Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Essatu
Essaawa za Programu: Programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe, olukuŋŋaana lusobole okutandika nga tewali kitaataaganya. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa nga 10:00 ez’olweggulo.
‘Tendereza Yakuwa n’Oluyimba’: Okuviira ddala mu biseera eby’edda, abantu ba Katonda babadde bamutendereza nga bayimba ennyimba, era ne leero okuyimba kukulu nnyo mu kusinza kwaffe. (Zab. 28:7) Buli kitundu mu lukuŋŋaana lwaffe olunene kitandika n’obuyimba. Obuyimba obwo bututeekateeka tusobole okuyiga obulungi ebikwata ku Yakuwa n’okumusinza. N’olwekyo, ssentebe bw’atutegeeza nti obuyimba buli kumpi kutandika, ekyo kye kiba ekiseera okutuula mu bifo byaffe tuwulirize obuyimba obwo mu kifo ky’okunyumya. Bwe tukola bwe tutyo tuba tulaga nti tusiima baganda baffe ne bannyinnaffe abateekateeka obuyimba obwo. Emirundi ebiri buli mwaka, ab’oluganda abo bakozesa ssente zaabwe okugenda e Patterson mu New York, okusobola okuteekateeka obuyimba obwo obulungi. Oluvannyuma lw’okuwuliriza obuyimba obwo, buli omu asaanidde okutendereza Yakuwa ng’ayimba ennyimba zaffe ez’Obwakabaka.
Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufuna aw’okusimba ekidduka. Mu bitundu ebimu ebifo aw’okusimba ebidduka biba bitono, n’olwekyo kiba kirungi okukozesa etambula ey’awamu.
Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Osabibwa obuteeyuna kukwata bifo eby’okutuulamu ng’oli ng’avuganya n’abalala. Okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza n’okufaayo ku balala biraga nti tuli Bakristaayo ab’amazima, era bireetera abalala okutendereza Katonda. (Yok. 13:34, 35; 1 Kol. 13:5; 1 Peet. 2:12) Ab’omu maka go, abo b’otambudde nabo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Toteeka bintu mu kifo ky’otogenda kukozesa, kisobozese abalala okukituulamu. Waliwo ebifo eby’enjawulo abo abaliko obulemu bye bajja okutuulamu. Okuva bwe kiri nti ebifo ebyo biba bitono, omuntu omu oba babiri abayambako omuntu aliko obulemu be bokka abasaanidde okutuula naye mu bifo ebyo.
Ennyambala Esaanira: Bwe tuba tugenda ku lukuŋŋaana tetusaanidde kukoppa misono gya nsi, wabula tusaanidde okwambala mu ngeri esaanira era eweesa ekitiibwa. (1 Tim. 2:9) Ne bwe tuba tuzzeeyo gye tusula tusaanidde okwewala okwambala mu ngeri etaweesa Katonda kitiibwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tetujja kutya kuteekako bubbaagi bwaffe obw’olukuŋŋaana era n’okubuulira abalala nga tufunye akakisa. Endabika yaffe ennungi n’enneeyisa yaffe bijja kusikiriza abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima era bijja kusanyusa Yakuwa.—Zef. 3:17
Okukozesa Ebyuma Ebya Tekinologiya: Twoleka empisa ennungi ng’amasimu gaffe oba ebyuma ebirala ebya tekinologiya tubissa mu mbeera etataataaganya balala. Bw’oba okozesa kamera, bukompyuta obw’omu ngalo, n’ebirala ng’ebyo, kakasa nti tosiikiriza balala era nti tobataataaganya. Ate era twoleka empisa ennungi nga tetuweereza balala bubaka nga programu egenda mu maaso.
Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu kiseera eky’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Ebintu ebiteekebwamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.
Okuwaayo: Bwe tuba mu lukuŋŋaana olunene, tusobola okulaga nti tusiima enteekateeka z’olukuŋŋaana olwo nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya “Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.”
Eddagala: Bwe kiba nti waliwo eddagala ly’olina okumira okusinziira ku bulagirizi bw’omusawo, osabibwa okutwala eddagala erimala olw’okuba tetujja kuba na ddagala eryo ku lukuŋŋaana. Empiso ezikozeseddwa abalwadde ba sukaali tezirina kusuulibwa mu bintu ebiteekebwamu kasasiro ebiteekeddwa mu kifo awali olukuŋŋaana kubanga ziyinza okutuusa obulabe ku balala.
Okwewala Obubenje: Weegendereze obubenje obuyinza okuva ku kuseerera oba ku kwekoona ku kintu kyonna. Buli mwaka abantu bafuna obubenje olw’engatto ze baba bambadde, naddala kakondo. Kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi, ezinaatusobozesa okutambulira obulungi ku madaala oba awalala wonna.
Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu ziba mu bizimbe. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Bw’oba olina omuntu gw’obuulidde embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo, jjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43), ogitwale mu Kitongole Ekikola ku Bitabo oba ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyo.
Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise era yambala mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.
Wooteeri:
Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa.
Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeeza be kikwatako amangu ddala.—Mat. 5:37
Oyo akusituliddeko ku migugu n’oyo ayonja ekisenge mw’osula bawe akasiimo.
Todiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa ku ky’enkya.
Fuba okwoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abakozi b’omu wooteeri. Olw’okuba baweereza abagenyi bangi, basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.
Abazadde basaanidde okufaayo ku baana baabwe ekiseera kyonna nga bali mu wooteeri, nnaddala nga bali we bawugira, mu nkuubo, ne mu bifo ebirala.
Singa ofuna ekizibu mu wooteeri gy’osulamu, tegeeza ab’oluganda abali mu Kitongole Ekikola ku by’Ensula.
Okuweereza nga Nnakyewa: Oyo yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 nabo basobola okuweereza nga bannakyewa nga bakolera ku bulagirizi bwa bazadde baabwe oba abantu abalala abakulu abali ku lukuŋŋaana.