Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 13
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 13
Oluyimba 75 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 27 ¶10-18 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Bassekabaka 9-11 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Bassekabaka 9:24–10:3 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Okukolera ku Kigambo kya Katonda Kituyamba Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza—nwt-E lup. 28 ¶4–lup. 29 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Abo Abawonya mu Ngeri ey’Ekyamagero Leero, Katonda Si y’Abawa Amaanyi—td-31C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Mugende mufuule abantu abayigirizwa.’—Mat. 28:19, 20.
Ddak. 10: Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku mulamwa gw’omwezi guno. Yogera ne ku ebyo ebiri mu katabo, “Come Be My Follower,” olupapula 87-89. Nokolayo ebimu ku bitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza omwezi guno, era olage engeri gye bikwataganamu n’omulamwa gw’omwezi.
Ddak. 10: Baakozesa Akakisa Ke Baafuna Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2015 olupapula 55, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 56, akatundu 1; n’olupapula 69, akatundu 2-5. Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize.
Ddak. 10: “Essira Lisse ku Kufuula Abantu Abayigirizwa.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abalina obumanyirivu mu kufuna abayizi ba Bayibuli n’okubayigiriza. Biki ebibaleetera essanyu nga bayamba omuntu okuyiga amazima?
Oluyimba 16 n’Okusaba