LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/14 lup. 7
  • Kyetaagisa Okugendayo Amangu Ddala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kyetaagisa Okugendayo Amangu Ddala
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gutuganyula era Guganyula n’Abalala
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Mubakyalire mu Bwangu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Engeri y’Okukozesaamu Foomu Eyitibwa Please Follow Up (S-43)
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 6/14 lup. 7

Kyetaagisa Okugendayo Amangu Ddala

Okuva emikutu gyaffe egya Intaneeti lwe gyagattibwa ne gufuuka omukutu gumu, abantu abasaba okuyigirizibwa Bayibuli okuyitira ku mukutu ogwo beeyongedde nnyo. Ate era okuyitira mu nkola empya ez’okubuulira mu lujjudde, abantu abalala bangi basaba okuyigirizibwa Bayibuli. Ofiisi y’ettabi eweereza amannya n’endagiriro z’abantu abo mu bibiina amangu ddala. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’asaba okuyigirizibwa Bayibuli okuyitira ku mukutu gwaffe jw.org, ofiisi y’ettabi etegeeza abakadde b’ekibiina ekibuulira mu kitundu mw’abeera mu bbanga lya nnaku bbiri zokka. Naye kizuuliddwa nti wayitawo wiiki eziwerera ddala ng’abamu ku abo abaasaba okuyigirizibwa Bayibuli tebannatuukibwako. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo ng’okwagala kwabwe tekunnawola?​—Mak. 4:14, 15.

Omuntu atabeera mu kitundu kye mubuuliramu bw’asiima obubaka bwaffe, amangu ddala jjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyo obutasukka lukuŋŋaana olunaddako. Mu lunaku lumu oba bbiri, omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okuweereza ebikwata ku muntu oyo eri ekibiina ekibuulira mu kitundu mw’abeera oba ku ofiisi y’ettabi ng’akozesa omukutu jw.org. Abakadde basaanidde okukebera ku mukutu gwaffe obutayosa. Bwe bategeezebwa nti waliwo omuntu ayagala okuyigirizibwa Bayibuli, basaanidde okukola enteekateeka omuntu oyo asobole okutuukibwako mu bwangu. Omubuulizi yenna aba asabidddwa okugenda eri omuntu oyo, asaanidde okugendayo amangu ddala. Bw’aba tasanze muntu oyo waka, ayinza okulekawo akabaluwa nga kuliko ennamba ye ey’essimu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza