LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/15 lup. 3
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 8/15 lup. 3

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika Agusito 31, 2015.

  1. Bintu ki ebikwata ku Yakuwa Sulemaani bye yayogerako ng’asaba, era bwe tubifumiitirizaako tuganyulwa tutya? (1 Bassek. 8:22-24, 28) [Jul. 6, w05 8/1 lup. 30 kat. 2]

  2. Kiki kye tuyigira ku Dawudi eyaweereza Katonda “n’omutima ogw’amazima”? (1 Bassek. 9:4) [Jul. 13, w12 11/15 lup. 7 kat. 18-19]

  3. Yakuwa okusindika Eriya eri nnamwandu w’e Zalefaasi kituyigiriza ki? (1 Bassek. 17:8-14) [Jul. 27, w14 2/15 lup. 14]

  4. Okufumiitiriza ku ebyo ebyogerwako mu 1 Bassekabaka 17:10-16 kituyamba kitya okweyongera okwesigira ddala Yakuwa? [Jul. 27, w14 2/15 lup. 13-15]

  5. Bwe tuba n’ebitweraliikiriza, tuyinza tutya okukoppa Eriya? (1 Bassek. 19:4) [Agu. 3, ia lup. 102-103 kat. 10-12; w14 3/15 lup. 15 kat. 15-16]

  6. Yakuwa yakola ki bwe yalaba Eriya omuweereza we omwesigwa nga mwennyamivu, era tuyinza tutya okukoppa Katonda waffe? (1 Bassek. 19:7, 8) [Agu. 3, w14 6/15 lup. 27 kat. 15-16]

  7. Ndowooza ki enkyamu Kabaka Akabu gye yalina, era Abakristaayo bayinza batya okwewala endowooza ng’eyo? (1 Bassek. 21:20) [Agu. 10, lv lup. 164-165, akasanduuko; w14 2/1 lup. 14 kat. 3-4]

  8. Kiki kye tuyigira ku ekyo Erisa kye yasaba Eriya, era ekyo kiyinza kitya okutuyamba nga tuweereddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Yakuwa? (2 Bassek. 2:9, 10) [Agu. 17, w03-E 11/1 lup. 31 kat. 5-6]

  9. Abato bayinza batya okukoppa okukkiriza n’obuvumu bw’omuwala omuto Omuisiraeri ayogerwako mu 2 Bassekabaka 5:1-3? [Agu. 24, w12 2/15 lup. 12-13 kat. 11]

  10. Ngeri ki Yeeku ze yalina Abakristaayo ze basaanidde okufuba okwoleka mu nnaku zino ez’enkomerero? (2 Bassek. 10:16) [Agu. 31, w11 11/15 lup. 5 kat. 4]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza