Naye olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo, tulina essuubi. Ssuubi ki eryo?
12. Ekinunulo kitusobozesa kuba na ssuubi ki?
12 Olw’ekinunulo ekyaweebwayo tulina essuubi nti ebitonde “bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda.” (Bar. 8:21) Kino kitegeeza nti bwe tunaafuuka abatuukiridde mu Lusuku lwa Katonda, tetujja kuddamu kulwala oba kwennyamira, tetujja kuddamu kulumirizibwa mutima, kuwulira buswavu oba kweraliikirira. Ate era “Omukulu ow’Emirembe,” Yesu, eyasasula ekinunulo ajja kuba afuga. Ajja kuyamba abantu okumalawo ebizibu byonna bye batasobola kumalawo ku lwabwe.—Is. 9:6, 7.
13. Kiki ekirala ky’oyinza okulowoozaako nga weeteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogw’omwaka guno?
13 Kuba akafaananyi ng’ofuuse omuntu atuukiridde era nga tokyalina kibi. Buli lukya ojja kuzuukukanga ng’owulira bulungi, nga teweeraliikirira nti ggwe oba ab’eŋŋanda zo mujja kubulwa eky’okulya, mujja kulwala, oba nti mujja kufa. Ne mu kiseera kino osobola okufuna emirembe singa ‘onywereza ddala essuubi eriringa ennanga ey’obulamu, ekkakafu era erinywevu.’ (Beb. 6:18, 19) Ng’ennanga bw’eyamba eryato obutatwalibwa mayengo ag’amaanyi, essuubi lye tulina ng’Abakristaayo linyweza okukkiriza kwaffe era lituyamba okugumira ebizibu bye tufuna. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa “empeera abo abafuba okumunoonya.” (Beb. 11:6) Olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo, osobola okubudaabudibwa mu kiseera kino era ojja kuba n’essuubi ekkakafu erikwata ku biseera eby’omu maaso.
EKINUNULO KITUSOBOZESA OKUTABAGANA NE KATONDA
14. Adamu ne Kaawa bwe baayonoona kiki ekyatuuka ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, era lwaki?
14 Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, abantu baali tebakyasobola kuba na nkolagana nnungi ne Katonda. Bayibuli egamba nti abantu bonna beeyawula ku Katonda. (Bar. 8:7, 8; Bak. 1:21) Lwaki? Olw’okuba Yakuwa atuukiridde tayagalira ddala kibi. Bayibuli bw’eba eyogera ku Yakuwa egamba nti: “Amaaso go malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi.” (Kaab. 1:13) Okuva abantu lwe baafuuka abatatuukiridde enkolagana yaabwe ne Yakuwa yayonooneka. Tewaaliwo muntu yali asobola kuddamu kuba na nkolagana nnungi ne Yakuwa okuggyako nga waliwo ekikoleddwawo. Ssaddaaka ya Yesu ye yatusobozesa okuddamu okutabagana ne Katonda.
15. Ssaddaaka ya Yesu yasobozesa etya abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
15 Bayibuli egamba nti Yesu “ye ssaddaaka etangirira ebibi byaffe.” (1 Yok. 2:2) Ssaddaaka ya Yesu esobozesa etya abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda? Ssaddaaka ya Yesu yasobozesa Yakuwa Katonda waffe atuukiridde okubaako ne ky’asinziirako okusonyiwa abantu baddemu okuba n’enkolagana ennungi naye. (Bar. 3:23-26) N’abantu abaaweereza Yakuwa n’obwesigwa nga Yesu tannafa, Yakuwa yali asobola okubayita abatuukirivu. (Lub. 15:1, 6) Ekyo kyasoboka kitya? Yakuwa yasinziira ku kinunulo Yesu kye yali ajja okuwaayo. Yakuwa yali mukakafu nti Omwana we, Yesu, yandisasudde ekinunulo. (Is. 46:10) Ekinunulo kyasobozesa abantu okutabagana ne Katonda.
16. Kiki ekirala ky’oyinza okulowoozaako nga weetekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogw’omwaka guno? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Lowooza ku birungi ebiva mu kutabagana ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, osobola okuyita Yakuwa ‘Kitaawo,’ nga Yesu bwe yatuyigiriza. (Mat. 6:9) Ate ebiseera ebimu oyinza n’okumuyita “Mukwano” gwo. Bwe tuba tukozesa ebitiibwa nga “Kitaffe” oba “Mukwano” gwaffe nga twogera ne Yakuwa, tusaanidde okubikozesa mu ngeri eraga nti tuli beetoowaze era nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. Lwaki? Olw’okuba tuli boonoonyi, ku lwaffe tewali kye twali tuyinza kukolawo kuba na nkolagana nnungi ne Yakuwa. Ekinunulo kye kyokka ekitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Okuyitira mu Yesu, Yakuwa yasobola “okutabaganya ebintu byonna gy’ali ng’aleetawo emirembe okuyitira mu musaayi [Yesu] gwe yayiwa ku muti ogw’okubonaabona.” (Bak. 1:19, 20) Eyo ye nsonga lwaki ne mu kiseera kino wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
Ssaddaaka ya Yesu ye yokka eyawa Yakuwa kw’asinziira okusonyiwa abantu ne baddamu okuba n’enkolagana ennungi naye (Laba akatundu 16)
EKINUNULO KIRAGA NTI YAKUWA MUSAASIZI
17. Ekinunulo kiraga kitya nti Yakuwa musaasizi nnyo? (Abeefeso 2:4, 5)
17 Ekinunulo kitukakasa nti Yakuwa alina ‘okusaasira kungi.’ “Yatufuula balamu . . . wadde nga twali bafu olw’ebyonoono byaffe.” (Soma Abeefeso 2:4, 5.) Abo abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo,” balaajanira Katonda okubayamba kubanga bakiraba nti balina ekibi era nti beetaaga okununulibwa. (Bik. 13:48) Yakuwa addamu okusaba kwabwe okuyitira mu mawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’abayamba okumumanya n’okumanya Omwana we, Yesu. (Yok. 17:3) Sitaani yali mukyamu okulowooza nti Adamu ne Kaawa bwe baayonoona era ne bafuuka abantu abatatuukiridde, kyandiremesezza Yakuwa okutuukiriza ekigendererwa kye.
18. Bwe tuba tufumiitiriza ku kinunulo, nsonga ki enkulu gye tusaanidde okujjukira?
18 Nga tufumiitiriza ku miganyulo gye tufuna mu kinunulo, tusaanidde okujjukira ensonga enkulu lwaki Yakuwa yawaayo ekinunulo. Yakuwa yawaayo ekinunulo si kutununula kyokka, naye n’okukola ekintu ekirala ekikulu ennyo. Okuyitira mu kinunulo Yakuwa addamu okusoomooza Sitaani kwe yaleetawo mu lusuku Edeni. (Lub. 3:1-5, 15) Okuyitira mu kinunulo, Yakuwa atukuza erinnya lye, n’akiraga nti ebyo Sitaani bye yamwogerako bya bulimba. Ate era okuyitira mu kinunulo, Yakuwa atusumulula mu kibi n’okufa, bw’atyo n’akiraga nti Katonda wa kwagala. Ate wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa atulaga ekisa eky’ensusso ng’atuleka okubaako kye tukolawo okulaga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba. (Nge. 27:11) Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekinunulo? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 19 Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okununula omuntu. Ssaddaaka ya Yesu kye kinunulo ekisobozesa abantu abawulize okununulibwa okuva mu kibi n’okufa.