MAAKI 9-15, 2026
OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange
Yakuwa Asobola Okukuyamba nga Waliwo Ebikumalamu Amaanyi
“Nze nga ndi muntu munaku!”—BAR. 7:24.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba kye tusobola okukola bwe wabaawo ebintu ebitweraliikiriza oba ebitumalamu amaanyi.
1-2. Ebiseera ebimu omutume Pawulo yeewuliranga atya, era lwaki tutegeera engeri gye yabanga yeewuliramu? (Abaruumi 7:21-24)
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’ofumiitiriza ku mutume Pawulo? Olowooza ku muminsani eyali omuvumu, omusomesa omukugu, oba omuwandiisi wa Bayibuli omulungi? Ebyo byonna bituufu. Kyokka wadde kiri kityo, Pawulo naye yafunanga ebimweraliikiriza era yaggwangamu amaanyi. Okufaananako omutume Pawulo, naffe leero tulina ebitweraliikiriza era ebitumalamu amaanyi.
2 Soma Abaruumi 7:21-24. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, omutume Pawulo yayogera ku ngeri gye yali yeewuliramu olw’ebyo ebyali bimweraliikiriza. Pawulo yali Mukristaayo mwesigwa era yali ayagala nnyo okugondera Katonda. Naye olw’okuba yali tatuukiridde, oluusi kyamuzibuwaliranga okukola ebyo Katonda by’ayagala. Ng’oggyeeko ekyo, oluusi omutume Pawulo yalumirizibwanga omutima olw’ebibi bye yakola mu biseera eby’emabega. Ate era ebiseera ebimu yabanga munakuwavu olw’ebizibu bye yafuna mu bulamu bwe ebyalabikanga ng’ebitasobola kuvaawo.
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Laba ne “Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”)
3 Wadde nga Pawulo ebiseera ebimu yaggwangamu amaanyi, teyamalira birowoozo bye ku bintu ebimalamu amaanyi.a Mu kitundu kino, tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Oluusi biki ebyaleeteranga Pawulo okuwulira ng’aweddemu amaanyi? Kiki ekyamuyamba obutamalira birowoozo bye ku bintu ebimalamu amaanyi? Kiki ekisobola okutuyamba bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza era nga tuweddemu amaanyi?
BIKI EBYALEETERANGA PAWULO OKUGGWAAMU AMAANYI?
4. Ekimu ku bintu ebyaleetera Pawulo okuggwaamu amaanyi kye kiruwa?
4 Ebintu bye yali yakola mu biseera eby’emabega. Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, Pawulo, mu kusooka eyali ayitibwa Sawulo, yakola ebintu ebibi bingi nnyo. Ng’ekyokulabirako, yawagira abo abatta Siteefano eyali omusajja omwesigwa era yali alowooza nti ekyo ky’akola kituufu. (Bik. 7:58; 8:1) Ate era Sawulo yawoma omutwe mu kuyigganya Abakristaayo.—Bik. 8:3; 26:9-11.
5. Pawulo yawulira atya olw’ebintu bye yali yakola mu biseera eby’emabega?
5 Oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, ebiseera ebimu Pawulo yalumirizibwanga omutima olw’ebintu ebibi bye yakola mu biseera eby’emabega, era kirabika yeeyongera okuwulira bw’atyo n’oluvannyuma lw’emyaka mingi. Ng’ekyokulabirako, mu bbaluwa esooka gye yawandiikira Abakkolinso awo nga mu 55 E.E., yagamba nti: “Sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganya ekibiina kya Katonda.” (1 Kol. 15:9) Nga wayiseewo emyaka ng’etaano, mu bbaluwa gye yawandiikira Abeefeso yeeyogerako ‘ng’asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna.’ (Bef. 3:8) Ate bwe yawandiikira Timoseewo, Pawulo yeeyogerako ng’oyo eyali ‘omuvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa.’ (1 Tim. 1:13) Lowooza ku ngeri omutume Pawulo gy’ayinza okuba nga yawuliramu bwe yakyaliranga ekibiina n’asangayo abo be yayigganyanga oba n’asangayo ab’eŋŋanda z’abo be yayigganyanga.
6. Kiki ekirala ekyaleetera Pawulo okweraliikirira? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
6 Eriggwa mu mubiri. Pawulo yageraageranya ekyali kimumalamu amaanyi ku ‘liggwa mu mubiri.’ (2 Kol. 12:7) Teyayogera ekyo kyennyini ekyali kimumalamu amaanyi. Buyinza okuba nga bwali bulwadde, oba ekizibu ekirala eky’amaanyi ekyamuleeteranga okweraliikirira.b
7. Pawulo yayisibwanga atya olw’obutali butuukirivu bwe? (Abaruumi 7:18, 19)
7 Obutali butuukirivu bwe. Emirundi mingi Pawulo tekyamubeereranga kyangu kukola kituufu. (Soma Abaruumi 7:18, 19.) Wadde nga yali mumalirivu okukola ekituufu, obutali butuukirivu bwe bwakifuula kizibu gy’ali okukikola. Yagamba nti wadde nga yali ayagala okukola ekituufu, emirundi egimu yeesanganga akoze ekikyamu. Wadde kiri kityo, Pawulo yafubanga okukola ekituufu. (1 Kol. 9:27) Ateekwa okuba yawuliranga bubi buli lwe yaddangamu okukola ekintu ekibi kye yabanga afuba okuvvuunuka!
EKYAYAMBA PAWULO OBUTAMALIRA BIROWOOZO BYE KU BINTU EBIMALAMU AMAANYI
8. Okusinziira ku bbaluwa Pawulo ze yawandiika, biki ebyamuyamba okulwanyisa obutali butuukirivu bwe?
8 Mu bbaluwa ze yawandiika, Pawulo yalaga engeri omwoyo gwa Katonda omutukuvu gye gwali gusobola okumuyamba wamu ne bakkiriza banne okulwanyisa okwegomba okubi ne bakuwangula. (Bar. 8:13; Bag. 5:16, 17) Emirundi mingi Pawulo yayogera ku kwegomba okubi n’engeri embi Abakristaayo bye basaanidde okulwanyisa. (Bag. 5:19-21, 26) Awatali kubuusabuusa Pawulo yafumiitiriza ku bunafu bwe yalina, n’anoonya obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa era n’abaako by’akola okulwanyisa obutali butuukirivu bwe. N’olwekyo bwe tusoma bye yawandiikira bakkiriza banne ng’abalaga bye balina okukola okusanyusa Katonda, tuba bakakafu nti naye yabikolanga.
9-10. Biki ebyayamba Pawulo okusigala nga musanyufu wadde nga yalina ebimumalamu amaanyi? (Abeefeso 1:7) (Laba n’ekifaananyi.)
9 Wadde ng’ebiseera ebimu Pawulo yaggwangamu amaanyi, waliwo ebintu bingi ebyamuyamba okusigala nga musanyufu. Ng’ekyokulabirako, kyamusanyusanga nnyo bwe yafunanga amawulire agakwata ku b’oluganda abaalinga mu bibiina eby’ewala. (2 Kol. 7:6, 7) Okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza banne nakyo kyamuleeteranga essanyu. (2 Tim. 1:4) Ate era yali akimanyi nti Yakuwa amusiima, era yali musanyufu kubanga yali aweereza Katonda ‘n’omuntu ow’omunda omuyonjo.’ (2 Tim. 1:3) Ne bwe yali asibiddwa e Rooma, Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe.” (Baf. 4:4) Bwe tusoma ku Pawulo tetumulowoozaako ng’omuntu eyali aweddemu amaanyi olw’ensobi ze oba olw’ebizibu bye yalina. Kyeyoleka lwatu nti buli lwe yafunanga ebintu ebimumalamu amaanyi, ebirowoozo bye yabimaliranga ku bintu ebimuleetera essanyu.
10 Ekintu ekirala ekyayamba Pawulo okusigala nga musanyufu kye kinunulo. (Bag. 2:20; soma Abeefeso 1:7.) Yakitegeera nti Yakuwa yamwagala nnyo era ekinunulo n’akitwala ng’ekirabo Yakuwa kye yamuwa kinnoomu. (Bar. 7:24, 25) Bwe kityo yali mukakafu nti okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu Kristo, Yakuwa yamusonyiwa ebibi bye era nti ajja kweyongera okumusonyiwa. N’olwekyo, wadde nga yali yakola ensobi ez’amaanyi mu biseera ebyayita, Pawulo yali asobola okwenyigira “mu buweereza obutukuvu” nga musanyufu.—Beb. 9:12-14.
Wadde nga Pawulo yawulira bubi olw’ebintu ebibi bye yali yakola mu biseera eby’emabega, okufumiitiriza ku kinunulo kyamuyambanga okuwulira obuweerero (Laba akatundu 9-10)
11. Lwaki ebyo ebikwata ku Pawulo bituzzaamu nnyo amaanyi?
11 Okufaananako omutume Pawulo, bulijjo naffe tulina okufuba ennyo okwewala okulowooza, okwogera, oba okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Naffe tuyinza okuwulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku!” Mwannyinaffe Elizac ali mu myaka nga 20 bw’aba ayogera ku ngeri gye yeewuliramu agamba nti: “Bwe ndowooza ku ebyo Pawulo bye yayitamu kinzizaamu nnyo amaanyi. Kimbudaabuda nnyo okukimanya nti ebyo bye mpitamu waliwo n’abalala abaali babiyiseemu. Ekyo kinnyamba okukiraba nti Yakuwa amanyi ebizibu abaweereza be bye bayitamu.” Okufaananako Pawulo, kiki kye tusobola okukola okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo n’okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tulina ebitumalamu amaanyi?
EBISOBOLA OKUTUYAMBA NGA WALIWO EBITUMAZEEMU AMAANYI
12. Nteekateeka ki ey’eby’omwoyo gye tusaanidde okuba nayo okusobola okuba abasanyufu?
12 Nywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo. Bwe tubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bintu ebimalamu amaanyi. Lowooza ku kino: Tuwulira bulungi bwe tulya emmere erimu ekiriisa, bwe tukola dduyiro obutayosa era ne twebaka ekimala. Mu ngeri y’emu, tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, ne twenyigira mu kubuulira, ne tweteekerateekera enkuŋŋaana, ne tuzibeeramu, era ne tubaako bye tuddamu. Bwe tweyongera okukola ebintu ebyo, kituyamba okulowooza ku bintu ebirungi mu kifo ky’okulowooza ku bintu ebimalamu amaanyi era ekyo kituyamba okweyongera okuba abasanyufu.—Bar. 12:11, 12.
13-14. Bakkiriza bannaffe abamu baganyuddwa batya mu kuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo?
13 Lowooza ku John eyazuulwamu obulwadde bwa kkansa ku myaka 39. Mu kusooka yatya nnyo era yeeraliikirira nnyo. Yeebuuza nti: ‘Nnyinza ntya okulwala ku myaka gino emito?’ Mu kiseera ekyo mutabani we yali wa myaka esatu gyokka. Kiki ekyayamba John obutaba mweraliikirivu buli kiseera? Agamba nti: “Wadde nga nnabanga mukoowu, nnakakasanga nti ffenna ng’amaka twenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa. Twabeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, twenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira buli wiiki era twabeeranga n’okusinza kw’amaka obutayosa wadde ng’oluusi tekyabanga kyangu.” Bw’aba ayogera ku ebyo by’ayiseemu agamba nti: “Bwe tufuna ekizibu eky’amaanyi mu kusooka tuwulira nga tutidde. Naye njize nti oluvannyuma lw’ekiseera Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga era atukakasa nti atwagala. Naawe Yakuwa ajja kukuyamba mu ngeri y’emu nga bwe yannyamba.”
14 Eliza eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Buli lwe mbeerawo mu nkuŋŋaana era ne nneesomesa, kinnyamba okukitegeera nti Yakuwa awuliriza essaala zange era nti anjagala nnyo. Ekyo kindeetera essanyu lingi nnyo.” Nolan, aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Afirika annyonnyola ekimuyambye wamu ne mukyala we Diane. Agamba nti: “Tunywerera ku nteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo ne bwe tuba nga tulina ebintu ebitumalamu amaanyi. Bulijjo Yakuwa atuyamba okusigala nga tuli basanyufu. Tufuba nnyo okukijjukira nti Yakuwa ajja kutuyamba era nti ajja kutuwa emikisa. Tetumanyi ngeri gy’ajja kukikolamu, naye tuli bakakafu nti ajja kukikola.”
15. Biki bye tusobola okukola bwe tuba nga tuweddemu amaanyi? Waayo ekyokulabirako.
15 Bwe tuba nga tukyali beeraliikirivu, waliwo ebintu ebirala bye tusobola okukola ne bituyamba. Kuba akafaananyi ng’olwadde omugongo. Okutambula buli lunaku kisobola okukuyamba. Naye okukomya obulumi, olina okukola ekisingawo. Okusobola okumanya ekikuviirako obulumi obwo kiyinza okukwetaagisa okubaako by’onoonyerezaako oba okwogerako n’omusawo. Mu ngeri y’emu, kiyinza okukwetaagisa okubaako by’onoonyereza mu Bayibuli ne mu bitabo byaffe oba okwogerako n’Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo, n’ofuna amagezi agasobola okukuyamba. Waliwo n’ebintu ebirala ebisobola okukuyamba.
16. Biki ebiyinza okukuyamba okuzuula ebikumalamu amaanyi? (Zabbuli 139:1-4, 23, 24)
16 Saba Yakuwa akuyambe okumanya ekyo kye weetaaga. Kabaka Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa amumanyi bulungi. N’olwekyo Dawudi yasaba Yakuwa amuyambe okumanya ekyo ekimuviirako ‘okweraliikirira.’ (Soma Zabbuli 139:1-4, 23, 24.) Naawe osobola okusaba Yakuwa akuyambe okumanya ebyo ebikuviirako okuggwaamu amaanyi, era omusabe akuyambe okumanya by’osaanidde okukola okusobola okufuna obuweerero. Ate era oyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Biki ebinneeraliikiriza era bitera kuva ku ki? Ebirowoozo byange mbimalira ku bintu ebimmalamu amaanyi mu kifo ky’okubimalira ku bintu ebindeetera essanyu?
17. Ebimu ku bintu by’oyinza okwesomesaako ebisobola okukuzaamu amaanyi bye biruwa? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Weesomese ku ebyo ebikwata ku mbeera yo. Oyinza okuganyulwa singa buli luvannyuma lwa kiseera obaako ezimu ku ngeri za Yakuwa ze weesomesaako. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yaganyulwa nnyo bwe yafumiitiriza ku kinunulo ne ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu. Naawe oyinza okukola kye kimu. Kozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, Watch Tower Publications Index, oba ebitabo ebirala ebiri mu lulimi lwo okunoonyereza ku nsonga nga zino; obusaasizi bwa Yakuwa, engeri gy’asonyiwamu, n’okwagala kwe okutajjulukuka. Bw’obaako by’ozudde ebisobola okukuyamba baako w’obiwandiika. Teeka olukalala olwo w’osobola okululabira era bw’owulira nti otandise okuggwaamu amaanyi, oyinza okusoma ebitundu ebiri ku lukalala olwo. Fuba okukolera ku ebyo by’osomye bikuyambe mu mbeera gy’olimu.—Baf. 4:8.
Bw’oba n’ebintu ebikumalamu amaanyi, weesomese ku bintu ebijja okukuyamba (Laba akatundu 17)
18. Ebimu ku bintu bakkiriza bannaffe bye beesomesezzaako ne bibayamba bye biruwa?
18 Eliza eyayogeddwako waggulu, yeesomesa ku ebyo ebikwata ku Yobu. Agamba nti: “Okufaananako Yobu, nange nnafuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Wadde nga Yobu yali tamanyi nsonga lwaki yali afuna ebizibu, yeeyongera okwesiga Yakuwa ne mu kiseera ng’aweddemu nnyo amaanyi.” (Yob. 42:1-6) Ate mwannyinaffe Diane eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Nze n’omwami wange twesomesa nga tukozesa akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Kitusanyusa nnyo okuba nti ng’omubumbi bw’akola ekintu ekirungi mu bbumba, naffe Yakuwa atubumba. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku nsobi ze tukola, tufuba okukijjukira nti yakuwa atuyamba tusobole okufuuka abantu abalungi. Ekyo kinyweza enkolagana yaffe naye.”—Is. 64:8.
BA MUKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUKUYAMBA
19. Ebiseera ebimu tuyinza kuwulira tutya, naye tuli bakakafu ku ki?
19 Ne bwe tuba nga tulina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo era nga ne bye twesomesa tubituukanya n’embeera yaffe, tetusaanidde kukitwala nti tetuliddamu kweraliikirira oba kuggwaamu maanyi. Ebiseera ebimu tuyinza okuwulira ng’embeera etusukkiriddeko! Naye olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusobola okukendeeza ku kweraliikirira ne tufuna obuweerero. Bwe tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo tuba bakakafu nti ebiseera ebisinga tujja kuba n’emirembe ku mutima era tufune essanyu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa.
20. Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Ka tube bamalirivu obutakkiriza bintu bye twakola mu biseera ebyayita, ebizibu bye tulina, oba obutali butuukirivu bwaffe kutumalamu maanyi. Bwe tuba n’ebitumalamu amaanyi, Yakuwa asobola okutuyamba okufuna obuweerero. (Zab. 143:10) Twesunga ekiseera lwe tunaabeera mu nsi empya nga tewakyaliwo bintu bitumalamu maanyi, era nga buli kye tulowoozaako kituleetera essanyu. Buli lukya tujja kuba twesunga okuweereza Yakuwa Katonda waffe ow’okwagala nga tetulina kitweraliikiriza era nga tuli basanyufu!
OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu kitundu kino twogera ku bantu abatera okweraliikirira oba okuwulira nga baweddemu amaanyi. Ekitundu kino tekyogera ku bantu abamaze ekiseera nga bennyamivu era nga beetaaga obuyambi bw’omusawo.
b Bwe tusoma amabaluwa Pawulo ge yawandiika tukiraba nti yalina obulwadde bw’amaaso, era obulwadde obwo buteekwa okuba nga bwakifuula kizibu gy’ali okuwandiika amabaluwa n’okutuukiriza obulungi obuweereza bwe. (Bag. 4:15; 6:11) Ate era, Pawulo ayinza okuba yali mweraliikirivu olw’ebyo abamu ku bayigiriza ab’obulimba bye baamwogerangako. (2 Kol. 10:10; 11:5, 13) Ka kibe ki ekyaleetera Pawulo okweraliikirira, kiteekwa okuba nga kyamumalangamu nnyo amaanyi.
c Amannya agamu gakyusiddwa.