LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/15 lup. 2
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Laba Ebirala
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Kyetaagisa Okugendayo Amangu Ddala
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Intaneeti Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 7/15 lup. 2

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Ababuulizi basaanidde okukozesa ennyo Intaneeti okubuulira oba okuyigiriza Bayibuli abantu be batamanyi abali mu nsi endala?

Ababuulizi abamu bakozesa Intaneeti okufuna abayizi ba Bayibuli mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa oba omuli ababuulizi abatono. Emirundi egimu, enkola eyo evaamu ebirungi. Wadde kiri kityo, kya bulabe ababuulizi bwe baweereza obubaka oba bwe bakubaganya ebirowoozo n’abantu be batamanyi nga bakozesa Intaneeti. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2007, lup. 3.) Wadde ng’ekiruubirirwa kiba kya kubuulira bantu abaagala okuyiga amazima, ow’oluganda oba mwannyinaffe ayinza okwesanga ng’atandise okolagana n’abantu ab’ebiruubirirwa ebikyamu nga mw’otwalidde ne bakyewaggula. (1 Kol. 1:19-25; Bak. 2:8) Okugatta ku ekyo, mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa oba gye gwawerebwa, ab’obuyinza basobola okumanya obubaka bw’omuweereza oba bye mwogerako era ekyo kisobola okuleetera ab’oluganda ab’omu nsi eyo emitawaana. N’olwekyo, ababuulizi tebasaanidde kukozesa Intaneeti okunoonya abantu ab’omu nsi endala okubabuulira amawulire amalungi.

Okuggyako ng’ababuulizi baweereddwa obulagirizi okuva ku ofiisi y’ettabi lyabwe, bwe babuulira embagirawo omuntu gwe batamanyi ava mu nsi endala, tebasaanidde kweyongera kumuyigiriza ng’azzeeyo mu nsi ye. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okumulaga engeri gy’ayinza okukozesaamu omukutu jw.org okumanya ebisingawo oba okumuwa endagiriro ya ofiisi y’ettabi lyaffe eriri mu nsi eyo. Ate era ensi ye bw’ebaamu Ebizimbe by’Obwakabaka, tuyinza okumukubiriza okugenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri okumpi ne w’abeera. Bw’aba ayagala Abajulirwa ba Yakuwa bamukyalire, tusaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) ne tugiwa omuwandiisi w’ekibiina n’agiweereza ku ofiisi y’ettabi ng’akozesa omukutu jw.org. Ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi omuntu oyo gy’abeera emanyi bulungi obukwakkulizo obukwata ku mulimu gwaffe era ejja kumuyamba mu by’omwoyo.​—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2014, lup. 7, ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2011, lup. 2.

Omuntu gwe tuyigiriza kati bw’agenda mu nsi endala oba bwe kiba nti omuntu gwe tuyigiriza kati twamufunira ku Intaneeti naye ng’ali mu nsi ndala, tusaanidde okugoberera obulagirizi obuweereddwa waggulu. Tuyinza okweyongera okumuyigiriza okutuusa ng’afunye omubuulizi ow’omu kitundu kye anaamuyigiriza. Wadde kiri kityo, bwe kiba nti ali mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa oba gye gwawerebwa, tusaanidde okwegendereza ennyo nga tukozesa ebbaluwa, essimu, oba Intaneeti okumuweereza obubaka obukwata ku Bayibuli.​—Mat. 10:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza