LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/15 lup. 3
  • Bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Laba Ebirala
  • Okuyigiriza Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Kozesa Bulungi Ebyo bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu Bayibuli
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Buulira “Abantu aba Buli Ngeri”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Bye Tukozesa Okunoonyereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 7/15 lup. 3

Bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu

1. Lwaki ababuulizi bayinza okugeraageranyizibwa ku babazzi?

1 Waliwo ebyuma bingi ababazzi bye bakozesa okukola emirimu gyabwe. Ebimu ku byo babikozesa lumu na lumu, naye waliwo bye bakozesa buli kiseera. Ababazzi abakugu buli kiseera baba n’ebyuma bye basinga okukozesa, era baba bamanyi bulungi okubikozesa. Bayibuli ekubiriza buli Mukristaayo okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira era n’okuba “omukozi ataliiko kimukwasa nsonyi.” (2 Tim. 2:15) Bayibuli gye tusinga okukozesa ‘okufuula abantu abayigirizwa.’ (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, tusaanidde okukuguka mu kukozesa “ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.” Naye waliwo ebitabo ebirala ebitera okukozesebwa, Abakristaayo bonna bye basaanidde okuyiga okukozesa obulungi okuyigiriza abantu amazima.​—Nge. 22:29.

2. Bitabo ki bye tusinga okukozesa okuyigiriza abantu?

2 Bye Tusinga Okukozesa: Bitabo ki ebirala bye tusaanidde okukozesa ng’oggyeeko Bayibuli? Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? ke tusinga okukozesa okuyigiriza abantu amazima. Omuyizi bw’amalako akatabo ako, tukozesa akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ okumuyigiriza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwe. N’olwekyo tusaanidde okukuguka mu kukozesa obutabo obwo bwombi. Waliwo ne brocuwa ze tusaanidde okuyiga okukozesa obulungi. Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! y’emu ku ebyo bye tusinga okukozesa okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Ekitundu kye tubuuliramu bwe kibaamu abantu abatamanyi bulungi kusoma oba bwe kiba nti tulina ebitabo bitono oba tetulina kitabo kyonna mu lulimi lwe boogera, tusobola okukozesa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Brocuwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? gye tusinga okukozesa okuyamba abayizi okutegeera obulungi ekibiina kya Yakuwa. Ate era waliwo vidiyo ezisobola okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu ze tusaanidde okuyiga okukozesa. Ze zino wammanga: Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?, Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall?, ne Does God Have a Name? (Katonda Alina Erinnya?)

3. Amagezi aganaatuweebwanga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ganaatuyamba gatya?

3 Tujja kuweebwanga amagezi mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka agajja okutuyamba okukuguka mu ngeri gye tukozesaamu ebitabo ebyo. Bwe tunaafuba okuyiga okubikozesa obulungi, tujja kuba tukolera ku kubuulirira okwaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo. Ebintu bino binywerereko, kubanga bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.”​—1 Tim. 4:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza