OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Biki by’Osobola Okuyigira ku Bakristaayo Abamaze Ekiseera Ekiwanvu nga Baweereza Yakuwa?
Mu bibiina byaffe mulimu abaweereza ba Yakuwa abamaze emyaka emingi nga bamuweereza. Tusobola okubaako bye tubayigirako. Tusobola okubabuuza ebikwata ku byafaayo by’ekibiina kya Yakuwa, era ne ku bizibu bye bazze boolekagana nabyo n’engeri Yakuwa gy’abayambyemu okubivvuunuka. Tusobola okukyaza omu ku bo mu kusinza kw’amaka n’atubuulira ku by’ayiseemu.
Bw’oba ng’oli omu ku abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa, osobola okubuulirako Abakristaayo abakyali abato ku ngeri Yakuwa gy’azze akuyambamu. Yakobo ne Yusufu baabuulira bazzukulu baabwe ku ngeri Yakuwa gye yabayambamu. (Lub 48:21, 22; 50:24, 25) Yakuwa yagamba emitwe gy’amaka okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku bikolwa bye eby’ekitalo. (Ma 4:9, 10; Zb 78:4-7) Ne leero, abazadde n’ab’oluganda abalala mu kibiina basobola okubuulira abato ebintu eby’ekitalo bye balabye nga Yakuwa akola mu kibiina kye.
MULABE VIDIYO, OKUSIGALA NGA TULI BUMU NG’OMULIMU GWAFFE GUWEREDDWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ofiisi y’ettabi ey’omu Austria yayamba etya ab’oluganda abaali mu nsi ezimu omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa?
Biki ab’oluganda abaali mu nsi ezo bye baakola okusobola okunyweza okukkiriza kwabwe?
Lwaki ababuulizi bangi mu Romania beeyawula ku kibiina kya Yakuwa era baakomawo batya?
Ebyo ebyaliwo binyweza bitya okukkiriza kwo?
Baako by’oyigira ku Bakristaayo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa ebisobola okunyweza okukkiriza kwo!