Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 7
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 7
Oluyimba 3 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 30 ¶1-9 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 12-15 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Bassekabaka 13:12-19 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Ggeyeena Si Kifo kya Kubonyaabonyezaamu Bantu—td-34A (Ddak. 5)
Na. 3: Biki Ebyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani?—nwt-E lup. 35 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nze n’ennyumba yange, tunaaweerezanga Yakuwa.’—Yos. 24:15.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba ababuulizi boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutendeka Ababuulizi Abapya.” Basabe boogere ku birungi bye bafunye.
Ddak. 10: Mmwenna ng’Amaka Mubaawo mu Nkuŋŋaana Obutayosa? Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Abebbulaniya 10:24, 25. Buuza ebibuuzo omuzadde n’ab’omu maka ge. Biki omutwe gw’amaka by’akola okukakasa nti ab’omu maka ge babaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Biki buli omu by’akola okukakasa nti bonna babaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Ddi lwe bategeka ebyo bye baddamu mu nkuŋŋaana? Biki bye beefiiriza okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana? Fundikira ng’okubiriza bonna okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okuzeenyigirangamu.
Ddak. 10: Siga Ensigo ez’Amazima mu b’Eŋŋanda Zo. (Bik. 10:24, 33, 48) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2015, olupapula 87, akatundu 1-2; n’olupapula 90, akatundu 1-3. Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize. Bwe muba temulina katabo Yearbook aka 2015, mukozese ekitundu ekirina omutwe “Ab’Eŋŋanda Zo Nabo Obabuulira?” ekiri mu Our Kingdom Ministry aka Febwali 1997, olupapula 1.”
Oluyimba 118 n’Okusaba