Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 27
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 27
Oluyimba 18 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 28 ¶1-9 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Bassekabaka 15-17 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Bassekabaka 15:16-24 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Bayibuli Eyinza Etya Okuyamba Abakyala?—nwt-E lup. 30 ¶3-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Bakyayibwa—td-32A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Mugende mufuule abantu abayigirizwa.’—Mat. 28:19, 20.
Ddak. 10: Otuukiriza Bulungi Obuweereza Bwo? Kukubaganya birowoozo. Yogera ku nsonga eziri mu katundu akasooka akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2014, eziraga ekigendererwa ky’ekitundu ekirina omutwe “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe.” Mu bufunze, mwejjukanye ebimu ku bitundu bye twayigako. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu bitundu ebyo. Kubiriza ababuulizi okukoleranga ku magezi agatuweebwa buli mwezi agaba wansi w’omutwe “Mu Mwezi Guno Gezaako Kino.”
Ddak. 10: Kozesa Ekitundu “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda” Okuyamba Omuyizi Wo. Kukubaganya birowoozo. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu bino wammanga okuyamba omuyizi okutegeera obulungi ebiri mu Bayibuli: (1) “Engeri y’Okuzuulamu Ekyawandiikibwa mu Bayibuli.” (2) Ekibuuzo 19: “Biki ebyogerwako mu bitabo bya Bayibuli ebitali bimu?” (3) Ekibuuzo 20: “Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli?” Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi akubaganya ebirowoozo n’omuyizi we ku kimu ku byo nga yaakamala okumusomesa.
Ddak. 10: “Bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 125 n’Okusaba