Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 31
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 31
Oluyimba 42 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 29 ¶16-21, akas. ku lup. 299 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 9-11 (Ddak. 8)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nze n’ennyumba yange, tunaaweerezanga Yakuwa.’—Yos. 24:15.
Ddak. 10: Okugaba Magazini mu Ssebutemba. Kukubaganya birowoozo. Sooka olage ebyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okugabamu magazini zombi ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku buli nnyanjula.
Ddak. 10: Ofuna ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’? Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2014, olupapula 3-5. Kubiriza bonna okulya emmere ey’eby’omwoyo gye bafuna.
Ddak. 10: Biruubirirwa Ki eby’Eby’omwoyo Bye Weeteereddewo mu Mwaka gw’Obuweereza 2016? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 118, akatundu 3. Laga ekyokulabirako ng’ow’oluganda ne mukyala we bakubaganya ebirowoozo ku biruubirirwa byabwe eby’eby’omwoyo mu mwaka gw’obuweereza omupya.
Oluyimba 10 n’Okusaba