Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 1
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 1
Oluyimba 46 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 12 ¶9-15 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okubala 17-21 (Ddak. 10)
Na. 1: Okubala 17:1-13 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Biki Ebiraga nti Ddala Sitaani Gyali?—rs-E lup. 361 ¶2–lup. 362 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Olutalo lwa Kalumagedoni Lujja Kumalirawo Ddala Ebikolwa Ebibi—td 15A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Okugaba Magazini mu Ssebutemba. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula luno, sooka olage ebyokulabirako ku engeri magazini ezo gye ziyinza okugabibwamu. Oluvannyuma yogera ku buli nnyanjula ng’olaga ekigendererwa kyayo.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri gye baaganyulwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekyalina omutwe ogugamba nti, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Buulira Obwakabaka n’Obuvumu.” Basabe boogere ku kusoomoozebwa kwe baayolekagana nakwo nga babuulira ku Bwakabaka. Baakuvvuunuka batya?
Ddak. 10: Lipoota Ekwata ku Kaweefube ow’Enjawulo. Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Wumbawumbako ensonga enkulu eziri mu kapapula kano ak’Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka eziraga obukulu bw’okweyongera okulangirira Obwakabaka. Ab’oluganda baakolera batya ku bulagirizi obwo? Birungi ki ebyava mu kaweefube oyo?
Oluyimba 45 n’Okusaba