LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/14 lup. 3
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 8/14 lup. 3

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika Agusito 25, 2014.

  1. Eby’Abaleevi 18:3 lutuyamba lutya okwewala endowooza enkyamu ku bikwata ku kituufu n’ekikyamu? (Bef. 4:17-19) [Jul. 7, w02 2/1 lup. 32 kat. 4]

  2. Ekiragiro ekiri mu Eby’Abaleevi 19:2 kituyigiriza ki, era lwaki twandifubye okukigondera? [Jul. 7, w09-E 7/1 lup. 9 kat. 5]

  3. Etteeka eryali ligaana Abaisiraeri okukuŋŋanya ebyabanga bifikkidde ku makungula gaabwe lituyigiriza ki? (Leev. 19:9, 10) [Jul. 7, w06 7/1 lup. 14-15 kat. 13]

  4. Lwaki tuyinza okugamba nti etteeka eryali ligamba nti “eriiso olw’eriiso” lyali terikubiriza kwesasuza? (Leev. 24:19, 20) [Jul. 14, w09 10/1 lup. 16 kat. 3-4]

  5. Ddi lwe kyabanga ekikyamu Omuisiraeri okuggya amagoba ku oyo gwe yabanga awoze, naye ddi lwe kyabanga kikkirizibwa? (Leev. 25:35-37) [Jul. 21, w04 6/1 lup. 22 kat. 3]

  6. Lwaki Bayibuli eyogera ku bika bya Isiraeri 12, ng’ate byali 13? (Kubal. 1:49, 50) [Jul. 28, w08-E 7/1 lup. 21]

  7. Ebyo ebikwata ku Baleevi ebiri mu Okubala 8:25, 26 bituyigiriza ki bwe kituuka ku kufaayo ku abo abakaddiye? [Agu. 11, w04 8/1 lup. 30 kat. 1]

  8. Lwaki Abaisiraeri baatandika okwemulugunya nga baakanunulwa mu ngeri ey’ekyamagero okuva e Misiri, era ekyo kituyigiriza ki? (Kubal. 11:4-6) [Agu. 18, w95-E 3/1 lup. 15-16 kat. 10]

  9. Eridaadi ne Medadi bwe baatandika okuweereza nga bannabbi, Musa yakitwala atya, era ekyo kituyigiriza ki? (Kubal. 11:27-29) [Agu. 18, w04 8/1 lup. 31 kat. 3]

  10. Kiki kye tuyigira ku kiragiro ekyaweebwa Abaisiraeri ‘eky’okuteeka amatanvuuwa ku nkugiro z’ebyambalo byabwe’? (Kubal. 15:37-39) [Agu. 25, w04 8/1 lup. 31 kat. 6]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza