EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44
OLUYIMBA 138 Abalina Envi ba Kitiibwa
Sigala ng’Oli Musanyufu Wadde ng’Okaddiye
“ Ne mu myaka egy’obukadde baliba bakyabala ebibala.”—ZAB. 92:14.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu bakkiriza bannaffe abakaddiye okusigala nga basanyufu, n’ebisobola okubayamba.
1-2. Yakuwa atwala atya abaweereza be abakaddiye? (Zabbuli 92:12-14; laba ku ddiba.)
MU BITUNDU ebimu eby’ensi, omuntu akaddiye atwalibwa nti wa kitiibwa naye mu bitundu ebirala abantu tebaagalira ddala kukaddiwa. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’alaba oluvi olusooka ayinza okulukuula abantu baleme kululaba. Kyokka abantu ne bwe baziyiza batya okukaddiwa era bamala ne bakaddiwa.
2 Kitaffe ow’omu ggulu atwala atya abaweereza be abakaddiye? (Nge. 16:31) Abageraageranya ku miti egirabika obulungi. (Soma Zabbuli 92:12-14.) Lwaki Yakuwa abageraageranya ku miti? Emiti egiriko ebikoola n’ebimuli ebirabika obulungi emirundi mingi giba mikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, mu Japan waliyo ekimu ku bika by’emiti egikyasinze okulabika obulungi oguyitibwa flowering cherry. Egimu ku miti egyo egirabika obulungi giwangadde emyaka egisukka mu 1,000. Okufaananako emiti egyo, n’abaweereza ba Yakuwa abakaddiye ba muwendo nnyo gy’ali. Yakuwa asiima nnyo engeri ennungi abaweereza be abakaddiye ze booleka. Bamuweerezza okumala emyaka mingi era basigadde beesigwa gy’ali mu buli mbeera.
Okufaananako emiti egikuze era egirabika obulungi, bakkiriza bannaffe abakaddiye booleka engeri ennungi ezibafuula ab’omuwendo ennyo (Laba akatundu 2)
3. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’azze akozesaamu abaweereza be abakaddiye okutuukiriza ekigendererwa kye.
3 Yakuwa asigala atutwala nga tuli ba muwendo ne bwe tuba nga tukaddiye.a Mu butuufu, Yakuwa azze akozesa abaweereza be abakaddiye okutuukiriza ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, Saala yali akuze mu myaka Yakuwa we yamugambira nti yandizadde omwana ow’obulenzi, era nti omwana oyo yandifuuse eggwanga eddene eryandivuddemu Masiya. (Lub. 17:15-19) Musa yali akaddiye Yakuwa we yamuweera obuvunaanyizibwa obw’okukulembera Abayisirayiri okubaggya e Misiri. (Kuv. 7:6, 7) N’omutume Yokaana yali akaddiye Yakuwa we yamuweera obuvunaanyizibwa obw’okuwandiika ebitabo bya Bayibuli bitaano.
4. Okusinziira ku Engero 15:15, kiki ekisobola okuyamba abo abakaddiye okugumira ebizibu bye bafuna? (Laba n’ekifaananyi.)
4 Abo abakaddiye bafuna ebizibu bingi ebijjawo olw’obukadde. Mwannyinaffe omu akaddiye yayogera mu ngeri ey’olusaago n’agamba nti: “Okukaddiwa si kwa banafu.” Naye abakaddiye bwe baba abasanyufub kisobola okubayamba okugumira ebizibu ebijjawo olw’obukadde. (Soma Engero 15:15.) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu abo abakaddiye bye basobola okukola ne basigala nga basanyufu. Ate era tugenda kulaba ebyo abalala mu kibiina bye basobola okukola okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye. Naye ka tusooke tulabe ensonga lwaki kiyinza okutuzibuwalira okusigala nga tuli basanyufu bwe tugenda tukaddiwa.
Bw’olowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’akukoledde, osobola okuba omusanyufu ne bw’oba ng’olina ebizibu (Laba akatundu 4)
EBISOBOLA OKUTUMALAKO ESSANYU NGA TUKADDIYE
5. Ebimu ku ebyo ebisobola okumalamu abakaddiye amaanyi bye biruwa?
5 Biki ebiyinza okukumalamu amaanyi? Oboolyawo owulira bubi kubanga tokyasobola kukola bintu bye wakolanga edda. Oyinza n’okutandika okwegomba ekiseera lwe wali ng’olina amaanyi era ng’oli mulamu bulungi. (Mub. 7:10) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Ruby agamba nti: “Okwambala engoye kinzibuwalira kubanga nnina obulumi mu mubiri era sisobola kutambula bulungi. N’okwambala obwambazi sitokisi guba mulimu gwa maanyi. Emikono gyange gyasannyalala era nnalwala obulwadde bw’amagumba. Ekyo kikifuula kizibu gye ndi n’okukola obulimu obutono ennyo.” Ate Harold eyaweerezaako ku Beseri agamba nti: “Mpulira bubi olw’okuba nkaddiye era nga sikyasobola kukola bintu bye nnanyumirwanga okukola. Nnalina amaanyi nga nkyali muto era nnanyumirwanga nnyo okuzannya omuzannyo gwa baseball mu biseera byange eby’eddembe. Be nnazannyanga nabo baateranga okugamba nti: ‘Omupiira muguwe Harold ateebe.’ Naye kati n’agakasuka omupiira sikyagalina.”
6. (a) Bintu ki ebirala ebisobola okumalamu abakaddiye amaanyi? (b) Kiki ekisobola okuyamba abo abakaddiye okusalawo obanga banaalekera awo okuvuga ebidduka? (Laba ekitundu mu katabo kano ekirina omutwe “Ndekere Awo Okuvuga?”)
6 Oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba tokyasobola kukola bintu ebimu ku lulwo. Ekyo kiyinza okuba bwe kityo bwe kiba nti kati olina kulabirirwa muntu mulala oba ng’olina kutandika kubeera na baana bo. Ate era oyinza okuggwaamu amaanyi olw’okuba oli mulwadde oba olw’okuba tokyalaba bulungi, ne kiba nti tokyasobola kugenda mu bifo ebimu wekka oba okuvuga ekidduka. Ebintu ng’ebyo bimalamu nnyo amaanyi! Ekiyinza okukuyamba mu mbeera eyo kwe kukijjukira nti Yakuwa awamu n’abalala bakyakutwala ng’oli wa muwendo wadde nga tokyasobola kukola bintu bimu nga bwe wakolanga. Ate era beera mukakafu nti Yakuwa ategeera engeri gye weewuliramu. Yakuwa akimanyi nti omwagala nnyo era nti oyagala bakkiriza banno. Ekyo kye kitufuula ab’omuwendo gy’ali.—1 Sam. 16:7.
7. Kiki ekiyinza okuyamba abo abaweddemu amaanyi olw’okuba balowooza nti enkomerero ejja kutuuka nga tebakyaliwo?
7 Oboolyawo oli munakuwavu ng’olowooza nti Yakuwa w’anaazikiririza enteekateeka y’ebintu eno ojja kuba tokyaliwo. Bw’oba owulira bw’otyo, kiki ekisobola okukuyamba? Kijjukire nti Yakuwa ayolese obugumiikiriza ng’alindirira ekiseera w’anaazikiririza ensi eno embi. (Is. 30:18) Lwaki Yakuwa agumiikirizza? Obugumiikiriza bwe busobozesa abantu bukadde na bukadde okufuna akakisa okumumanya n’okumuweereza. (2 Peet. 3:9) N’olwekyo bw’oba oweddemu amaanyi, kijjukire nti abantu bangi bajja kuganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa ng’enkomerero tennatuuka. Abamu ku bo bayinza n’okuba ab’eŋŋanda zo.
8. Abamu bwe bakaddiwa bayinza kweyisa batya?
8 Ka tube bato oba nga tukaddiye, bwe tulwala oba bwe tuba mu bulumi, ebiseera ebimu tuyinza okwogera oba okukola ebintu oluvannyuma bye tuyinza okwejjusa. (Mub. 7:7; Yak. 3:2) Ng’ekyokulabirako, lumu omusajja omwesigwa Yobu bwe yali ng’abonaabona nnyo, yatandika okwogera ebigambo “ebitaliimu nsa.” (Yob. 6:1-3) Ate era, abo abakaddiye bayinza okwogera oba okukola ebintu bye batandikoze olw’obulwadde bwe balina, oba olw’eddagala lye bamira. Kya lwatu tewali n’omu ku ffe asaanidde kwekwasa kya kukaddiwa oba obulwadde okwogera ebigambo ebitali bya kisa oba okusuubira abalala okumukolera buli ky’ayagala. Ate era bwe tukimanya nti twogedde ebigambo ebirumya abalala, tusaanidde okwetonda mu bwangu.—Mat. 5:23, 24.
EBINAAKUYAMBA OKUSIGALA NG’OLI MUSANYUFU
Oyinza otya okusigala ng’oli musanyufu wadde ng’olina ebizibu ebijjawo olw’obukadde? (Laba akatundu 9-13)
9. Lwaki osaanidde okukkiriza obuyambi abalala bwe bakuwa? (Laba n’ebifaananyi.)
9 Kkiriza obuyambi bw’abalala. (Bag. 6:2) Mu kusooka ekyo kiyinza okukuzibuwalira. Mwannyinaffe Gretl agamba nti: “Oluusi kinzibuwalira okukkiriza obuyambi abalala bwe bampa kubanga mba mpulira nti nfuuse mugugu gye bali. Kintwalidde ekiseera okukyusa endowooza yange n’okwoleka obwetoowaze ne nkikkiriza nti nneetaaga obuyambi bw’abalala.” Bw’okkiriza obuyambi abalala bwe bakuwa kibasobozesa okufuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Ate era bw’onookiraba nti abalala bakwagala era bakufaako, ojja kuba musanyufu.
(Laba akatundu 9)
10. Lwaki osaanidde okukiraga nti osiima? (Laba n’ebifaananyi.)
10 Kirage nti osiima. (Bak. 3:15; 1 Bas. 5:18) Tuwulira bulungi abalala bwe batukolera ebintu ebirungi, naye emirundi egimu tuyinza okwerabira okukiraga nti tusiima. Bwe tussaako akamwenyumwenyu era ne twebaza abantu ababa batukoledde ekintu ekirungi, bawulira bulungi era bakimanya nti tusiimye. Mwannyinaffe Leah alabirira bannamukadde ku Beseri agamba nti: “Omu ku baganda bange be ndabirira awandiika obubaka obunneebaza. By’awandiika tebiba bingi naye bibaamu ebigambo ebirungi. Buli lwe nsoma obubaka obwo mpulira bulungi era kinsanyusa nnyo okukimanya nti asiima bye mmukolera.”
(Laba akatundu 10)
11. Abo abakaddiye bayinza batya okuyamba abalala? (Laba n’ebifaananyi.)
11 Fuba okuyamba abalala. Bw’onookola kyonna ky’osobola okuyamba abalala, kijja kukuyamba obutamalira birowoozo byo ku bizibu by’olina. Olugero olumu olw’omu Afirika lugeraageranya abo abakaddiye ku bitabo ebirimu amagezi amangi. Naye abantu singa tebasoma bitabo ebyo, tebasobola kufuna magezi gabirimu. Mu ngeri y’emu, abavubuka tebasobola kubaako bye bakuyigirako singa towaayo budde kwogerako nabo n’obabuulira ku ebyo by’oyiseemu. Baako ebibuuzo by’obabuuza era bawulirize bulungi. Bayambe okukimanya nti okukolera ku mitindo gya Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi era kijja kubayamba okuba abasanyufu. Awatali kubuusabuusa bw’onaabudaabuda abato era n’obazzaamu amaanyi kijja kukusanyusa nnyo.—Zab. 71:18.
(Laba akatundu 11)
12. Okusinziira ku Isaaya 46:4, kiki Yakuwa ky’asuubiza okukolera abaweereza be abakaddiye? (Laba n’ebifaananyi.)
12 Saba Yakuwa akuwe amaanyi. Wadde ng’oyinza okuwulira nti oli mukoowu era ng’oweddemu amaanyi, kijjukire nti Yakuwa ye “takoowa era tatendewalirwa.” (Is. 40:28) Yakuwa akozesa atya amaanyi ge agataliiko kkomo? Emu ku ngeri gy’agakozesaamu kwe kuzzaamu abaweereza be abakaddiye amaanyi. (Is. 40:29-31) Mu butuufu, asuubiza okubayamba. (Soma Isaaya 46:4.) Yakuwa bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye. (Yos. 23:14; Is. 55:10, 11) Bw’osaba Yakuwa era n’olaba engeri gy’akuyambamu kinnoomu, kikuyamba okukitegeera nti akwagala era ne kikusobozesa okuba omusanyufu.
(Laba akatundu 12)
13. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 4:16-18, kiki kye tusaanidde okujjukira? (Laba n’ebifaananyi.)
13 Kijjukirenga nti embeera yo ya kaseera buseera. Kitwanguyira okugumira embeera enzibu gye tuba tuyitamu bwe tukijjukira nti ya kaseera buseera. Bayibuli eraga nti obulwadde n’okukaddiwa bya kaseera buseera era binaatera okuggibwawo. (Yob. 33:25; Is. 33:24) N’olwekyo okukimanya nti mu biseera eby’omu maaso tewajja kubaawo kukaddiwa n’okulwala kisobola okukuyamba okuba omusanyufu. (Soma 2 Abakkolinso 4:16-18.) Naye biki abalala bye basobola okukola okuyambako?
(Laba akatundu 13)
EBYO ABALALA BYE BASOBOLA OKUKOLA
14. Lwaki kikulu okukyalira abo abakaddiye n’okubakubira essimu?
14 Bakkiriza bannaffe abakaddiye bakyalirengako era bakubirengako ku ssimu. (Beb. 13:16) Emirundi mingi abo abakaddiye baba n’ekiwuubaalo. Ow’oluganda Camille atasobola kuva waka agamba nti: “Mbeera mu nju okuva ku makya okutuuka akawungeezi. N’olwekyo mpubaala nnyo. Ebiseera ebimu mpulira ng’empologoma enkadde eggaliddwa mu kiyumba. Mpulira nga nsobeddwa era nga ndi mwennyamivu.” Bwe tukyalira abo abakaddiye kibakakasa nti tubaagala nnyo era nti ba mugaso gye tuli. Oboolyawo ffenna tujjukira ekiseera lwe twayagala okukyalira oba okukubira essimu omu ku abo abakaddiye abali mu kibiina kyaffe, naye ne tutakikola. Ffenna tulina eby’okukola bingi. Kati olwo kiki ekisobola okutuyamba “okumanya ebintu ebisinga obukulu,” ng’ekimu ku byo kwe kukyalira bakkiriza bannaffe abakaddiye? (Baf. 1:10) Kiyinza okukuyamba bw’obaako w’owandiika osobole okujjukira okuweereza obubaka oba okukubira essimu ab’oluganda abakaddiye abali mu kibiina kyo. Ate era osobola okulonda olunaku lw’onoobakyalirako, era enteekateeka eyo ginywerereko.
15. Biki abo abakaddiye n’abo abakyali abavubuka bye basobola okukolera awamu?
15 Bw’oba oli muvubuka, oyinza okwebuuza by’oyinza okwogerako oba okukola ng’oli wamu n’abo abakaddiye. Naye ekyo tekisaanidde kukweraliikiriza. Beera bubeezi wa mukwano mulungi. (Nge. 17:17) Yogera n’abo abakaddiye ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Oboolyawo osobola okubabuuza ekyawandiikibwa kye basinga okwagala oba ebintu ebyabasanyusanga nga bakyali bato. Osobola n’okubayita ne mulabirako wamu emu ku programu za JW Broadcasting®. Ate era osobola okubayamba mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, osobola okubawanulira ebitabo ebyakafuluma era n’okakasa nti kompyuta oba essimu yaabwe ekola bulungi. Mwannyinaffe Carol agamba nti: “Kirungi okubaako ebintu by’onyumirwa by’okolerako awamu n’abo abakaddiye. Wadde nga nkaddiye, nkyayagala okunyumirwa obulamu. Nyumirwa okulambula ebifo ebirabika obulungi, okugula ebintu, n’okulya mu wooteeri.” Ate ye mwannyinaffe Maira agamba nti: “Omu ku mikwano gyange alina emyaka 90 era ansinga emyaka 57. Sitera na kukirowoozaako nti mukulu nnyo okunsinga kubanga tusekera wamu, tulabira wamu firimu, era bwe tufuna ebizibu buli omu yeebuuza ku munne.”
16. Lwaki kirungi okuwerekerako abo abakaddiye nga bagenda mu ddwaliro?
16 Bawerekereko nga bagenda mu ddwaliro. Ng’oggyeeko okutwalako abo abakaddiye mu ddwaliro, kiba kirungi okukakasa nti abasawo babayisa bulungi era nti babawa obuyambi bwe beetaaga. (Is. 1:17) Osobola okuyamba oyo akaddiye ng’obaako by’owandiika ng’ayogera n’omusawo. Mwannyinaffe Ruth akaddiye agamba nti: “Emirundi mingi bwe ŋŋenda nzekka mu ddwaliro abasawo tebanfaako. Abasawo batera okuŋŋamba nti ‘toli mulwadde, ggwe olowooza nti oli mulwadde.’ Kyokka bwe wabaawo amperekerako abasawo tebampisa bwe batyo. Nneebaza nnyo bakkiriza bannange abafissaawo akadde ne bamperekera nga ŋŋenda okulaba omusawo.”
17. Nkola ki ez’okubuulira ze tusobola okukozesa ne tubuulirako n’abo abakaddiye?
17 Buulirako nabo. Abamu ku abo abakaddiye bayinza okuba nga tebakyalina maanyi kubuulira nnyumba ku nnyumba. Wadde kiri kityo, osobola okubuulirako nabo. Ng’ekyokulabirako, osobola okusaba mwannyinaffe akaddiye okubuulirako naye nga mukozesa akagaali? Oyinza n’okumuleetera akatebe n’atuula okumpi n’akagaali. Oba osobola okusaba ow’oluganda akaddiye n’akuwerekerako ku muyizi wo owa Bayibuli. Ate era bwe kiba kisoboka oyinza okuyita omuyizi wo owa Bayibuli ne muyigira mu maka g’ow’oluganda oyo. Abakadde basobola okukola enteekateeka enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira ne zibeera mu maka g’ab’oluganda abakaddiye kibasobozese nabo okwenyigira mu kubuulira. Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola kyonna kye tusobola okulaga abo abakaddiye nti tubaagala nnyo era nti tubassaamu ekitiibwa.—Nge. 3:27; Bar. 12:10.
18. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu eky’okusoma ekiddako?
18 Mu kitundu kino tujjukiziddwa nti Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be abakaddiye era abatwala nga ba muwendo. Awatali kubuusabuusa naffe mu kibiina tubatwala nga ba muwendo! Omuntu bw’akaddiwa ayinza okuba n’ebizibu bingi naye Yakuwa asobola okumuyamba okusigala nga musanyufu. (Zab. 37:25) Kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ekiseera kigenda kutuuka tube nga tetukyakaddiwa era nga tetukyalwala! Ate kiri kitya eri abo abalabirira ab’omu maka gaabwe, abaana baabwe, oba mikwano gyabwe abalwadde? Bayinza batya okusigala nga basanyufu? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu eky’okusoma ekiddako.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
a Laba ku jw.org ne JW Library® vidiyo erina omutwe Mmwe Abakaddiye, Mulina Obuvunaanyizibwa bwa Maanyi.