Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Agusito: Tujja kugaba tulakiti empya ekwata ku mukutu jw.org. Bwe kiba nga tekituukirawo kugaba tulakiti eyo mu kitundu kye mubuuliramu, mugabe brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, Wuliriza Katonda, oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Ssebutemba ne Okitobba: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Noovemba ne Ddesemba: Kiki Ddala Bayibuli ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, oba Okubonaabona Kuliggwaawo?