Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 24
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 24
Oluyimba 21 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 29 ¶11-15 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 5-8 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Bassekabaka 6:20-31 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Biki Ebyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?—nwt-E lup. 34 (Ddak. 5)
Na. 3: Abanaazuukizibwa Banaabeera Wa?—td-33B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nze n’ennyumba yange, tunaaweerezanga Yakuwa.’—Yos. 24:15.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina
Ddak. 15: Biki Bye Muyinza Okukola Okuganyulwa mu Kusinza kw’Amaka? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2011, olupapula 6. Bwe kiba kituukirawo bategeeze ebimu ku ebyo bye bayinza okukola mu kusinza kw’amaka ebiri ku mukutu jw.org. (Genda ku BIBLE TEACHINGS > CHILDREN.) Kiggumize nti okusinza kw’amaka kusaanidde okuba nga kutuukagana n’ebyetaago by’ab’omu maka era nti kusaanidde okubayamba okunyweza okukkiriza kwabwe mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye.
Oluyimba 130 n’Okusaba