Essira Lisse ku Kufuula Abantu Abayigirizwa
1. Kiki kye tulina okukola, abantu okusobola okulokolebwa?
1 Lipoota y’obuweereza ey’omwaka 2014 eraga nti abaweereza ba Yakuwa babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Mat. 24:14) Okuyitira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba, mu kaweefube ow’okugaba tulakiti ezitali zimu n’obupapula obuyita abantu, n’enkola ez’okubuulira mu bifo ebya lukale, tuyamba abantu bangi okuwulira amawulire amalungi ku kigero ekitabangawo. Naye abantu abo okusobola okulokolebwa, tulina okubayigiriza Bayibuli ne bafuuka abayigirizwa ba Yesu.—1 Tim. 2:4.
2. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
2 Beera Mwetegefu Okuyigiriza Abantu Bayibuli: Kikulu okwebuuza ebibuuzo bino: Omuntu bw’asiima obubaka bwaffe, mmusaba endagiriro ye era ne mmuddira amangu ddala nsobole okutandika okumuyigiriza Bayibuli? Ddi lwe nnasembayo okulaga omuntu engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ku mulundi gwe nnasooka okumubuulira? Bwe mba nnina omuntu gwe mpa magazini buli mwezi, nnali mmubuulidde ku nteekateeka gye tulina ey’okuyigiriza abantu Bayibuli? Abo be nkola nabo oba be nsoma nabo, baliraanwa bange, ab’eŋŋanda zange, oba mikwano gyange nnali mbalaze vidiyo erina omutwe Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? oba Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? Bwe mba nkozesa akagaali oba emmeeza okuli ebitabo, ntegeeza abo abatwala ebitabo nti tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere?
3. Yakuwa ne Yesu batuyamba batya okusobola okuyigiriza abantu amazima?
3 Yakuwa ne Yesu Batuyamba: Yesu bwe yali ayogera ku ‘kufuula abantu abayigirizwa,’ yakozesa ekigambo “mugende.” Ekyo kiraga nti ffe tulina okugenda eri abantu tubabuulire amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, yatusuubiza okutuyamba. (Mat. 28:19, 20) Okugatta ku ekyo, Yakuwa atuwadde omwoyo gwe omutukuvu, atutendese, era atuwadde ebintu bye tukozesa okuyigiriza abantu amazima. (Zek. 4:6; 2 Kol. 4:7) Tusaanidde okusaba Katonda ‘atwagazise okukola’ omulimu guno omukulu ennyo.—Baf. 2:13.
4. Lwaki tusaanidde okussa essira ku kufuula abantu abayigirizwa?
4 Bwe tubuulira amawulire amalungi tufuna essanyu. Naye tufuna essanyu lya nsusso bwe tuyigiriza omuntu amazima ne tumuyamba okutambulira mu ‘kkubo eridda mu bulamu.’ (Mat. 7:14; 1 Bas. 2:19, 20) N’ekisinga obukulu, bwe tussa essira ku kufuula abantu abayigirizwa, tusanyusa Yakuwa ‘atayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.’—2 Peet. 3:9.