LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Jjanwali lup. 26-31
  • Yogera Amazima mu Ngeri ey’Ekisa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yogera Amazima mu Ngeri ey’Ekisa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • WA WE TUSOBOLA OKUGGYA AMAZIMA?
  • LWAKI TUSAANIDDE OKWOGERA AMAZIMA?
  • TUYINZA TUTYA OKWOGERA AMAZIMA?
  • DDI LWE TUSAANIDDE OKWOGERA AMAZIMA?
  • Osobola Okwawulawo Amazima ku Bulimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • “Katonda ow’Amazima” Bulijjo Atuukiriza Ekigendererwa Kye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Jjanwali lup. 26-31

MAAKI 30–APULI 5, 2026

OLUYIMBA 76 Owulira Essanyu Lingi

Yogera Amazima mu Ngeri ey’Ekisa

“Yakuwa Katonda ow’amazima.”—ZAB. 31:​5, obugambo obuli wansi.

EKIGENDERERWA

Engeri gye tuyinza okwogera amazima mu ngeri eganyula abalala.

1. Kiki kye tulina okukola okusobola okuba mu maka ga Yakuwa?

EKIMU ku bibuuzo bye tubuuza bakkiriza bannaffe nga twakabasisinkana kiri nti, “Wayiga otya amazima?” Abamu baddamu nga bagamba nti, “nnakulira mu mazima.” Ate abalala baddamu nga bagamba nti, “amazima nnaakagayiga.” Tuddamu bwe tutyo kubanga ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda bikyusiza ddala obulamu bwaffe. Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga tukimanyi nti tetusobola kubeera mu maka ga Yakuwa okuggyako nga twagala amazima era nga tugatambuliramu. Ekyo kizingiramu okuba abeesimbu mu bye twogera ne bye tukola.—Zab. 15:​1-3.

2. (a) Kiki abantu kye baali bamanyi ku Yesu? (b) Abantu bandikwatiddwako batya olw’ebyo Yesu bye yayigiriza?

2 Yesu yayogeranga amazima. Mu butuufu, n’abalabe ba Yesu baalinga bakikkiriza nti ayogera amazima wadde nga bye yayigirizanga baabanga tebabyagala. (Mat. 22:16) Bwe yali ayogera ku ngeri amazima gye gandikutte ku abo be yayigiriza yagamba nti: “Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.” (Mat. 10:35) Wadde nga Yesu yali tayagala bantu bagaane obubaka ye n’abayigirizwa be bwe baabuulira, yali akimanyi nti ekyo kijja kubaawo. (Mat. 23:37) Ate era yali akimanyi nti abantu bandikwatiddwako mu ngeri za njawulo; waliwo abandyagadde amazima agali mu Bayibuli, ate abalala tebandigaagadde.—2 Bas. 2:​9-11.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okufaananako Yesu, naffe tufuba okuba abeesimbu, nga twogera amazima ekiseera kyonna wadde ng’ekyo abantu bayinza obutakyagala. Ate era tuyigiriza amazima agali mu Bayibuli wadde nga bye tuyigiriza abantu abamu bayinza obutabyagala. Naye ekyo kitegeeza nti tetusaanidde kufaayo ku bigambo bye tukozesa nga tuyigiriza amazima ne ku kiseera we tubyogerera? Nedda! Mu kitundu kino tugenda kusooka tuddemu ekibuuzo kino: Wa we tusobola okuggya amazima? Oluvannyuma tujja kuddamu ebibuuzo bino ebirala: Lwaki tusaanidde okwogera amazima? Tuyinza tutya okwogera amazima? Ddi lwe tusaanidde okwogera amazima? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okulongoosa mu ngeri gye twogeramu amazima, kwe kugamba, okugoogera mu ngeri ey’ekisa, ey’amagezi, era ne tukikola mu kiseera ekituufu.

WA WE TUSOBOLA OKUGGYA AMAZIMA?

4. Lwaki tugamba nti Yakuwa ye Nsibuko y’amazima?

4 Yakuwa ye Nsibuko y’amazima era buli ky’ayogera kiba kituufu. Ng’ekyokulabirako, ebyo by’atugamba ebikwata ku kituufu n’ekikyamu gaba mazima. (Zab. 19:9; 119:​142, 151) Buli ky’ayogera ekikwata ku biseera eby’omu maaso kituukirira. (Is. 55:​10, 11) Atuukiriza buli ky’asuubiza. (Kubal. 23:19) Mu butuufu, Yakuwa tasobola kulimba! (Beb. 6:18) Eyo y’ensonga lwaki Yakuwa amanyiddwa nga “Katonda ow’amazima.”—Zab. 31:​5, obugambo obuli wansi.

5. Lwaki si kizibu okuzuula “Katonda ow’amazima”? Nnyonnyola. (Ebikolwa 17:​27, obugambo obuli wansi.)

5 Abantu abamu bagamba nti tekisoboka kuzuula Yakuwa, “Katonda ow’amazima.” Naye ekyo si kituufu. Waliwo obukakafu bungi obulaga nti Katonda gy’ali. (Bar. 1:20) Omutume Pawulo bwe yali ayogera n’Abayonaani abakenkufu abaali mu kibuga Asene yabagamba nti Katonda ayagala abantu “bamuzuule” era nti “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Soma Ebikolwa 17:27.) Mu butuufu, abantu abawombeefu era abanoonya amazima Yakuwa abasembeza gy’ali.—Yok. 6:44.

6. Agamu ku mazima agasangibwa mu Bayibuli ge galuwa, era gakuleetera kuwulira otya?

6 Emu ku ngeri gye tusobola okuzuulamu Yakuwa kwe kusoma Bayibuli. Abasajja abaawandiika Bayibuli Yakuwa ye yabaluŋŋamya ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (2 Peet. 1:​20, 21) N’olwekyo ebintu byonna ebiri mu Bayibuli bya mazima era tusobola okubyesiga. Ng’ekyokulabirako, ebyo Bayibuli by’eyogera ku bwengula bya mazima era tusobola okubyesiga. (Lub. 1:​1, 26) Tusobola okwesiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga lwaki abantu bonna boonoonyi n’ensonga lwaki tubonaabona era tufa. (Bar. 5:12; 6:23) Era tusobola okwesiga ekyo Yakuwa kye yagamba nti okuyitira mu mwana we, ajja kumalawo ebizibu byonna, “kitaawe w’obulimba” bye yaleeta. (Yok. 8:44; Bar. 16:20) Ate era tusobola okwesiga ekisuubizo kya Bayibuli ekiraga nti Yesu ajja kuzikiriza abantu ababi, azuukize abafu, afuule ensi olusuku lwa Katonda, era atuyambe okufuuka abantu abatuukiridde. (Yok. 11:​25, 26; 1 Yok. 3:8) Awatali kubuusabuusa Yakuwa atutwala nga tuli ba muwendo nnyo! Atuyigirizza amazima agali mu Kigambo kye era atuwadde enkizo okugabuulirako abalala.—Mat. 28:​19, 20.

LWAKI TUSAANIDDE OKWOGERA AMAZIMA?

7-8. Yakuwa afaayo ku kiruubirirwa kye tuba nakyo nga twogera amazima? Waayo ekyokulabirako. (Makko 3:​11, 12) (Laba n’ebifaananyi.)

7 Nga bwe kyayogeddwako waggulu, bwe tuba twagala okubeera ab’omu maka ga Yakuwa tulina okwogera amazima. Kyokka okusobola okusanyusa Yakuwa tulina okukola ekisingawo ku kubeera obubeezi abeesimbu. Yakuwa afaayo nnyo ku kiruubirirwa kye tuba nakyo nga twogera amazima. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu buweereza bwa Yesu ku nsi. (Soma Makko 3:​11, 12.) Lumu Yesu bwe yali abuulira okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya, abantu bangi bajja okumuwuliriza. Abamu ku bantu abo baaliko dayimooni era baagwa wansi ne bawoggana nga bagamba Yesu nti: “Ggwe Mwana wa Katonda.” Lwaki dayimooni zaayogera amazima agakwata ku Yesu? Dayimooni ezo ziyinza okuba zaalina ekiruubirirwa eky’okuleetera abantu okuzeesiga kibaviireko okulekera awo okuweereza Yakuwa. Wadde ng’ebyo dayimooni ezo bye zaayogera byali bituufu, zaalina ekigendererwa ekikyamu. Yesu yali amanyi bulungi ekigendererwa kya dayimooni ezo era ebyo bye zaayogera tebyamusanyusa. Mu butuufu Yesu yaziragira obutaddamu kwogera ku ebyo ebimukwatako.

8 Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki? Ka kibe nti twogera mazima, Yakuwa afaayo nnyo ku kiruubirirwa kye tuba nakyo. N’olwekyo kikulu okuba n’ekiruubirirwa ekirungi nga tuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli era singa bagezaako okututendereza, ettendo tusaanidde okulizza eri Yakuwa!—Mat. 5:16; geraageranya Ebikolwa 14:​12-15.

Ebifaananyi ebiraga engeri mwannyinaffe gy’ayigirizaamu omukazi omu Bayibuli. 1. Mwannyinaffe yeewaana era Bayibuli ye agivuunise ku mmeeza. 2. Mwannyinaffe abikkudde Bayibuli ye era alaga omuyizi ekyawandiikibwa.

