LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/14 lup. 2
  • Weemanyiize Okukuuma Obudde

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weemanyiize Okukuuma Obudde
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • Lwaki Tusaanidde Okukuuma Ebiseera?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okukwata Obudde
    Zuukuka!—2016
  • Goberera Ekyokulabirako kya Yesu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2016
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 5/14 lup. 2

Weemanyiize Okukuuma Obudde

1. Yakuwa atuteerawo kyakulabirako ki ekirungi bwe kituuka ku kukuuma obudde?

1 Yakuwa bulijjo akuuma obudde. Ng’ekyokulabirako, awa abaweereza be “obuyambi mu kiseera ekituufu.” (Beb. 4:16) Ate era atuwa emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu.” (Mat. 24:45) N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti olunaku olw’obusungu bwe ‘telujja kulwa.’ (Kaab. 2:3) Tuganyulwa nnyo olw’okuba Yakuwa akuuma obudde! (Zab. 70:5) Olw’okuba tetutuukiridde ate nga tulina eby’okukola bingi, tekitubeerera kyangu kukuuma budde. Naye tusaanidde okwemanyiiza okukuuma obudde.

2. Lwaki okukuuma obudde kiweesa Yakuwa ekitiibwa?

2 Okukuuma obudde kifuuse kizibu nnyo mu nnaku zino ez’enkomerero kubanga abantu abasinga obungi beefaako bokka era tebeefuga. (2 Tim. 3:1-3) N’olwekyo, bwe tutuukira mu budde ku mirimu gyaffe, nga tulina gwe tugenda okusisinkana, oba mu nkuŋŋaana z’ekibiina, abalala bakiraba era ekyo kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:12) Tutera okutuuka ku mirimu gyaffe nga bukyali, naye ate ne tutuuka kikeerezi mu nkuŋŋaana? Bwe tutuuka mu nkuŋŋaana nga bukyali ne tubeerawo ng’oluyimba oluggulawo luyimbibwa era ne tuwuliriza essaala eggulawo, kiba kiraga nti tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu.​—1 Kol. 14:33, 40.

3. Lwaki bwe tukuuma obudde kiraga nti tufaayo ku balala?

3 Bwe tukuuma obudde tuba tulaga nti tufaayo ku balala. (Baf. 2:3, 4) Ng’ekyokulabirako, bwe tutuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana zaffe, nga mw’otwalidde n’olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira, bakkiriza bannaffe tebataataaganyizibwa. Ku luuyi olulala, singa buli kiseera tutuuka kikeerezi, kiyinza okulaga nti tetufaayo ku balala. Bwe tukuuma obudde tuba tulaga nti twesigika era ekyo kisanyusa nnyo abalala.

4. Bwe tuba tutera okutuuka ekikeerezi, biki ebiyinza okuyamba okukuuma obudde?

4 Bw’oba otera okutuuka ekikeerezi, biki ebiyinza okukuyamba okukuuma obudde? Beera n’enteekateeka eneekusobozesa okukola buli kintu mu kiseera kyakyo. (Mub. 3:1; Baf. 1:10) Ate era saba Yakuwa akuyambe. (1 Yok. 5:14) Bwe tukuuma obudde tuba tulaga nti tugondera amateeka abiri agasingayo obukulu; tuba tulaga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe.​—Mat. 22:37-39.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza