MAAKI 2-8, 2026
OLUYIMBA 97 Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda
Weeyongere Okukola ku ‘Bwetaavu Bwo obw’eby’Omwoyo’
EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2026: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—MAT. 5:3.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri gye tusobola okuganyulwa mu mmere ey’eby’omwoyo, mu kwambala omuntu omuggya, ne mu bukuumi obw’eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa.
1. Yakuwa yatutonda nga tulina bwetaavu ki? (Matayo 5:3)
YAKUWA yatonda abantu nga balina ebintu bye beetaaga. Ng’ekyokulabirako, okusobola okubeesaawo obulamu, twetaaga emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Bwe kiba nti waliwo ekimu ku bintu ebyo kye tutalina wadde okumala akaseera katono, obulamu buba buzibu nnyo. Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa yatutonda nga tulina ebintu bye twetaaga mu bulamu, era yatutonda nga tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo. (Soma Matayo 5:3.) Bwe tuba twagala okufuna essanyu erya nnamaddala, tulina okukimanya nti tulina obwetaavu obwo era ne tubukolako.
2. Kitegeeza ki okumanya ‘obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo’? Waayo ekyokulabirako.
2 Okumanya ‘obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo’ kitegeeza ki? Mu Luyonaani ebigambo ebyo biwa ekifaananyi eky’omuntu asabiriza. Lowooza ku muntu omwavu ennyo, ayambadde engoye eziyuliseyulise, era atudde ku mabbali g’ekkubo. Munafu olw’okuba talya mmere emumala, asiiba mu musana, talina wa kusula, abantu bamwewala, mukoowu, era si musanyufu. Omuntu oyo aba akimanyi nti yeetaaga obuyambi embeera ye okusobola okutereera. Mu ngeri y’emu, omuntu amanyi obwetaavu bwe obw’eby’omwoyo aba akimanyi nti yeetaaga obuyambi bwa Katonda. N’olwekyo aba mwetegefu okuganyulwa mu bintu eby’omwoyo Yakuwa by’awa abo abamwagala.
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ekyo kye tuyigira ku mukazi Omufoyiniikiya eyeegayirira Yesu okumuyamba. Ebyo bye tusoma ku mukyala oyo biraga engeri ssatu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo ze basaanidde okukulaakulanya. Oluvannyuma tugenda kulaba kye tuyigira ku mutume Peetero, omutume Pawulo, ne Kabaka Dawudi, abaali abasajja ab’eby’omwoyo.
OMUKAZI EYAYOLEKA OBWETOOWAZE, ATAALEKULIRA, ERA EYALINA OKUKKIRIZA
4. Kiki omukyala Omufoyiniikiya kye yasaba Yesu amukolere?
4 Lumu omukyala Omufoyiniikiya yatuukirira Yesu. Muwala we yali “atawaanyizibwa dayimooni.” (Mat. 15:21-28) Omukyala oyo yafukamira ne yeegayirira Yesu amuyambe. Omukyala oyo yayoleka engeri ennungi bwe yali asaba Yesu okumuyamba. Ka tulabe ezimu ku zo.
5. Ngeri ki omukyala Omufoyiniikiya ze yayoleka, era Yesu yamuyamba atya? (Laba n’ekifaananyi.)
5 Omukyala Omufoyiniikiya yali mwetoowaze nnyo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga omukyala oyo teyanyiiga Yesu bwe yamugeraageranya ku kabwa akato, ate ng’embwa bye bimu ku bisolo ebyalundibwanga mu maka g’abantu abataali Bayudaaya. Wandiwulidde otya nga Yesu akugambye ebigambo ebifaananako bwe bityo? Wandinyiize n’olekera awo okumwegayirira akuyambe? Naye omukazi oyo teyanyiiga. Ng’oggyeeko okuba omwetoowaze, omukazi oyo era teyalekulira. Ekyo tukirabira ku kuba nti teyalekera awo kwegayirira Yesu kumuyamba. Kiki ekyamuleetera okweyongera okumwegayirira? Kubanga yali akkiririza mu Yesu. Mu butuufu, olw’okuba omukazi oyo yalina okukkiriza okw’amaanyi, Yesu yasalawo okumuyamba. Wadde nga Yesu yali yaakamala okugamba nti yasindikibwa kuyamba “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri” zokka, yagoba dayimooni ku muwala w’omukazi oyo ataali Muyudaaya.