Bw’oba oyigiriza amazima, ettendo oliwa ani? (Laba akatundu 7-8)


9. Kiki kye tusaanidde okwewala okukola era lwaki?

9 Lowooza ku mbeera endala we kitwetaagisiza okwewala okwenoonyeza ekitiibwa. Kuba akafaananyi nga waliwo omukadde mu kibiina aliko ekintu eky’ekyama ky’akubuulidde kyokka ekintu ekyo naawe n’okibuulirako abalala. Abo be tuba tubuulidde bayinza okwewuunya era ne balowooza nti kirabika tulina ebyama ebirala bingi bye tumanyi. Bayinza n’okutandika okulowooza nti tuli ba kitalo nnyo. Naye ekyo kiba tekisanyusa Yakuwa. (Nge. 11:13) Lwaki? Ng’oggyeeko okuba nti twogedde ebintu eby’ekyama bye tubadde tutateekeddwa kwogera, ekiruubirirwa kye tuba nakyo nga twogera ebintu ebyo tekiba kituufu.

TUYINZA TUTYA OKWOGERA AMAZIMA?

10. Ebigambo ebiri mu Abakkolosaayi 4:6 birina makulu ki?

10 Soma Abakkolosaayi 4:6. Omutume Pawulo yajjukiza Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi nti bulijjo ebigambo byabwe bisaanidde okuba eby’ekisa. Ekyo kitegeeza ki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa kiwa amakulu agalaga nti ebigambo byaffe bisaanidde okuba nga biganyula abalala, nga bya kisa, era nga bisikiriza.

11-12. Lwaki tusaanidde okuba abeegendereza nga tuyigiriza amazima? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ebifaananyi.)

11 Bwe tuba tuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli tusaanidde okukolera ku magezi Pawulo ge yawa ne twogera mu ngeri ey’ekisa. Bayibuli egeraageranya amazima agagirimu ku kitala ekyogi ekisobola okwawula obulamu n’omwoyo. Mu ngeri endala, esobola okutuyamba okumanya ekyo kye tuli n’ebiruubirirwa byaffe. (Beb. 4:12) Naye bwe tutakozesa bulungi Bayibuli, tuyinza okuleetera abalala okunyiiga era ne tuleetawo obutakkaanya. Ekyo kiyinza kubaawo kitya?

12 Lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’obuulira n’osanga omusajja ayagala okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye bwe muba mwogera okizuula nti omusajja oyo avvunnamira ebibumbe ng’asaba, era anyumirwa nnyo okukuza Ssekukkulu ne Ppaasika ng’ali wamu n’ab’omu maka ge. Ng’okozesa Bayibuli osobola okulaga omusajja oyo nti kya busirusiru okusaba ebibumbe, era n’omulaga nti Ssekukkulu ne Ppaasika mikolo gya kikaafiiri. (Is. 44:​14-20; 2 Kol. 6:​14-17) Singa ekyo tukikola ku mulundi gwe tuba tusoose okwogera n’omusajja oyo, tuba twogera mazima, naye tuba tetukozesezza bulungi Kigambo kya Katonda.

Ebifaananyi ebiraga abafumbo nga babuulira omusajja ku mulyango, ng’eno ab’omu maka ge bwe batimba akati ka Ssekukkulu. 1. Abafumbo abo balaga omusajja ekitundu ekirina omutwe “Bayibuli Eyogera Ki ku Ssekukkulu?” ekiri ku jw.org. Omusajja azinze emikono gye, abawuliriza naye alaga nti takkiriziganya na bye boogera. 2. Abafumbo abo balaga omusajja ekitundu ekirina omutwe “How to Be a Good Dad” ekiri ku jw.org. Omusajja awuliriza era ataddeko akamwenyumwenyu.

Bw’oba obuulira, oyinza otya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda? (Laba akatundu 11-12)a


13. Tuyinza tutya okukakasa nti ebigambo byaffe binoze omunnyo?

13 Pawulo era yagamba be yali awandiikidde nti ebigambo byabwe bisaanidde okuba nga “binoze omunnyo.” Yali tategeeza nti tusaanidde okubikkirira amazima oba okugakweka. Mu kifo ky’ekyo yali atukubiriza nti bwe tuba tubuulira abalala amazima tusaanidde okukozesa ebigambo ebibaleetera okwagala okuwulira obubaka bwe tubabuulira. (Yob. 12:11) Ekyo olumu kiyinza obutaba kyangu. Bwe tuba tufumba emmere tuyinza okulowooza nti emmere etuwoomera n’abalala y’ebawoomera. Naye si bwe kityo bwe kiri. Mu ngeri y’emu bwe kituuka ku kwogera, tuyinza okulowooza nti engeri gye twogeramu esanyusa buli omu. Ng’ekyokulabirako, mu buwangwa obumu abantu boogera kaati ekyo kye balowooza ka babe nga boogera n’abantu ababasinga obukulu. Naye mu buwangwa obulala okwogera mu ngeri eyo kiyinza okulaga nti omuntu talina mpisa era nti tassaamu balala kitiibwa. Pawulo yagamba nti tulina okumanya engeri gye tusaanidde “okuddamu buli muntu.” Ekyo kitegeeza nti ka tube nga twakulira mu buwangwa ki oba nga tulina engeri gye twamanyiira okwogeramu, bwe tuba twogera n’abalala tusaanidde okwogera nabo mu ngeri ennungi.

DDI LWE TUSAANIDDE OKWOGERA AMAZIMA?

14. Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abayigirizwa be buli kimu kye yali amanyi? Nnyonnyola.

14 Bulijjo Yesu yayogera n’abagoberezi be mu ngeri ey’ekisa era yabayigiriza ebintu bingi. (Mak. 6:34) Naye baali bakyalina ebintu bingi eby’okuyiga. Yesu teyabayigiriza bintu byonna bye yali amanyi omulundi gumu. Yali amanyi obusobozi bwabwe we bukoma. Yali akimanyi nti ekyo si kye kyali ekiseera okubayigiriza ebintu ebimu. Mu butuufu, yagamba nti ebintu ebimu baali tebasobola kubitegeera mu kiseera ekyo. (Yok. 16:12) Ekyo kituyigiriza ki?

15. Buli kye tumanyi tusaanidde okukiyigiriza abayizi baffe aba Bayibuli omulundi gumu? Nnyonnyola. (Engero 25:11) (Laba n’ekifaananyi.)

15 Ekyokulabirako kya Yesu kiraga nti wadde nga tumanyi ebintu bingi, tekitegeeza nti ebintu ebyo byonna tulina okubiyigiriza abantu omulundi gumu. Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Tusaanidde okulowooza ku mbeera z’abantu n’obusobozi bwabwe. Ddamu olowooze ku musajja anyumirwa okukuza Ssekukkulu ne Ppaasika ng’ali wamu n’ab’omu maka ge. Tukimanyi nti emikolo ng’egyo gya kikaafiiri era tegisanyusa Katonda. Naye kuba akafaananyi ng’otandise okuyiga Bayibuli n’omusajja oyo ng’ebula wiiki emu oba bbiri Ssekukkulu etuuke. Ddala tuba twogedde mu ngeri ey’ekisa singa tulaga omusajja oyo Bayibuli ky’eyigiriza ku mikolo gy’ekikaafiiri era ne tumusuubira obutakuza Ssekukkulu? Kyo kituufu nti abayizi ba Bayibuli abamu bayinza okwanguwa okukolera ku ebyo bye bayiga. Kyokka abamu kibatwalira ekiseera okukyusa endowooza yaabwe n’okukolera ku ebyo bye bayiga. Tusobola okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okukulaakulana singa tubabuulira ebyo byokka bye beetaaga okumanya mu kiseera ekituufu.—Soma Engero 25:11.

Abafumbo abalagiddwa mu kifaananyi ekivuddeko bayigiriza omusajja mu maka ge, nga bakozesa ekitabo “Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!” Akati ka Ssekukkulu kali kumpi awo.

Koppa Yesu bw’oba osalawo ddi lw’olina okuyigiriza amazima, na bintu byenkana wa by’olina okuyigiriza (Laba akatundu 15)


16. Tuyinza tutya okuyamba Abayizi baffe aba Bayibuli okweyongera ‘okutambulira mu mazima’?

16 Ekimu ku bintu ebikyasinze okutuleetera essanyu, kwe kuyamba abalala okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa. Tusobola okuyamba abalala ‘okutambulira mu mazima’ singa tukola ebintu bino: Nga tweyongera okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (3 Yok. 3, 4) Nga tukakasa nti engeri gye tweyisaamu eraga nti tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda ebiri mu Kigambo kye. Nga twogera amazima n’ekigendererwa ekituufu. Bwe tuba tuyigiriza abantu amazima, tusaanidde okukozesa ebigambo ebirungi, eby’ekisa, era ebituukirawo. Ate era bulijjo tusaanidde okugulumiza Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kukiraga nti tuweereza Yakuwa, Katonda ow’amazima.

EBYAWANDIIKIBWA BINO BIKUYIGIRIZZA KI?

  • Ebikolwa 17:27

  • Abakkolosaayi 4:6

  • Engero 25:11

OLUYIMBA 160 “Amawulire Amalungi”!

a EBIFAANANYI: Mu kifaananyi ekisooka, ow’oluganda alaba akati ke batimba ku Ssekukkulu mu nnyumba y’omusajja gw’abuulira, era amulaga ekitundu ekiraga nti Ssekukkulu mukolo gwa bakaafiiri. Mu kifaananyi ekyokubiri ow’oluganda alaga omusajja oyo ekitundu ekirimu amagezi agasobola okuyamba bataata. Ku ngeri ezo ebbiri, eruwa esinga obulungi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza