EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Kuba Akafaananyi ku Ebyo by’Osoma mu Bayibuli
Bayibuli eyogera ku bintu bingi ebyaliwo era tulina bingi bye tubiyigirako. Bwe tukuba akafaananyi nga tusoma ku bintu ebyo, tubitegeera bulungi era tweyongera okubiganyulwamu. Lowooza ku bintu bino wammanga ebisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo by’osoma mu Bayibuli.
Soma mu ddoboozi eriwulikika. Bw’osoma mu ddoboozi eriwulikika kisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo by’osoma. Bwe muba musoma Bayibuli ng’amaka, musobola okweyongera okutegeera ebyo bye musomako buli omu bw’abaako ebigambo by’omuntu ayogerwako by’asoma.
Wesse mu bigere by’abo b’osomako. Gezaako okumanya bye balowooza n’engeri gye beewuliramu. Ng’ekyokulabirako, weebuuze: ‘Lwaki omuntu oyo ayogedde bw’atyo oba n’akola ekintu bwe kityo? Singa nze mbadde mu mbeera eyo nnandibadde ndowooza ki, era nnandiwulidde ntya?’
Baako ebifaananyi by’okuba. Bw’okuba ebifaananyi by’ebintu by’osomye mu Bayibuli ku lupapula, kiyinza okukuyamba okujjukira obulungi ebyo by’osomye, ne bwe kiba nti tomanyi bulungi kukuba bifaananyi.