Omukazi Omufoyiniikiya yalina okuba omwetoowaze, n’atalekulira, era n’ayoleka okukkiriza okusobola okufuna obuyambi bwe yali yeetaaga okuva eri Yesu (Laba akatundu 5)
6. Tuyinza tutya okukoppa omukazi Omufoyiniikiya?
6 Okusobola okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, naffe tulina okukulaakulanya engeri ezo ze zimu. Okufaananako omukazi Omufoyiniikiya tulina okuba abeetoowaze, obutalekulira, n’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Omuntu omwetoowaze takoowa kusaba Katonda kumuyamba. Ate era tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Kristo Yesu n’okwesiga abo b’alonze okuwa abayigirizwa be obulagirizi. (Mat. 24:45-47) Yakuwa n’Omwana we baagala nnyo okukola ku bwetaavu obw’eby’omwoyo obw’abo abooleka engeri ng’ezo. (Geraageranya Yakobo 1:5-7.) Kati ka tulabe engeri Yakuwa gy’atuwaamu emmere ey’eby’omwoyo, gy’atuyamba okwambala omuntu omuggya, era n’engeri gy’atukuumamu. Tugenda kulaba ekyo kye tusobola okukola okuganyulwa mu bintu ebyo Yakuwa by’atuwa nga twekenneenya ekyokulabirako kya Peetero, Pawulo, awamu n’ekya Kabaka Dawudi.
OKUFAANANAKO PEETERO, WEERIISE MU BY’OMWOYO
7. Buvunaanyizibwa ki Peetero bwe yaweebwa, era kiki kye yalina okukola? Nnyonnyola. (Abebbulaniya 5:14–6:1)
7 Lowooza ku mutume Peetero. Y’omu ku Bayudaaya abaasooka okutegeera nti Yesu ye Masiya, oyo Yakuwa gwe yali akozesa okuwa abantu be “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:66-68) Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu yagamba Peetero nti: “Liisanga endiga zange.” (Yok. 21:17) Peetero yatuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obwamuweebwa, era Yakuwa yamusobozesa okuwandiika ebbaluwa bbiri oluvannyuma ezaateekebwa mu Bayibuli. Wadde kyali kityo, Peetero naye yali yeetaaga okweriisa mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, yasoma ebyo ebyali mu bbaluwa omutume Pawulo ze yali yawandiika, era yakikkiriza nti ebimu ku bintu Pawulo bye yawandiika byali ‘bizibu okutegeera.’ (2 Peet. 3:15, 16) Naye Peetero teyalekera awo kusoma bbaluwa ezo ng’alina okukkiriza nti Yakuwa yandimuyambye okutegeera “emmere enkalubo” ezirimu, era n’okukolera ku ebyo bye yali ayize.—Soma Abebbulaniya 5:14–6:1.
8. Kiki Peetero kye yakola bwe yafuna obulagirizi obupya okuva eri Yakuwa?
8 Peetero yakiraga nti alina okukkiriza okw’amaanyi ng’agondera obulagirizi Yakuwa bwe yamuwa. Ng’ekyokulabirako, Peetero bwe yali mu kibuga Yopa, yafuna okwolesebwa nga malayika amugamba okulya ennyama y’ensolo ezitaali nnongoofu okusinziira ku Mateeka ga Musa. Olw’okuba Peetero yali Muyudaaya, yawulira nti ekyo malayika kye yali amugamba okukola kyali kikyamu. Mu kusooka Peetero yagamba nti: “Nedda Mukama wange, kubanga siryangako kintu ekitali kirongoofu era ekitali kiyonjo.” Oluvannyuma Malayika yamugamba nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” (Bik. 10:9-15) Peetero yategeera ekyo malayika kye yamugamba. Ekyo tukimanya tutya? Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa okwo, waliwo abasajja basatu abaava eri Koluneeriyo, omusajja eyali munnaggwanga, abaasaba Peetero agende nabo ayogere ne mukama waabwe. Singa Peetero yali tafunye kwolesebwa okwo, yali tayinza kukkiriza kuyingira mu nnyumba ya munnaggwanga, kubanga Abayudaaya baali batwala abantu abatali Bayudaaya nti si balongoofu. (Bik. 10:28, 29) Naye Peetero bwe yategeera amakulu g’okwolesebwa okwo, amangu ddala yakyusa endowooza ye era n’agondera Yakuwa. (Nge. 4:18) Yabuulira Koluneeriyo n’ab’omu nnyumba ye era yasanyuka nnyo bwe bakkiriza amazima, ne bafuna omwoyo omutukuvu, era ne babatizibwa.—Bik. 10:44-48.
9. Tuganyulwa tutya bwe twesomesa ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda?
9 Okufaananako Peetero, bulijjo tulina okweyongera okwekenneenya enjigiriza ezisookerwako eziri mu Kigambo kya Katonda. Ate era tulina okwagala okulya emmere enkalubo, kwe kugamba, okuyiga ku bintu ebiyinza obutaba byangu kutegeera ebiri mu Kigambo kya Katonda. Tulina okweteerawo ebiseera era ne tufuba okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda. Lwaki? Tuganyulwa mu ngeri nga bbiri: Esooka, tuyiga ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa ebituyamba okweyongera okumwagala n’okumuwa ekitiibwa. Eyokubiri, kituyamba okweyongera okwagala okubuulira abalala ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu. (Bar. 11:33; Kub. 4:11) Waliwo n’ekirala kye tuyigira ku Peetero: Bwe wabaawo enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, tusaanidde okwanguwa okukyusa endowooza yaffe n’okuzikolerako. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okuganyulwa mu mmere ey’eby’omwoyo era Yakuwa ajja kweyongera okutukozesa.
OKUFAANANAKO PAWULO, YAMBALA OMUNTU OMUGGYA
10. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:8-10, kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusanyusa Katonda?
10 Okusobola okusanyusa Katonda waliwo ekintu ekirala kye tulina okukola, nga kwe kwambala omuntu omuggya. Ekyo kitegeeza ki? Omutume Pawulo yagamba nti tulina ‘okweyambulako omuntu ow’edda,’ twambale “omuntu omuggya.” (Soma Abakkolosaayi 3:8-10.) Bulijjo kitwetaagisa okufuba okusobola okwambala omuntu omuggya. Lowooza ku mutume Pawulo. Okuva ng’akyali muto yafubanga nnyo okusanyusa Katonda. (Bag. 1:14; Baf. 3:4, 5) Naye olw’okuba yali talina kumanya kutuufu okukwata ku kigendererwa kya Katonda, yali tasinza Katonda mu ngeri ntuufu. Olw’okuba yalina amalala era nga tategeera njigiriza za Kristo, yafuuka omuntu “atawa balala kitiibwa” bw’atyo n’aba nga yali ayoleka engeri embi.—1 Tim. 1:13.
11. Ngeri ki Pawulo gye yalina okweggyamu? Nnyonnyola.
11 Pawulo bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yali asunguwala mangu. Bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume biraga nti Pawulo yasunguwalira nnyo abayigirizwa ba Yesu, era ne ‘yeeyongera okubatiisatiisa.’ (Bik. 9:1) Bwe yafuuka Omukristaayo, yafuba nnyo okweyambulako omuntu ow’edda eyali azingiramu n’engeri eyo embi. (Bef. 4:22, 31) Kyokka wadde nga yafuba nnyo okweyambulako omuntu ow’edda, lumu ye ne Balunabba bwe baafuna obutakkaanya bwavaamu “oluyombo olw’amaanyi.” (Bik. 15:37-39) Pawulo ateekwa okuba nga yawulira bubi olw’ekyo ekyaliwo, naye teyaggwaamu maanyi. Yeeyongera ‘okukuba omubiri gwe,’ kwe kugamba, okulwanyisa obutali butuukirivu bwe asobole okusigala ng’asiimibwa Katonda.—1 Kol. 9:27.
12. Kiki ekyayamba Pawulo okweyambulako omuntu ow’edda?
12 Olw’okuba Pawulo teyeesigama ku maanyi ge, yasobola okweyambulako omuntu ow’edda n’ayambala omuntu omuggya. (Baf. 4:13) Okufaananako Peetero, Pawulo “yeesigama ku maanyi Katonda g’agaba.” (1 Peet. 4:11) Wadde kiri kityo, emirundi egimu Pawulo yakolanga ensobi era yawuliranga nti talina mugaso. Naye bwe yabanga aweddemu amaanyi, yalowoozanga ku bintu ebirungi Kitaawe ow’omu ggulu by’amukoledde era ekyo kyamuyamba okweyongera okuba omumalirivu okusanyusa Yakuwa.—Bar. 7:21-25.
13. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo?
13 Tusaanidde okukoppa Pawulo nga bulijjo tukijjukira nti ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, twetaaga okweyongera okweyambulako omuntu ow’edda ne twambala omuntu omuggya. Bwe tukola ensobi, gamba bwe tusunguwalira abalala oba bwe twogera nabo mu ngeri etali ya kisa, tetusaanidde kukitwala nti tetusobola kusanyusa Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, tulina okweyongera okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Bar. 12:1, 2; Bef. 4:24) Kyokka nga tufuba okukola enkyukakyuka, tusaanidde okujjukira ensonga eno enkulu: Emitindo gya Yakuwa tegikyuka. N’olwekyo, ffe tulina okweyongera okutegeera ebyo Yakuwa by’ayagala ne tukola enkyukakyuka ezeetaagisa.
OKUFAANANAKO DAWUDI, KKIRIZA YAKUWA OKUKUWA OBUKUUMI OBW’EBY’OMWOYO
14-15. Yakuwa akuuma atya abantu be mu by’omwoyo? (Zabbuli 27:5) (Laba ku ddiba.)
14 Ng’oggyeeko emmere ey’eby’omwoyo n’okwambala omuntu omuggya, okusobola okuba n’essanyu erya nnamaddala twetaaga n’obukuumi obw’eby’omwoyo. Yakuwa atuwa atya obukuumi obw’eby’omwoyo era kiki kye tulina okukola okusobola okubufuna?
15 Kabaka Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa awa abaweereza be obukuumi obw’eby’omwoyo. (Soma Zabbuli 27:5.) Ekyo Yakuwa akikola atya leero? Yakuwa takkiriza muntu yenna oba kintu kyonna okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. Abantu ne bwe bagezaako okutulemesa okusinza Yakuwa, Yakuwa atusuubiza nti ajja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe naye. (Zab. 34:7; Is. 54:17) Wadde nga Sitaani, badayimooni be, awamu n’abantu b’akozesa okutuyigganya ba maanyi, tebasobola kutuleetako kabi ka lubeerera. Ne bwe batutta, Yakuwa ajja kutuzuukiza. (1 Kol. 15:55-57; Kub. 21:3, 4) Yakuwa atuyamba bwe tuba n’ebitweraliikiriza ne kitusobozesa obutalekera awo kumuweereza. (Nge. 12:25; Mat. 6:27-29) Ate era Kitaffe ow’okwagala atuwadde bakkiriza bannaffe abatuzzaamu amaanyi, era atuwadde n’abakadde okutuyamba mu by’omwoyo. (Is. 32:1, 2) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuyiga ku bintu ebirala Yakuwa by’akozesa okutuyamba n’okutukuuma mu by’omwoyo.—Beb. 10:24, 25.
Mwannyinaffe aliisibwa mu by’omwoyo ng’ali mu nkuŋŋaana awamu ne bakkiriza banne (Laba akatundu 14-15)
16. Yakuwa yayambanga atya Dawudi?
16 Dawudi bwe yagonderanga Yakuwa, Yakuwa yamukuumanga n’atafuna bizibu ebituuka ku abo aboonoona mu bugenderevu. (Geraageranya Engero 5:1, 2.) Naye Dawudi bwe yajeemeranga Yakuwa, Yakuwa teyaziyiza bizibu ebyamutuukangako olw’ensobi ze yabanga akoze. (2 Sam. 12:9, 10) Ate kiri kitya ku bizibu Dawudi bye yafuna naye nga tebivudde ku kuba nti akoze ensobi? Dawudi yasabanga era n’abuulira Yakuwa ekyo ekimuli ku mutima. Yakuwa yaddangamu essaala ya Dawudi ng’amuwa emirembe ku mutima, ng’amukakasa nti amwagala, era nti ajja kumulabirira.—Zab. 23:1-6.
17. Tuyinza tutya okukoppa Dawudi?
17 Tusobola okukoppa Dawudi nga tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa bwe tuba tulina kye tusalawo. Ate era tusaanidde okukijjukira nti bwe tutagondera Yakuwa, tajja kuziyiza bintu bibi ebiva mu ekyo kye tuba tusazeewo kututuukako. (Bag. 6:7, 8) Kyokka bwe tufuna ebizibu naye nga tebivudde ku kuba nti tukoze ensobi, tutuukirira Yakuwa mu kusaba ne tumubuulira ekyo ekituli ku mutima nga tuli bakakafu nti ajja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.—Baf. 4:6, 7.
WEEYONGERE OKUKOLA KU BWETAAVU BWO OBW’EBY’OMWOYO
18. Kusoomooza ki okuliwo leero, era tusobola tutya okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo? (Laba n’ebifaananyi.)
18 Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2026 kigamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” Ekyawandiikibwa ekyo kituukirawo nnyo leero n’okusinga bwe kyali kibadde. Lwaki? Kubanga twetooloddwa abantu abatakkiriza nti balina obwetaavu obw’eby’omwoyo era nga si basanyufu. Ate abalala bakikkiriza nti balina obwetaavu obwo naye bagezaako okubukkusa nga beenyigira ku kusinza okw’obulimba oba nga bawuliriza endowooza z’abantu. Tetusaanidde kutwalirizibwa ndowooza z’abantu ng’abo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tufuba okulya emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa, nga twambala omuntu omuggya, era nga tukkiriza obukuumi obw’eby’omwoyo Yakuwa bw’agaba.
Tulina okweyongera okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo nga tulya emmere ey’eby’omwoyo, nga twambala omuntu omuggya, era nga tunoonya obukuumi obw’eby’omwoyo Yakuwa bw’agaba (Laba akatundu 18)a
OLUYIMBA 162 Obwetaavu Bwange obw’eby’Omwoyo
a EBIFAANANYI ku: Mwannyinaffe eyalagiddwa mu kifaananyi ekiri ku ddiba alya emmere ey’eby’omwoyo ng’asoma magazini y’Omunaala gw’Omukuumi. Alaga abalala ekisa, era anoonya obuyambi okuva eri abakadde.