Jjuuni 15-21
OLUBEREBERYE 48-50
Oluyimba 30 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Tulina Bingi Bye Tusobola Okuyigira ku Abo Abakaddiye”: (Ddak. 10)
Lub 48:21, 22—Yakobo yali mukakafu nti abantu ba Katonda banditutte ensi ya Kanani (it-1-E lup. 1246 ¶8)
Lub 49:1—Ebyo Yakobo bye yayogera ng’anaatera okufa byalaga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi (it-2-E lup. 206 ¶1)
Lub 50:24, 25—Yusufu yali mukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa byandituukiridde (w07 6/1 lup. 30 ¶10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 49:19—Obunnabbi Yakobo bwe yayogera obukwata ku Gaadi bwatuukirizibwa butya? (w04 6/1 lup. 28 ¶4-5)
Lub 49:27—Obunnabbi Yakobo bwe yayogera obukwata ku Benyamini bwatuukirizibwa butya? (it-1-E lup. 289 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 49:8-26 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Ababuulizi bakoledde batya awamu nga babuulira? Tuyinza tutya okulaga omuntu nti ddala tukkiririza mu ekyo kye tumubuulira, ng’ababuulizi abo bwe bakoze?
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 6)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akatabo Bye Tuyiga, era otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essuula 9. (th essomo 16)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Biki by’Osobola Okuyigira ku Bakristaayo Abamaze Ekiseera Ekiwanvu nga Baweereza Yakuwa?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okusigala nga Tuli Bumu ng’Omulimu Gwaffe Guwereddwa.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 119
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 25 n’Okusaba