EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 48-50
Tulina Bingi Bye Tusobola Okuyigira ku Abo Abakaddiye
Abakaddiye bwe batubuulira ‘ebintu eby’ekitalo’ bye balabye Yakuwa by’akoze mu nnaku zino ez’enkomerero, okukkiriza kwaffe mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye kweyongera okunywera. (Zb 71:17, 18) Bwe kiba nti mu kibiina kyaffe tulinamu abakaddiye tusobola okubabuuza ebikwata ku
ngeri Yakuwa gy’abayambyemu okugumira ebizibu bye boolekagana nabyo nga bamuweereza
ngeri gye bawuliramu bwe balaba okweyongerayongera kw’ababuulizi okuzze kubaawo
ngeri gye bawuliramu olw’enkyukakyuka ezizze zibaawo mu ngeri gye tutegeeramu amazima agali mu Bayibuli
ngeri gye bawuliramu olw’enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina kya Yakuwa